Psalms 130 (BOLCB)
undefined Oluyimba nga balinnya amadaala. 1 Ayi MUKAMA, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo. 2 Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange;otege amatu goeri eddoboozi ly’okwegayirira kwange. 3 Ayi MUKAMA, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe,ani eyandiyimiridde mu maaso go? 4 Naye osonyiwa;noolwekyo ossibwamu ekitiibwa. 5 Nnindirira MUKAMA, emmeeme yange erindiriraera essuubi lyange liri mu kigambo kye. 6 Emmeeme yange erindirira Mukama;mmulindirira okusinga ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya;okusingira ddala ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya. 7 Ayi Isirayiri, weesigenga MUKAMA,kubanga MUKAMA y’alina okwagala okutaggwaawo;era y’alina okununula okutuukiridde. 8 MUKAMA y’alinunula Isirayiri n’amuggyamu byonoono bye byonna.