2 Chronicles 6 (BOLCB)

1 Mu kiseera ekyo Sulemaani n’ayogera nti, “MUKAMA eyagamba nti Alituula mu kizikiza ekikutte; 2 nkuzimbidde yeekaalu ey’ekitiibwa, ekifo ky’onoobeerangamu emirembe gyonna.” 3 Awo kabaka n’akyuka n’atunuulira ekibiina kyonna ekya Isirayiri ekyali kiyimiridde awo, n’abasabira omukisa. 4 N’ayogera nti,“Yeebazibwe MUKAMA Katonda wa Isirayiri, atuukiriza n’omukono gwe ekyo kye yasuubiza n’akamwa ke eri Dawudi kitange, ng’agamba nti, 5 “ ‘Okuva ku lunaku lwe naggya abantu bange mu nsi y’e Misiri, tewali kibuga kye nnalonda mu bika byonna ebya Isirayiri okuzimba mu eyeekaalu olw’erinnya lyange, wadde omuntu yenna okuba omukulembeze w’abantu bange Isirayiri. 6 Naye kaakano nnonze Yerusaalemi okubeeramu Erinnya lyange, era nnonze Dawudi okufuga abantu bange Isirayiri.’  7 “Kitange Dawudi yali akiteeseteese mu mutima gwe okuzimbira Erinnya lya MUKAMA Katonda wa Isirayiri eyeekaalu. 8 Naye MUKAMA n’agamba kitange Dawudi nti, ‘Newaakubadde nga kyali mu mutima gwo okuzimbira Erinnya lyange eyeekaalu, era wakola bulungi okuba nakyo mu mutima gwo, 9 naye si ggwe olizimba yeekaalu eyo, wabula mutabani wo, ow’omubiri gwo n’omusaayi gwo; y’alizimbira Erinnya lyange eyeekaalu.’  10 “Kaakano, MUKAMA atuukirizza kye yasuubiza. Nsikidde Dawudi kitange, era ntudde ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri, nga MUKAMA bwe yasuubiza, era nzimbidde Erinnya lya MUKAMA Katonda wa Isirayiri eyeekaalu. 11 Era omwo mwe ntadde essanduuko, omuli endagaano eya MUKAMA ggye yakola n’abantu ba Isirayiri.” 12 Awo Sulemaani n’ayimirira mu maaso g’ekyoto kya MUKAMA mu maaso g’ekibiina kyonna ekya Isirayiri, n’ayimusa emikono gye. 13 Yali akoze ekituuti eky’ekikomo, ekyali mita bbiri ne desimoolo ssatu obuwanvu n’obugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu, n’obugulumivu mita emu ne desimoolo ssatu, era ng’akitadde wakati mu luggya olw’ebweru era kye yali ayimiriddeko. N’afukamira mu maaso g’ekibiina kyonna ekya Isirayiri, n’ayimusa emikono gye eri eggulu. 14 N’ayogera nti,“Ayi MUKAMA Katonda wa Isirayiri tewali Katonda akufaanana mu ggulu newaakubadde ku nsi, atuukiriza endagaano ye ey’okwagala eri abaddu be abatambulira mu maaso ge n’emitima gyabwe gyonna. 15 Otuukirizza ekyo kye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, kubanga wasuubiza n’akamwa ko, era okituukirizza n’omukono gwo leero. 16 “Kaakano Ayi MUKAMA Katonda wa Isirayiri, tuukiriza ebyo bye wasuubiza Dawudi kitange bwe wayogera nti, ‘Tolirema kufuna musika mu maaso gange kutuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri, ab’ezzadde lyo bwe baneegenderezanga okutambuliranga mu maaso gange ng’etteeka lyange bwe liri, nga ggwe bw’otambulidde mu maaso gange.’ 17 Kale nno, Ayi MUKAMA Katonda wa Isirayiri ekigambo kyo kye wasuubiza Dawudi omuddu wo kituukirire. 18 “Naye ddala Katonda alituula n’abantu ku nsi? Laba, eggulu n’eggulu erisinga okuba erya waggulu toligyamu, kale ate olwo yeekaalu gye nzimbye gy’oyinza okugyamu? 19 Wuliriza okusaba kw’omuddu wo n’okwegayirira kwe, Ayi MUKAMA Katonda wange, owulire okusaba kw’omuddu wo kwasaba gy’oli. 20 Amaaso go gatunuulirenga eyeekaalu eno emisana n’ekiro, ekifo kye wayogerako nti oliteeka omwo Erinnya lyo, era owulire okusaba kw’omuddu wo eri ekifo kino. 21 Wulira kaakano okwegayirira kw’omuddu wo n’okw’abantu bo Isirayiri, bwe banaabanga basaba nga batunuulidde ekifo kino; owulirenga okuva mu kifo eyo gy’obeera, era bw’owuliranga, osonyiwenga. 22 “Omuntu bw’anaayonoonanga ku muliraanwa we, ne kimugwanira okulayira, era n’ajja n’alayira mu maaso g’ekyoto mu yeekaalu eno, 23 owulirenga okuva mu ggulu, obeeko ky’okola. Osalenga omusango wakati w’abaddu bo osasulenga gwe gusinze, ng’ebikolwa bye bwe bimusaanira. Oyatulenga atalina musango, era omusasulenga ng’obutuukirivu bwe, bwe bunaabanga. 24 “Abantu bo Isirayiri bwe banaabanga bawanguddwa omulabe olw’obutali butuukirivu bwabwe, naye ne bakyuka ne baatula erinnya lyo, ne basaba ne beegayiririra mu maaso go mu yeekaalu eno, 25 kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu, osonyiwe ekibi ky’abantu bo Isirayiri era obakomyewo mu nsi gye wabawa bo ne bajjajjaabwe. 26 “Eggulu bwe linaggalwangawo ne wataba nkuba, kubanga boonoonye gy’oli, naye ne basaba nga batunuulidde ekifo kino, ne baatula erinnya lyo, ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe ekibaweezesezza ekibonerezo, 27 kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu, osonyiwe ekibi ky’abaddu bo, abantu bo Isirayiri, obayigirize ekkubo eggolokofu, lye bateekwa okutambulirangamu, era obaweereze enkuba ku nsi gye wawa abantu bo, obusika bwo. 28 “Bwe wanaagwangawo enjala oba kawumpuli mu nsi, oba ne wabaawo okugengewala oba obukuku, oba enzige oba ebisaanyi, oba abalabe baabwe ne babazingiriza mu bibuga byabwe wadde ne bw’anaabanga kawumpuli ow’engeri etya, oba bulwadde bwa ngeri ki, 29 ne wabaawo okusaba oba okwegayirira okw’engeri zonna okukoleddwa omuntu yenna, oba abantu bo bonna Isirayiri, nga buli omu ategedde endwadde ye, n’obuyinike bwe, era ng’ayanjulurizza engalo ze eri yeekaalu eno, 30 kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu gy’obeera osonyiwe, era osasule buli muntu ng’ebikolwa bye bwe biri, kubanga ggwe wekka gw’omanyi emitima gy’abaana b’abantu; 31 balyoke bakutyenga, era batambulirenga mu makubo go ennaku zonna ze banaabeeranga mu nsi gye wawa bajjajjaffe. 32 “Era mu ngeri y’emu, bwe wanaabangawo munnaggwanga atali wa ku bantu bo Isirayiri, ng’ava mu nsi ey’ewala, olw’erinnya lyo ekkulu, n’olw’omukono gwo ogw’amaanyi, n’omukono gwo ogugoloddwa, bw’anajjanga n’asaba ng’atunuulidde eyeekaalu eno, 33 kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu gy’obeera, okolere omunnaggwanga oyo kyonna ky’anaakusabanga; abantu bonna ab’omu nsi balyoke bamanye erinnya lyo era bakutye, ng’abantu bo Isirayiri bwe bakola, era bategeere nti ennyumba eno gye nzimbye etuumiddwa Erinnya lyo. 34 “Abantu bo bwe banaatabaalanga abalabe baabwe, yonna gy’onoobasindikanga, ne basaba nga batunuulidde ekibuga kino ky’olonze ne yeekaalu gye nzimbidde Erinnya lyo, 35 kale owulirenga okusaba kwabwe n’okwegayirira kwabwe, ng’osinziira mu ggulu, obaddiremu. 36 “Bwe banaakolanga ebisobyo, kubanga tewaliwo muntu atasobya, n’obasunguwalira, n’obawaayo eri omulabe, ne batwalibwa nga basibe mu nsi ey’ewala oba ey’okumpi, 37 oluvannyuma ne beenenya mu mutima nga bali mu nsi gye bali abasibe, ne bakwegayiririra mu nsi ey’okusibibwa kwabwe nga boogera nti, ‘Twayonoona, twakola eby’obubambavu, era twagira ekyejo,’ 38 era bwe beenenyanga n’omutima gwabwe gwonna n’emmeeme yaabwe yonna mu nsi ey’okusibibwa kwabwe gye baatwalibwa, ne basaba nga batunuulidde ensi gye wawa bajjajjaabwe, n’eri ekibuga kye walonda, n’eri eyeekaalu gye nazimba ku lw’Erinnya lyo, 39 kale, owulirenga okusaba kwabwe n’okwegayirira kwabwe, ng’osinziira mu ggulu, ekifo gy’obeera obaddiremu, era osonyiwe abantu bo abakwonoonye. 40 “Kaakano Katonda wange, amaaso go gazibukenga, n’amatu go gawulirenga okusaba okunaaweerwangayo mu kifo kino. 41 “Era kaakano, Ayi MUKAMA Katonda golokoka, okke mu kifo kyoeky’okuwummulirangamu, ggwe n’essanduuko ey’amaanyi go.Bakabona bo Ayi MUKAMA Katonda, bambazibwe obulokozi,era n’abatukuvu bo basanyukire obulungi bwo. 42 Ayi MUKAMA Katonda, tokyusa maaso go okuva ku oyo gwe wafukako amafuta.Ojjukire ekisa kye walaga Dawudi omuddu wo.”

In Other Versions

2 Chronicles 6 in the ANGEFD

2 Chronicles 6 in the ANTPNG2D

2 Chronicles 6 in the AS21

2 Chronicles 6 in the BAGH

2 Chronicles 6 in the BBPNG

2 Chronicles 6 in the BBT1E

2 Chronicles 6 in the BDS

2 Chronicles 6 in the BEV

2 Chronicles 6 in the BHAD

2 Chronicles 6 in the BIB

2 Chronicles 6 in the BLPT

2 Chronicles 6 in the BNT

2 Chronicles 6 in the BNTABOOT

2 Chronicles 6 in the BNTLV

2 Chronicles 6 in the BOATCB

2 Chronicles 6 in the BOATCB2

2 Chronicles 6 in the BOBCV

2 Chronicles 6 in the BOCNT

2 Chronicles 6 in the BOECS

2 Chronicles 6 in the BOGWICC

2 Chronicles 6 in the BOHCB

2 Chronicles 6 in the BOHCV

2 Chronicles 6 in the BOHLNT

2 Chronicles 6 in the BOHNTLTAL

2 Chronicles 6 in the BOICB

2 Chronicles 6 in the BOILNTAP

2 Chronicles 6 in the BOITCV

2 Chronicles 6 in the BOKCV

2 Chronicles 6 in the BOKCV2

2 Chronicles 6 in the BOKHWOG

2 Chronicles 6 in the BOKSSV

2 Chronicles 6 in the BOLCB2

2 Chronicles 6 in the BOMCV

2 Chronicles 6 in the BONAV

2 Chronicles 6 in the BONCB

2 Chronicles 6 in the BONLT

2 Chronicles 6 in the BONUT2

2 Chronicles 6 in the BOPLNT

2 Chronicles 6 in the BOSCB

2 Chronicles 6 in the BOSNC

2 Chronicles 6 in the BOTLNT

2 Chronicles 6 in the BOVCB

2 Chronicles 6 in the BOYCB

2 Chronicles 6 in the BPBB

2 Chronicles 6 in the BPH

2 Chronicles 6 in the BSB

2 Chronicles 6 in the CCB

2 Chronicles 6 in the CUV

2 Chronicles 6 in the CUVS

2 Chronicles 6 in the DBT

2 Chronicles 6 in the DGDNT

2 Chronicles 6 in the DHNT

2 Chronicles 6 in the DNT

2 Chronicles 6 in the ELBE

2 Chronicles 6 in the EMTV

2 Chronicles 6 in the ESV

2 Chronicles 6 in the FBV

2 Chronicles 6 in the FEB

2 Chronicles 6 in the GGMNT

2 Chronicles 6 in the GNT

2 Chronicles 6 in the HARY

2 Chronicles 6 in the HNT

2 Chronicles 6 in the IRVA

2 Chronicles 6 in the IRVB

2 Chronicles 6 in the IRVG

2 Chronicles 6 in the IRVH

2 Chronicles 6 in the IRVK

2 Chronicles 6 in the IRVM

2 Chronicles 6 in the IRVM2

2 Chronicles 6 in the IRVO

2 Chronicles 6 in the IRVP

2 Chronicles 6 in the IRVT

2 Chronicles 6 in the IRVT2

2 Chronicles 6 in the IRVU

2 Chronicles 6 in the ISVN

2 Chronicles 6 in the JSNT

2 Chronicles 6 in the KAPI

2 Chronicles 6 in the KBT1ETNIK

2 Chronicles 6 in the KBV

2 Chronicles 6 in the KJV

2 Chronicles 6 in the KNFD

2 Chronicles 6 in the LBA

2 Chronicles 6 in the LBLA

2 Chronicles 6 in the LNT

2 Chronicles 6 in the LSV

2 Chronicles 6 in the MAAL

2 Chronicles 6 in the MBV

2 Chronicles 6 in the MBV2

2 Chronicles 6 in the MHNT

2 Chronicles 6 in the MKNFD

2 Chronicles 6 in the MNG

2 Chronicles 6 in the MNT

2 Chronicles 6 in the MNT2

2 Chronicles 6 in the MRS1T

2 Chronicles 6 in the NAA

2 Chronicles 6 in the NASB

2 Chronicles 6 in the NBLA

2 Chronicles 6 in the NBS

2 Chronicles 6 in the NBVTP

2 Chronicles 6 in the NET2

2 Chronicles 6 in the NIV11

2 Chronicles 6 in the NNT

2 Chronicles 6 in the NNT2

2 Chronicles 6 in the NNT3

2 Chronicles 6 in the PDDPT

2 Chronicles 6 in the PFNT

2 Chronicles 6 in the RMNT

2 Chronicles 6 in the SBIAS

2 Chronicles 6 in the SBIBS

2 Chronicles 6 in the SBIBS2

2 Chronicles 6 in the SBICS

2 Chronicles 6 in the SBIDS

2 Chronicles 6 in the SBIGS

2 Chronicles 6 in the SBIHS

2 Chronicles 6 in the SBIIS

2 Chronicles 6 in the SBIIS2

2 Chronicles 6 in the SBIIS3

2 Chronicles 6 in the SBIKS

2 Chronicles 6 in the SBIKS2

2 Chronicles 6 in the SBIMS

2 Chronicles 6 in the SBIOS

2 Chronicles 6 in the SBIPS

2 Chronicles 6 in the SBISS

2 Chronicles 6 in the SBITS

2 Chronicles 6 in the SBITS2

2 Chronicles 6 in the SBITS3

2 Chronicles 6 in the SBITS4

2 Chronicles 6 in the SBIUS

2 Chronicles 6 in the SBIVS

2 Chronicles 6 in the SBT

2 Chronicles 6 in the SBT1E

2 Chronicles 6 in the SCHL

2 Chronicles 6 in the SNT

2 Chronicles 6 in the SUSU

2 Chronicles 6 in the SUSU2

2 Chronicles 6 in the SYNO

2 Chronicles 6 in the TBIAOTANT

2 Chronicles 6 in the TBT1E

2 Chronicles 6 in the TBT1E2

2 Chronicles 6 in the TFTIP

2 Chronicles 6 in the TFTU

2 Chronicles 6 in the TGNTATF3T

2 Chronicles 6 in the THAI

2 Chronicles 6 in the TNFD

2 Chronicles 6 in the TNT

2 Chronicles 6 in the TNTIK

2 Chronicles 6 in the TNTIL

2 Chronicles 6 in the TNTIN

2 Chronicles 6 in the TNTIP

2 Chronicles 6 in the TNTIZ

2 Chronicles 6 in the TOMA

2 Chronicles 6 in the TTENT

2 Chronicles 6 in the UBG

2 Chronicles 6 in the UGV

2 Chronicles 6 in the UGV2

2 Chronicles 6 in the UGV3

2 Chronicles 6 in the VBL

2 Chronicles 6 in the VDCC

2 Chronicles 6 in the YALU

2 Chronicles 6 in the YAPE

2 Chronicles 6 in the YBVTP

2 Chronicles 6 in the ZBP