Psalms 14 (BOLCB)
undefined Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. 1 Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,“Tewali Katonda.”Aboogera bwe batyo boonoonefu,bakola ebitasaana tekuli n’omu ku bo akola kirungi. 2 MUKAMA atunuulira abantu bonna mu nsing’asinziira mu ggulu,okulaba obanga mulimu mu bo ategeera,era abanoonya Katonda. 3 Naye bonna bakyamyeboonoonese;teri akola kirungi,era teri n’omu. 4 Abo bonna abakola ebibi tebaliyiga?Kubanga basaanyaawo abantu bange ng’abalya emmere;so tebakoowoola MUKAMA. 5 Balitya nnyo!Kubanga Katonda abeera wamu n’abatuukirivu. 6 Mulemesa entegeka z’omwavu,songa MUKAMA kye kiddukiro kye. 7 Singa obulokozi bwa Isirayiri butuuse mu kiseera kino nga buva mu Sayuuni! MUKAMA bw’alirokola abantu be,Yakobo alijaguza ne Isirayiri alisanyuka.