2 Samuel 17 (BOLCB)

1 Awo Akisoferi n’agamba Abusaalomu nti, “Leka nnonde abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ŋŋende mpondere Dawudi ekiro kino. 2 Ndimulumba mu bukoowu bwe ne mu bunafu bwe ne mutiisatiisa, era n’abantu bonna abali naye balidduka. Ndikuba kabaka yekka ne mutta, 3 naye abantu abalala bonna ndibakomyawo gy’oli. Okufa kw’omusajja omu yekka gw’onoonya, kulikomyawo abantu bonna nga tebaliiko mutawaana.” 4 Ekigambo ekyo Abusaalomu n’abakadde bonna aba Isirayiri ne bakisiima. 5 Naye Abusaalomu n’ayogera nti, “Mumpitire ne Kusaayi Omwaluki, tuwulire ky’anaayogera ku nsonga eyo.” 6 Kusaayi bwe yajja eri Abusaalomu, Abusaalomu n’amugamba nti, Akisoferi, amagezi g’atuwadde ge gano. Tukole nga Akisoferi bw’agambye? Oba nga si weewaawo, ggwe ogamba otya? 7 Kusaayi n’addamu Abusaalomu nti, “Ago amagezi Akisoferi g’abawadde si malungi ku mulundi guno. 8 Omanyi kitaawo n’abasajja be nga basajja balwanyi era nga bakambwe ng’eddubu erinyagiddwako abaana baalyo. Ate n’ekirala, kitaawo mulwanyi mumanyirivu; tayinza kusula na baserikale. 9 Ne mu kiseera kino, ayinza okuba nga yeekwese mu mpuku oba mu kifo ekirala. Bw’anaasooka okulumba abantu bo, buli anaakiwulira anaagamba nti, ‘Bangi ku bagoberezi ba Abusaalomu battiddwa.’ 10 Olwo n’omuntu omuzira mu bazira, alina omutima oguli ng’omutima gw’empologoma, anaayongoberera ddala, kubanga Isirayiri yenna bamanyi kitaawo nga musajja mulwanyi, era n’abali naye basajja bazira. 11 “Naye nze amagezi ge nkuwa ge gano: kuŋŋaanya gy’oli Isirayiri yenna okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba, mu bungi bwabwe, ng’omusenyu ogw’oku nnyanja bwe guli obungi, ggwe mwene obakulembere mu lutalo. 12 Tulimulumba yonna gy’alisangibwa, ne tumugwako ng’omusulo bwe gugwa ku ttaka. Ye newaakubadde abasajja abali naye, tewaliba n’omu aliba omulamu. 13 Bw’aliddukira mu kibuga, Isirayiri yenna, balireeta emiguwa, ne tukiwalulira mu mugga obutalekawo jjinja n’erimu.” 14 Awo Abusaalomu n’abasajja bonna aba Isirayiri ne bakkiriziganya nti, “Ekiteeso Kusaayi Omwaluki ky’aleese kirungi okusinga ekya Akisoferi.” MUKAMA yasiima okulemesa ekiteeso ekirungi ekya Akisoferi alyoke azikirize Abusaalomu. 15 Naye Kusaayi n’ategeeza Zadooki ne Abiyasaali bakabona nti, “Akisoferi awadde Abusaalomu n’abakadde ba Isirayiri amagezi bwe gati ne bwe gati, naye nze mbawabudde okukola bwe bati ne bwe bati. 16 Kaakano muweereze mangu obubaka mutegeeze Dawudi nti, ‘Ekiro kya leero tosula ku misomoko egy’omu ddungu; ssomoka, kabaka n’abantu bonna abali naye baleme okumalibwawo.’ ” 17 Yonasaani ne Akimaazi baabeeranga ku Enerogeri. Baali balinda omuwala okujja okubategeeza byonna, n’oluvannyuma bagende babuulire kabaka Dawudi; baali beewala okulabibwa nga bayingira mu kibuga. 18 Naye waaliwo omuvubuka eyabalaba, n’agenda n’abuulira Abusaalomu. Amangwago bombi ne baddukira mu nnyumba ey’omwami omu mu Bakulimu. Yalina oluzzi mu luggya lwe; ne bakka omwo. 19 Omukyala we n’addira ekisaanikira n’asaanikira ku kamwa k’oluzzi, n’ayiwako eŋŋaano n’agisaasaanyizaako. Ne wataba n’omu eyakitegeera. 20 Awo abasajja ba Abusaalomu bwe batuuka ew’omukyala ku nnyumba, ne bamubuuza nti, “Akimaazi ne Yonasaani bali ludda wa?” N’abaddamu nti, “Basomose akagga ak’amazzi.” Abasajja ne babanoonyako naye ne batalaba muntu yenna, ne baddayo e Yerusaalemi. 21 Abasajja bwe baagenda, abaali beekwese ne bava mu luzzi ne bagenda ne bategeeza kabaka Dawudi. Ne bamugamba nti, “Golokoka osomoke mangu omugga, kubanga Akisoferi ateeseteese bw’ati ne bw’ati.” 22 Awo Dawudi n’abantu bonna abaali naye ne bagolokoka ne basomoka Yoludaani; we bwakeerera nga tewali n’omu atasomose Yoludaani. 23 Akisoferi bwe yalaba nga amagezi ge tegagobereddwa, ne yeebagala endogoyi ye, n’agenda ewuwe mu kyalo kye waabwe. N’ateekateeka ennyumba ye, n’oluvannyuma ne yeetuga. N’aziikibwa mu ntaana ya kitaawe. 24 Dawudi n’agenda e Makanayimu, ne Abusaalomu n’abasajja bonna aba Isirayiri ne basomoka Yoludaani. 25 Abusaalomu n’alonda Amasa okuba omuduumizi w’eggye mu kifo kya Yowaabu. Amasa yali mutabani wa Isira Omuyisimayiri eyawasa Abbigayiri muwala wa Nakasi muganda wa Zeruyiya nnyina Yowaabu. 26 Abayisirayiri ne Abusaalomu ne basiisira mu nsi ya Gireyaadi. 27 Dawudi bwe yatuuka e Makanayimu, Sobi mutabani wa Nakasi ow’e Labba eky’Abamoni, ne Makiri mutabani wa Ammiyeri ow’e Lodebali, ne Baluzirayi Omugireyaadi ow’e Logerimu, 28 ne bamuleetera ebyokwebikka, n’ebibya, n’entamu, n’eŋŋaano, ne sayiri, n’obutta, n’eŋŋaano ensiike, n’ebijanjaalo, n’empindi, ne mpokya omusiike, 29 n’omubisi gw’enjuki, n’omuzigo, n’endiga, ne bbongo, ne babiwa Dawudi n’abantu be okulya. Ne boogera nti, “Abantu enjala ebaluma, era bakooye, n’ennyonta ebalumidde mu ddungu.”

In Other Versions

2 Samuel 17 in the ANGEFD

2 Samuel 17 in the ANTPNG2D

2 Samuel 17 in the AS21

2 Samuel 17 in the BAGH

2 Samuel 17 in the BBPNG

2 Samuel 17 in the BBT1E

2 Samuel 17 in the BDS

2 Samuel 17 in the BEV

2 Samuel 17 in the BHAD

2 Samuel 17 in the BIB

2 Samuel 17 in the BLPT

2 Samuel 17 in the BNT

2 Samuel 17 in the BNTABOOT

2 Samuel 17 in the BNTLV

2 Samuel 17 in the BOATCB

2 Samuel 17 in the BOATCB2

2 Samuel 17 in the BOBCV

2 Samuel 17 in the BOCNT

2 Samuel 17 in the BOECS

2 Samuel 17 in the BOGWICC

2 Samuel 17 in the BOHCB

2 Samuel 17 in the BOHCV

2 Samuel 17 in the BOHLNT

2 Samuel 17 in the BOHNTLTAL

2 Samuel 17 in the BOICB

2 Samuel 17 in the BOILNTAP

2 Samuel 17 in the BOITCV

2 Samuel 17 in the BOKCV

2 Samuel 17 in the BOKCV2

2 Samuel 17 in the BOKHWOG

2 Samuel 17 in the BOKSSV

2 Samuel 17 in the BOLCB2

2 Samuel 17 in the BOMCV

2 Samuel 17 in the BONAV

2 Samuel 17 in the BONCB

2 Samuel 17 in the BONLT

2 Samuel 17 in the BONUT2

2 Samuel 17 in the BOPLNT

2 Samuel 17 in the BOSCB

2 Samuel 17 in the BOSNC

2 Samuel 17 in the BOTLNT

2 Samuel 17 in the BOVCB

2 Samuel 17 in the BOYCB

2 Samuel 17 in the BPBB

2 Samuel 17 in the BPH

2 Samuel 17 in the BSB

2 Samuel 17 in the CCB

2 Samuel 17 in the CUV

2 Samuel 17 in the CUVS

2 Samuel 17 in the DBT

2 Samuel 17 in the DGDNT

2 Samuel 17 in the DHNT

2 Samuel 17 in the DNT

2 Samuel 17 in the ELBE

2 Samuel 17 in the EMTV

2 Samuel 17 in the ESV

2 Samuel 17 in the FBV

2 Samuel 17 in the FEB

2 Samuel 17 in the GGMNT

2 Samuel 17 in the GNT

2 Samuel 17 in the HARY

2 Samuel 17 in the HNT

2 Samuel 17 in the IRVA

2 Samuel 17 in the IRVB

2 Samuel 17 in the IRVG

2 Samuel 17 in the IRVH

2 Samuel 17 in the IRVK

2 Samuel 17 in the IRVM

2 Samuel 17 in the IRVM2

2 Samuel 17 in the IRVO

2 Samuel 17 in the IRVP

2 Samuel 17 in the IRVT

2 Samuel 17 in the IRVT2

2 Samuel 17 in the IRVU

2 Samuel 17 in the ISVN

2 Samuel 17 in the JSNT

2 Samuel 17 in the KAPI

2 Samuel 17 in the KBT1ETNIK

2 Samuel 17 in the KBV

2 Samuel 17 in the KJV

2 Samuel 17 in the KNFD

2 Samuel 17 in the LBA

2 Samuel 17 in the LBLA

2 Samuel 17 in the LNT

2 Samuel 17 in the LSV

2 Samuel 17 in the MAAL

2 Samuel 17 in the MBV

2 Samuel 17 in the MBV2

2 Samuel 17 in the MHNT

2 Samuel 17 in the MKNFD

2 Samuel 17 in the MNG

2 Samuel 17 in the MNT

2 Samuel 17 in the MNT2

2 Samuel 17 in the MRS1T

2 Samuel 17 in the NAA

2 Samuel 17 in the NASB

2 Samuel 17 in the NBLA

2 Samuel 17 in the NBS

2 Samuel 17 in the NBVTP

2 Samuel 17 in the NET2

2 Samuel 17 in the NIV11

2 Samuel 17 in the NNT

2 Samuel 17 in the NNT2

2 Samuel 17 in the NNT3

2 Samuel 17 in the PDDPT

2 Samuel 17 in the PFNT

2 Samuel 17 in the RMNT

2 Samuel 17 in the SBIAS

2 Samuel 17 in the SBIBS

2 Samuel 17 in the SBIBS2

2 Samuel 17 in the SBICS

2 Samuel 17 in the SBIDS

2 Samuel 17 in the SBIGS

2 Samuel 17 in the SBIHS

2 Samuel 17 in the SBIIS

2 Samuel 17 in the SBIIS2

2 Samuel 17 in the SBIIS3

2 Samuel 17 in the SBIKS

2 Samuel 17 in the SBIKS2

2 Samuel 17 in the SBIMS

2 Samuel 17 in the SBIOS

2 Samuel 17 in the SBIPS

2 Samuel 17 in the SBISS

2 Samuel 17 in the SBITS

2 Samuel 17 in the SBITS2

2 Samuel 17 in the SBITS3

2 Samuel 17 in the SBITS4

2 Samuel 17 in the SBIUS

2 Samuel 17 in the SBIVS

2 Samuel 17 in the SBT

2 Samuel 17 in the SBT1E

2 Samuel 17 in the SCHL

2 Samuel 17 in the SNT

2 Samuel 17 in the SUSU

2 Samuel 17 in the SUSU2

2 Samuel 17 in the SYNO

2 Samuel 17 in the TBIAOTANT

2 Samuel 17 in the TBT1E

2 Samuel 17 in the TBT1E2

2 Samuel 17 in the TFTIP

2 Samuel 17 in the TFTU

2 Samuel 17 in the TGNTATF3T

2 Samuel 17 in the THAI

2 Samuel 17 in the TNFD

2 Samuel 17 in the TNT

2 Samuel 17 in the TNTIK

2 Samuel 17 in the TNTIL

2 Samuel 17 in the TNTIN

2 Samuel 17 in the TNTIP

2 Samuel 17 in the TNTIZ

2 Samuel 17 in the TOMA

2 Samuel 17 in the TTENT

2 Samuel 17 in the UBG

2 Samuel 17 in the UGV

2 Samuel 17 in the UGV2

2 Samuel 17 in the UGV3

2 Samuel 17 in the VBL

2 Samuel 17 in the VDCC

2 Samuel 17 in the YALU

2 Samuel 17 in the YAPE

2 Samuel 17 in the YBVTP

2 Samuel 17 in the ZBP