Leviticus 2 (BOLCB)
1 “ ‘Omuntu yenna bw’anaaleetanga eri MUKAMA ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke; empeke anaamalanga kuzisa, n’aleeta obuwunga obulungi. Anaabufukangako amafuta ag’omuzeeyituuni, n’ateekako n’obubaane, 2 n’alyoka abuleetera batabani ba Alooni, bakabona. Kabona anaayoolanga olubatu lw’obuwunga obulimu amafuta ag’omuzeeyituuni n’obubaane, n’abwokya mu kyoto ng’ekijjukizo, nga kye kiweebwayo ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa MUKAMA. 3 Obuwunga obunaasigalangawo ku kiweebwayo, bunaatwalibwanga Alooni ne batabani be, nga kye kitundu ekitukuvu ennyo eky’ekiweebwayo eri MUKAMA ekyokeddwa mu muliro. 4 “ ‘Bw’onooleetanga emigaati egifumbiddwa mu oveni nga kye kiweebwayo, ginaabanga emigaati egikoleddwa mu buwunga obulungi nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni nga tegiriimu kizimbulukusa, oba bunaabanga obusukuuti obw’oluwewere obutaliimu kizimbulukusa nga busiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni. 5 Ekiweebwayo kyo bwe kinaabanga eky’emmere ey’empeke nga kitegekeddwa ku lukalango, kinaakolebwanga mu buwunga obulungi obutaliimu kizimbulukusa nga butabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni. 6 Onookimenyaamenyanga mu butundutundu, n’okifukako amafuta ag’omuzeeyituuni. Ekyo kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke. 7 Ekiweebwayo kyo bwe kinaabanga eky’emmere ey’empeke nga kyakufumbirwa mu fulampeni, kinaateekebwateekebwanga mu buwunga obulungi n’amafuta ag’omuzeeyituuni. 8 Onooleeteranga MUKAMA ekiweebwayo ekyo eky’emmere ey’empeke ekitabuddwa mu bintu ebyo; bwe kinaakwasibwanga kabona, ye anaakireetanga ku kyoto. 9 Awo kabona anaggyanga ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ekitundu eky’ekijjukizo kyakyo, n’akyokya ku kyoto, nga kye kiweebwayo ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa MUKAMA. 10 Era ekinaafikkanga ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, Alooni ne batabani be, be banaakitwalanga; nga kye kitundu ekitukuvu ennyo ekibalirwa ku biweebwayo eri MUKAMA ekyokeddwa mu muliro. 11 “ ‘Temuleeteranga MUKAMA ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga kiteekeddwamu n’ekizimbulukusa; kubanga temuuyokyenga kizimbulukusa wadde omubisi gw’enjuki ng’ekiweebwayo eri MUKAMA ekyokeddwa mu muliro. 12 Munaabireetanga eri MUKAMA ng’ebiweebwayo eby’ebibala ebibereberye, naye tebiiweerwengayo ku kyoto okubeera evvumbe eddungi erisanyusa MUKAMA. 13 Ebiweebwayo byo byonna eby’emmere ey’empeke onoobirungangamu omunnyo: tokkirizanga munnyo ogw’endagaano ne Katonda wo okubula mu biweebwayo byo eby’emmere ey’empeke; mu biweebwayo byo byonna ossangamu omunnyo. 14 “ ‘Bw’onooleetanga eri MUKAMA ebiweebwayo eby’ebibala ebibereberye eby’emmere ey’empeke, binaabanga ebirimba ebibisi ebibereberye eby’emmere ey’empeke nga bibetenteddwa era nga byokeddwako mu muliro. 15 Onoobifukangako amafuta ag’omuzeeyituuni, n’obiteekangako n’obubaane; ekyo nga kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke. 16 Awo kabona anaggyanga ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ekimaze okubetentebwa nga mulimu amafuta ag’omuzeeyituuni n’obubaane, ekitundu eky’ekijjukizo kyakyo, n’akyokya; ekyo nga kye kiweebwayo eri MUKAMA ekyokeddwa mu muliro.
In Other Versions
Leviticus 2 in the ANGEFD
Leviticus 2 in the ANTPNG2D
Leviticus 2 in the AS21
Leviticus 2 in the BAGH
Leviticus 2 in the BBPNG
Leviticus 2 in the BBT1E
Leviticus 2 in the BDS
Leviticus 2 in the BEV
Leviticus 2 in the BHAD
Leviticus 2 in the BIB
Leviticus 2 in the BLPT
Leviticus 2 in the BNT
Leviticus 2 in the BNTABOOT
Leviticus 2 in the BNTLV
Leviticus 2 in the BOATCB
Leviticus 2 in the BOATCB2
Leviticus 2 in the BOBCV
Leviticus 2 in the BOCNT
Leviticus 2 in the BOECS
Leviticus 2 in the BOGWICC
Leviticus 2 in the BOHCB
Leviticus 2 in the BOHCV
Leviticus 2 in the BOHLNT
Leviticus 2 in the BOHNTLTAL
Leviticus 2 in the BOICB
Leviticus 2 in the BOILNTAP
Leviticus 2 in the BOITCV
Leviticus 2 in the BOKCV
Leviticus 2 in the BOKCV2
Leviticus 2 in the BOKHWOG
Leviticus 2 in the BOKSSV
Leviticus 2 in the BOLCB2
Leviticus 2 in the BOMCV
Leviticus 2 in the BONAV
Leviticus 2 in the BONCB
Leviticus 2 in the BONLT
Leviticus 2 in the BONUT2
Leviticus 2 in the BOPLNT
Leviticus 2 in the BOSCB
Leviticus 2 in the BOSNC
Leviticus 2 in the BOTLNT
Leviticus 2 in the BOVCB
Leviticus 2 in the BOYCB
Leviticus 2 in the BPBB
Leviticus 2 in the BPH
Leviticus 2 in the BSB
Leviticus 2 in the CCB
Leviticus 2 in the CUV
Leviticus 2 in the CUVS
Leviticus 2 in the DBT
Leviticus 2 in the DGDNT
Leviticus 2 in the DHNT
Leviticus 2 in the DNT
Leviticus 2 in the ELBE
Leviticus 2 in the EMTV
Leviticus 2 in the ESV
Leviticus 2 in the FBV
Leviticus 2 in the FEB
Leviticus 2 in the GGMNT
Leviticus 2 in the GNT
Leviticus 2 in the HARY
Leviticus 2 in the HNT
Leviticus 2 in the IRVA
Leviticus 2 in the IRVB
Leviticus 2 in the IRVG
Leviticus 2 in the IRVH
Leviticus 2 in the IRVK
Leviticus 2 in the IRVM
Leviticus 2 in the IRVM2
Leviticus 2 in the IRVO
Leviticus 2 in the IRVP
Leviticus 2 in the IRVT
Leviticus 2 in the IRVT2
Leviticus 2 in the IRVU
Leviticus 2 in the ISVN
Leviticus 2 in the JSNT
Leviticus 2 in the KAPI
Leviticus 2 in the KBT1ETNIK
Leviticus 2 in the KBV
Leviticus 2 in the KJV
Leviticus 2 in the KNFD
Leviticus 2 in the LBA
Leviticus 2 in the LBLA
Leviticus 2 in the LNT
Leviticus 2 in the LSV
Leviticus 2 in the MAAL
Leviticus 2 in the MBV
Leviticus 2 in the MBV2
Leviticus 2 in the MHNT
Leviticus 2 in the MKNFD
Leviticus 2 in the MNG
Leviticus 2 in the MNT
Leviticus 2 in the MNT2
Leviticus 2 in the MRS1T
Leviticus 2 in the NAA
Leviticus 2 in the NASB
Leviticus 2 in the NBLA
Leviticus 2 in the NBS
Leviticus 2 in the NBVTP
Leviticus 2 in the NET2
Leviticus 2 in the NIV11
Leviticus 2 in the NNT
Leviticus 2 in the NNT2
Leviticus 2 in the NNT3
Leviticus 2 in the PDDPT
Leviticus 2 in the PFNT
Leviticus 2 in the RMNT
Leviticus 2 in the SBIAS
Leviticus 2 in the SBIBS
Leviticus 2 in the SBIBS2
Leviticus 2 in the SBICS
Leviticus 2 in the SBIDS
Leviticus 2 in the SBIGS
Leviticus 2 in the SBIHS
Leviticus 2 in the SBIIS
Leviticus 2 in the SBIIS2
Leviticus 2 in the SBIIS3
Leviticus 2 in the SBIKS
Leviticus 2 in the SBIKS2
Leviticus 2 in the SBIMS
Leviticus 2 in the SBIOS
Leviticus 2 in the SBIPS
Leviticus 2 in the SBISS
Leviticus 2 in the SBITS
Leviticus 2 in the SBITS2
Leviticus 2 in the SBITS3
Leviticus 2 in the SBITS4
Leviticus 2 in the SBIUS
Leviticus 2 in the SBIVS
Leviticus 2 in the SBT
Leviticus 2 in the SBT1E
Leviticus 2 in the SCHL
Leviticus 2 in the SNT
Leviticus 2 in the SUSU
Leviticus 2 in the SUSU2
Leviticus 2 in the SYNO
Leviticus 2 in the TBIAOTANT
Leviticus 2 in the TBT1E
Leviticus 2 in the TBT1E2
Leviticus 2 in the TFTIP
Leviticus 2 in the TFTU
Leviticus 2 in the TGNTATF3T
Leviticus 2 in the THAI
Leviticus 2 in the TNFD
Leviticus 2 in the TNT
Leviticus 2 in the TNTIK
Leviticus 2 in the TNTIL
Leviticus 2 in the TNTIN
Leviticus 2 in the TNTIP
Leviticus 2 in the TNTIZ
Leviticus 2 in the TOMA
Leviticus 2 in the TTENT
Leviticus 2 in the UBG
Leviticus 2 in the UGV
Leviticus 2 in the UGV2
Leviticus 2 in the UGV3
Leviticus 2 in the VBL
Leviticus 2 in the VDCC
Leviticus 2 in the YALU
Leviticus 2 in the YAPE
Leviticus 2 in the YBVTP
Leviticus 2 in the ZBP