Deuteronomy 2 (BOLCB)

1 Awo ne tukyuka ne tuddayo mu ddungu nga twolekera Ennyanja Emyufu, nga MUKAMA bwe yandagira. Ne tumala ennaku nnyingi nnyo nga tutambulira mu nsi ey’ensozi ey’e Seyiri. 2 MUKAMA n’aŋŋamba nti, 3 “Mu nsi eno ey’ensozi mutambuliddemu ekiseera kiwanvu, era kimala; kale kaakano mukyuke mulage mu bukiikakkono. 4 Abantu bawe ebiragiro bino nti, ‘Muli kumpi okutuuka mu nsi ya baganda bammwe, abazzukulu ba Esawu ababeera mu Seyiri, bajja kubatya, kyokka mubeegendereza nnyo. 5 Temubasosonkerezaako lutalo, kubanga mmwe sijja kubawa ku ttaka lyabwe, wadde akatundu akatono awagya ekigere ky’omuntu. Kubanga ensi ey’ensozi eya Seyiri nagiwa dda Esawu okuba obutaka bwe obwenkalakkalira. 6 Mubagulangako emmere gye munaalyanga nga mugisasulira n’ensimbi, n’amazzi ag’okunywa nago nga mugasasulira ensimbi.’ ” 7 MUKAMA Katonda wo akuwadde omukisa mu mirimu gyonna gy’okola n’emikono gyo. Amanyi nti otambulira mu ddungu lino eddene ennyo bwe lityo. Era MUKAMA Katonda wammwe abadde akulabirira emyaka gino gyonna amakumi ana, ng’abeera naawe, era nga buli kye weetaaga akikuwa. 8 Bwe tutyo ne tweyongerayo mu lugendo lwaffe nga tuyita ku baganda baffe abazzukulu ba Esawu ababeera mu Seyiri. Ne tuleka ekkubo ly’Alaba eririnnyalinnya okuva Erasi ne Eziyonigeba, ne tukwata ekkubo eriyita mu ddungu lya Mowaabu. 9 Awo MUKAMA Katonda n’aŋŋamba nti, “Abamowaabu temubasunguwaza wadde okubasosonkerezaako olutalo, kubanga sigenda mmwe kubawa ku ttaka lyabwe mu Ali, ettaka eryo namala dda okuliwa bazzukulu ba Lutti okubeera obutaka bwabwe.” 10 Abemi be baabeeranga mu kitundu ekyo, nga basajja banene, nga ba maanyi, nga bangi nnyo, era nga bawanvu okwenkana nga Abanaki. 11 Baayitibwanga Baleefa okufaanana nga Abanaki bwe baayitibwanga, naye Abamowaabu nga bo babayita Bemi. 12 Mu biseera eby’edda Abakooli nabo baabeeranga mu Seyiri, okutuusa bazzukulu ba Esawu bwe baabasiguukulula ne babagobamu ne babazikiriza, ensi eyo ne bagyetwalira, bo ne bagibeeramu; okufaananako ng’Abayisirayiri bwe balikola mu nsi MUKAMA Katonda gye yabawa ey’obusika bw’obutaka bwabwe obw’enkalakkalira. 13 MUKAMA n’agamba nti, “Musituke musomoke akagga Zeredi.” Ne tusomoka. 14 Olwo nga kasookedde tuva mu Kadesubanea okutuusa lwe twasomoka akagga Zeredi gyali giweze emyaka amakumi asatu mu munaana. Ekiseera ekyo we kyaggweerako ng’abasajja abalwanyi bonna mu lusiisira lw’abaana ba Isirayiri, ab’omu mulembe ogwo, nga bafudde baweddewo, nga MUKAMA Katonda bwe yabalayirira. 15 Kubanga MUKAMA Katonda yamalirira okubazikiriza n’omukono gwe okutuusa ng’abamaliddemu ddala mu lusiisira lwabwe. 16 Awo olwatuuka abasajja abalwanyi bonna bwe baamala okufa, nga bazikiridde baweddewo mu bantu, 17 MUKAMA Katonda n’aŋŋamba nti, 18 “Olwa leero munaasala ensalo ya Mowaabu mu Ali. 19 Naye bwe musemberera Abamoni temubasunguwaza so temubasosonkerezaako lutalo, kubanga mmwe sigenda kubawa ku ttaka ly’Abamoni n’akatono okuba obutaka bwammwe, kubanga ettaka eryo namala dda okuliwa bazzukulu ba Lutti okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira.” 20 Ekitundu ekyo era kyali kiyitibwa nsi ya Baleefa, kubanga Abaleefa be baabeerangamu naye Abamoni nga babayita Bazamuzumu. 21 Baali basajja ba maanyi era nga bangi nnyo, nga bawanvu ng’Abanaki. Naye MUKAMA Katonda n’abawaayo eri Abamoni ne babazikiriza, ne batwala ensi yaabwe ne bagituulamu. 22 Ne kifaananako nga MUKAMA bwe yazikiriza Abakooli abaalinga mu Seyiri, ensi yaabwe n’agiwa bazzukulu ba Esawu okuba obutaka bwabwe obw’enkalakkalira n’okutuusa leero. 23 Abavi abaabeeranga mu byalo ebyesuddeko okutuuka e Gaza, Abakafutoli abaava e Kafutoli bajja ne babazikiriza ne batwala ensi yaabwe bo ne bagibeeramu. 24 “Musituke mutambule muyite mu kiwonvu ekya Alunoni. Otegeere kino nga Sikoni Omwamoli Kabaka w’e Kesuboni mmugabudde mu mukono gwo n’ensi ye yonna. Kale tandika okumutabaala, n’ensi ye ogyetwalire efuukire ddala yiyo ya butaka bwo. 25 Okutandika n’olunaku lwa leero amawanga gonna ag’oku nsi nzija kugateekamu entiisa bakankane nga bawulidde ettutumu lyo babeere mu kutiitiira n’okunyolwa ku lulwo.” 26 Nga tuli mu ddungu ly’e Kedemosi natumira Sikoni Kabaka w’e Kesuboni n’obubaka obw’okuteesa emirembe nga mmugamba nti, 27 “Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tujja kutambulira mu luguudo mwokka nga tetuwunjuseeko kulaga ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono. 28 Onootuguzanga emmere gye tunaalyanga nga tugisasulira ensimbi, n’amazzi ge tunaanywangako, nago nga tugasasulira ensimbi. Naye tuleke tuyite mu nsi yo nga tutambula n’ebigere, 29 nga bazzukulu ba Esawu abaabeeranga mu Seyiri, n’Abamowaabu abaabeeranga mu Ali bwe baatuleka, okutuusa lwe tulimala okusomoka Yoludaani ne tutuuka mu nsi MUKAMA Katonda waffe gy’ategese okutuwa.” 30 Naye Sikoni Kabaka wa Kesuboni n’atatukkiriza kuyitawo. Kubanga MUKAMA Katonda wammwe yali akakanyazizza omwoyo gwe era ng’awaganyazizza omutima gwe, alyoke amugabule mu mukono gwammwe nga bwe kiri leero. 31 Awo MUKAMA Katonda n’aŋŋamba nti, “Laba, ntandise okugabula Sikoni n’ensi ye mu mukono gwo. Kale tandika okuwangula ensi ye yonna, olyoke ogyefunire okubeera obusika bwo era obutaka bwo obw’enkalakkalira.” 32 Kabaka Sikoni n’eggye lye lyonna ne batulumba mu lutabaalo olw’e Yakazi. 33 MUKAMA Katonda waffe n’agabula Sikoni n’eggye lye lyonna, ne batabani be, mu mukono gwaffe ne tubawangula. 34 Mu kaseera ako twawamba ebibuga bye byonna ne tubizikiriza n’abantu bonna, abasajja, n’abakazi, n’abaana abato, tetwalekerawo ddala. 35 Naye ente ne tuzeetwalira awamu n’omunyago gwe twaggya mu bibuga bye twawamba. 36 Okuva ku Aloweri ekiri ku lukugiro lw’Ekiwonvu Alumoni, n’okuva ku kibuga ekiri mu kiwonvu ekyo, n’okutuukira ddala mu Gireyaadi, tewaaliwo kibuga na kimu ekyatusukkirira amaanyi. MUKAMA Katonda waffe byonna yabitugabula mu mukono gwaffe. 37 Naye ebifo, MUKAMA Katonda waffe bye yatulagira obutabisemberera, y’ensi y’abazzukulu ba Amoni, ne ku mbalama zonna ez’omugga Yaboki, n’ebibuga eby’omu nsi ey’ensozi; ebyo byo yatugaana okubikwatirako ddala.

In Other Versions

Deuteronomy 2 in the ANGEFD

Deuteronomy 2 in the ANTPNG2D

Deuteronomy 2 in the AS21

Deuteronomy 2 in the BAGH

Deuteronomy 2 in the BBPNG

Deuteronomy 2 in the BBT1E

Deuteronomy 2 in the BDS

Deuteronomy 2 in the BEV

Deuteronomy 2 in the BHAD

Deuteronomy 2 in the BIB

Deuteronomy 2 in the BLPT

Deuteronomy 2 in the BNT

Deuteronomy 2 in the BNTABOOT

Deuteronomy 2 in the BNTLV

Deuteronomy 2 in the BOATCB

Deuteronomy 2 in the BOATCB2

Deuteronomy 2 in the BOBCV

Deuteronomy 2 in the BOCNT

Deuteronomy 2 in the BOECS

Deuteronomy 2 in the BOGWICC

Deuteronomy 2 in the BOHCB

Deuteronomy 2 in the BOHCV

Deuteronomy 2 in the BOHLNT

Deuteronomy 2 in the BOHNTLTAL

Deuteronomy 2 in the BOICB

Deuteronomy 2 in the BOILNTAP

Deuteronomy 2 in the BOITCV

Deuteronomy 2 in the BOKCV

Deuteronomy 2 in the BOKCV2

Deuteronomy 2 in the BOKHWOG

Deuteronomy 2 in the BOKSSV

Deuteronomy 2 in the BOLCB2

Deuteronomy 2 in the BOMCV

Deuteronomy 2 in the BONAV

Deuteronomy 2 in the BONCB

Deuteronomy 2 in the BONLT

Deuteronomy 2 in the BONUT2

Deuteronomy 2 in the BOPLNT

Deuteronomy 2 in the BOSCB

Deuteronomy 2 in the BOSNC

Deuteronomy 2 in the BOTLNT

Deuteronomy 2 in the BOVCB

Deuteronomy 2 in the BOYCB

Deuteronomy 2 in the BPBB

Deuteronomy 2 in the BPH

Deuteronomy 2 in the BSB

Deuteronomy 2 in the CCB

Deuteronomy 2 in the CUV

Deuteronomy 2 in the CUVS

Deuteronomy 2 in the DBT

Deuteronomy 2 in the DGDNT

Deuteronomy 2 in the DHNT

Deuteronomy 2 in the DNT

Deuteronomy 2 in the ELBE

Deuteronomy 2 in the EMTV

Deuteronomy 2 in the ESV

Deuteronomy 2 in the FBV

Deuteronomy 2 in the FEB

Deuteronomy 2 in the GGMNT

Deuteronomy 2 in the GNT

Deuteronomy 2 in the HARY

Deuteronomy 2 in the HNT

Deuteronomy 2 in the IRVA

Deuteronomy 2 in the IRVB

Deuteronomy 2 in the IRVG

Deuteronomy 2 in the IRVH

Deuteronomy 2 in the IRVK

Deuteronomy 2 in the IRVM

Deuteronomy 2 in the IRVM2

Deuteronomy 2 in the IRVO

Deuteronomy 2 in the IRVP

Deuteronomy 2 in the IRVT

Deuteronomy 2 in the IRVT2

Deuteronomy 2 in the IRVU

Deuteronomy 2 in the ISVN

Deuteronomy 2 in the JSNT

Deuteronomy 2 in the KAPI

Deuteronomy 2 in the KBT1ETNIK

Deuteronomy 2 in the KBV

Deuteronomy 2 in the KJV

Deuteronomy 2 in the KNFD

Deuteronomy 2 in the LBA

Deuteronomy 2 in the LBLA

Deuteronomy 2 in the LNT

Deuteronomy 2 in the LSV

Deuteronomy 2 in the MAAL

Deuteronomy 2 in the MBV

Deuteronomy 2 in the MBV2

Deuteronomy 2 in the MHNT

Deuteronomy 2 in the MKNFD

Deuteronomy 2 in the MNG

Deuteronomy 2 in the MNT

Deuteronomy 2 in the MNT2

Deuteronomy 2 in the MRS1T

Deuteronomy 2 in the NAA

Deuteronomy 2 in the NASB

Deuteronomy 2 in the NBLA

Deuteronomy 2 in the NBS

Deuteronomy 2 in the NBVTP

Deuteronomy 2 in the NET2

Deuteronomy 2 in the NIV11

Deuteronomy 2 in the NNT

Deuteronomy 2 in the NNT2

Deuteronomy 2 in the NNT3

Deuteronomy 2 in the PDDPT

Deuteronomy 2 in the PFNT

Deuteronomy 2 in the RMNT

Deuteronomy 2 in the SBIAS

Deuteronomy 2 in the SBIBS

Deuteronomy 2 in the SBIBS2

Deuteronomy 2 in the SBICS

Deuteronomy 2 in the SBIDS

Deuteronomy 2 in the SBIGS

Deuteronomy 2 in the SBIHS

Deuteronomy 2 in the SBIIS

Deuteronomy 2 in the SBIIS2

Deuteronomy 2 in the SBIIS3

Deuteronomy 2 in the SBIKS

Deuteronomy 2 in the SBIKS2

Deuteronomy 2 in the SBIMS

Deuteronomy 2 in the SBIOS

Deuteronomy 2 in the SBIPS

Deuteronomy 2 in the SBISS

Deuteronomy 2 in the SBITS

Deuteronomy 2 in the SBITS2

Deuteronomy 2 in the SBITS3

Deuteronomy 2 in the SBITS4

Deuteronomy 2 in the SBIUS

Deuteronomy 2 in the SBIVS

Deuteronomy 2 in the SBT

Deuteronomy 2 in the SBT1E

Deuteronomy 2 in the SCHL

Deuteronomy 2 in the SNT

Deuteronomy 2 in the SUSU

Deuteronomy 2 in the SUSU2

Deuteronomy 2 in the SYNO

Deuteronomy 2 in the TBIAOTANT

Deuteronomy 2 in the TBT1E

Deuteronomy 2 in the TBT1E2

Deuteronomy 2 in the TFTIP

Deuteronomy 2 in the TFTU

Deuteronomy 2 in the TGNTATF3T

Deuteronomy 2 in the THAI

Deuteronomy 2 in the TNFD

Deuteronomy 2 in the TNT

Deuteronomy 2 in the TNTIK

Deuteronomy 2 in the TNTIL

Deuteronomy 2 in the TNTIN

Deuteronomy 2 in the TNTIP

Deuteronomy 2 in the TNTIZ

Deuteronomy 2 in the TOMA

Deuteronomy 2 in the TTENT

Deuteronomy 2 in the UBG

Deuteronomy 2 in the UGV

Deuteronomy 2 in the UGV2

Deuteronomy 2 in the UGV3

Deuteronomy 2 in the VBL

Deuteronomy 2 in the VDCC

Deuteronomy 2 in the YALU

Deuteronomy 2 in the YAPE

Deuteronomy 2 in the YBVTP

Deuteronomy 2 in the ZBP