1 Kings 2 (BOLCB)

1 Dawudi bwe yali anaatera okufa, n’abuulirira mutabani we Sulemaani ng’amukuutira nti, 2 “Nze ŋŋenda bonna ab’omu nsi gye bagenda, kale beera n’amaanyi era n’obuvumu, 3 era tambuliranga mu makubo ga MUKAMA Katonda wo ng’okwatanga ebiragiro bye, era okwatenga amateeka ge, n’ebiragiro bye n’ebyo by’ayagala, nga bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Musa, olyoke obeerenga n’omukisa mu byonna by’onookolanga na buli gy’onoogendanga yonna. 4 MUKAMA anyweze ekisuubizo kye gye ndi nti, ‘Abaana bo bwe baneegenderezanga mu kkubo lyabwe, era bwe banaatambuliranga mu maaso gange mu mazima n’omutima gwabwe gwonna n’emmeeme yaabwe yonna, tewalibaawo muntu ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri atali wa mu zzadde lyo.’  5 “Ate ojjukiranga Yowaabu mutabani wa Zeruyiya kye yankola, bwe yatta abakulu ababiri ab’eggye lya Isirayiri, Abuneeri mutabani wa Neeri ne Amasa mutabani wa Yeseri n’ayiwa omusaayi gwabwe mu biseera eby’emirembe ng’eyali mu lutalo, era omusaayi gwabwe ne gumansukira olukoba lwe olwali mu kiwato n’engatto ze ezaali mu bigere bye. 6 Kale muyise ng’okutegeera kwo bwe kuli, so tomuganyanga kukka emagombe mirembe mu bukadde bwe. 7 “Naye batabani ba Baluzirayi Omugireyaadi obakoleranga ebyekisa, era babenga ku abo abanaatuulanga ku mmeeza yo, kubanga baali wamu nange bwe nadduka Abusaalomu muganda wo. 8 “Era jjukira Simeeyi mutabani wa Gera Omubenyamini ow’e Bakulimu ali naawe, kubanga yankolimira mu ngeri enzibu ennyo, ku lunaku lwe nagenderako e Makanayimu. Kyokka bwe yaserengeta okunsisinkana ku Yoludaani ne mulayirira MUKAMA nti, ‘Sijja kukutta na kitala.’ 9 Kaakano tomubala ng’ataliiko musango. Oli musajja w’amagezi, era olimanya ekirikugwanira okumukola; tomuganyanga okukka emagombe mu mirembe mu bukadde bwe.” 10 Awo Dawudi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. 11 Yafugira Isirayiri yonna emyaka amakumi ana, ng’afugira emyaka musanvu e Kebbulooni, n’emyaka amakumi asatu mu esatu e Yerusaalemi. 12 Awo Sulemaani n’atuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Dawudi kitaawe, obwakabaka bwe ne bunywezebwa nnyo. 13 Adoniya omwana wa Kaggisi, n’alaga eri Basuseba nnyina Sulemaani. Basuseba n’amubuuza nti, “Ojja mirembe?” N’addamu nti, “Weewaawo mirembe.” 14 N’ayogera nate nti, “Nnina kye njagala okukubuulira.” Basuseba n’amuddamu nti, “Kimbuulire.” 15 Adoniya n’amugamba nti, “Nga bw’omanyi, obwakabaka bwali bwange, era ne Isirayiri yenna baatunuulira nze nga kabaka waabwe. Naye ebintu byakyuka, era n’obwakabaka bugenze eri muganda wange, kubanga bumuweereddwa MUKAMA. 16 Kaakano nkusaba ekigambo kimu, era tokinnyima.” Basuseba n’amugamba nti, “Kyogere.” 17 Adoniya n’ayogera nti, “Nkwegayiridde gamba Sulemaani kabaka ampe Abisaagi Omusunammu okuba mukyala wange, kubanga kabaka anaakuwuliriza.” 18 Basuseba n’addamu nti, “Kale, nnaakwogererayo eri Kabaka.” 19 Awo Basuseba bwe yagenda eri Kabaka Sulemaani, okwogererayo Adoniya, Kabaka n’agolokoka okumusisinkana, n’akutama n’oluvannyuma n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka. N’atumya entebe ey’obwakabaka endala nnyina atuuleko, n’atuula ku mukono gwa kabaka ogwa ddyo. 20 Basuseba n’amugamba nti, “Nkusaba ekigambo kimu ekitono, era tokinnyima.”Kabaka n’amuddamu nti, “Kisabe, maama, nange siikikumme.” 21 N’ayogera nti, “Kkiriza Abisaagi Omusunammu afumbirwe muganda wo Adoniya.” 22 Kabaka Sulemaani n’addamu nnyina nti, “Lwaki osabira Adoniya, Abisaagi Omusunammu? Musabire n’obwakabaka, ate obanga ye mukulu wange; ky’ekyo, sabira ye, ne Abiyasaali kabona ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya!” 23 Awo Kabaka Sulemaani n’alayira ng’agamba nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okusingawo, Adoniya bw’atasasule n’obulamu bwe olw’ekyo ky’asabye! 24 Kale nga MUKAMA bw’ali omulamu, oyo annywezezza ku ntebe ey’obwakabaka eya kitange Dawudi, era ampadde olulyo nga bwe yasuubiza, Adoniya anattibwa leero!” 25 Awo Kabaka Sulemaani n’alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada okutta Adoniya, era Adoniya n’attibwa. 26 Kabaka n’agamba Abiyasaali kabona nti, “Ggwe genda e Anasosi mu byalo byo. Osaanidde okufa, naye siikutte mu biro bino, kubanga wasitulanga essanduuko ya MUKAMA mu maaso ga kitange Dawudi, era n’obonyaabonyezebwa wamu naye mu bibonoobono bye.” 27 Awo Sulemaani n’agoba Abiyasaali ku bwakabona bwa MUKAMA, okutuukiriza ekigambo MUKAMA kye yayogerera e Siiro ku nnyumba ya Eri. 28 Amawulire bwe gaatuuka eri Yowaabu, eyali akyuse okugoberera Adoniya, newaakubadde nga teyagoberera Abusaalomu, n’addukira mu weema ya MUKAMA, n’akwata ku mayembe g’ekyoto. 29 Bwe baategeeza kabaka Sulemaani nti Yowaabu addukidde mu weema ya MUKAMA, era nti ali ku kyoto, n’alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada nti, “Genda omutte.” 30 Benaya n’agenda mu weema ya MUKAMA, n’agamba Yowaabu nti, “Kabaka akulagidde okufuluma.” Naye ye n’addamu nti, “Nedda, nzija kufiira wano.” Benaya n’azzaayo obubaka eri kabaka, nga Yowaabu bwe yamuddamu. 31 Awo kabaka n’alagira Benaya nti, “Kola nga bw’ayogedde, omutte era omuziike oggyewo omusango ku nze ne ku nnyumba ya kitange olw’omusaayi Yowaabu gwe yayiwa awatali nsonga. 32 Era MUKAMA alimusasula olw’omusaayi gwe yayiwa, kubanga yagwa ku basajja babiri n’abatta n’ekitala, Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu w’eggye lya Isirayiri, ne Amasa mutabani wa Yeseri, omukulu w’eggye lya Yuda, kitange Dawudi n’atakimanya, ate nga baali bamusinga obutuukirivu n’obulungi. 33 Bwe gutyo omusango gw’omusaayi gwabwe gubeere ku mutwe gwa Yowaabu ne ku zzadde lye emirembe gyonna. Naye ku Dawudi ne ku zzadde lye, era ne ku nnyumba ye ne ku ntebe ye ey’obwakabaka, wabeerewo emirembe gya MUKAMA emirembe gyonna.” 34 Awo Benaya mutabani wa Yekoyaada n’ayambuka n’atta Yowaabu, n’aziikibwa mu ttaka lye mu ddungu. 35 Awo kabaka n’afuula Benaya mutabani wa Yekoyaada omukulu w’eggye mu kifo kya Yowaabu, n’afuula ne Zadooki kabona mu kifo kya Abiyasaali. 36 Kabaka n’atumya Simeeyi n’amugamba nti, “Weezimbire ennyumba mu Yerusaalemi obeere omwo, so tovangamu okugenda awantu wonna. 37 Olunaku lw’olivaayo n’osomoka ekiwonvu Kiduloni, tegeerera ddala nga tolirema kufa, era omusaayi gwo guliba ku mutwe gwo ggwe.” 38 Simeeyi n’addamu Kabaka nti, “Ky’oyogedde kirungi. Omuddu wo ajja kukola nga mukama wange kabaka bw’ayogedde.” Awo Simeeyi n’amala ekiseera kiwanvu mu Yerusaalemi. 39 Naye bwe waayitawo emyaka esatu, babiri ku baddu ba Simeeyi ne baddukira eri Akisi mutabani wa Maaka kabaka w’e Gaasi. Simeeyi n’ategeezebwa nti, “Abaddu bo bali Gaasi.” 40 Simeeyi olwawulira ebyo, ne yeebagala endogoyi ye n’agenda e Gaasi eri Akisi okunoonya abaddu be. Simeeyi n’agenda okuleeta abaddu be okuva e Gaasi. 41 Bwe baabuulira Sulemaani nti Simeeyi yava e Yerusaalemi n’agenda e Gaasi era n’akomawo, 42 kabaka n’amutumya, n’amubuuza nti, “Saakulayiza MUKAMA ne nkulabula nti, ‘Tegeerera ddala nga olunaku lw’olivaawo okugenda awantu wonna, olifa?’ N’oŋŋamba nti, ‘Kye njogedde kirungi era nzija kukigondera.’ 43 Kale kiki ekyakulobera okwekuuma ekirayiro kya MUKAMA n’ekiragiro kye nakulagira?” 44 Awo kabaka n’agamba Simeeyi nti, “Omanyi mu mutima gwo obubi bwonna bwe wakola Dawudi kitange. Kaakano MUKAMA alikusasula olw’obubi bwo. 45 Naye kabaka Sulemaani aliweebwa omukisa, ne ntebe ya Dawudi ey’obwakabaka erinywezebwa mu maaso ga MUKAMA emirembe gyonna.” 46 Kabaka n’alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada, okutta Simeeyi.Obwakabaka ne bunywezebwa mu mukono gwa Sulemaani.

In Other Versions

1 Kings 2 in the ANGEFD

1 Kings 2 in the ANTPNG2D

1 Kings 2 in the AS21

1 Kings 2 in the BAGH

1 Kings 2 in the BBPNG

1 Kings 2 in the BBT1E

1 Kings 2 in the BDS

1 Kings 2 in the BEV

1 Kings 2 in the BHAD

1 Kings 2 in the BIB

1 Kings 2 in the BLPT

1 Kings 2 in the BNT

1 Kings 2 in the BNTABOOT

1 Kings 2 in the BNTLV

1 Kings 2 in the BOATCB

1 Kings 2 in the BOATCB2

1 Kings 2 in the BOBCV

1 Kings 2 in the BOCNT

1 Kings 2 in the BOECS

1 Kings 2 in the BOGWICC

1 Kings 2 in the BOHCB

1 Kings 2 in the BOHCV

1 Kings 2 in the BOHLNT

1 Kings 2 in the BOHNTLTAL

1 Kings 2 in the BOICB

1 Kings 2 in the BOILNTAP

1 Kings 2 in the BOITCV

1 Kings 2 in the BOKCV

1 Kings 2 in the BOKCV2

1 Kings 2 in the BOKHWOG

1 Kings 2 in the BOKSSV

1 Kings 2 in the BOLCB2

1 Kings 2 in the BOMCV

1 Kings 2 in the BONAV

1 Kings 2 in the BONCB

1 Kings 2 in the BONLT

1 Kings 2 in the BONUT2

1 Kings 2 in the BOPLNT

1 Kings 2 in the BOSCB

1 Kings 2 in the BOSNC

1 Kings 2 in the BOTLNT

1 Kings 2 in the BOVCB

1 Kings 2 in the BOYCB

1 Kings 2 in the BPBB

1 Kings 2 in the BPH

1 Kings 2 in the BSB

1 Kings 2 in the CCB

1 Kings 2 in the CUV

1 Kings 2 in the CUVS

1 Kings 2 in the DBT

1 Kings 2 in the DGDNT

1 Kings 2 in the DHNT

1 Kings 2 in the DNT

1 Kings 2 in the ELBE

1 Kings 2 in the EMTV

1 Kings 2 in the ESV

1 Kings 2 in the FBV

1 Kings 2 in the FEB

1 Kings 2 in the GGMNT

1 Kings 2 in the GNT

1 Kings 2 in the HARY

1 Kings 2 in the HNT

1 Kings 2 in the IRVA

1 Kings 2 in the IRVB

1 Kings 2 in the IRVG

1 Kings 2 in the IRVH

1 Kings 2 in the IRVK

1 Kings 2 in the IRVM

1 Kings 2 in the IRVM2

1 Kings 2 in the IRVO

1 Kings 2 in the IRVP

1 Kings 2 in the IRVT

1 Kings 2 in the IRVT2

1 Kings 2 in the IRVU

1 Kings 2 in the ISVN

1 Kings 2 in the JSNT

1 Kings 2 in the KAPI

1 Kings 2 in the KBT1ETNIK

1 Kings 2 in the KBV

1 Kings 2 in the KJV

1 Kings 2 in the KNFD

1 Kings 2 in the LBA

1 Kings 2 in the LBLA

1 Kings 2 in the LNT

1 Kings 2 in the LSV

1 Kings 2 in the MAAL

1 Kings 2 in the MBV

1 Kings 2 in the MBV2

1 Kings 2 in the MHNT

1 Kings 2 in the MKNFD

1 Kings 2 in the MNG

1 Kings 2 in the MNT

1 Kings 2 in the MNT2

1 Kings 2 in the MRS1T

1 Kings 2 in the NAA

1 Kings 2 in the NASB

1 Kings 2 in the NBLA

1 Kings 2 in the NBS

1 Kings 2 in the NBVTP

1 Kings 2 in the NET2

1 Kings 2 in the NIV11

1 Kings 2 in the NNT

1 Kings 2 in the NNT2

1 Kings 2 in the NNT3

1 Kings 2 in the PDDPT

1 Kings 2 in the PFNT

1 Kings 2 in the RMNT

1 Kings 2 in the SBIAS

1 Kings 2 in the SBIBS

1 Kings 2 in the SBIBS2

1 Kings 2 in the SBICS

1 Kings 2 in the SBIDS

1 Kings 2 in the SBIGS

1 Kings 2 in the SBIHS

1 Kings 2 in the SBIIS

1 Kings 2 in the SBIIS2

1 Kings 2 in the SBIIS3

1 Kings 2 in the SBIKS

1 Kings 2 in the SBIKS2

1 Kings 2 in the SBIMS

1 Kings 2 in the SBIOS

1 Kings 2 in the SBIPS

1 Kings 2 in the SBISS

1 Kings 2 in the SBITS

1 Kings 2 in the SBITS2

1 Kings 2 in the SBITS3

1 Kings 2 in the SBITS4

1 Kings 2 in the SBIUS

1 Kings 2 in the SBIVS

1 Kings 2 in the SBT

1 Kings 2 in the SBT1E

1 Kings 2 in the SCHL

1 Kings 2 in the SNT

1 Kings 2 in the SUSU

1 Kings 2 in the SUSU2

1 Kings 2 in the SYNO

1 Kings 2 in the TBIAOTANT

1 Kings 2 in the TBT1E

1 Kings 2 in the TBT1E2

1 Kings 2 in the TFTIP

1 Kings 2 in the TFTU

1 Kings 2 in the TGNTATF3T

1 Kings 2 in the THAI

1 Kings 2 in the TNFD

1 Kings 2 in the TNT

1 Kings 2 in the TNTIK

1 Kings 2 in the TNTIL

1 Kings 2 in the TNTIN

1 Kings 2 in the TNTIP

1 Kings 2 in the TNTIZ

1 Kings 2 in the TOMA

1 Kings 2 in the TTENT

1 Kings 2 in the UBG

1 Kings 2 in the UGV

1 Kings 2 in the UGV2

1 Kings 2 in the UGV3

1 Kings 2 in the VBL

1 Kings 2 in the VDCC

1 Kings 2 in the YALU

1 Kings 2 in the YAPE

1 Kings 2 in the YBVTP

1 Kings 2 in the ZBP