Psalms 52 (BOLCB)
undefined Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Dowegi Omwedomu bwe yagenda n’abuulira Sawulo nti, “Dawudi alaze mu nnyumba ya Akimereki.” 1 Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja ow’amaanyi?Endagaano ya Katonda ey’obwesigwa ebeerera emirembe n’emirembe. 2 Oteekateeka enkwe ez’okuzikiriza.Olulimi lwo lwogi nga kkiritaera buli kiseera lwogera bya bulimba. 3 Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi,n’okulimba okusinga okwogera amazima. 4 Osanyukira nnyo okwogera ebirumya.Ggwe olulimi kalimbira! 5 Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna;alikusikula, akuggye mu maka go;alikugoba mu nsi y’abalamu. 6 Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde.Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti, 7 “Mumulabe omusajjaateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye,naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi,ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.” 8 Naye nze nfaanana ng’omuti omuzeyituuniogukulira mu nnyumba ya Katonda.Neesiga okwagala kwa Katonda okutaggwaawoemirembe n’emirembe. 9 Nnaakwebazanga emirembe gyonna olw’ekyo ky’okoze.Nneesiganga erinnya lyo kubanga erinnya lyo ddungi;era nnaakutendererezanga awali abatuukirivu bo.