1 Chronicles 7 (BOLCB)
1 Abaana ba Isakaali baali bana:Tola, ne Puwa, ne Yasubu, ne Simuloni. 2 Batabani ba Tola baaliUzzi, Lefaya, Yeryeri, Yamayi, Ibusamu ne Semweri, era be baali abakulu b’enda zaabwe. Ku mulembe gwa Dawudi, bazzukulu ba Tola baali abasajja abalwanyi nga bawera emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lukaaga. 3 Uzzi n’azaalaIzulakiya.Izulakiya n’azaalaMikayiri, ne Obadiya, ne Yoweeri ne Issiya, era bonna baali bakulu. 4 Okusinziira ku nda yaabwe, baali basajja b’amaanyi era nga balwanyi ba ntalo, nga balina abakyala n’abaana bangi, nga bawera abasajja emitwalo esatu mu kakaaga. 5 Baganda baabwe bonna awamu abaali ab’ekika kya Isakaali baali abasajja abalwanyi emitwalo munaana mu kasanvu bonna awamu. 6 Benyamini yalina abatabani basatu,Bera, ne Bekeri ne Yediyayeri. 7 Batabani ba Bera baaliEzuboni, ne Uzzi, ne Wuziyeeri, ne Yerimosi ne Iri, be baana bataano, ate nga bonna bakulu b’enda zaabwe. Mu kubalibwa baali abasajja abalwanyi emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu amakumi asatu mu bana. 8 Batabani ba Bekeri baaliZemira, ne Yowaasi, ne Eryeza, ne Eriwenayi, ne Omuli, ne Yeremosi, ne Abiya, ne Anasosi ne Alemesi. Bano be baali abaana ba Bekeri ate nga bonna bakulu b’enda zaabwe. 9 Mu kubalibwa baali abasajja abalwanyi emitwalo ebiri mu ebikumi bibiri mu bibiri. 10 Mutabani wa Yediyayeri,yali Birukani,ate batabani ba Birukani nga be baYewusi, ne Benyamini, ne Ekudi, ne Kenaana, ne Zesani, ne Talusiisi ne Akisakali. 11 Bano bonna baali bazzukulu ba Yediyayeri ate nga be bakulu b’enda zaabwe. Era baali abasajja abalwanyi omutwalo gumu mu kasanvu mu ebikumi bibiri. 12 Abasuppimu n’Abakupimu baali bazzukulu ba Iri, ate ng’Abakusimu bazzukulu ba Akeri. 13 Batabani ba Nafutaali baaliYaziyeri, ne Guni, ne Yezeri ne Sallumu, era bano be bazzukulu ba Biruka. 14 Bano be baali bazzukulu ba Manase:Asuliyeri ne Makiri mukyala we Omwalamu. Be yamuzaalira. Makiri n’azaala Gireyaadi. 15 Makiri n’awasa okuva mu Bakupimu n’Abasuppimu, n’erinnya lya mwannyina nga ye Maaka.Omuzzukulu omulala yali Zerofekadi, era ng’alina baana ba buwala bokka. 16 Maaka mukyala wa Makiri n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Peresi. Muganda we ye yali Seresi, nga ne batabani ba Seresi be ba Ulamu ne Lekemu. 17 Mutabani wa Ulamu yaliBedani,era bano nga be batabani ba Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase. 18 Mwannyina Kammolekisi n’azaala Isukondi, ne Abiyezeeri ne Makula. 19 Batabani ba Semida baaliAkyani, ne Sekemu, ne Liki ne Aniyamu. 20 Mutabani wa Efulayimu yaliSusera, mutabani wa Susera nga ye Beredi, mutabani wa Beredi nga ye Takasi,mutabani wa Takasi nga ye Ereyadda,mutabani wa Ereyadda nga ye Takasi, 21 mutabani wa Takasi nga ye Zabadi,ate mutabani wa Zabadi nga ye Susera.Efulayimu yalina batabani be abalala babiri, nga be ba Ezeri ne Ereyaddi abattibwa mu nsi ya Gusi nga bagenze okubba (okunyaga) ente. 22 Efulayimu n’abakungubagira okumala ennaku nnyingi, era baganda be ne bajja okumukungubagirako. 23 Awo Efulayimu n’amanya mukyala we, mukyala we n’azaala omwana owoobulenzi omulala, n’amutuuma Beriya kubanga ennyumba ye yatuukibwako emitawaana. 24 Ne muwala we yali Sera, era oyo yazimba Besukoloni ekya eky’emmanga n’eky’engulu, ne Uzzemmuseera. 25 Efulayimu yalinayo n’omutabani omulala erinnya lye Leefa, nga ye kitaawe wa Lesefu,Lesefu n’azaala Teera, Teera n’azaala Takani, 26 Takani n’azaala Ladani, Ladani n’azaala Ammikudi,Ladani n’azaala Erisaama, 27 Erisaama n’azaala Nuuni,Nuuni n’azaala Yoswa. 28 Ettaka lyabwe n’ebifo we baasenga byali Beseri n’obubuga obutono obukyetoolodde, ebuvanjuba w’e Naalani, ebugwanjuba w’e Gezeri, n’obubuga bwakyo, n’e Sekemu n’obubuga bwakyo, okutuukira ddala ku Azza n’obubuga obukyetoolodde. 29 Bazzukulu ba Yusufu, Abamanase, mutabani wa Isirayiri babeeranga Besuseyani, n’e Taanaki, n’e Megiddo, n’e Doli n’obubuga obwali bubiriranye. 30 Abaana ba Aseri baaliImuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya, ne Seera mwannyinaabwe. 31 Batabani ba Beriya baaliKeberi ne Malukiyeeri, ne Malukiyeeri nga ye kitaawe wa Biruzayisi. 32 Keberi n’azaala Yafuleti, ne Somera, ne Kosamu ne mwannyinaabwe Suwa. 33 Batabani ba Yafuleti baaliPasaki, ne Bimukali, ne Asuvasi. 34 Batabani ba Semeri baaliAki, ne Loga, ne Yekubba ne Alamu. 35 Batabani ba muganda we Keremu baali Zofa, ne Imuna, ne Seresi ne Amali. 36 Batabani ba Zofa baaliSuwa, ne Kaluneferi, ne Suwali, ne Beri, ne Imula, 37 ne Bezeri, ne Kodi, ne Samma, ne Sirusa, ne Isulani ne Beera. 38 Batabani ba Yeseri baaliYefune, ne Pisupa ne Ala. 39 Batabani ba Ulla baaliAla, ne Kanieri ne Liziya. 40 Bano bonna baali bazzukulu ba Aseri, abamu nga bakulu ba nda zaabwe abalala nga basajja baakitiibwa, n’abalala nga balwanyi abazira, n’abalala nga baami bakulu ddala mu bitiibwa byabwe. Abasajja abalwanyi bonna awamu bawera emitwalo ebiri mu kakaaga.
In Other Versions
1 Chronicles 7 in the ANTPNG2D
1 Chronicles 7 in the BNTABOOT
1 Chronicles 7 in the BOHNTLTAL
1 Chronicles 7 in the BOILNTAP
1 Chronicles 7 in the KBT1ETNIK
1 Chronicles 7 in the TBIAOTANT