1 Chronicles 12 (BOLCB)

1 Bano be basajja abajja eri Dawudi e Zikulagi, gye yali yeekwese Sawulo mutabani wa Kiisi, era be bamu ku bamuyamba mu lutalo. 2 Baalina obusaale, era nga balasa bulungi, n’okuvuumuula nga bavuumuula amayinja n’emikono gyabwe egya ddyo n’egya kkono, ate nga balina oluganda ne Sawulo ow’ekika kya Benyamini. 3 Akiyezeeri ye yali omukulu, muganda we Yowaasi n’amuddirira, bombi nga batabani ba Semaa Omugibeya;Yeziyeri ne Pereti batabani ba Azumavesi;Beraka, ne Yeeku Omwanasoni, 4 ne Isumaya Omugibyoni, omusajja omuzira ku bali amakumi asatu, era omukulu waabwe;ne Yeremiya, ne Yakaziyeri, ne Yokanaani, ne Yozabadi Omugederi; 5 ne Eruzayi, ne Yerimosi, ne Beyaliya, ne Semaliya, ne Sefatiya Omukalufu; 6 ne Erukaana, ne Issiya, ne Azaleri, ne Yowezeeri, ne Yasobeyamu, Abakoola; 7 ne Yowera ne Zebadiya, batabani ba yerokamu ow’e Gedoli. 8 Abamu ku Bagaadi be yawula ku bannaabwe, ne bagenda eri Dawudi ku kigo kye mu ddungu. Baali basajja b’amaanyi abazira nga balina amafumu n’engabo era nga beetegefu okulwana. Amaaso gaabwe gaali nga ag’empologoma, era nga bawenyuka emisinde ng’empeewo mu nsozi. 9 Ezeri ye yali omukulu waabwe,ne Obadiya n’amuddirira, ne Eriyaabu nga ye wookusatu, 10 ne Misumanna nga ye wookuna, ne Yeremiya nga ye wookutaano, 11 ne Attayi nga ye w’omukaaga, ne Eryeri nga ye w’omusanvu, 12 ne Yokanaani nga ye wa munaana, ne Eruzabadi nga ye wa mwenda, 13 ne Yeremiya nga ye wa kkumi, ne Makubannayi nga ye wa kkumi n’omu. 14 Abagaadi abo baali baduumizi ba ggye, era asembayo mu bukulu ng’aduumira ekibinja eky’abantu lukumi. 15 Era abo be basajja abaasomoka omugga Yoludaani, mu mwezi ogw’olubereberye, amazzi gaagwo bwe gaabimba ne ganjaala ku ttale ne bagoba abo bonna abaabeeranga mu biwonvu, ebuvanjuba era n’ebugwanjuba. 16 Abamu ku basajja ba Benyamini ne Yuda nabo beegatta ku Dawudi mu kigo kye. 17 Dawudi n’afuluma okubasisinkana, n’abagamba nti, “Bwe muba muzze gye ndi mu mirembe, okunyamba, ndimwetegefu okubasembeza. Naye obanga muzze okundyamu olukwe eri abalabe bange, ate nga sirina musango, Katonda wa bajjajjaffe akirabe era abanenye.” 18 Awo Omwoyo n’aka ku Amasayi, omukulu w’abo amakumi asatu, n’ayogera nti,“Ffe tuli babo, Dawudi!Tuli naawe, Omwana wa Yese!Obuwanguzi, Obuwanguzi gy’oli;era Obuwanguzi bubeere eri abo abakuyamba,kubanga Katonda wo ajja kukubeera.”Awo Dawudi n’abaaniriza era n’abafuula bakungu mu ggye lye. 19 Abasajja abamu ab’ekika kya Manase ne badda ku ludda lwa Dawudi, bwe yagenda n’Abafirisuuti okutabaala Sawulo newaakubadde nga ye n’abasajja be tebayamba Abafirisuuti kubanga oluvannyuma lw’okwetesaganyaamu, abakungu b’Abafirisuuti baamugoba. Baagamba nti, “Bw’anadda ku ludda lwa mukama we Sawulo, tunaagwa mu katyabaga.” 20 Dawudi bwe yali ng’agenda e Zikulagi, abasajja ab’ekika kya Manase abaasalawo okumwegattako baali: Aduna, ne Yozabadi, ne Yediyayaeri, ne Mikayiri, ne Yozabadi, ne Eriku, ne Zirresayi, n’abakungu abaakuliranga ebibinja eby’olukumi mu Manase. 21 Baayamba nnyo Dawudi okulwana n’ebibinja bya bayeekera, kubanga bonna baali baserikale bazira, ate nga baduumizi mu ggye lye. 22 Buli lwakyanga nga wabeerawo abasajja abajja okuyamba ate era n’okwegatta ku Dawudi, okutuusa eggye lye bwe lyafuuka eddene, ery’amaanyi. 23 Guno gwe muwendo gw’abasajja abaali beetegekedde olutalo abajja eri Dawudi e Kebbulooni, okuggya obwakabaka ku Sawulo okubumuwa, ng’ekigambo kya MUKAMA bwe kyali: 24 abasajja ba Yuda abaakwatanga engabo n’effumu baali kakaaga mu lunaana abeetegese okulwana; 25 abasajja ba Simyoni, baali kasanvu mu kikumi; 26 abasajja ba Leevi, enkumi nnya mu lukaaga; 27 ng’omwo mwe muli Yekoyaada omukulu w’ennyumba ya Alooni n’abasajja enkumi ssatu mu lusanvu; 28 ne Zadooki omuvubuka omulwanyi era omuzira, n’abakungu okuva mu nnyumba ye amakumi abiri mu babiri. 29 Abalala baali abasajja aba Benyamini, baganda ba Sawulo, nga bali enkumi ssatu, era okutuusa ku lunaku olwo abo baali banyweredde ku ludda lwa Sawulo; 30 abasajja aba Efulayimu, abalwanyi abazira, ng’era batutumufu mu nda zaabwe, baali emitwalo ebiri mu lunaana; 31 abasajja ku kitundu eky’ekika kya Manase, abaayatulwa erinnya okujja okufuula Dawudi kabaka baali omutwalo gumu mu kanaana; 32 abasajja aba Isakaali abategeera ebiseera, ne bamanya ebigwanidde Isirayiri baali abakulembeze ebikumi bibiri, n’ab’eŋŋanda zaabwe bonna abaabagobereranga; 33 abasajja aba Zebbulooni, nga baserikale bamanyirivu mu by’entalo, nga balina buli kya kulwanyisa kyonna, abayamba Dawudi n’omutima gumu baali emitwalo etaano; 34 abasajja aba Nafutaali baali abakulu lukumi, n’abasajja abaakwatanga engabo n’amafumu nga bali emitwalo esatu mu kasanvu; 35 abasajja aba Ddaani baali emitwalo ebiri mu kanaana mu lukaaga; 36 abasajja aba Aseri, nga baserikale bamanyirivu mu ntalo baali emitwalo ena; 37 emitala wa Yoludaani, wavaayo abasajja aba Lewubeeni, aba Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase, abaalina ebyokulwanyisa ebya buli ngeri, nga bali emitwalo kkumi n’ebiri. 38 Abo bonna baali basajja balwanyi abeewaayo mu bitiibwa byabwe. Ne bajja e Kebbulooni okuweereza n’okufuula Dawudi kabaka wa Isirayiri yenna. 39 Eyo ne bamalayo ennaku ssatu ne Dawudi nga balya, nga banywa, ebyo ab’eŋŋanda zaabwe bye baali babasibiridde. 40 Ate era waaliyo ne baliraanwa baabwe ab’e Isakaali, ne Zebbulooni, ne Nafutaali abaabaleeteranga emmere ku ndogoyi, ne ku ŋŋamira, ne ku nnyumbu ne ku nte, era baalina eŋŋaano nnyingi, ne keeke ez’ettiini, n’ebirimba eby’ezabbibu, n’omwenge, n’amafuta, n’ente n’endiga. Baasanyuka essanyu lingi nnyo nnyini mu Isirayiri.

In Other Versions

1 Chronicles 12 in the ANGEFD

1 Chronicles 12 in the ANTPNG2D

1 Chronicles 12 in the AS21

1 Chronicles 12 in the BAGH

1 Chronicles 12 in the BBPNG

1 Chronicles 12 in the BBT1E

1 Chronicles 12 in the BDS

1 Chronicles 12 in the BEV

1 Chronicles 12 in the BHAD

1 Chronicles 12 in the BIB

1 Chronicles 12 in the BLPT

1 Chronicles 12 in the BNT

1 Chronicles 12 in the BNTABOOT

1 Chronicles 12 in the BNTLV

1 Chronicles 12 in the BOATCB

1 Chronicles 12 in the BOATCB2

1 Chronicles 12 in the BOBCV

1 Chronicles 12 in the BOCNT

1 Chronicles 12 in the BOECS

1 Chronicles 12 in the BOGWICC

1 Chronicles 12 in the BOHCB

1 Chronicles 12 in the BOHCV

1 Chronicles 12 in the BOHLNT

1 Chronicles 12 in the BOHNTLTAL

1 Chronicles 12 in the BOICB

1 Chronicles 12 in the BOILNTAP

1 Chronicles 12 in the BOITCV

1 Chronicles 12 in the BOKCV

1 Chronicles 12 in the BOKCV2

1 Chronicles 12 in the BOKHWOG

1 Chronicles 12 in the BOKSSV

1 Chronicles 12 in the BOLCB2

1 Chronicles 12 in the BOMCV

1 Chronicles 12 in the BONAV

1 Chronicles 12 in the BONCB

1 Chronicles 12 in the BONLT

1 Chronicles 12 in the BONUT2

1 Chronicles 12 in the BOPLNT

1 Chronicles 12 in the BOSCB

1 Chronicles 12 in the BOSNC

1 Chronicles 12 in the BOTLNT

1 Chronicles 12 in the BOVCB

1 Chronicles 12 in the BOYCB

1 Chronicles 12 in the BPBB

1 Chronicles 12 in the BPH

1 Chronicles 12 in the BSB

1 Chronicles 12 in the CCB

1 Chronicles 12 in the CUV

1 Chronicles 12 in the CUVS

1 Chronicles 12 in the DBT

1 Chronicles 12 in the DGDNT

1 Chronicles 12 in the DHNT

1 Chronicles 12 in the DNT

1 Chronicles 12 in the ELBE

1 Chronicles 12 in the EMTV

1 Chronicles 12 in the ESV

1 Chronicles 12 in the FBV

1 Chronicles 12 in the FEB

1 Chronicles 12 in the GGMNT

1 Chronicles 12 in the GNT

1 Chronicles 12 in the HARY

1 Chronicles 12 in the HNT

1 Chronicles 12 in the IRVA

1 Chronicles 12 in the IRVB

1 Chronicles 12 in the IRVG

1 Chronicles 12 in the IRVH

1 Chronicles 12 in the IRVK

1 Chronicles 12 in the IRVM

1 Chronicles 12 in the IRVM2

1 Chronicles 12 in the IRVO

1 Chronicles 12 in the IRVP

1 Chronicles 12 in the IRVT

1 Chronicles 12 in the IRVT2

1 Chronicles 12 in the IRVU

1 Chronicles 12 in the ISVN

1 Chronicles 12 in the JSNT

1 Chronicles 12 in the KAPI

1 Chronicles 12 in the KBT1ETNIK

1 Chronicles 12 in the KBV

1 Chronicles 12 in the KJV

1 Chronicles 12 in the KNFD

1 Chronicles 12 in the LBA

1 Chronicles 12 in the LBLA

1 Chronicles 12 in the LNT

1 Chronicles 12 in the LSV

1 Chronicles 12 in the MAAL

1 Chronicles 12 in the MBV

1 Chronicles 12 in the MBV2

1 Chronicles 12 in the MHNT

1 Chronicles 12 in the MKNFD

1 Chronicles 12 in the MNG

1 Chronicles 12 in the MNT

1 Chronicles 12 in the MNT2

1 Chronicles 12 in the MRS1T

1 Chronicles 12 in the NAA

1 Chronicles 12 in the NASB

1 Chronicles 12 in the NBLA

1 Chronicles 12 in the NBS

1 Chronicles 12 in the NBVTP

1 Chronicles 12 in the NET2

1 Chronicles 12 in the NIV11

1 Chronicles 12 in the NNT

1 Chronicles 12 in the NNT2

1 Chronicles 12 in the NNT3

1 Chronicles 12 in the PDDPT

1 Chronicles 12 in the PFNT

1 Chronicles 12 in the RMNT

1 Chronicles 12 in the SBIAS

1 Chronicles 12 in the SBIBS

1 Chronicles 12 in the SBIBS2

1 Chronicles 12 in the SBICS

1 Chronicles 12 in the SBIDS

1 Chronicles 12 in the SBIGS

1 Chronicles 12 in the SBIHS

1 Chronicles 12 in the SBIIS

1 Chronicles 12 in the SBIIS2

1 Chronicles 12 in the SBIIS3

1 Chronicles 12 in the SBIKS

1 Chronicles 12 in the SBIKS2

1 Chronicles 12 in the SBIMS

1 Chronicles 12 in the SBIOS

1 Chronicles 12 in the SBIPS

1 Chronicles 12 in the SBISS

1 Chronicles 12 in the SBITS

1 Chronicles 12 in the SBITS2

1 Chronicles 12 in the SBITS3

1 Chronicles 12 in the SBITS4

1 Chronicles 12 in the SBIUS

1 Chronicles 12 in the SBIVS

1 Chronicles 12 in the SBT

1 Chronicles 12 in the SBT1E

1 Chronicles 12 in the SCHL

1 Chronicles 12 in the SNT

1 Chronicles 12 in the SUSU

1 Chronicles 12 in the SUSU2

1 Chronicles 12 in the SYNO

1 Chronicles 12 in the TBIAOTANT

1 Chronicles 12 in the TBT1E

1 Chronicles 12 in the TBT1E2

1 Chronicles 12 in the TFTIP

1 Chronicles 12 in the TFTU

1 Chronicles 12 in the TGNTATF3T

1 Chronicles 12 in the THAI

1 Chronicles 12 in the TNFD

1 Chronicles 12 in the TNT

1 Chronicles 12 in the TNTIK

1 Chronicles 12 in the TNTIL

1 Chronicles 12 in the TNTIN

1 Chronicles 12 in the TNTIP

1 Chronicles 12 in the TNTIZ

1 Chronicles 12 in the TOMA

1 Chronicles 12 in the TTENT

1 Chronicles 12 in the UBG

1 Chronicles 12 in the UGV

1 Chronicles 12 in the UGV2

1 Chronicles 12 in the UGV3

1 Chronicles 12 in the VBL

1 Chronicles 12 in the VDCC

1 Chronicles 12 in the YALU

1 Chronicles 12 in the YAPE

1 Chronicles 12 in the YBVTP

1 Chronicles 12 in the ZBP