2 Samuel 2 (BOLCB)

1 Oluvannyuma lw’ebyo Dawudi ne yeebuuza ku MUKAMA nti, “Nyambuke mu kimu ku bibuga bya Yuda?” MUKAMA n’amuddamu nti, “Yambuka.”N’abuuza nate nti, “Ŋŋende mu kiruwa?” MUKAMA n’amuddamu nti, “E Kebbulooni.” 2 Awo Dawudi n’agenda eyo ne bakyala be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri nnamwandu wa Nabali ow’e Kalumeeri. 3 Dawudi n’atwala n’abasajja abaali naye, buli muntu n’amaka ge, ne basenga mu Kebbulooni ne mu byalo byakyo. 4 Awo abantu ba Yuda ne bajja mu Kebbulooni, ne bafukirako eyo Dawudi amafuta okuba kabaka w’ennyumba ya Yuda.Dawudi n’ategeezebwa nti abantu ab’e Yabesugireyaadi be baaziika Sawulo, 5 n’abatumira ababaka okubagamba nti, “MUKAMA abawe omukisa olw’ekisa n’ekitiibwa bye mwalaga Sawulo mukama wammwe ne mumuziika. 6 MUKAMA abalage ekisa n’okwagala, nange ndibalaga ky’ekimu olw’ekyo kye mukoze. 7 Noolwekyo kyemunaava mubeera ab’amaanyi era abavumu, kubanga oluvannyuma olw’okufa kwa Sawulo mukama wammwe, ennyumba ya Yuda enfuseeko amafuta okubeera kabaka waabwe.” 8 Mu biro ebyo, Abuneeri mutabani wa Neeri, omuduumizi w’eggye lya Sawulo, n’atwala Isubosesi mutabani wa Sawulo e Makanayimu. 9 N’amufuula kabaka w’e Gireyaadi, ow’Abasuuli, ow’e Yezuleeri, owa Efulayimu, owa Benyamini era owa Isirayiri yenna. 10 Isubosesi, mutabani wa Sawulo yali wa myaka amakumi ana we yatandika okufuga Isirayiri, era n’afugira emyaka ebiri. Naye ennyumba ya Yuda ne bagoberera Dawudi. 11 Ebbanga Dawudi lye yabeerera kabaka mu Kebbulooni ng’afuga ennyumba ya Yuda lyali emyaka musanvu n’emyezi mukaaga. 12 Abuneeri mutabani wa Neeri n’abasajja ba Isubosesi mutabani wa Sawulo, ne bava e Makanayimu ne bagenda e Gibyoni. 13 Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’abasajja ba Dawudi ne bagenda okubasisinkana ku kidiba eky’e Gibyoni. Ekibinja ekimu ne kituula ku luuyi olumu olw’ekidiba, n’ekirala ne kituula ku luuyi olulala. 14 Awo Abuneeri n’agamba Yowaabu nti, “Abamu ku basajja bagolokoke beegezeemu mu maaso gaffe.” Yowaabu n’amuddamu nti, “Kale bagolokoke.” 15 Ne bagolokoka, kkumi na babiri ne babalibwa okuva ku ludda lwa Benyamini ne Isubosesi mutabani wa Sawulo, n’ababala kkumi na babiri okuva ku ludda lwa Dawudi. 16 Buli omu n’akwatagana ne gwe yali atunuuliganye naye, ne banyolegana emitwe, ne bafumitigana amafumu, ne bagwira wamu. Era ekifo ekyo mu Gibyoni ne kituumibwa Kerukasu-Kazzulimu. 17 Olutalo ne lweyongerera ddala, Abuneeri n’abasajja be ne bawangulwa abasajja ba Dawudi. 18 Batabani ba Zeruyiya abasatu Yowaabu, Abisaayi, ne Asakeri baaliyo, era Asakeri yali muwenyusi wa misinde ng’empeewo ey’omu ttale. 19 Asakeri n’agoba Abuneeri emisinde, obutatunula ku mukono ogwa ddyo wadde ogwa kkono. 20 Awo Abuneeri bwe yatunula emabega we, n’abuuza nti, “Ye ggwe Asakeri?”N’addamu nti, “Ye nze.” 21 Abuneeri n’amugamba nti, “Tunula ku mukono gwo ogwa ddyo oba ku mukono gwo ogwa kkono ogye ku omu ku bavubuka akuli okumpi ekyokulwanyisa kye.” Naye Asakeri n’atalekaayo kumugoba. 22 Abuneeri n’addamu okumulabula ng’agamba nti, “Bw’oleka okungoba! Lwaki ondeetera okukutta? Muganda wo Yowaabu nnaamudda wa?” 23 Naye Asakeri ne yeeyongera bweyongezi okumugoba; Abuneeri kwe kumufumita mu lubuto n’omuwunda gw’effumu, effumu ne liggukira mu mugongo, n’agwa wansi era n’afiirawo. 24 Naye Yowaabu ne Abisaayi ne bagoba Abuneeri. Enjuba bwe yali eneetera okugwa, ne batuuka ku lusozi Amma, oluliraanye Giya mu kkubo ery’eddungu ery’e Gibyoni. 25 Awo abasajja b’e Benyamini ne beekola ekibinja kimu, ne badda ku luuyi lwa Abuneeri, ne bayimirira ku lusozi olumu. 26 Abuneeri n’akoowoola Yowaabu n’ayogera nti, “Ekitala kirirya ennaku zonna? Tolaba nti enkomerero ya byonna buliba bukyayi bwereere? Kale kiki ekikulobera okulagira abantu bo balekeraawo okucocca baganda baabwe?” 27 Yowaabu n’addamu nti, “Katonda nga bw’ali omulamu, ne bwe watandikyogedde, obudde bwe bwandikeeredde ng’abasajja balekeddaawo okugoba baganda baabwe.” 28 Awo Yowaabu n’afuuwa ekkondeere, abasajja bonna ne bayimirira, ne balekeraawo okugoba Isirayiri, era n’okubalwanyisa. 29 Ekiro ekyo kyonna Abuneeri n’abasajja be ne batambula ne bayita mu Alaba, ne basomoka Yoludaani, ne batambula mu kiseera eky’oku makya kyonna ne batuuka e Makanayimu. 30 Awo Yowaabu n’addayo ng’alese okugoba Abuneeri, n’akuŋŋaanya abasajja be. Bwe baababala, ne basanga ng’abasajja kkumi na mwenda be baali bafudde, okwo nga tobaliddeeko Asakeri. 31 Naye abasajja ba Dawudi baali basse Ababenyamini ebikumi bisatu mu nkaaga ku abo abaali ne Abuneeri. 32 Ne batwala omulambo gwa Asakeri ne bamuziika ku biggya bya kitaawe e Besirekemu. N’oluvannyuma Yowaabu n’abasajja be ne batambula ekiro kyonna, ne batuuka e Kebbulooni enkeera.

In Other Versions

2 Samuel 2 in the ANGEFD

2 Samuel 2 in the ANTPNG2D

2 Samuel 2 in the AS21

2 Samuel 2 in the BAGH

2 Samuel 2 in the BBPNG

2 Samuel 2 in the BBT1E

2 Samuel 2 in the BDS

2 Samuel 2 in the BEV

2 Samuel 2 in the BHAD

2 Samuel 2 in the BIB

2 Samuel 2 in the BLPT

2 Samuel 2 in the BNT

2 Samuel 2 in the BNTABOOT

2 Samuel 2 in the BNTLV

2 Samuel 2 in the BOATCB

2 Samuel 2 in the BOATCB2

2 Samuel 2 in the BOBCV

2 Samuel 2 in the BOCNT

2 Samuel 2 in the BOECS

2 Samuel 2 in the BOGWICC

2 Samuel 2 in the BOHCB

2 Samuel 2 in the BOHCV

2 Samuel 2 in the BOHLNT

2 Samuel 2 in the BOHNTLTAL

2 Samuel 2 in the BOICB

2 Samuel 2 in the BOILNTAP

2 Samuel 2 in the BOITCV

2 Samuel 2 in the BOKCV

2 Samuel 2 in the BOKCV2

2 Samuel 2 in the BOKHWOG

2 Samuel 2 in the BOKSSV

2 Samuel 2 in the BOLCB2

2 Samuel 2 in the BOMCV

2 Samuel 2 in the BONAV

2 Samuel 2 in the BONCB

2 Samuel 2 in the BONLT

2 Samuel 2 in the BONUT2

2 Samuel 2 in the BOPLNT

2 Samuel 2 in the BOSCB

2 Samuel 2 in the BOSNC

2 Samuel 2 in the BOTLNT

2 Samuel 2 in the BOVCB

2 Samuel 2 in the BOYCB

2 Samuel 2 in the BPBB

2 Samuel 2 in the BPH

2 Samuel 2 in the BSB

2 Samuel 2 in the CCB

2 Samuel 2 in the CUV

2 Samuel 2 in the CUVS

2 Samuel 2 in the DBT

2 Samuel 2 in the DGDNT

2 Samuel 2 in the DHNT

2 Samuel 2 in the DNT

2 Samuel 2 in the ELBE

2 Samuel 2 in the EMTV

2 Samuel 2 in the ESV

2 Samuel 2 in the FBV

2 Samuel 2 in the FEB

2 Samuel 2 in the GGMNT

2 Samuel 2 in the GNT

2 Samuel 2 in the HARY

2 Samuel 2 in the HNT

2 Samuel 2 in the IRVA

2 Samuel 2 in the IRVB

2 Samuel 2 in the IRVG

2 Samuel 2 in the IRVH

2 Samuel 2 in the IRVK

2 Samuel 2 in the IRVM

2 Samuel 2 in the IRVM2

2 Samuel 2 in the IRVO

2 Samuel 2 in the IRVP

2 Samuel 2 in the IRVT

2 Samuel 2 in the IRVT2

2 Samuel 2 in the IRVU

2 Samuel 2 in the ISVN

2 Samuel 2 in the JSNT

2 Samuel 2 in the KAPI

2 Samuel 2 in the KBT1ETNIK

2 Samuel 2 in the KBV

2 Samuel 2 in the KJV

2 Samuel 2 in the KNFD

2 Samuel 2 in the LBA

2 Samuel 2 in the LBLA

2 Samuel 2 in the LNT

2 Samuel 2 in the LSV

2 Samuel 2 in the MAAL

2 Samuel 2 in the MBV

2 Samuel 2 in the MBV2

2 Samuel 2 in the MHNT

2 Samuel 2 in the MKNFD

2 Samuel 2 in the MNG

2 Samuel 2 in the MNT

2 Samuel 2 in the MNT2

2 Samuel 2 in the MRS1T

2 Samuel 2 in the NAA

2 Samuel 2 in the NASB

2 Samuel 2 in the NBLA

2 Samuel 2 in the NBS

2 Samuel 2 in the NBVTP

2 Samuel 2 in the NET2

2 Samuel 2 in the NIV11

2 Samuel 2 in the NNT

2 Samuel 2 in the NNT2

2 Samuel 2 in the NNT3

2 Samuel 2 in the PDDPT

2 Samuel 2 in the PFNT

2 Samuel 2 in the RMNT

2 Samuel 2 in the SBIAS

2 Samuel 2 in the SBIBS

2 Samuel 2 in the SBIBS2

2 Samuel 2 in the SBICS

2 Samuel 2 in the SBIDS

2 Samuel 2 in the SBIGS

2 Samuel 2 in the SBIHS

2 Samuel 2 in the SBIIS

2 Samuel 2 in the SBIIS2

2 Samuel 2 in the SBIIS3

2 Samuel 2 in the SBIKS

2 Samuel 2 in the SBIKS2

2 Samuel 2 in the SBIMS

2 Samuel 2 in the SBIOS

2 Samuel 2 in the SBIPS

2 Samuel 2 in the SBISS

2 Samuel 2 in the SBITS

2 Samuel 2 in the SBITS2

2 Samuel 2 in the SBITS3

2 Samuel 2 in the SBITS4

2 Samuel 2 in the SBIUS

2 Samuel 2 in the SBIVS

2 Samuel 2 in the SBT

2 Samuel 2 in the SBT1E

2 Samuel 2 in the SCHL

2 Samuel 2 in the SNT

2 Samuel 2 in the SUSU

2 Samuel 2 in the SUSU2

2 Samuel 2 in the SYNO

2 Samuel 2 in the TBIAOTANT

2 Samuel 2 in the TBT1E

2 Samuel 2 in the TBT1E2

2 Samuel 2 in the TFTIP

2 Samuel 2 in the TFTU

2 Samuel 2 in the TGNTATF3T

2 Samuel 2 in the THAI

2 Samuel 2 in the TNFD

2 Samuel 2 in the TNT

2 Samuel 2 in the TNTIK

2 Samuel 2 in the TNTIL

2 Samuel 2 in the TNTIN

2 Samuel 2 in the TNTIP

2 Samuel 2 in the TNTIZ

2 Samuel 2 in the TOMA

2 Samuel 2 in the TTENT

2 Samuel 2 in the UBG

2 Samuel 2 in the UGV

2 Samuel 2 in the UGV2

2 Samuel 2 in the UGV3

2 Samuel 2 in the VBL

2 Samuel 2 in the VDCC

2 Samuel 2 in the YALU

2 Samuel 2 in the YAPE

2 Samuel 2 in the YBVTP

2 Samuel 2 in the ZBP