1 Kings 9 (BOLCB)

1 Awo Sulemaani bwe yamala okuzimba yeekaalu ya MUKAMA n’olubiri lwe, n’okuzimba ebyo byonna bye yasiima, 2 MUKAMA n’amulabikira omulundi ogwokubiri, nga bwe yamulabikira e Gibyoni. 3 MUKAMA n’amugamba nti,“Mpulidde okusaba n’okwegayirira kw’owaddeyo gye ndi; ntukuzizza yeekaalu eno gy’ozimbye, n’erinnya lyange, emirembe gyonna. Amaaso gange n’omutima gwange binaabeeranga omwo. 4 “Naawe bw’onootambuliranga mu maaso gange n’omutima ogw’amazima n’obugolokofu, nga Dawudi kitaawo bwe yakola, era n’okolanga bye nkulagira byonna, n’okwatanga amateeka gange, 5 nnaanyweza entebe yo ey’obwakabaka mu Isirayiri emirembe gyonna, nga bwe nasuubiza Dawudi kitaawo bwe n’ayogera nti, ‘Tolirema kuba na musajja ow’omu lulyo lwo anaatuulanga ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri.’ 6 “Naye ggwe oba batabani bo bwe munanjeemeranga ne mutakwatanga biragiro byange n’amateeka ge mbawadde, ne mutanula okuweereza bakatonda abalala, 7 kale ndiggya ku Isirayiri ensi gye mbawadde era ne yeekaalu gye ntukuzizza n’erinnya lyange ndigireka. Olwo Isirayiri erifuuka eky’okunyoomoolwa n’ekyokusekererwa mu mawanga gonna. 8 Newaakubadde nga yeekaalu eno eyatiikirira kaakano, buli anaayitangawo aneewunyanga n’aŋŋoola ng’agamba nti, ‘Kiki ekireetedde MUKAMA okukola ekintu bwe kiti ku nsi eno ne ku yeekaalu eno?’ 9 Abantu baliddamu nti, ‘Kubanga baava ku MUKAMA Katonda waabwe, eyaggya bajjajjaabwe mu Misiri, ne basembeza bakatonda abalala, n’okubasinza ne babasinza era n’okubaweereza ne babaweereza. MUKAMA kyavudde ababonereza mu ngeri eyo.’ ” 10 Ku nkomerero y’emyaka amakumi abiri, mu kiseera Sulemaani mwe yazimbira ebizimbe byombi, eyeekaalu ya MUKAMA, n’olubiri lwe olw’obwakabaka, 11 Kabaka Sulemaani yagabira Kiramu kabaka w’e Ttuulo ebibuga amakumi abiri, olw’emivule, n’emiberosi ne zaabu bye yaweereza Sulemaani. 12 Naye Kiramu bwe yava e Ttuulo n’agenda okulambula ebibuga Sulemaani bye yamugabira, ne bitamusanyusa. 13 N’amubuuza nti, “Bino bibuga bya ngeri ki by’ompadde muganda wange?” N’abituuma erinnya Kabuli, era bwe biyitibwa n’okutuusa olunaku lwa leero. 14 Kiramu yali aweerezza kabaka ttani nnya eza zaabu. 15 Kabaka Sulemaani mu buyinza bwe n’amaanyi ge, yakuŋŋaanya abasajja ab’amaanyi bangi okuzimba yeekaalu ya MUKAMA, n’olubiri lwe, n’obusenge obuwagika bbugwe wa Yerusaalemi, n’ebibuga ebya Kazoli, ne Megiddo ne Gezeri. 16 Falaawo, ye kabaka w’e Misiri yali atabadde, n’okuwamba n’awamba Gezeri, n’akireka ng’akikumyeko omuliro, ng’asse Abakanani abaakibeerangamu. Ekifo ekyo n’akigabira muwala we, muka Sulemaani ng’ekirabo ku mbaga yaabwe. 17 Awo Sulemaani n’akizimba buggya; n’azimba ne Besukolooni ekya wansi, 18 Baalasi ne Tamali mu ddungu, 19 n’ebibuga eby’amawanika, n’omwakuumirwanga amagaali, n’abeebagala embalaasi ze, ne byonna bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi, ne mu Lebanooni ne mu bitundu byonna bye yafuganga. 20 Abantu bonna abaasigalawo ku Bamoli, n’Abakiiti, n’Abaperezi, n’Abakiivi n’Abayebusi, abataali Bayisirayiri, 21 Abayisirayiri be bataayinza kuzikiririza ddala, Sulemaani n’abafuula baddu, n’okutuusa leero. 22 Naye teyafuula Muyisirayiri n’omu muddu, wabula bo baali nga balwanyi be, na bakungu be, na baami be, na baduumizi b’amagaali na beebagazi ba mbalaasi ze. 23 Era be baali nga abakungu abaavunaanyizibwanga emirimu gye gyonna, era abo bonna abaavunaanyizibwanga emirimu egyo, awamu nga bawera abakungu ebikumi bitaano mu ataano. 24 Awo muwala wa Falaawo bwe yava mu kibuga kya Dawudi n’agenda mu lubiri Sulemaani lwe yamuzimbira, Sulemaani n’azimba obusenge obuwagika bbugwe. 25 Sulemaani yawangayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emirembe ku kyoto kye yazimbira MUKAMA, emirundi esatu mu mwaka, ng’ayotereza obubaane mu maaso ga MUKAMA, ng’atuukiriza obulombolombo bwa yeekaalu. 26 Kabaka Sulemaani yazimba n’ebyombo mu Eziyonigeba okuliraana Erosi mu Edomu, ku lubalama lw’ennyanja Emyufu. 27 Kiramu n’aweereza abasajja be abalunnyanja okukoleranga awamu n’aba Sulemaani. 28 Ne baseeyeeya okutuuka mu Ofiri, ne baleeta ttani kkumi na nnya eza zaabu eri Sulemaani.

In Other Versions

1 Kings 9 in the ANGEFD

1 Kings 9 in the ANTPNG2D

1 Kings 9 in the AS21

1 Kings 9 in the BAGH

1 Kings 9 in the BBPNG

1 Kings 9 in the BBT1E

1 Kings 9 in the BDS

1 Kings 9 in the BEV

1 Kings 9 in the BHAD

1 Kings 9 in the BIB

1 Kings 9 in the BLPT

1 Kings 9 in the BNT

1 Kings 9 in the BNTABOOT

1 Kings 9 in the BNTLV

1 Kings 9 in the BOATCB

1 Kings 9 in the BOATCB2

1 Kings 9 in the BOBCV

1 Kings 9 in the BOCNT

1 Kings 9 in the BOECS

1 Kings 9 in the BOGWICC

1 Kings 9 in the BOHCB

1 Kings 9 in the BOHCV

1 Kings 9 in the BOHLNT

1 Kings 9 in the BOHNTLTAL

1 Kings 9 in the BOICB

1 Kings 9 in the BOILNTAP

1 Kings 9 in the BOITCV

1 Kings 9 in the BOKCV

1 Kings 9 in the BOKCV2

1 Kings 9 in the BOKHWOG

1 Kings 9 in the BOKSSV

1 Kings 9 in the BOLCB2

1 Kings 9 in the BOMCV

1 Kings 9 in the BONAV

1 Kings 9 in the BONCB

1 Kings 9 in the BONLT

1 Kings 9 in the BONUT2

1 Kings 9 in the BOPLNT

1 Kings 9 in the BOSCB

1 Kings 9 in the BOSNC

1 Kings 9 in the BOTLNT

1 Kings 9 in the BOVCB

1 Kings 9 in the BOYCB

1 Kings 9 in the BPBB

1 Kings 9 in the BPH

1 Kings 9 in the BSB

1 Kings 9 in the CCB

1 Kings 9 in the CUV

1 Kings 9 in the CUVS

1 Kings 9 in the DBT

1 Kings 9 in the DGDNT

1 Kings 9 in the DHNT

1 Kings 9 in the DNT

1 Kings 9 in the ELBE

1 Kings 9 in the EMTV

1 Kings 9 in the ESV

1 Kings 9 in the FBV

1 Kings 9 in the FEB

1 Kings 9 in the GGMNT

1 Kings 9 in the GNT

1 Kings 9 in the HARY

1 Kings 9 in the HNT

1 Kings 9 in the IRVA

1 Kings 9 in the IRVB

1 Kings 9 in the IRVG

1 Kings 9 in the IRVH

1 Kings 9 in the IRVK

1 Kings 9 in the IRVM

1 Kings 9 in the IRVM2

1 Kings 9 in the IRVO

1 Kings 9 in the IRVP

1 Kings 9 in the IRVT

1 Kings 9 in the IRVT2

1 Kings 9 in the IRVU

1 Kings 9 in the ISVN

1 Kings 9 in the JSNT

1 Kings 9 in the KAPI

1 Kings 9 in the KBT1ETNIK

1 Kings 9 in the KBV

1 Kings 9 in the KJV

1 Kings 9 in the KNFD

1 Kings 9 in the LBA

1 Kings 9 in the LBLA

1 Kings 9 in the LNT

1 Kings 9 in the LSV

1 Kings 9 in the MAAL

1 Kings 9 in the MBV

1 Kings 9 in the MBV2

1 Kings 9 in the MHNT

1 Kings 9 in the MKNFD

1 Kings 9 in the MNG

1 Kings 9 in the MNT

1 Kings 9 in the MNT2

1 Kings 9 in the MRS1T

1 Kings 9 in the NAA

1 Kings 9 in the NASB

1 Kings 9 in the NBLA

1 Kings 9 in the NBS

1 Kings 9 in the NBVTP

1 Kings 9 in the NET2

1 Kings 9 in the NIV11

1 Kings 9 in the NNT

1 Kings 9 in the NNT2

1 Kings 9 in the NNT3

1 Kings 9 in the PDDPT

1 Kings 9 in the PFNT

1 Kings 9 in the RMNT

1 Kings 9 in the SBIAS

1 Kings 9 in the SBIBS

1 Kings 9 in the SBIBS2

1 Kings 9 in the SBICS

1 Kings 9 in the SBIDS

1 Kings 9 in the SBIGS

1 Kings 9 in the SBIHS

1 Kings 9 in the SBIIS

1 Kings 9 in the SBIIS2

1 Kings 9 in the SBIIS3

1 Kings 9 in the SBIKS

1 Kings 9 in the SBIKS2

1 Kings 9 in the SBIMS

1 Kings 9 in the SBIOS

1 Kings 9 in the SBIPS

1 Kings 9 in the SBISS

1 Kings 9 in the SBITS

1 Kings 9 in the SBITS2

1 Kings 9 in the SBITS3

1 Kings 9 in the SBITS4

1 Kings 9 in the SBIUS

1 Kings 9 in the SBIVS

1 Kings 9 in the SBT

1 Kings 9 in the SBT1E

1 Kings 9 in the SCHL

1 Kings 9 in the SNT

1 Kings 9 in the SUSU

1 Kings 9 in the SUSU2

1 Kings 9 in the SYNO

1 Kings 9 in the TBIAOTANT

1 Kings 9 in the TBT1E

1 Kings 9 in the TBT1E2

1 Kings 9 in the TFTIP

1 Kings 9 in the TFTU

1 Kings 9 in the TGNTATF3T

1 Kings 9 in the THAI

1 Kings 9 in the TNFD

1 Kings 9 in the TNT

1 Kings 9 in the TNTIK

1 Kings 9 in the TNTIL

1 Kings 9 in the TNTIN

1 Kings 9 in the TNTIP

1 Kings 9 in the TNTIZ

1 Kings 9 in the TOMA

1 Kings 9 in the TTENT

1 Kings 9 in the UBG

1 Kings 9 in the UGV

1 Kings 9 in the UGV2

1 Kings 9 in the UGV3

1 Kings 9 in the VBL

1 Kings 9 in the VDCC

1 Kings 9 in the YALU

1 Kings 9 in the YAPE

1 Kings 9 in the YBVTP

1 Kings 9 in the ZBP