2 Kings 5 (BOLCB)

1 Awo waaliwo omusajja erinnya lye nga ye Naamani eyali omuduumizi w’eggye lya kabaka w’e Busuuli, nga musajja wa maanyi mu maaso ga mukama we, era ng’ayagalibwa nnyo, kubanga MUKAMA yali awadde Busuuli obuwanguzi ku lulwe. Yali muserikale muzira ddala; naye nga mugenge. 2 Awo mu biro ebyo Abasuuli ne balumba Isirayiri, ne bawamba omuwala omuto okuva mu Isirayiri, n’aweerezanga mukazi wa Naamani. 3 Omuwala n’agamba mugole we nti, “Singa mukama wange Naamani agenda n’alaba nnabbi ali mu Samaliya, nnabbi oyo yandiyinzizza okumuwonya ebigenge bye.” 4 Awo Naamani n’agenda n’ategeeza mukama we ebigambo by’omuwala eyava mu Isirayiri. 5 Kabaka wa Busuuli n’amuddamu nti, “Genda kaakano, era ogende n’ebbaluwa gye nnaawandiikira kabaka wa Isirayiri.” Awo Naamani n’asitula, n’atwala kilo bisatu mu ana eza ffeeza, ne kilo nsanvu eza zaabu, n’ebika by’engoye eby’enjawulo kkumi. 6 Era n’atwalira kabaka wa Isirayiri ebbaluwa, ng’egamba nti, “Nkuweerezza ebbaluwa eno n’omuweereza wange Naamani omuwonye ebigenge bye.” 7 Kabaka wa Isirayiri olwasoma ebbaluwa, n’ayuza ebyambalo bye, n’ayogera nti, “Ndi Katonda, atta era awonya, omusajja ono alyoke ampeereze omusajja we mmuwonye ebigenge bye? Mulaba bw’ansosonkerezaako oluyombo?” 8 Erisa omusajja wa Katonda bwe yawulira nti kabaka wa Isirayiri ayuzizza ebyambalo bye, n’amutumira ng’agamba nti, “Lwaki oyuzizza ebyambalo byo? Nsindikira omusajja, alyoke ategeere nga mu Isirayiri mulimu nnabbi.” 9 Awo Naamani n’asitula n’embalaasi ze n’amagaali ge n’ayimirira ku luggi lw’ennyumba ya Erisa. 10 Erisa n’atuma omubaka okumugamba nti, “Genda, onaabe mu Yoludaani emirundi musanvu, onoowonyezebwa, omubiri gwo ne gudda buto.” 11 Naye Naamani n’anyiiga, n’agenda nga yeemulugunya nti, “Ndowoozezza nti anaavaayo n’ajja, n’ayimirira n’akoowoola erinnya lya MUKAMA Katonda we, n’awuba omukono gwe ku bitundu ebirina ebigenge, n’amponya. 12 Abana ne Faafa, emigga gy’e Damasiko tegisinga amazzi gonna ag’omu Isirayiri? Lwaki sinaabira mu gyo ne mponyezebwa?” N’akyuka n’agenda ng’ajjudde obusungu bungi. 13 Naye abaddu ba Naamani ne bamusemberera, ne bamugamba nti, “Kitaffe, singa nnabbi yakulagidde okukola ekyobuzira, tewandikikoze? Lwaki kikukaluubiridde bw’akugambye nti, ‘Nnaaba obe mulongoofu?’ ” 14 N’aserengeta n’agenda ne yebbika mu Yoludaani emirundi musanvu, ng’omusajja wa Katonda bwe yamulagira, n’aba mulongoofu, omubiri gwe ne guba ng’ogw’omwana omuto. 15 Awo Naamani n’ekibinja kye ne baddayo eri omusajja wa Katonda. N’agenda n’ayimirira mu maaso ge, n’ayogera nti, “Kaakano ntegeeredde ddala nga teri Katonda mu nsi endala zonna wabula mu Isirayiri. Noolwekyo kkiriza ekirabo okuva eri omuddu wo.” 16 Nnabbi n’amuddamu nti, “Mazima ddala, nga MUKAMA gwe mpeereza bw’ali omulamu, siitwale kintu na kimu.” Naamani n’agezaako okumuwaliriza, naye ye n’agaana. 17 Naamani n’amugamba nti, “Bwe kitaabe bwe kityo, nkwegayiridde omuddu wo aweebwe ettaka eriyinza okusitulibwa ennyumbu bbiri, kubanga omuddu wo taliddayo nate okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka eri katonda omulala yenna wabula eri MUKAMA. 18 Era ne mu nsonga eno MUKAMA asaasire omuddu wo; mukama wange bw’anayingira mu ssabo lya Limoni okusinza, ne yeesigama omukono gwange, ne nvuunamira eyo mu ssabo lya Limoni, MUKAMA asonyiwe omuddu we olw’ensonga eyo.” 19 Erisa n’amuddamu nti, “Genda mirembe.”Naye Naamani bwe yali yakagendako ebbanga ttono, 20 Gekazi omuweereza wa Erisa omusajja wa Katonda, n’alowooza mu mutima gwe nti, “Laba mukama wange bw’asaasidde Naamani ono Omusuuli, n’atakkiriza kirabo kimuweerebbwa. Mazima ddala, nga MUKAMA bw’ali omulamu nzija kumugoberera, mbeeko kye muggyako.” 21 Amangwago, Gekazi n’agoberera Naamani. Naamani bwe yamulengera ng’ajja adduka, n’ava mu gaali lye okumusisinkana, n’amubuuza nti, “Byonna biri bulungi?” 22 N’amuddamu nti, “Byonna biri bulungi, naye mukama wange antumye okukutegeeza nti, ‘Wabaddewo bannabbi abavubuka babiri abazze gy’ali okuva mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, era akusabye obaweeko kilo amakumi asatu mu nnya eza ffeeza n’ebika by’engoye bya mirundi ebiri.’ ” 23 Naamani n’amugamba nti, “Tewali kikugaana kutwala kilo nkaaga munaana.” N’awaliriza Gekazi, n’amusibirako kilo bbiri eza ffeeza mu nsawo bbiri, n’ebika by’engoye bya mirundi ebiri, Naamani n’abitikka abaddu be babiri, abaabyetikka nga bakulembeddemu Gekazi. 24 Gekazi bwe yatuuka ku lusozi, n’abibaggyako, n’abiteeka mu nnyumba ye, n’abasindika bagende. 25 N’ayingira n’ayimirira mu maaso ga Erisa mukama we. Erisa n’amubuuza nti, “Ova wa Gekazi?” Gekazi n’addamu nti, “Omuddu wo taliiko gy’agenze.” 26 Naye Erisa n’amugamba nti, “Ssaagenze naawe mu mwoyo, omusajja bwe yavudde mu ggaali lye okukusisinkana? Kino ky’ekiseera eky’okutwala ensimbi, oba engoye, oba ennimiro ez’emizeeyituuni, oba ez’emizabbibu, oba endiga, oba ente, oba abaddu, oba abaweereza abawala? 27 Noolwekyo ebigenge bya Naamani binaakuberangako gwe ne bazzukulu bo emirembe gyonna.” Awo Gekazi n’ava mu maaso ga Erisa nga mugenge, atukula ng’omuzira.

In Other Versions

2 Kings 5 in the ANGEFD

2 Kings 5 in the ANTPNG2D

2 Kings 5 in the AS21

2 Kings 5 in the BAGH

2 Kings 5 in the BBPNG

2 Kings 5 in the BBT1E

2 Kings 5 in the BDS

2 Kings 5 in the BEV

2 Kings 5 in the BHAD

2 Kings 5 in the BIB

2 Kings 5 in the BLPT

2 Kings 5 in the BNT

2 Kings 5 in the BNTABOOT

2 Kings 5 in the BNTLV

2 Kings 5 in the BOATCB

2 Kings 5 in the BOATCB2

2 Kings 5 in the BOBCV

2 Kings 5 in the BOCNT

2 Kings 5 in the BOECS

2 Kings 5 in the BOGWICC

2 Kings 5 in the BOHCB

2 Kings 5 in the BOHCV

2 Kings 5 in the BOHLNT

2 Kings 5 in the BOHNTLTAL

2 Kings 5 in the BOICB

2 Kings 5 in the BOILNTAP

2 Kings 5 in the BOITCV

2 Kings 5 in the BOKCV

2 Kings 5 in the BOKCV2

2 Kings 5 in the BOKHWOG

2 Kings 5 in the BOKSSV

2 Kings 5 in the BOLCB2

2 Kings 5 in the BOMCV

2 Kings 5 in the BONAV

2 Kings 5 in the BONCB

2 Kings 5 in the BONLT

2 Kings 5 in the BONUT2

2 Kings 5 in the BOPLNT

2 Kings 5 in the BOSCB

2 Kings 5 in the BOSNC

2 Kings 5 in the BOTLNT

2 Kings 5 in the BOVCB

2 Kings 5 in the BOYCB

2 Kings 5 in the BPBB

2 Kings 5 in the BPH

2 Kings 5 in the BSB

2 Kings 5 in the CCB

2 Kings 5 in the CUV

2 Kings 5 in the CUVS

2 Kings 5 in the DBT

2 Kings 5 in the DGDNT

2 Kings 5 in the DHNT

2 Kings 5 in the DNT

2 Kings 5 in the ELBE

2 Kings 5 in the EMTV

2 Kings 5 in the ESV

2 Kings 5 in the FBV

2 Kings 5 in the FEB

2 Kings 5 in the GGMNT

2 Kings 5 in the GNT

2 Kings 5 in the HARY

2 Kings 5 in the HNT

2 Kings 5 in the IRVA

2 Kings 5 in the IRVB

2 Kings 5 in the IRVG

2 Kings 5 in the IRVH

2 Kings 5 in the IRVK

2 Kings 5 in the IRVM

2 Kings 5 in the IRVM2

2 Kings 5 in the IRVO

2 Kings 5 in the IRVP

2 Kings 5 in the IRVT

2 Kings 5 in the IRVT2

2 Kings 5 in the IRVU

2 Kings 5 in the ISVN

2 Kings 5 in the JSNT

2 Kings 5 in the KAPI

2 Kings 5 in the KBT1ETNIK

2 Kings 5 in the KBV

2 Kings 5 in the KJV

2 Kings 5 in the KNFD

2 Kings 5 in the LBA

2 Kings 5 in the LBLA

2 Kings 5 in the LNT

2 Kings 5 in the LSV

2 Kings 5 in the MAAL

2 Kings 5 in the MBV

2 Kings 5 in the MBV2

2 Kings 5 in the MHNT

2 Kings 5 in the MKNFD

2 Kings 5 in the MNG

2 Kings 5 in the MNT

2 Kings 5 in the MNT2

2 Kings 5 in the MRS1T

2 Kings 5 in the NAA

2 Kings 5 in the NASB

2 Kings 5 in the NBLA

2 Kings 5 in the NBS

2 Kings 5 in the NBVTP

2 Kings 5 in the NET2

2 Kings 5 in the NIV11

2 Kings 5 in the NNT

2 Kings 5 in the NNT2

2 Kings 5 in the NNT3

2 Kings 5 in the PDDPT

2 Kings 5 in the PFNT

2 Kings 5 in the RMNT

2 Kings 5 in the SBIAS

2 Kings 5 in the SBIBS

2 Kings 5 in the SBIBS2

2 Kings 5 in the SBICS

2 Kings 5 in the SBIDS

2 Kings 5 in the SBIGS

2 Kings 5 in the SBIHS

2 Kings 5 in the SBIIS

2 Kings 5 in the SBIIS2

2 Kings 5 in the SBIIS3

2 Kings 5 in the SBIKS

2 Kings 5 in the SBIKS2

2 Kings 5 in the SBIMS

2 Kings 5 in the SBIOS

2 Kings 5 in the SBIPS

2 Kings 5 in the SBISS

2 Kings 5 in the SBITS

2 Kings 5 in the SBITS2

2 Kings 5 in the SBITS3

2 Kings 5 in the SBITS4

2 Kings 5 in the SBIUS

2 Kings 5 in the SBIVS

2 Kings 5 in the SBT

2 Kings 5 in the SBT1E

2 Kings 5 in the SCHL

2 Kings 5 in the SNT

2 Kings 5 in the SUSU

2 Kings 5 in the SUSU2

2 Kings 5 in the SYNO

2 Kings 5 in the TBIAOTANT

2 Kings 5 in the TBT1E

2 Kings 5 in the TBT1E2

2 Kings 5 in the TFTIP

2 Kings 5 in the TFTU

2 Kings 5 in the TGNTATF3T

2 Kings 5 in the THAI

2 Kings 5 in the TNFD

2 Kings 5 in the TNT

2 Kings 5 in the TNTIK

2 Kings 5 in the TNTIL

2 Kings 5 in the TNTIN

2 Kings 5 in the TNTIP

2 Kings 5 in the TNTIZ

2 Kings 5 in the TOMA

2 Kings 5 in the TTENT

2 Kings 5 in the UBG

2 Kings 5 in the UGV

2 Kings 5 in the UGV2

2 Kings 5 in the UGV3

2 Kings 5 in the VBL

2 Kings 5 in the VDCC

2 Kings 5 in the YALU

2 Kings 5 in the YAPE

2 Kings 5 in the YBVTP

2 Kings 5 in the ZBP