Psalms 96 (BOLCB)
1 Muyimbire MUKAMA oluyimba oluggya;muyimbire MUKAMA mmwe ensi yonna. 2 Muyimbire MUKAMA; mutendereze erinnya lye,mulangirire obulokozi bwe buli lukya. 3 Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna,eby’amagero bye mubimanyise abantu bonna. 4 Kubanga MUKAMA mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa;asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna. 5 Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi;naye MUKAMA ye yakola eggulu. 6 Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola;amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu. 7 Mugulumize MUKAMA mmwe ebika eby’amawanga byonna;mutende ekitiibwa kya MUKAMA awamu n’amaanyi ge. 8 Mugulumize MUKAMA mu ngeri esaanira erinnya lye;muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze. 9 Musinze MUKAMA mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe.Ensi yonna esinze MUKAMA n’okukankana. 10 Mutegeeze amawanga gonna nti MUKAMA y’afuga.Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako; MUKAMA aliramula abantu mu bwenkanya. 11 Kale eggulu lisanyuke n’ensi ejaguze;ennyanja eyire ne byonna ebigirimu. 12 Ennimiro n’ebirime ebizirimu bijaguze;n’emiti gyonna egy’omu kibira nagyo gimutendereze n’ennyimba ez’essanyu. 13 Kubanga MUKAMA ajja;ajja okusalira ensi omusango. MUKAMA aliramula ensi mu butuukirivu,n’abantu bonna abalamule mu mazima.