Psalms 53 (BOLCB)
undefined Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. 1 Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,“Tewali Katonda.”Boonoonefu, n’empisa zaabwe mbi nnyo;tewali n’omu akola kirungi. 2 Katonda atunuulira abaana b’abantung’asinziira mu ggulu,alabe obanga mulimu mu bo abamutegeeraera abamunoonya. 3 Bonna bamukubye amabegane boonooneka;tewali akola kirungi,tewali n’omu. 4 Aboonoonyi tebaliyiga? Basaanyaawo abantu bange, ng’abalya emmere;so tebakoowoola Katonda. 5 Balitya okutya okutagambika;kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g’abalabe be.Baliswazibwakubanga Katonda yabanyooma. 6 Singa obulokozi bwa Isirayiri bufuluma mu Sayuuni,Katonda n’akomyawo emirembe eri abantu be,Yakobo asanyuka ne Isirayiri n’ajaguza.