Genesis 27 (BOLCB)

1 Awo Isaaka bwe yali ng’akaddiye nnyo n’amaaso ge nga gayimbadde, nga takyayinza kulaba, n’ayita Esawu mutabani we omukulu, n’amugamba nti, “Mutabani,” n’amuddamu nti, “Nze nzuuno.” 2 Isaaka n’amugamba nti, “Laba, nkaddiye, simanyi lwe ndifa. 3 Kale kaakano kwata by’oyizza, omutego gwo n’obusaale bwo, ogende mu nsiko onjiggire yo omuyiggo. 4 Onteekereteekere ekyokulya ekiwooma ennyo kye njagala, okindeetere nkirye, ndyoke nkusabire omukisa nga sinnafa.” 5 Ne Lebbeeka yali awo ng’awuliriza, Isaaka ng’agamba mutabani we omukulu Esawu. Awo Esawu bwe yagenda mu nsiko okuyigga omuyiggo aguleete, 6 Lebbeeka n’agamba mutabani we Yakobo owookubiri nti, “Mpulidde kitaawo ng’agamba muganda wo Esawu nti, 7 ‘Ndeetera omuyiggo onteekereteekere ekyokulya ekiwooma obulungi, nkirye, ndyoke nkusabire omukisa eri MUKAMA nga sinnafa.’ 8 Kale nno kaakano mwana wange wulira kye nkugamba. 9 Genda eri ekisibo ondeeteremu embuzi bbiri ennungi, nfumbire kitaawo ekyokulya ekiwooma, nga bw’ayagala, 10 okitwalire kitaawo akirye, alyoke akusabire omukisa nga tannafa.” 11 Naye Yakobo n’agamba Lebbeeka nnyina nti, “Muganda wange Esawu musajja wa byoya, so nga nze ndi muweweevu. 12 Singa kitange anampeeweetako, siifuuke mulimba gy’ali, ne nfuna ekikolimo mu kifo ky’okufuna omukisa?” 13 Nnyina n’amuddamu nti, “Ekikolimo kyo kibe ku nze mwana wange; wulira ekigambo kyange ogende ozindeetere.” 14 Awo Yakobo n’agenda, n’azikwata n’azireeteera nnyina, n’ateekerateekera Isaaka ekyokulya ekiwooma nga bwe yayagala. 15 Lebbeeka n’addira ebyambalo ebisinga obulungi ebya Esawu, mutabani we omukulu, ebyali mu nnyumba; n’abyambaza Yakobo mutabani we omuto, 16 era n’addira n’amaliba g’embuzi n’agamwambaza ku mikono ne ku bitundu ebyobulago ebiweweera. 17 N’alyoka addira ekyokulya ekiwooma n’omugaati bye yafumba, n’abikwasa Yakobo mutabani we. 18 Awo Yakobo n’agenda eri kitaawe, n’amugamba nti, “Kitange nzuuno.” Ye n’amuddamu nti, “Ggwe ani mwana wange?” 19 Yakobo n’agamba kitaawe nti, “Nze Esawu omwana wo omubereberye, nkoze nga bw’oŋŋambye. Kale kaakano tuula olye ku muyiggo gwange olyoke onsabire omukisa.” 20 Naye Isaaka n’abuuza mutabani we nti, “Ogufunye otya amangu bw’otyo?” N’amuddamu nti, “MUKAMA Katonda wo ampadde omukisa.” 21 Awo Isaaka n’agamba mutabani we nti, “Sembera wendi mutabani, nkukwateko, ntegeerere ddala nga ggwe mutabani wange Esawu.” 22 Yakobo kwe kusembera awali Isaaka kitaawe. Bwe yamuwulira n’agamba nti, “Eddoboozi lya Yakobo naye emikono gya Esawu.” 23 N’atamutegeera kubanga emikono gye gyaliko obwoya ng’egya Esawu muganda we, kwe kumuwa omukisa. 24 Isaaka n’amubuuza nti, “Ddala gwe mwana wange Esawu?”N’amuddamu nti, “Ye nze.” 25 N’alyoka amugamba nti, “Kale gundeetere, ndye ku muyiggo gwa mutabani wange, nkusabire omukisa.” N’alyoka agumuleetera, n’alya era n’amuleetera n’envinnyo n’anywa. 26 Awo kitaawe Isaaka n’amugamba nti, “Sembera onnywegere mwana wange.” 27 N’amusemberera n’amunywegera, kitaawe n’awulira akaloosa ke ngoye ze n’amuwa omukisa ng’agamba nti,“Wulira akaloosa k’omwana wange,kali ng’akaloosa k’ennimiro MUKAMA gy’awadde omukisa. 28 Katonda akuwe omusulo ogw’omu ggulu,n’obugimu bw’ensi,era akuwe emmere ey’empeke nnyingi n’envinnyo. 29 Abantu bakuweerezenga,n’amawanga gakuvuunamirenga.Fuganga baganda bo,ne batabani ba nnyoko bakuvuunamirenga.Akolimirwe oyo anaakukolimirangaera aweebwenga omukisa oyo anaakusabiranga omukisa.” 30 Amangu ddala nga Isaaka yakamala okuwa Yakobo omukisa, era nga Yakobo tannava wali Isaaka kitaabwe, Esawu n’atuuka ng’ava okuyigga. 31 Era naye n’ateekateeka emmere ey’akawoowo n’agireetera kitaawe. N’agamba kitaawe nti, “Kitange golokoka olye ku muyiggo gw’omwana wo olyoke onsabire omukisa.” 32 Kitaawe Isaaka n’amubuuza nti, “Gwe ani?” Kwe kumuddamu nti, “Nze omwana wo omubereberye Esawu.” 33 Olwo Isaaka n’akankana nnyo n’abuuza nti, “Ani oyo ayizze omuyiggo n’agundeetera ne ngulya ne ngumalawo nga tonnajja ne mmusabira omukisa? Era ddala ajja kuweebwa omukisa.” 34 Awo Esawu bwe yawulira ebigambo bya kitaawe ebyo, n’atulika n’akaaba nnyo nnyini, n’agamba kitaawe nti, “Nange mpa omukisa, ayi kitange.” 35 Naye n’amuddamu nti, “Muganda wo azze n’annimba era akututteko omukisa gwo.” 36 Esawu n’ayogera nti, “Teyatuumibwa linnya lye Yakobo? Laba, anyingiridde emirundi gino gyombi; yanziggyako eby’obukulu bwange, ate kaakano antutteko n’omukisa gwange.” Kwe kubuuza kitaawe nti, “Tondekeddeewo mukisa n’akatono?” 37 Isaaka n’addamu Esawu nti, “Laba, mmufudde mukama wo, era mmuwadde baganda be bonna babe baweereza be, era mmusabidde abe n’emmere ey’empeke wamu n’envinnyo nga bingi ddala. Kale nnaakukolera ki mwana wange?” 38 Esawu n’abuuza kitaawe nti, “Tolinaawo mukisa na gumu kitange? Nange mpa omukisa, ayi kitange.” Bw’atyo Esawu n’ayimusa eddoboozi lye n’akaaba. 39 Awo Isaaka kitaawe n’amuddamu nti,“Laba, onooberanga mu nsi enkalu,era toofunenga musulo guva waggulu mu ggulu. 40 Ekitala kyo kye kinaakukuumanga,era onooweerezanga muganda wo.Naye bw’olimwesimattulako,oliba weefunidde eddembe.” 41 Awo Esawu n’akyawa muganda we Yakobo ng’amulanga omukisa kitaabwe gwe yamuwa. Esawu n’alyoka ayogera nti, “Ennaku ez’okukungubagira kitange zinaatera okutuuka. Bwe zirituuka, muganda wange Yakobo nga mutta.” 42 Kyokka Lebbeeka n’atuusibwako ebigambo bya Esawu mutabani we omukulu; kwe kutumya Yakobo mutabani we omuto, n’amugamba nti, “Laba, Esawu muganda wo ateekateeka okukutta. 43 Kale nno kaakano mwana wange, okole nga bwe nkugamba: Golokoka oddukire ewa, mwannyinaze Labbaani ali mu Kalani, 44 obeereko eyo, okutuusa obusungu bwa muganda wo nga bukkakkanye. 45 Obusungu bwe buliba bumuweddeko, nga yeerabidde ky’omukoze, ne ndyoka ntuma ne bakunona. Kale lwaki mbafiirwa mwembi ku lunaku olumu?” 46 Lebbeeka n’alyoka ategeeza Isaaka nti, “Obulamu bwange bwetamiddwa olw’abakazi bano Abakiiti. Singa Yakobo awasa omu ku bakazi Abakiiti, nga bano, omu ku bakazi aba muno, obulamu bwange buliba tebukyangasa.”

In Other Versions

Genesis 27 in the ANGEFD

Genesis 27 in the ANTPNG2D

Genesis 27 in the AS21

Genesis 27 in the BAGH

Genesis 27 in the BBPNG

Genesis 27 in the BBT1E

Genesis 27 in the BDS

Genesis 27 in the BEV

Genesis 27 in the BHAD

Genesis 27 in the BIB

Genesis 27 in the BLPT

Genesis 27 in the BNT

Genesis 27 in the BNTABOOT

Genesis 27 in the BNTLV

Genesis 27 in the BOATCB

Genesis 27 in the BOATCB2

Genesis 27 in the BOBCV

Genesis 27 in the BOCNT

Genesis 27 in the BOECS

Genesis 27 in the BOGWICC

Genesis 27 in the BOHCB

Genesis 27 in the BOHCV

Genesis 27 in the BOHLNT

Genesis 27 in the BOHNTLTAL

Genesis 27 in the BOICB

Genesis 27 in the BOILNTAP

Genesis 27 in the BOITCV

Genesis 27 in the BOKCV

Genesis 27 in the BOKCV2

Genesis 27 in the BOKHWOG

Genesis 27 in the BOKSSV

Genesis 27 in the BOLCB2

Genesis 27 in the BOMCV

Genesis 27 in the BONAV

Genesis 27 in the BONCB

Genesis 27 in the BONLT

Genesis 27 in the BONUT2

Genesis 27 in the BOPLNT

Genesis 27 in the BOSCB

Genesis 27 in the BOSNC

Genesis 27 in the BOTLNT

Genesis 27 in the BOVCB

Genesis 27 in the BOYCB

Genesis 27 in the BPBB

Genesis 27 in the BPH

Genesis 27 in the BSB

Genesis 27 in the CCB

Genesis 27 in the CUV

Genesis 27 in the CUVS

Genesis 27 in the DBT

Genesis 27 in the DGDNT

Genesis 27 in the DHNT

Genesis 27 in the DNT

Genesis 27 in the ELBE

Genesis 27 in the EMTV

Genesis 27 in the ESV

Genesis 27 in the FBV

Genesis 27 in the FEB

Genesis 27 in the GGMNT

Genesis 27 in the GNT

Genesis 27 in the HARY

Genesis 27 in the HNT

Genesis 27 in the IRVA

Genesis 27 in the IRVB

Genesis 27 in the IRVG

Genesis 27 in the IRVH

Genesis 27 in the IRVK

Genesis 27 in the IRVM

Genesis 27 in the IRVM2

Genesis 27 in the IRVO

Genesis 27 in the IRVP

Genesis 27 in the IRVT

Genesis 27 in the IRVT2

Genesis 27 in the IRVU

Genesis 27 in the ISVN

Genesis 27 in the JSNT

Genesis 27 in the KAPI

Genesis 27 in the KBT1ETNIK

Genesis 27 in the KBV

Genesis 27 in the KJV

Genesis 27 in the KNFD

Genesis 27 in the LBA

Genesis 27 in the LBLA

Genesis 27 in the LNT

Genesis 27 in the LSV

Genesis 27 in the MAAL

Genesis 27 in the MBV

Genesis 27 in the MBV2

Genesis 27 in the MHNT

Genesis 27 in the MKNFD

Genesis 27 in the MNG

Genesis 27 in the MNT

Genesis 27 in the MNT2

Genesis 27 in the MRS1T

Genesis 27 in the NAA

Genesis 27 in the NASB

Genesis 27 in the NBLA

Genesis 27 in the NBS

Genesis 27 in the NBVTP

Genesis 27 in the NET2

Genesis 27 in the NIV11

Genesis 27 in the NNT

Genesis 27 in the NNT2

Genesis 27 in the NNT3

Genesis 27 in the PDDPT

Genesis 27 in the PFNT

Genesis 27 in the RMNT

Genesis 27 in the SBIAS

Genesis 27 in the SBIBS

Genesis 27 in the SBIBS2

Genesis 27 in the SBICS

Genesis 27 in the SBIDS

Genesis 27 in the SBIGS

Genesis 27 in the SBIHS

Genesis 27 in the SBIIS

Genesis 27 in the SBIIS2

Genesis 27 in the SBIIS3

Genesis 27 in the SBIKS

Genesis 27 in the SBIKS2

Genesis 27 in the SBIMS

Genesis 27 in the SBIOS

Genesis 27 in the SBIPS

Genesis 27 in the SBISS

Genesis 27 in the SBITS

Genesis 27 in the SBITS2

Genesis 27 in the SBITS3

Genesis 27 in the SBITS4

Genesis 27 in the SBIUS

Genesis 27 in the SBIVS

Genesis 27 in the SBT

Genesis 27 in the SBT1E

Genesis 27 in the SCHL

Genesis 27 in the SNT

Genesis 27 in the SUSU

Genesis 27 in the SUSU2

Genesis 27 in the SYNO

Genesis 27 in the TBIAOTANT

Genesis 27 in the TBT1E

Genesis 27 in the TBT1E2

Genesis 27 in the TFTIP

Genesis 27 in the TFTU

Genesis 27 in the TGNTATF3T

Genesis 27 in the THAI

Genesis 27 in the TNFD

Genesis 27 in the TNT

Genesis 27 in the TNTIK

Genesis 27 in the TNTIL

Genesis 27 in the TNTIN

Genesis 27 in the TNTIP

Genesis 27 in the TNTIZ

Genesis 27 in the TOMA

Genesis 27 in the TTENT

Genesis 27 in the UBG

Genesis 27 in the UGV

Genesis 27 in the UGV2

Genesis 27 in the UGV3

Genesis 27 in the VBL

Genesis 27 in the VDCC

Genesis 27 in the YALU

Genesis 27 in the YAPE

Genesis 27 in the YBVTP

Genesis 27 in the ZBP