2 Chronicles 9 (BOLCB)

1 Kabaka omukazi w’e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani n’ajja e Yerusaalemi okumugeza n’ebibuuzo ebikalubo, ng’awerekeddwako ekibinja ekinene omwali eŋŋamira ezaali zeetise ebyakaloosa, ne zaabu nnyingi nnyo n’amayinja ag’omuwendo omungi. Awo bwe yatuuka eri Sulemaani, n’anyumya naye ku ebyo byonna ebyali ku mutima gwe. 2 Sulemaani n’addamu ebibuuzo bye byonna, ne wataba n’ekimu ekyamulema okumunnyonnyola. 3 Awo Kabaka omukazi w’e Seeba bwe yalaba amagezi ga Sulemaani, n’olubiri lwe yali azimbye, 4 n’emmere eyaliibwanga ku mmeeza ye, n’okutuula okw’abakungu be, n’abaweereza be mu byambalo byabwe, n’enyambuka gye yayambukangamu okugenda okuwaayo ebiweebwayo mu yeekaalu ya MUKAMA, n’aggwaamu omwoyo. 5 N’agamba kabaka nti, “Bye nnawulira nga ndi mu nsi yange ku bikwata ku bikolwa byo n’amagezi go bya mazima, 6 naye nnali sibikkirizanga okutuusa bwe najja ne mbyelabirako n’amaaso gange. Laba saabuulirwa wadde ekitundu eky’ettutumo lyo; bye mpulidde bisingawo ku ebyo bye nnawulira. 7 Abantu bo nga balina omukisa! Abaddu bo abakuweereza bulijjo ne bawulira amagezi go nga balina omukisa! 8 MUKAMA Katonda wo yeebazibwe akwenyumiririzaamu, era eyakuteeka ku ntebe yo ey’obwakabaka. Olw’okwagala kwa Katonda wo eri Isirayiri, era n’okwagala okubanyweza emirembe gyonna, kyeyava akufuula kabaka okubafuga, okukola obwenkanya n’obutuukirivu.” 9 N’alyoka awa kabaka ettani nnya n’ekitundu eza zaabu, n’ebyakaloosa bingi nnyo nnyini, n’amayinja ag’omuwendo. Waali tewabangawo bya kaloosa bingi bwe bityo nga Kabaka omukazi w’e Seeba bye yawa kabaka Sulemaani. 10 Abasajja ba Kulamu n’abasajja ba Sulemaani abaasuubulanga zaabu okuva e Ofiri baaleetanga n’emitoogo n’amayinja ag’omuwendo omungi. 11 Kabaka n’akozesa emitoogo egyo okuzimba amaddaala aga yeekaalu ya MUKAMA n’ag’olubiri lwa kabaka, ate era n’akolamu n’ennanga n’entongooli z’abayimbi. Waali tewabangawo bifaanana ng’ebyo mu nsi ya Yuda. 12 Kabaka Sulemaani n’awa Kabaka omukazi w’e Seeba byonna bye yayagala, okusinga n’ebyo bye yali amuleetedde. N’oluvannyuma n’addayo mu nsi ye n’ekibinja kye. 13 Obuzito bwa zaabu obwaleetebwanga eri Sulemaani buli mwaka bwaweranga ettani amakumi abiri mu ttaano, 14 okwo nga tagasseeko ey’obusuulu eyaweebwangayo abasuubuzi n’abamaguzi. Ate era ne bakabaka ab’e Buwalabu ne bagavana ab’ensi bamuleeteranga zaabu n’effeeza. 15 Kabaka Sulemaani n’aweesa engabo ennene ebikumi bibiri okuva mu zaabu omukubeekube, buli emu ku zo ng’erimu kilo ssatu n’ekitundu eza zaabu omukubeekube. 16 N’aweesa n’engabo entono ebikumi bisatu okuva mu zaabu omukubeekube, buli emu ku zo ng’erimu kilo emu ne desimoolo musanvu eza zaabu. Kabaka n’aziteeka mu lubiri lw’Ekibira kya Lebanooni. 17 Kabaka n’akola entebe ey’obwakabaka ennene nga ya masanga, n’agibikkako zaabu ennongoose. 18 Entebe ye ey’obwakabaka yaliko amaddaala mukaaga, n’akatebe kawumulizaako ebigere akaakolebwa mu zaabu, era yaliko n’emikono eruuyi n’eruuyi, n’ebibumbe by’empologoma ennume bbiri nga ziyimiridde ku mabbali g’emikono. 19 N’empologoma kkumi na bbiri emmumbe zaali zisimbiddwa eruuyi n’eruuyi ku madaala omukaaga. Tewaali eyakolebwa ng’eyo mu bwakabaka obulala bwonna. 20 Ebinywerwamu byonna ebya kabaka Sulemaani byali bya zaabu, n’ebintu byonna ebyali mu lubiri lw’Ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu omulongoseemu. Tewaali kyakolebwa mu ffeeza kubanga mu biro bya Sulemaani effeeza yabanga ya muwendo gwa wansi. 21 Kabaka yalina ebyombo ebyagendanga e Talusiisi n’abasajja ba Kulamu, era buli myaka esatu byaleetanga zaabu n’effeeza, n’amasanga, n’enkoba n’enkima okuva e Talusiisi. 22 Kabaka Sulemaani yali mugagga nnyo era nga mugezi okusinga bakabaka bonna ab’ensi. 23 Bakabaka bonna baagendanga gyali okumwebuuzaako, n’okuwulira amagezi Katonda ge yali atadde mu mutima gwe. 24 Buli mwaka, buli eyajjanga, yaleetanga ekirabo, ebimu byali bintu bya ffeeza ne zaabu, n’ebirala nga byambalo, n’ebirala nga byakulwanyisa, n’ebirala nga byakaloosa, n’embalaasi, n’ennyumbu. 25 Sulemaani yalina ebisibo enkumi nnya omwaterekebwanga embalaasi n’amagaali; n’abavuzi ab’amagaali baali emitwalo ebiri be yateeka mu bibuga eby’amagaali, n’abamu ku bo nga babeera naye mu Yerusaalemi. 26 Era yafuganga bakabaka bonna okuva ku mugga Fulaati okutuuka ku nsi eya Abafirisuuti, n’okutuuka ku nsalo ya Misiri. 27 Kabaka n’afuula ffeeza okuba ekya bulijjo ng’amayinja mu Yerusaalemi era n’emivule ne giba mingi ng’emisukamooli egiri mu biwonvu. 28 Sulemaani yasuubulanga embalaasi okuva mu Misiri n’ensi endala. 29 Ebyafaayo ebirala byonna ebyabaawo mu mulembe gwa Sulemaani okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, tebyawandiikibwa mu byafaayo bya nnabbi Nasani, ne mu kwolesebwa kwa Akiya Omusiiro, ne mu birooto eby’omulabi Iddo ebikwata ku Yerobowaamu mutabani wa Nebati? 30 Sulemaani n’afugira Isirayiri yenna mu Yerusaalemi okumala emyaka amakumi ana. 31 N’afa era n’aziikibwa mu kibuga kya kitaawe Dawudi, Lekobowaamu mutabani we n’amusikira.

In Other Versions

2 Chronicles 9 in the ANGEFD

2 Chronicles 9 in the ANTPNG2D

2 Chronicles 9 in the AS21

2 Chronicles 9 in the BAGH

2 Chronicles 9 in the BBPNG

2 Chronicles 9 in the BBT1E

2 Chronicles 9 in the BDS

2 Chronicles 9 in the BEV

2 Chronicles 9 in the BHAD

2 Chronicles 9 in the BIB

2 Chronicles 9 in the BLPT

2 Chronicles 9 in the BNT

2 Chronicles 9 in the BNTABOOT

2 Chronicles 9 in the BNTLV

2 Chronicles 9 in the BOATCB

2 Chronicles 9 in the BOATCB2

2 Chronicles 9 in the BOBCV

2 Chronicles 9 in the BOCNT

2 Chronicles 9 in the BOECS

2 Chronicles 9 in the BOGWICC

2 Chronicles 9 in the BOHCB

2 Chronicles 9 in the BOHCV

2 Chronicles 9 in the BOHLNT

2 Chronicles 9 in the BOHNTLTAL

2 Chronicles 9 in the BOICB

2 Chronicles 9 in the BOILNTAP

2 Chronicles 9 in the BOITCV

2 Chronicles 9 in the BOKCV

2 Chronicles 9 in the BOKCV2

2 Chronicles 9 in the BOKHWOG

2 Chronicles 9 in the BOKSSV

2 Chronicles 9 in the BOLCB2

2 Chronicles 9 in the BOMCV

2 Chronicles 9 in the BONAV

2 Chronicles 9 in the BONCB

2 Chronicles 9 in the BONLT

2 Chronicles 9 in the BONUT2

2 Chronicles 9 in the BOPLNT

2 Chronicles 9 in the BOSCB

2 Chronicles 9 in the BOSNC

2 Chronicles 9 in the BOTLNT

2 Chronicles 9 in the BOVCB

2 Chronicles 9 in the BOYCB

2 Chronicles 9 in the BPBB

2 Chronicles 9 in the BPH

2 Chronicles 9 in the BSB

2 Chronicles 9 in the CCB

2 Chronicles 9 in the CUV

2 Chronicles 9 in the CUVS

2 Chronicles 9 in the DBT

2 Chronicles 9 in the DGDNT

2 Chronicles 9 in the DHNT

2 Chronicles 9 in the DNT

2 Chronicles 9 in the ELBE

2 Chronicles 9 in the EMTV

2 Chronicles 9 in the ESV

2 Chronicles 9 in the FBV

2 Chronicles 9 in the FEB

2 Chronicles 9 in the GGMNT

2 Chronicles 9 in the GNT

2 Chronicles 9 in the HARY

2 Chronicles 9 in the HNT

2 Chronicles 9 in the IRVA

2 Chronicles 9 in the IRVB

2 Chronicles 9 in the IRVG

2 Chronicles 9 in the IRVH

2 Chronicles 9 in the IRVK

2 Chronicles 9 in the IRVM

2 Chronicles 9 in the IRVM2

2 Chronicles 9 in the IRVO

2 Chronicles 9 in the IRVP

2 Chronicles 9 in the IRVT

2 Chronicles 9 in the IRVT2

2 Chronicles 9 in the IRVU

2 Chronicles 9 in the ISVN

2 Chronicles 9 in the JSNT

2 Chronicles 9 in the KAPI

2 Chronicles 9 in the KBT1ETNIK

2 Chronicles 9 in the KBV

2 Chronicles 9 in the KJV

2 Chronicles 9 in the KNFD

2 Chronicles 9 in the LBA

2 Chronicles 9 in the LBLA

2 Chronicles 9 in the LNT

2 Chronicles 9 in the LSV

2 Chronicles 9 in the MAAL

2 Chronicles 9 in the MBV

2 Chronicles 9 in the MBV2

2 Chronicles 9 in the MHNT

2 Chronicles 9 in the MKNFD

2 Chronicles 9 in the MNG

2 Chronicles 9 in the MNT

2 Chronicles 9 in the MNT2

2 Chronicles 9 in the MRS1T

2 Chronicles 9 in the NAA

2 Chronicles 9 in the NASB

2 Chronicles 9 in the NBLA

2 Chronicles 9 in the NBS

2 Chronicles 9 in the NBVTP

2 Chronicles 9 in the NET2

2 Chronicles 9 in the NIV11

2 Chronicles 9 in the NNT

2 Chronicles 9 in the NNT2

2 Chronicles 9 in the NNT3

2 Chronicles 9 in the PDDPT

2 Chronicles 9 in the PFNT

2 Chronicles 9 in the RMNT

2 Chronicles 9 in the SBIAS

2 Chronicles 9 in the SBIBS

2 Chronicles 9 in the SBIBS2

2 Chronicles 9 in the SBICS

2 Chronicles 9 in the SBIDS

2 Chronicles 9 in the SBIGS

2 Chronicles 9 in the SBIHS

2 Chronicles 9 in the SBIIS

2 Chronicles 9 in the SBIIS2

2 Chronicles 9 in the SBIIS3

2 Chronicles 9 in the SBIKS

2 Chronicles 9 in the SBIKS2

2 Chronicles 9 in the SBIMS

2 Chronicles 9 in the SBIOS

2 Chronicles 9 in the SBIPS

2 Chronicles 9 in the SBISS

2 Chronicles 9 in the SBITS

2 Chronicles 9 in the SBITS2

2 Chronicles 9 in the SBITS3

2 Chronicles 9 in the SBITS4

2 Chronicles 9 in the SBIUS

2 Chronicles 9 in the SBIVS

2 Chronicles 9 in the SBT

2 Chronicles 9 in the SBT1E

2 Chronicles 9 in the SCHL

2 Chronicles 9 in the SNT

2 Chronicles 9 in the SUSU

2 Chronicles 9 in the SUSU2

2 Chronicles 9 in the SYNO

2 Chronicles 9 in the TBIAOTANT

2 Chronicles 9 in the TBT1E

2 Chronicles 9 in the TBT1E2

2 Chronicles 9 in the TFTIP

2 Chronicles 9 in the TFTU

2 Chronicles 9 in the TGNTATF3T

2 Chronicles 9 in the THAI

2 Chronicles 9 in the TNFD

2 Chronicles 9 in the TNT

2 Chronicles 9 in the TNTIK

2 Chronicles 9 in the TNTIL

2 Chronicles 9 in the TNTIN

2 Chronicles 9 in the TNTIP

2 Chronicles 9 in the TNTIZ

2 Chronicles 9 in the TOMA

2 Chronicles 9 in the TTENT

2 Chronicles 9 in the UBG

2 Chronicles 9 in the UGV

2 Chronicles 9 in the UGV2

2 Chronicles 9 in the UGV3

2 Chronicles 9 in the VBL

2 Chronicles 9 in the VDCC

2 Chronicles 9 in the YALU

2 Chronicles 9 in the YAPE

2 Chronicles 9 in the YBVTP

2 Chronicles 9 in the ZBP