2 Kings 2 (BOLCB)

1 Awo MUKAMA bwe yali ng’anaatera okutwala Eriya mu ggulu mu mbuyaga ey’amaanyi, nga Eriya ne Erisa bava e Girugaali, 2 Eriya n’agamba Erisa nti, “Sigala wano, ŋŋende e Beseri MUKAMA gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga MUKAMA bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.”Awo ne baserengeta bonna e Beseri. 3 Ekibiina ekya bannabbi abaali e Beseri ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti, “Okimanyi nga MUKAMA anaatwala mukama wo olwa leero?”Erisa n’abaddamu nti, “Nkimanyi, naye temukyogerako.” 4 Eriya n’addamu omulundi ogwokubiri n’agamba Erisa nti, “Sigala wano, ŋŋende e Yeriko MUKAMA gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga MUKAMA bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.”Awo ne bagenda bonna e Yeriko. 5 Awo ekibiina ekya bannabbi abaali e Yeriko ne batuukirira Erisa ne bamugamba nti, “Okimanyi nga MUKAMA anaatwala mukama wo olwa leero?” Erisa n’abaddamu nti, “Weewaawo nkimanyi, naye temukyogerako.” 6 Eriya n’addamu nate n’amugamba nti, “Sigala wano, nserengete ku Yoludaani MUKAMA gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga MUKAMA bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.”Awo ne batambula bombi. 7 Ne waba ekibiina kya bannabbi amakumi ataano abaali bayimiridde akabanga okuva Eriya ne Erisa we baali ku lubalama lw’omugga Yoludaani. 8 Awo Eriya n’addira omunagiro gwe n’aguzinga wamu n’akuba amazzi ne gaawulibwamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo n’amalala ku luuyi olwa kkono, bombi ne bayita ku lukalu. 9 Awo bwe baamala okusomoka, Eriya n’abuuza Erisa nti, “Kiki ky’oyagala nkukolere nga sinnaba kukuggyibwako?” Erisa n’amuddamu nti, “Nkusaba, nsikire emigabo ebiri egy’Omwoyo akuliko.” 10 N’amugamba nti, “Ky’osabye kigambo kizibu, naye bw’onondaba nga ntwalibwa, kale kinaaba nga bw’osabye, naye bw’otondabe tekiibe bwe kityo.” 11 Awo bwe baali batambula nga bwe banyumya bokka na bokka, ne walabika eggaali ey’omuliro n’embalaasi ez’omuliro ne zibaawula, era mu kiseera kye kimu Eriya n’atwalibwa mu ggulu mu mbuyaga ey’amaanyi. 12 Awo Erisa bwe yalaba ekyo, n’ayogerera waggulu nti, “Kitange, Kitange, amagaali n’abeebagala embalaasi aba Isirayiri!” Erisa n’ataddamu kumulaba nate. N’addira engoye ze yali ayambadde, n’aziyuzaayuza. 13 Waaliwo omunagiro ogwali gusuulibbwa Eriya ng’atwalibwa mu ggulu, era ogwo Erisa gwe yalonda n’addayo ku mugga Yoludaani n’ayimirira ku lubalama lw’omugga. 14 N’addira omunagiro gwe yali alonze n’aguzinga n’akuba amazzi n’ayogera nti, “Kaakano MUKAMA, Katonda wa Eriya ali luuyi wa?” Bwe yakuba amazzi ne geeyawulamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo n’amalala ku luuyi olwa kkono, n’asomoka. 15 Awo ekibiina ekya bannabbi abaali mu Yeriko ne bayogera nti, “Omwoyo wa Eriya ali ku Erisa.” Ne bagenda okumusisinkana ne bamuvuunamira. 16 Ne bamugamba nti, “Laba, ffe abaddu bo tulina abasajja abazira amakumi ataano. Bagende banoonye mukama wo, osanga Omwoyo wa MUKAMA amututte n’amuteeka ku bumu ku busozi oba mu kiwonvu.”Erisa n’abaddamu nti, “Temutawaana, era temubatuma.” 17 Naye bwe baamuwaliriza, n’atendewalirwa, n’abagamba nti, “Kale, mubatume.” Awo ne batuma abasajja amakumi ataano, ne banoonya okumala ennaku ssatu naye ne batamulaba. 18 Bwe bakomawo gy’ali mu Yeriko, n’abagamba nti, “Saabalabudde obutagenda?” 19 Awo abasajja ab’omu kibuga ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti, “Mukama waffe, ekibuga kino kiri mu kifo kirungi, nga nawe bw’olaba, naye amazzi gaamu mabi, era n’ensi si njimu.” 20 N’abagamba nti, “Mundeetere ebbakuli empya nga mutaddemu omunnyo.” Ne bagimuleetera. 21 N’aserengeta ku nsulo ey’amazzi, n’ayiwamu omunnyo, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, ‘Nnoongosezza amazzi gano era tegakyaddamu kuleeta kufa wadde okufuula ensi obutaba njimu.’ ” 22 Amazzi ne galongooka, ng’ekigambo kya MUKAMA kye yayogerera mu Erisa bwe kyali, n’okutuusa ku lunaku lwa leero. 23 Erisa bwe yava eyo n’akwata ekkubo erigenda e Beseri. Naye ng’ali mu kkubo, n’asisinkana abavubuka ab’omu kibuga ekyo ne bamusekerera nga bwe boogera nti, “Mulabe ow’ekiwalaata! Mulabe ow’ekiwalaata!” 24 N’akyuka n’abatunuulira, n’abakolimira mu linnya lya MUKAMA. Awo ebisolo ebinene bibiri eby’ekika eky’eddubu ne biva mu kibira ne bitaagulataagula abavubuka amakumi ana mu babiri ku bo. 25 Ne yeeyongerayo n’alaga ku Lusozi Kalumeeri, oluvannyuma n’addayo e Samaliya.

In Other Versions

2 Kings 2 in the ANGEFD

2 Kings 2 in the ANTPNG2D

2 Kings 2 in the AS21

2 Kings 2 in the BAGH

2 Kings 2 in the BBPNG

2 Kings 2 in the BBT1E

2 Kings 2 in the BDS

2 Kings 2 in the BEV

2 Kings 2 in the BHAD

2 Kings 2 in the BIB

2 Kings 2 in the BLPT

2 Kings 2 in the BNT

2 Kings 2 in the BNTABOOT

2 Kings 2 in the BNTLV

2 Kings 2 in the BOATCB

2 Kings 2 in the BOATCB2

2 Kings 2 in the BOBCV

2 Kings 2 in the BOCNT

2 Kings 2 in the BOECS

2 Kings 2 in the BOGWICC

2 Kings 2 in the BOHCB

2 Kings 2 in the BOHCV

2 Kings 2 in the BOHLNT

2 Kings 2 in the BOHNTLTAL

2 Kings 2 in the BOICB

2 Kings 2 in the BOILNTAP

2 Kings 2 in the BOITCV

2 Kings 2 in the BOKCV

2 Kings 2 in the BOKCV2

2 Kings 2 in the BOKHWOG

2 Kings 2 in the BOKSSV

2 Kings 2 in the BOLCB2

2 Kings 2 in the BOMCV

2 Kings 2 in the BONAV

2 Kings 2 in the BONCB

2 Kings 2 in the BONLT

2 Kings 2 in the BONUT2

2 Kings 2 in the BOPLNT

2 Kings 2 in the BOSCB

2 Kings 2 in the BOSNC

2 Kings 2 in the BOTLNT

2 Kings 2 in the BOVCB

2 Kings 2 in the BOYCB

2 Kings 2 in the BPBB

2 Kings 2 in the BPH

2 Kings 2 in the BSB

2 Kings 2 in the CCB

2 Kings 2 in the CUV

2 Kings 2 in the CUVS

2 Kings 2 in the DBT

2 Kings 2 in the DGDNT

2 Kings 2 in the DHNT

2 Kings 2 in the DNT

2 Kings 2 in the ELBE

2 Kings 2 in the EMTV

2 Kings 2 in the ESV

2 Kings 2 in the FBV

2 Kings 2 in the FEB

2 Kings 2 in the GGMNT

2 Kings 2 in the GNT

2 Kings 2 in the HARY

2 Kings 2 in the HNT

2 Kings 2 in the IRVA

2 Kings 2 in the IRVB

2 Kings 2 in the IRVG

2 Kings 2 in the IRVH

2 Kings 2 in the IRVK

2 Kings 2 in the IRVM

2 Kings 2 in the IRVM2

2 Kings 2 in the IRVO

2 Kings 2 in the IRVP

2 Kings 2 in the IRVT

2 Kings 2 in the IRVT2

2 Kings 2 in the IRVU

2 Kings 2 in the ISVN

2 Kings 2 in the JSNT

2 Kings 2 in the KAPI

2 Kings 2 in the KBT1ETNIK

2 Kings 2 in the KBV

2 Kings 2 in the KJV

2 Kings 2 in the KNFD

2 Kings 2 in the LBA

2 Kings 2 in the LBLA

2 Kings 2 in the LNT

2 Kings 2 in the LSV

2 Kings 2 in the MAAL

2 Kings 2 in the MBV

2 Kings 2 in the MBV2

2 Kings 2 in the MHNT

2 Kings 2 in the MKNFD

2 Kings 2 in the MNG

2 Kings 2 in the MNT

2 Kings 2 in the MNT2

2 Kings 2 in the MRS1T

2 Kings 2 in the NAA

2 Kings 2 in the NASB

2 Kings 2 in the NBLA

2 Kings 2 in the NBS

2 Kings 2 in the NBVTP

2 Kings 2 in the NET2

2 Kings 2 in the NIV11

2 Kings 2 in the NNT

2 Kings 2 in the NNT2

2 Kings 2 in the NNT3

2 Kings 2 in the PDDPT

2 Kings 2 in the PFNT

2 Kings 2 in the RMNT

2 Kings 2 in the SBIAS

2 Kings 2 in the SBIBS

2 Kings 2 in the SBIBS2

2 Kings 2 in the SBICS

2 Kings 2 in the SBIDS

2 Kings 2 in the SBIGS

2 Kings 2 in the SBIHS

2 Kings 2 in the SBIIS

2 Kings 2 in the SBIIS2

2 Kings 2 in the SBIIS3

2 Kings 2 in the SBIKS

2 Kings 2 in the SBIKS2

2 Kings 2 in the SBIMS

2 Kings 2 in the SBIOS

2 Kings 2 in the SBIPS

2 Kings 2 in the SBISS

2 Kings 2 in the SBITS

2 Kings 2 in the SBITS2

2 Kings 2 in the SBITS3

2 Kings 2 in the SBITS4

2 Kings 2 in the SBIUS

2 Kings 2 in the SBIVS

2 Kings 2 in the SBT

2 Kings 2 in the SBT1E

2 Kings 2 in the SCHL

2 Kings 2 in the SNT

2 Kings 2 in the SUSU

2 Kings 2 in the SUSU2

2 Kings 2 in the SYNO

2 Kings 2 in the TBIAOTANT

2 Kings 2 in the TBT1E

2 Kings 2 in the TBT1E2

2 Kings 2 in the TFTIP

2 Kings 2 in the TFTU

2 Kings 2 in the TGNTATF3T

2 Kings 2 in the THAI

2 Kings 2 in the TNFD

2 Kings 2 in the TNT

2 Kings 2 in the TNTIK

2 Kings 2 in the TNTIL

2 Kings 2 in the TNTIN

2 Kings 2 in the TNTIP

2 Kings 2 in the TNTIZ

2 Kings 2 in the TOMA

2 Kings 2 in the TTENT

2 Kings 2 in the UBG

2 Kings 2 in the UGV

2 Kings 2 in the UGV2

2 Kings 2 in the UGV3

2 Kings 2 in the VBL

2 Kings 2 in the VDCC

2 Kings 2 in the YALU

2 Kings 2 in the YAPE

2 Kings 2 in the YBVTP

2 Kings 2 in the ZBP