Exodus 32 (BOLCB)

1 Abantu bwe baalaba nga Musa aluddeyo nnyo ku lusozi, ne bakuŋŋaanira awali Alooni, ne bamugamba nti, “Jjangu, otukolere bakatonda abanaatukulembera; kubanga Musa ono eyatuggya mu nsi y’e Misiri, tetumanyi kimutuuseeko.” 2 Alooni n’abaddamu nti, “Mwambule empeta eza zaabu, bakyala bammwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe ze bambadde ku matu gaabwe, muzindeetere.” 3 Awo abantu bonna ne beenaanulako empeta zaabwe eza zaabu ez’oku matu, ne bazireetera Alooni. 4 Alooni n’azisaanuusa; zaabu eyavaamu n’agibumbamu ennyana, ng’agirongoosa n’ekyuma. Ne balyoka boogera nti, “Bano be bakatonda bo ggwe Isirayiri abaakuggya mu nsi y’e Misiri!” 5 Alooni bwe yalaba ebyo, n’azimba ekyoto mu maaso g’ennyana, n’alyoka alangirira nti, “Enkya tujja kukolera MUKAMA embaga.” 6 Awo enkeera, abantu ne bazuukuka mu makya, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ne baleeta n’ebiweebwayo olw’emirembe; ne batuula ne balya era ne banywa, ne basituka ne bakola effujjo. 7 MUKAMA n’agamba Musa nti, “Serengeta, kubanga abantu bo be waggya mu nsi ey’e Misiri boonoonye; 8 bavudde mangu mu kkubo lye nabalagira; beekoledde ennyana ensaanuuse ne bagisinza, ne bagireetera ebiweebwayo, ne boogera nti, ‘Bano be bakatonda bo, ggwe Isirayiri, abaakuggya mu nsi y’e Misiri!’ ” 9 MUKAMA n’agamba Musa nti, “Abantu bano mbalabye, era ndabye nga bakakanyavu. 10 Kale, kaakano ndeka obusungu bwange bubabuubuukireko, mbazikirize; kyokka ggwe ndikufuula eggwanga ekkulu.” 11 Naye Musa ne yeegayirira MUKAMA Katonda we, n’agamba nti, “Lwaki obusungu bwo bubuubuukira abantu bo be waggya mu nsi y’e Misiri n’obuyinza, awamu n’omukono gwo ogw’amaanyi? 12 Lwaki okwogeza Abamisiri nti, ‘Yabatwala ng’agenderedde kubakola kabi, abattire mu nsozi, abazikirize, bave ku nsi?’ Nyiigulukuka, obusungu obubuubuuka bukuveeko, oleme kuleeta bulabe ku bantu bo. 13 Jjukira abaweereza bo Ibulayimu, ne Isaaka, ne Isirayiri, be walayirira ggwe kennyini, n’obagamba nti, ‘Ndyaza bazzukulu bammwe ng’emmunyeenye ez’oku ggulu, era n’ensi eno gye mbasuubizza ndigiwa bazzukulu bammwe, era eribeera omugabo gwammwe ennaku zonna.’ ” 14 MUKAMA akabi ke yali ategese okukola abantu be n’atakaleeta. 15 Awo Musa n’aserengeta okuva ku lusozi ng’akutte mu mikono gye ebipande ebibiri eby’Endagaano, nga biwandiikiddwako ku njuyi zombi. 16 Ebipande byakolebwa Katonda, n’ebiwandiike ebyaliko byali bya Katonda, nga ye yabisala ku bipande ebyo. 17 Yoswa bwe yawulira oluyoogaano lw’abantu nga baleekaana, n’agamba Musa nti, “Mu lusiisira eriyo okuyoogaana ng’okw’olutalo.” 18 Naye n’amuddamu nti,“Siwulira maloboozi galeekaana olw’obuwanguzi,oba amaloboozi g’okwaziirana olw’okuwangulwa,naye maloboozi ga kuyimba ge mpulira.” 19 Naye Musa bwe yasemberera olusiisira, n’alengera ennyana, n’alaba n’amazina; obusungu bwe ne bubuubuuka, n’asuula eri ebipande ebyali mu mikono gye, ne bimenyekera awo wansi w’olusozi. 20 N’addira ennyana gye baali bakoze n’agyokya mu muliro n’agisekulasekula, n’agimerungulira ddala ng’olufuufu; olufuufu n’alumansa ku mazzi n’agawa abaana ba Isirayiri ne baganywa. 21 Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Abantu bano baakukoze ki, n’obaleetera okwonoona ennyo bwe batyo?” 22 Alooni n’amuddamu nti, “Tonnyiigira nnyo, mukama wange, naawe abantu bano obamanyi, ng’emitima gyabwe bwe gyamanyiira okwonoona. 23 Baŋŋambye nti, ‘Tukolere bakatonda abanaatukulembera kubanga Musa ono eyatuggya mu nsi y’e Misiri, tetumanyi kimutuuseeko.’ 24 Nange kwe kubagamba nti, ‘Buli alina ebya zaabu abyeyambuleko,’ ne babimpa ne mbiteeka mu muliro, ne bivaamu ennyana eno.” 25 Awo Musa bwe yalaba ng’abantu basasamadde, nga Alooni yali abalese ne basasamala, era ng’abalabe baabwe babasekerera, 26 n’ayimirira mu mulyango gw’olusiisira, n’agamba nti, “Ani ali ku ludda lwa MUKAMA? Ajje wano we ndi.” Awo batabani ba Leevi bonna ne bakuŋŋaanira w’ali. 27 N’abagamba nti, “Bw’ati MUKAMA Katonda wa Isirayiri bw’ayogera nti, ‘Buli musajja yeesibe ekitala kye mu kiwato kye, muyiteeyite mu nsiisira okuva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala, nga buli musajja atta muganda we ne mukwano gwe, ne muliraanwa we.’ ” 28 Abaleevi ne bakola nga Musa bwe yabalagira; era ku lunaku olwo abantu ng’enkumi ssatu ne battibwa. 29 Awo Musa n’agamba nti, “Mwawuddwa leero eri MUKAMA, bwe musse buli omu mutabani we, era ne muganda we; MUKAMA abawadde omukisa ku lunaku lwa leero.” 30 Enkeera Musa n’agamba abantu nti, “Mwonoonye nnyo. Naye nze ka ŋŋende eri MUKAMA ndabe obanga nnaatangiririra ekibi kyammwe.” 31 Bw’atyo Musa n’addayo eri MUKAMA, n’agamba nti, “Kitalo! Abantu bano nga boonoonye nnyo; bwe beekoledde bakatonda aba zaabu! 32 Bw’oba osiima basonyiwe ekibi kyabwe; naye bwe kitaba kityo, nkwegayirira onsangule mu kitabo kyo ky’owandiise.” 33 Naye MUKAMA n’agamba Musa nti, “Oyo yekka ankozeeko ekibi gwe ndisangula mu kitabo kyange. 34 Kaakano genda otwale abantu mu kifo ekyo kye nakutegeeza; era, laba, malayika wange ajja kukukulembera. Naye ekiseera nga kituuse okubabonereza ndibabonerereza ddala olw’ekibi kyabwe.” 35 Awo MUKAMA n’aleetera abantu kawumpuli, kubanga beekolera ennyana, Alooni gye yababumbira.

In Other Versions

Exodus 32 in the ANGEFD

Exodus 32 in the ANTPNG2D

Exodus 32 in the AS21

Exodus 32 in the BAGH

Exodus 32 in the BBPNG

Exodus 32 in the BBT1E

Exodus 32 in the BDS

Exodus 32 in the BEV

Exodus 32 in the BHAD

Exodus 32 in the BIB

Exodus 32 in the BLPT

Exodus 32 in the BNT

Exodus 32 in the BNTABOOT

Exodus 32 in the BNTLV

Exodus 32 in the BOATCB

Exodus 32 in the BOATCB2

Exodus 32 in the BOBCV

Exodus 32 in the BOCNT

Exodus 32 in the BOECS

Exodus 32 in the BOGWICC

Exodus 32 in the BOHCB

Exodus 32 in the BOHCV

Exodus 32 in the BOHLNT

Exodus 32 in the BOHNTLTAL

Exodus 32 in the BOICB

Exodus 32 in the BOILNTAP

Exodus 32 in the BOITCV

Exodus 32 in the BOKCV

Exodus 32 in the BOKCV2

Exodus 32 in the BOKHWOG

Exodus 32 in the BOKSSV

Exodus 32 in the BOLCB2

Exodus 32 in the BOMCV

Exodus 32 in the BONAV

Exodus 32 in the BONCB

Exodus 32 in the BONLT

Exodus 32 in the BONUT2

Exodus 32 in the BOPLNT

Exodus 32 in the BOSCB

Exodus 32 in the BOSNC

Exodus 32 in the BOTLNT

Exodus 32 in the BOVCB

Exodus 32 in the BOYCB

Exodus 32 in the BPBB

Exodus 32 in the BPH

Exodus 32 in the BSB

Exodus 32 in the CCB

Exodus 32 in the CUV

Exodus 32 in the CUVS

Exodus 32 in the DBT

Exodus 32 in the DGDNT

Exodus 32 in the DHNT

Exodus 32 in the DNT

Exodus 32 in the ELBE

Exodus 32 in the EMTV

Exodus 32 in the ESV

Exodus 32 in the FBV

Exodus 32 in the FEB

Exodus 32 in the GGMNT

Exodus 32 in the GNT

Exodus 32 in the HARY

Exodus 32 in the HNT

Exodus 32 in the IRVA

Exodus 32 in the IRVB

Exodus 32 in the IRVG

Exodus 32 in the IRVH

Exodus 32 in the IRVK

Exodus 32 in the IRVM

Exodus 32 in the IRVM2

Exodus 32 in the IRVO

Exodus 32 in the IRVP

Exodus 32 in the IRVT

Exodus 32 in the IRVT2

Exodus 32 in the IRVU

Exodus 32 in the ISVN

Exodus 32 in the JSNT

Exodus 32 in the KAPI

Exodus 32 in the KBT1ETNIK

Exodus 32 in the KBV

Exodus 32 in the KJV

Exodus 32 in the KNFD

Exodus 32 in the LBA

Exodus 32 in the LBLA

Exodus 32 in the LNT

Exodus 32 in the LSV

Exodus 32 in the MAAL

Exodus 32 in the MBV

Exodus 32 in the MBV2

Exodus 32 in the MHNT

Exodus 32 in the MKNFD

Exodus 32 in the MNG

Exodus 32 in the MNT

Exodus 32 in the MNT2

Exodus 32 in the MRS1T

Exodus 32 in the NAA

Exodus 32 in the NASB

Exodus 32 in the NBLA

Exodus 32 in the NBS

Exodus 32 in the NBVTP

Exodus 32 in the NET2

Exodus 32 in the NIV11

Exodus 32 in the NNT

Exodus 32 in the NNT2

Exodus 32 in the NNT3

Exodus 32 in the PDDPT

Exodus 32 in the PFNT

Exodus 32 in the RMNT

Exodus 32 in the SBIAS

Exodus 32 in the SBIBS

Exodus 32 in the SBIBS2

Exodus 32 in the SBICS

Exodus 32 in the SBIDS

Exodus 32 in the SBIGS

Exodus 32 in the SBIHS

Exodus 32 in the SBIIS

Exodus 32 in the SBIIS2

Exodus 32 in the SBIIS3

Exodus 32 in the SBIKS

Exodus 32 in the SBIKS2

Exodus 32 in the SBIMS

Exodus 32 in the SBIOS

Exodus 32 in the SBIPS

Exodus 32 in the SBISS

Exodus 32 in the SBITS

Exodus 32 in the SBITS2

Exodus 32 in the SBITS3

Exodus 32 in the SBITS4

Exodus 32 in the SBIUS

Exodus 32 in the SBIVS

Exodus 32 in the SBT

Exodus 32 in the SBT1E

Exodus 32 in the SCHL

Exodus 32 in the SNT

Exodus 32 in the SUSU

Exodus 32 in the SUSU2

Exodus 32 in the SYNO

Exodus 32 in the TBIAOTANT

Exodus 32 in the TBT1E

Exodus 32 in the TBT1E2

Exodus 32 in the TFTIP

Exodus 32 in the TFTU

Exodus 32 in the TGNTATF3T

Exodus 32 in the THAI

Exodus 32 in the TNFD

Exodus 32 in the TNT

Exodus 32 in the TNTIK

Exodus 32 in the TNTIL

Exodus 32 in the TNTIN

Exodus 32 in the TNTIP

Exodus 32 in the TNTIZ

Exodus 32 in the TOMA

Exodus 32 in the TTENT

Exodus 32 in the UBG

Exodus 32 in the UGV

Exodus 32 in the UGV2

Exodus 32 in the UGV3

Exodus 32 in the VBL

Exodus 32 in the VDCC

Exodus 32 in the YALU

Exodus 32 in the YAPE

Exodus 32 in the YBVTP

Exodus 32 in the ZBP