Leviticus 14 (BOLCB)

1 Awo MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 2 “Lino lye tteeka erinaagobererwanga ku lunaku omugenge lw’anaafuulibwanga omulongoofu mu ngeri entongole ng’aleeteddwa eri kabona. 3 Kabona anaafulumanga n’agenda ebweru w’olusiisira n’akebera omuntu oyo. Awo bw’anaasanganga ng’obulwadde bw’ebigenge bumuwonyeeko, 4 kabona anaalagiranga okuleetera omuntu oyo agenda okufuulibwa omulongoofu, ebinyonyi bibiri ebiramu ebirongoofu, n’omuti omwerezi, n’oluwuzi olumyufu, n’ezobu. 5 Kabona anaalagiranga okuttira emu ku nnyonyi ziri ebbiri waggulu w’amazzi amalungi agali mu luggyo. 6 Anaddiranga ennyonyi ennamu, awamu n’omuti omwerezi, n’oluwuzi olumyufu, n’ezobu, byonna ebyo n’abinnyika mu musaayi gw’ennyonyi enettirwanga waggulu w’amazzi amalungi. 7 Anaamansiranga omusaayi emirundi musanvu ku oyo omulwadde w’ebigenge agenda okufuulibwa omulongoofu; era anaamulangiriranga nti mulongoofu. Ekinyonyi kiri ekiramu, kabona anaakirekanga n’ekibuuka n’ekigenda. 8 Omuntu oyo anaabanga agenda okufuulibwa omulongoofu anaayozanga engoye ze, n’amwako enviiri ze, n’anaaba mu mazzi, n’abeera mulongoofu. Ebyo nga biwedde anaayingiranga mu lusiisira, naye ajjanga kumala ennaku musanvu ng’asula bweru wa weema ye. 9 Ku lunaku olw’omusanvu omuntu oyo anaayongeranga okumwa ku mutwe gwe enviiri ze zonna, anaamwangako n’ebirevu bye, n’ebisige bye, n’obwoya obulala bwonna obumwebwa. Ate anaayozanga engoye ze, n’anaaba omubiri gwe gwonna mu mazzi, bw’atyo n’afuuka mulongoofu. 10 “Ku lunaku olw’omunaana anaaleetanga abaana b’endiga abalume babiri abataliiko kamogo, n’omwana gw’endiga omuluusi nga gwa mwaka gumu ogw’obukulu, n’aleeterako n’obuwunga obulungi obw’emmere ey’empeke obuweza kilo ssatu obw’ekiweebwayo, ng’abutabudde mu mafuta, n’aleeterako n’ebbakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni eweza desimoolo ssatu eza lita. 11 Awo kabona ow’okulangiriranga omuntu oyo okuba omulongoofu, anaamuleetanga, awamu n’ebiweebwayo bye, awali MUKAMA Katonda mu mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 12 Awo kabona anaddiranga omu ku baana b’endiga omulume n’aguwaayo awamu n’epakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni, ng’ekiweebwayo olw’omusango, anaabiwuubanga ng’ekiweebwayo eri MUKAMA Katonda ekiwuubibwawuubibwa. 13 Omwana gw’endiga ogwo anaaguttiranga mu kifo ekitukuvu, ekiweebwayo olw’ekibi n’ekiweebwayo ekyokebwa we bittirwa. Okufaanana ng’ekiweebwayo olw’ekibi, ekiweebwayo olw’omusango nakyo kinaabanga kya kabona; nga kitukuvu nnyo. 14 Awo kabona anaatoolanga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’omusango n’agusiiga ku lukugiro lw’okutu okwa ddyo okw’oyo anaabeeranga azze okufuulibwa omulongoofu, ne ku kinkumu eky’engalo ey’omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’oku kugulu kwe okwa ddyo. 15 Kabona anaddiranga ku mafuta ag’omuzeeyituuni ag’omu pakuli n’agafukako mu kibatu ky’omukono gwe ogwa kkono, 16 anannyikanga olunwe lwe olwa ddyo mu mafuta ag’omuzeeyituuni agali mu kibatu ky’omukono gwe ogwa kkono, n’amansira n’olunwe lwe ku mafuta ag’omuzeeyituuni emirundi musanvu awali MUKAMA Katonda. 17 Kabona anaddiranga agamu ku mafuta ag’omuzeeyituuni aganaabanga gasigadde mu kibatu kye n’agasiiga ku lukugiro lw’okutu kw’oyo anaabeeranga azze okufuulibwa omulongoofu, ne ku kinkumu ky’engalo ey’omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’oku kugulu kwe okwa ddyo, ng’agasiiga kungulu ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’omusango. 18 Kabona anaddiranga amafuta ag’omuzeeyituuni aganaabanga gasigadde mu kibatu kye n’agasiiga mu mutwe gw’oyo ajja okufuulibwa omulongoofu, n’amutangiririra awali MUKAMA. 19 Kabona anaawangayo ekiweebwayo olw’ekibi, atangiririre oyo atali mulongoofu ajja okufuulibwa omulongoofu. Oluvannyuma kabona anattanga ekiweebwayo ekyokebwa, 20 n’akiwaayo ku kyoto awamu n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo, n’afuuka mulongoofu. 21 “Naye omuntu oyo bw’anaabanga omwavu ng’ebyo byonna tabisobola, anaaleetanga omwana gw’endiga omulume gumu okuba ekiweebwayo olw’omusango, ne kiwuubibwa okumutangiririranga, okwo n’agattirako ne kimu kya kkumi ekya efa eky’obuwunga obulungi ennyo obutabikiddwa mu mafuta, nga kye kiweebwayo eky’emmere y’empeke, n’agattako n’epakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni; 22 n’amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri, ng’okufuna kwe bwe kunaamusobozesanga; emu eneebanga ya kiweebwayo olw’ekibi, endala nga ya kiweebwayo ekyokebwa. 23 Ebyo byonna eby’okumufuula omulongoofu anaabireetanga eri kabona ku lunaku olw’omunaana, ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, awali MUKAMA. 24 Kabona anaddiranga omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo olw’omusango, n’epakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni, n’abiwuuba nga kye kiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa awali MUKAMA. 25 Kabona anattanga omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo olw’omusango; n’addira ogumu ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’omusango, n’agusiiga ku lukugiro lw’okutu okwa ddyo okw’oyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu, era ne ku kinkumu eky’engalo ey’omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’oku kugulu kwe okwa ddyo. 26 Kabona anaafukanga agamu ku mafuta mu kibatu ky’omukono gwe ogwa kkono, 27 n’amansira n’olunwe lwe olwa ddyo agamu ku mafuta ago agali mu kibatu ky’omukono gwe ogwa kkono, emirundi musanvu awali MUKAMA. 28 Era kabona anaasiiganga agamu ku mafuta ag’omuzeeyituuni agali mu kibatu ky’omukono gwe ku lukugiro lw’okutu okwa ddyo okw’oyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu, ne ku kinkumu eky’engalo ey’omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’oku kugulu kwe okwa ddyo, ng’agasiiga kungulu ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’omusango. 29 Kabona anaddiranga amafuta ag’omuzeeyituuni aganaabanga gasigadde mu kibatu kye, n’agasiiga ku mutwe gw’oyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu, okumutangiririra eri MUKAMA. 30 Era anaawangayo, ng’obusobozi bwe gye bunaakomanga, amayiba oba enjiibwa ento, 31 ekinyonyi ekimu ng’ekiweebwayo olw’ekibi n’ekyokubiri ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ng’agattirako n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke. Kabona anaamutangiririranga oyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu eri MUKAMA. 32 Ago ge mateeka aganaagobererwanga omuntu omugenge anaabanga tasobola biweebwayo ebya bulijjo, alyoke afuuke omulongoofu.” 33 MUKAMA n’agamba Musa ne Alooni nti, 34 “Bwe muliyingira mu nsi ya Kanani gye mbawadde okugirya, ne musanga nga ntadde ebigenge mu emu ku nnyumba ez’omu nsi eyo, 35 kale, oyo anaabanga nannyini nnyumba eyo anajjanga n’ategeeza kabona nti, ‘Mu nnyumba yange mufaanana ng’omuli obulwadde.’ 36 Kabona anaalagiranga ne bafulumya ebintu byonna ebiri mu nnyumba ne babimalamu, nga tannaba kuyingiramu kukebera obulwadde obwo nga bwe buli, si kulwa nga byonna ebiri mu nnyumba biyitibwa ebitali birongoofu. Ekyo nga kiwedde kabona anaayingiranga mu nnyumba n’agikebera. 37 Anaanoonyanga obulwadde we buli; bw’anaabusanganga ku bisenge by’ennyumba eyo, nga kuliko amabala aga kiragalalagala oba amamyukirivu, era nga galabika gayingidde munda mu mubiri gw’ekisenge, 38 olwo kabona anaafulumanga mu nnyumba eyo, n’agiggala okumala ennaku musanvu. 39 Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakomangawo n’akebera ennyumba eyo. Bw’anaasanganga ng’obulwadde busaasaanidde ku bisenge by’ennyumba eyo, 40 kale, anaalagiranga ne basokoola mu bisenge amayinja gonna agaliko obulwadde ne bagasuula ebweru w’ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu. 41 Era anaalagiranga ebisenge byonna eby’omu nnyumba eyo ne bikalakatibwa, ebintu byonna ebikalakatibbwako ne bisuulibwa ebweru w’ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu. 42 Era banaddiranga amayinja amalala ne bagazimba mu bifo by’agali agaggyibwamu, ne batabula bulungi omusenyu, ennyumba yonna n’ekubibwa omusenyu. 43 “Singa obulwadde buddamu okuzuuka, oluvannyuma lw’ennyumba okugiggyamu amayinja gali, n’okugikalakata era n’okugikubako omusenyu omuggya, 44 kale, kabona anaagendangayo ne yeetegereza; bw’anaasanganga ng’obulwadde busaasaanye mu nnyumba, ng’ebyo bigenge bye biri mu nnyumba, era nga si nnongoofu. 45 Anaalagiranga ennyumba eyo n’emenyebwawo, amayinja gaayo n’embaawo zaayo n’omusenyu ogwagikubwako, byonna binaasitulwanga ne bisuulibwa ebweru w’ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu. 46 Ennyumba eyo bw’eneebanga tennamenyebwawo, omuntu yenna anaayingiranga mu nnyumba eyo mu kiseera ky’eneemalanga nga nzigale anaabanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 47 N’omuntu yenna anaasulanga mu nnyumba eyo oba anaaliirangamu, anaayozanga engoye ze. 48 “Naye kabona bw’anajjanga n’akebera mu nnyumba eyo ng’emaze okukubibwako omusenyu, n’asanga ng’obulwadde tebwasaasaana; kale, kabona anaalangiriranga ng’ennyumba eyo bw’eri ennongoofu, kubanga olwo ng’obulwadde bugenze. 49 Okufuula ennyumba ennongoofu kabona anaddiranga ebinyonyi bibiri n’akabaawo k’omuti omwerezi, n’ekiwero ekimyufu n’ezobu. 50 Anattiranga ekimu ku binyonyi mu mazzi amalungi mu kibya eky’ebbumba. 51 Awo anaddiranga akabaawo k’omuti omwerezi n’ezobu, n’ekiwero ekimyufu, n’ekinyonyi ekikyali ekiramu, n’abinnyika mu musaayi gw’ekinyonyi ekyattiddwa ne mu mazzi amalungi, n’alyoka amansira ennyumba yonna emirundi musanvu. 52 Ennyumba anaagifuulanga ennongoofu n’omusaayi gw’akanyonyi, n’amazzi amalungi, n’akanyonyi akalamu, n’akabaawo k’omuti omwerezi, n’ezobu n’ekiwero ekimyufu. 53 Awo n’afulumya ekinyonyi ekiramu ebweru w’ekibuga n’akiteera eyo ne kibuuka ne kigenda. Mu ngeri eyo anaatangiririranga ennyumba eyo era eneebanga nnongoofu.” 54 Ago ge mateeka aganaagobererwanga ku bulwadde bw’ebigenge, omubiri ogusiiwa, 55 ebigenge mu ngoye oba mu nnyumba, 56 oba okubutukabutuka, oba obutulututtu, 57 okusinziirako okutegeera obanga ekintu kirongoofu oba si kirongoofu. Ago ge mateeka ku bigenge.

In Other Versions

Leviticus 14 in the ANGEFD

Leviticus 14 in the ANTPNG2D

Leviticus 14 in the AS21

Leviticus 14 in the BAGH

Leviticus 14 in the BBPNG

Leviticus 14 in the BBT1E

Leviticus 14 in the BDS

Leviticus 14 in the BEV

Leviticus 14 in the BHAD

Leviticus 14 in the BIB

Leviticus 14 in the BLPT

Leviticus 14 in the BNT

Leviticus 14 in the BNTABOOT

Leviticus 14 in the BNTLV

Leviticus 14 in the BOATCB

Leviticus 14 in the BOATCB2

Leviticus 14 in the BOBCV

Leviticus 14 in the BOCNT

Leviticus 14 in the BOECS

Leviticus 14 in the BOGWICC

Leviticus 14 in the BOHCB

Leviticus 14 in the BOHCV

Leviticus 14 in the BOHLNT

Leviticus 14 in the BOHNTLTAL

Leviticus 14 in the BOICB

Leviticus 14 in the BOILNTAP

Leviticus 14 in the BOITCV

Leviticus 14 in the BOKCV

Leviticus 14 in the BOKCV2

Leviticus 14 in the BOKHWOG

Leviticus 14 in the BOKSSV

Leviticus 14 in the BOLCB2

Leviticus 14 in the BOMCV

Leviticus 14 in the BONAV

Leviticus 14 in the BONCB

Leviticus 14 in the BONLT

Leviticus 14 in the BONUT2

Leviticus 14 in the BOPLNT

Leviticus 14 in the BOSCB

Leviticus 14 in the BOSNC

Leviticus 14 in the BOTLNT

Leviticus 14 in the BOVCB

Leviticus 14 in the BOYCB

Leviticus 14 in the BPBB

Leviticus 14 in the BPH

Leviticus 14 in the BSB

Leviticus 14 in the CCB

Leviticus 14 in the CUV

Leviticus 14 in the CUVS

Leviticus 14 in the DBT

Leviticus 14 in the DGDNT

Leviticus 14 in the DHNT

Leviticus 14 in the DNT

Leviticus 14 in the ELBE

Leviticus 14 in the EMTV

Leviticus 14 in the ESV

Leviticus 14 in the FBV

Leviticus 14 in the FEB

Leviticus 14 in the GGMNT

Leviticus 14 in the GNT

Leviticus 14 in the HARY

Leviticus 14 in the HNT

Leviticus 14 in the IRVA

Leviticus 14 in the IRVB

Leviticus 14 in the IRVG

Leviticus 14 in the IRVH

Leviticus 14 in the IRVK

Leviticus 14 in the IRVM

Leviticus 14 in the IRVM2

Leviticus 14 in the IRVO

Leviticus 14 in the IRVP

Leviticus 14 in the IRVT

Leviticus 14 in the IRVT2

Leviticus 14 in the IRVU

Leviticus 14 in the ISVN

Leviticus 14 in the JSNT

Leviticus 14 in the KAPI

Leviticus 14 in the KBT1ETNIK

Leviticus 14 in the KBV

Leviticus 14 in the KJV

Leviticus 14 in the KNFD

Leviticus 14 in the LBA

Leviticus 14 in the LBLA

Leviticus 14 in the LNT

Leviticus 14 in the LSV

Leviticus 14 in the MAAL

Leviticus 14 in the MBV

Leviticus 14 in the MBV2

Leviticus 14 in the MHNT

Leviticus 14 in the MKNFD

Leviticus 14 in the MNG

Leviticus 14 in the MNT

Leviticus 14 in the MNT2

Leviticus 14 in the MRS1T

Leviticus 14 in the NAA

Leviticus 14 in the NASB

Leviticus 14 in the NBLA

Leviticus 14 in the NBS

Leviticus 14 in the NBVTP

Leviticus 14 in the NET2

Leviticus 14 in the NIV11

Leviticus 14 in the NNT

Leviticus 14 in the NNT2

Leviticus 14 in the NNT3

Leviticus 14 in the PDDPT

Leviticus 14 in the PFNT

Leviticus 14 in the RMNT

Leviticus 14 in the SBIAS

Leviticus 14 in the SBIBS

Leviticus 14 in the SBIBS2

Leviticus 14 in the SBICS

Leviticus 14 in the SBIDS

Leviticus 14 in the SBIGS

Leviticus 14 in the SBIHS

Leviticus 14 in the SBIIS

Leviticus 14 in the SBIIS2

Leviticus 14 in the SBIIS3

Leviticus 14 in the SBIKS

Leviticus 14 in the SBIKS2

Leviticus 14 in the SBIMS

Leviticus 14 in the SBIOS

Leviticus 14 in the SBIPS

Leviticus 14 in the SBISS

Leviticus 14 in the SBITS

Leviticus 14 in the SBITS2

Leviticus 14 in the SBITS3

Leviticus 14 in the SBITS4

Leviticus 14 in the SBIUS

Leviticus 14 in the SBIVS

Leviticus 14 in the SBT

Leviticus 14 in the SBT1E

Leviticus 14 in the SCHL

Leviticus 14 in the SNT

Leviticus 14 in the SUSU

Leviticus 14 in the SUSU2

Leviticus 14 in the SYNO

Leviticus 14 in the TBIAOTANT

Leviticus 14 in the TBT1E

Leviticus 14 in the TBT1E2

Leviticus 14 in the TFTIP

Leviticus 14 in the TFTU

Leviticus 14 in the TGNTATF3T

Leviticus 14 in the THAI

Leviticus 14 in the TNFD

Leviticus 14 in the TNT

Leviticus 14 in the TNTIK

Leviticus 14 in the TNTIL

Leviticus 14 in the TNTIN

Leviticus 14 in the TNTIP

Leviticus 14 in the TNTIZ

Leviticus 14 in the TOMA

Leviticus 14 in the TTENT

Leviticus 14 in the UBG

Leviticus 14 in the UGV

Leviticus 14 in the UGV2

Leviticus 14 in the UGV3

Leviticus 14 in the VBL

Leviticus 14 in the VDCC

Leviticus 14 in the YALU

Leviticus 14 in the YAPE

Leviticus 14 in the YBVTP

Leviticus 14 in the ZBP