Ezekiel 21 (BOLCB)

1 Awo ekigambo kya MUKAMA Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 2 “Omwana w’omuntu tunuulira Yerusaalemi oyogere ku bifo ebitukuvu. Wa ekigambo ky’obunnabbi eri ensi ya Isirayiri, 3 oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, nnina oluyombo naawe, era ndisowola ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo ne nzikiriza abatuukirivu n’abatali batuukirivu abali mu ggwe. 4 Kubanga ndiba nzikiriza abatuukirivu n’abatali batuukirivu, kyendiva nnema okuzza ekitala kyange mu kiraato kyakyo, ne ntabaala buli muntu nakyo okuva Obukiikaddyo okutuuka Obukiikakkono. 5 Awo abantu bonna balimanya nga nze MUKAMA nsowodde ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo, era tekiriddayo mu kiraato kyakyo nate.’  6 “Omwana w’omuntu, kyonoova okaabira mu maaso gaabwe ng’omutima gwo gujjudde ennaku n’obuyinike. 7 Bwe balikubuuza nti, ‘Okaabira ki?’ Oliddamu nti, ‘Olw’amawulire ge nfunye, kubanga ebyo bwe birijja, buli mutima gulisaanuuka, na buli mukono ne gulemala, n’emyoyo ne gizirika, n’amaviivi gonna ne ganafuwa ne gafuuka ng’amazzi.’ Bijja era birituukirira, bw’ayogera MUKAMA Katonda.” 8 Ekigambo kya MUKAMA ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 9 “Omwana w’omuntu, wa obunnabbi oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,“ ‘Ekitala, ekitala, kiwagaddwaera kiziguddwa, 10 kiwagaddwa okutta, kiziguddwa, era kimasamasa ng’okumyansa kw’eggulu!Tulisanyukira obuyinza bw’omwana wange Yuda?“ ‘Ekitala kinyooma buli muggo. 11 “ ‘Ekitala kiweereddwayo okuzigulwakiryoke kinywezebwe mu mukono;kiwagaddwa era kiziguddwa,kiryoke kiweebwe omussi. 12 Kaaba era wowoggana, omwana w’omuntu,kubanga ekyo nkikola bantu bange,era nkikola abalangira bonna aba Isirayiri.Mbawaddeyo eri ekitala wamu n’abantu bange,noolwekyo weekube mu kifuba. 13 “ ‘Okugezesebwa kuteekwa okujja. Kiba kitya ng’omuggo gw’obufuzi bwa Yuda ekitala gwe kinyooma, tegulabika nate? bw’ayogera MUKAMA Katonda.’ 14 “Kyonoova owa obunnabbi, omwana w’omuntu,n’okuba ne mu ngalo.Leka ekitala kisale emirundi ebirioba emirundi esatu.Kitala kya kutta,okutta okunene,nga kibataayiza enjuuyi zonna, 15 era n’emitima gyabwe girisaanuuka,n’abattiddwa baliba bangi.Ntadde ekitala ekittaku miryango gyabwe gyonna.Kiwagaddwa era kimyansa ng’okumyansa kw’egguluera kinywezebbwa olw’okutta. 16 Ggwe ekitala genda osaleku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono,ne yonna obwogi bwo gye bunaakyukira. 17 Nange ndikuba mu ngalo,n’ekiruyi kyange kirikkakkana.Nze MUKAMA njogedde.” 18 Ekigambo kya MUKAMA ne kinzijira nate, n’aŋŋamba nti, 19 “Omwana w’omuntu, teekawo amakubo abiri ekitala kya kabaka w’e Babulooni we kinaayita, gombi nga gava mu nsi emu. Oteeke ekipande, awo ekkubo we lyawukanira okudda mu kibuga. 20 Okole ekkubo erimu ekitala mwe kinaayita okulumba Labba eky’abaana ba Amoni, n’eddala okulumba Yuda ne Yerusaalemi ekibuga ekiriko enkomera. 21 Kabaka w’e Babulooni aliyimirira mu kifo mu masaŋŋanzira, amakubo we gaawukanira, okutegeezebwa ebigambo bya MUKAMA; alisuula obusaale okukuba akalulu, ne yeebuuza ku bakatonda be, era alikebera n’ekibumba. 22 Mu mukono gwe ogwa ddyo mwe mulibeera akalulu ka Yerusaalemi, gy’aliteeka ebitomera wankaaki, era gy’aliyimusiza eddoboozi eririragira okutta kutandike, era gy’aliyimusiza eddoboozi eririrangirira olutalo, era gy’aliteeka ebitomera emiryango, n’okuzimba ebitindiro n’ebigo ebikozesebwa okutaayiza. 23 Kulirabika ng’obunnabbi obw’obulimba eri abo aba mulayirira, naye alibajjukiza omusango gwabwe n’abatwala nga bawambe. 24 “MUKAMA Katonda kyava ayogera nti, ‘Olw’okunzijjukiza omusango gwammwe, olw’obujeemu bwammwe obw’olwatu, ekiggyayo ebibi byammwe mu byonna bye mwakola, era olw’okukola ebyo, kyemuliva mutwalibwa mu buwambe. 25 “ ‘Ggwe omulangira wa Isirayiri omwonoonefu, omukozi w’ebibi, olunaku gwe lutuukidde, ekiseera eky’okubonerezebwa kwo, bwe kituukidde ku ntikko esemberayo ddala, 26 bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, Ggyako ekitambala ku mutwe, oggyeko n’engule, kubanga ebintu tebikyali nga bwe byali. Abakkakkamu baligulumizibwa, n’abeegulumiza balikkakkanyizibwa. 27 Matongo, matongo, ndikifuula matongo, era tekirizzibwa buggya okutuusa nnyinikyo lw’alijja, era oyo gwe ndikiwa.’ 28 “Kaakano ggwe omwana w’omuntu, wa obunnabbi, oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda ku baana ba Amoni n’obujoozi bwabwe:“ ‘Ekitala, ekitala,kisowoddwa okutta,Kiziguddwa okusaanyaawoera kimyansa ng’okumyansa kw’eggulu. 29 Newaakubadde nga baakubuulira ebirooto eby’obulimba,ne bakuwa obunnabbi obw’obulimba,ekitala kiriteekebwa ku bulagobw’abakozi b’ebibi abookuttibwa,olunaku be lutuukidde n’ekiseera eky’okubonerezebwa kwabwebe kituukidde ku ntikko esemberayo ddala. 30 “ ‘Ekitala kizzemu kiraato kyakyo.Mu kifo mwe watondebwa, mu nsi ey’obujjajja,eyo gye ndikusalirira omusango. 31 Ndikufukako ekiruyi kyange,ne nkufuuwako omuliro ogw’obusungu bwange,ne nkuwaayo mu mikono gy’abasajja abakambwe abali ng’ensolo,abaatendekebwa mu byo kuzikiriza. 32 Oliba nku za muliro,n’omusaayi gwo guliyiyibwa mu nsi yo,era tolijjukirwa nate,kubanga nze MUKAMA njogedde.’ ”

In Other Versions

Ezekiel 21 in the ANGEFD

Ezekiel 21 in the ANTPNG2D

Ezekiel 21 in the AS21

Ezekiel 21 in the BAGH

Ezekiel 21 in the BBPNG

Ezekiel 21 in the BBT1E

Ezekiel 21 in the BDS

Ezekiel 21 in the BEV

Ezekiel 21 in the BHAD

Ezekiel 21 in the BIB

Ezekiel 21 in the BLPT

Ezekiel 21 in the BNT

Ezekiel 21 in the BNTABOOT

Ezekiel 21 in the BNTLV

Ezekiel 21 in the BOATCB

Ezekiel 21 in the BOATCB2

Ezekiel 21 in the BOBCV

Ezekiel 21 in the BOCNT

Ezekiel 21 in the BOECS

Ezekiel 21 in the BOGWICC

Ezekiel 21 in the BOHCB

Ezekiel 21 in the BOHCV

Ezekiel 21 in the BOHLNT

Ezekiel 21 in the BOHNTLTAL

Ezekiel 21 in the BOICB

Ezekiel 21 in the BOILNTAP

Ezekiel 21 in the BOITCV

Ezekiel 21 in the BOKCV

Ezekiel 21 in the BOKCV2

Ezekiel 21 in the BOKHWOG

Ezekiel 21 in the BOKSSV

Ezekiel 21 in the BOLCB2

Ezekiel 21 in the BOMCV

Ezekiel 21 in the BONAV

Ezekiel 21 in the BONCB

Ezekiel 21 in the BONLT

Ezekiel 21 in the BONUT2

Ezekiel 21 in the BOPLNT

Ezekiel 21 in the BOSCB

Ezekiel 21 in the BOSNC

Ezekiel 21 in the BOTLNT

Ezekiel 21 in the BOVCB

Ezekiel 21 in the BOYCB

Ezekiel 21 in the BPBB

Ezekiel 21 in the BPH

Ezekiel 21 in the BSB

Ezekiel 21 in the CCB

Ezekiel 21 in the CUV

Ezekiel 21 in the CUVS

Ezekiel 21 in the DBT

Ezekiel 21 in the DGDNT

Ezekiel 21 in the DHNT

Ezekiel 21 in the DNT

Ezekiel 21 in the ELBE

Ezekiel 21 in the EMTV

Ezekiel 21 in the ESV

Ezekiel 21 in the FBV

Ezekiel 21 in the FEB

Ezekiel 21 in the GGMNT

Ezekiel 21 in the GNT

Ezekiel 21 in the HARY

Ezekiel 21 in the HNT

Ezekiel 21 in the IRVA

Ezekiel 21 in the IRVB

Ezekiel 21 in the IRVG

Ezekiel 21 in the IRVH

Ezekiel 21 in the IRVK

Ezekiel 21 in the IRVM

Ezekiel 21 in the IRVM2

Ezekiel 21 in the IRVO

Ezekiel 21 in the IRVP

Ezekiel 21 in the IRVT

Ezekiel 21 in the IRVT2

Ezekiel 21 in the IRVU

Ezekiel 21 in the ISVN

Ezekiel 21 in the JSNT

Ezekiel 21 in the KAPI

Ezekiel 21 in the KBT1ETNIK

Ezekiel 21 in the KBV

Ezekiel 21 in the KJV

Ezekiel 21 in the KNFD

Ezekiel 21 in the LBA

Ezekiel 21 in the LBLA

Ezekiel 21 in the LNT

Ezekiel 21 in the LSV

Ezekiel 21 in the MAAL

Ezekiel 21 in the MBV

Ezekiel 21 in the MBV2

Ezekiel 21 in the MHNT

Ezekiel 21 in the MKNFD

Ezekiel 21 in the MNG

Ezekiel 21 in the MNT

Ezekiel 21 in the MNT2

Ezekiel 21 in the MRS1T

Ezekiel 21 in the NAA

Ezekiel 21 in the NASB

Ezekiel 21 in the NBLA

Ezekiel 21 in the NBS

Ezekiel 21 in the NBVTP

Ezekiel 21 in the NET2

Ezekiel 21 in the NIV11

Ezekiel 21 in the NNT

Ezekiel 21 in the NNT2

Ezekiel 21 in the NNT3

Ezekiel 21 in the PDDPT

Ezekiel 21 in the PFNT

Ezekiel 21 in the RMNT

Ezekiel 21 in the SBIAS

Ezekiel 21 in the SBIBS

Ezekiel 21 in the SBIBS2

Ezekiel 21 in the SBICS

Ezekiel 21 in the SBIDS

Ezekiel 21 in the SBIGS

Ezekiel 21 in the SBIHS

Ezekiel 21 in the SBIIS

Ezekiel 21 in the SBIIS2

Ezekiel 21 in the SBIIS3

Ezekiel 21 in the SBIKS

Ezekiel 21 in the SBIKS2

Ezekiel 21 in the SBIMS

Ezekiel 21 in the SBIOS

Ezekiel 21 in the SBIPS

Ezekiel 21 in the SBISS

Ezekiel 21 in the SBITS

Ezekiel 21 in the SBITS2

Ezekiel 21 in the SBITS3

Ezekiel 21 in the SBITS4

Ezekiel 21 in the SBIUS

Ezekiel 21 in the SBIVS

Ezekiel 21 in the SBT

Ezekiel 21 in the SBT1E

Ezekiel 21 in the SCHL

Ezekiel 21 in the SNT

Ezekiel 21 in the SUSU

Ezekiel 21 in the SUSU2

Ezekiel 21 in the SYNO

Ezekiel 21 in the TBIAOTANT

Ezekiel 21 in the TBT1E

Ezekiel 21 in the TBT1E2

Ezekiel 21 in the TFTIP

Ezekiel 21 in the TFTU

Ezekiel 21 in the TGNTATF3T

Ezekiel 21 in the THAI

Ezekiel 21 in the TNFD

Ezekiel 21 in the TNT

Ezekiel 21 in the TNTIK

Ezekiel 21 in the TNTIL

Ezekiel 21 in the TNTIN

Ezekiel 21 in the TNTIP

Ezekiel 21 in the TNTIZ

Ezekiel 21 in the TOMA

Ezekiel 21 in the TTENT

Ezekiel 21 in the UBG

Ezekiel 21 in the UGV

Ezekiel 21 in the UGV2

Ezekiel 21 in the UGV3

Ezekiel 21 in the VBL

Ezekiel 21 in the VDCC

Ezekiel 21 in the YALU

Ezekiel 21 in the YAPE

Ezekiel 21 in the YBVTP

Ezekiel 21 in the ZBP