1 Samuel 4 (BOLCB)

1 Awo ekigambo kya Samwiri ne kibuna Isirayiri yenna.Mu biro ebyo Abayisirayiri ne balumba Abafirisuuti, Abayisirayiri ne basiisira okumpi ne Ebenezeri, ate nga Abafirisuuti bo basiisidde mu Afeki. 2 Abafirisuuti ne basimba ennyiriri okulumba Abayisirayiri ne bayungula eggye lyabwe okulumba; olutalo bwe lwanyiinyiitira, Abayisirayiri ne bawangulibwa, era enkumi nnya ku bo ne battibwa. 3 Abalwanyi bwe baddayo mu nkambi, abakadde ba Isirayiri ne beebuuzaganya nti, “Lwaki MUKAMA alese Abafirisuuti okutuwangula leero? Tuleete essanduuko ya MUKAMA ey’endagaano okuva e Siiro, tugende nayo etuwonye amaanyi g’abalabe baffe.” 4 Awo abantu ne batuma abasajja e Siiro, ne baggyayo essanduuko ey’endagaano ya MUKAMA Ayinzabyonna, atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka wakati mu bakerubi. Batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi nabo ne bagenda n’essanduuko ya Katonda ey’endagaano. 5 Essanduuko ya MUKAMA ey’endagaano bwe yatuuka mu nkambi ey’Abayisirayiri, bonna ne baleekaanira waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka, n’ettaka ne liyuuguuma. 6 Awo Abafirisuuti bwe baawulira oluyoogaano ne beebuuza nti, “Oluyoogaano olwo lwonna mu nkambi ey’Abaebbulaniya lutegeeza ki?”Bwe baategeera nti essanduuko ya MUKAMA ereeteddwa mu nkambi, 7 Abafirisuuti ne batya. Ne boogera nti, “Lubaale azze mu nkambi. Tufudde! Tewabangawo kigambo ekifaanana bwe kityo. 8 Zitusanze! Ani ayinza okutuwonya balubaale bano ab’amaanyi? Bano be balubaale abaabonyaabonya Abamisiri n’endwadde n’ebibonoobono ebya buli ngeri mu ddungu. 9 Abafirisuuti, mugume omwoyo, mube basajja. Bwe kitaabe bwe kityo munaaba baddu b’Abaebbulaniya nga bo bwe babadde abaweereza bammwe. Mube basajja mulwane.” 10 Abafirisuuti ne beerwanako ne bawangula Abayisirayiri. Buli Muyisirayiri n’addukira mu nsiisira ye. Ne waba okuttibwa kunene nnyo, Abayisirayiri ne bafiirwa abaserikale abaatambuzanga ebigere emitwalo esatu. 11 Essanduuko ya Katonda n’ewambibwa, era ne batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi ne battibwa. 12 Olunaku lwe lumu ne wabaawo omusajja Omubenyamini eyava mu lutalo n’adduka okutuuka e Siiro, ng’ayuzizza engoye ze n’omutwe gwe nga gujjudde enfuufu. 13 Bwe yatuuka, Eri yali atudde mu ntebe ye ku mabbali g’ekkubo ng’atunula, nga yeeraliikiridde olw’essanduuko ya Katonda. Omusajja bwe yatuuka mu kibuga n’asaasaanya amawulire ku ebyo ebibaddewo, ekibuga kyonna ne kikuba ebiwoobe. 14 Eri bwe yawulira oluyoogaano n’abuuza nti, “Oluyoogaano luno luva ku ki?”Omusajja n’ayanguwa n’atuuka awaali Eri n’amutegeeza. 15 Eri yali aweza emyaka egy’obukulu kyenda mu munaana, amaaso ge nga gayimbadde, era nga n’okulaba takyalaba. 16 Omusajja oyo n’ategeeza Eri nti, “Naakava mu lutalo, era nziruseeyo leero.”Eri n’amubuuza nti, “Bigenze bitya mwana wange?” 17 Omusajja eyaleeta amawulire n’amuddamu nti, “Isirayiri edduse Abafirisuuti, era eggye lyaffe lifiiriddwa abalwanyi bangi. Ate ne batabani bo bombi Kofuni ne Finekaasi battiddwa, era n’essanduuko ya Katonda ewambiddwa.” 18 Olwayogera ku ssanduuko ya Katonda, Eri n’asirituka okuva ku ntebe ye n’agwa okumpi n’omulyango. Ensingo ye n’emenyeka n’afiirawo kubanga yali musajja mukadde nnyo ate nga n’obuzito muzito. Yali akulembedde Isirayiri okumala emyaka amakumi ana. 19 Mu kiseera ekyo muka mwana we, Finekaasi, yali lubuto era ng’anaatera okuzaala. Bwe yawulira amawulire nti Essanduuko ya Katonda ewambiddwa era nti ne ssezaala we ne bba bafudde, n’alumwa era n’azaalirawo, kubanga obulumi bwamuyitirirako. 20 Omukazi oyo bwe yali ng’anaatera okufa, abamuzaalisa ne bamugamba nga boogera nti, “Totya, kubanga ozadde mulenzi.” Naye n’atabaanukula wadde okubassaako omwoyo. 21 N’atuuma omwana erinnya Ikabodi, amakulu gaalyo nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isirayiri,” kubanga essanduuko ya Katonda yali ewambiddwa ate nga ssezaala we ne bba bafudde. 22 N’ayogera nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isirayiri kubanga essanduuko ya Katonda ewambiddwa.”

In Other Versions

1 Samuel 4 in the ANGEFD

1 Samuel 4 in the ANTPNG2D

1 Samuel 4 in the AS21

1 Samuel 4 in the BAGH

1 Samuel 4 in the BBPNG

1 Samuel 4 in the BBT1E

1 Samuel 4 in the BDS

1 Samuel 4 in the BEV

1 Samuel 4 in the BHAD

1 Samuel 4 in the BIB

1 Samuel 4 in the BLPT

1 Samuel 4 in the BNT

1 Samuel 4 in the BNTABOOT

1 Samuel 4 in the BNTLV

1 Samuel 4 in the BOATCB

1 Samuel 4 in the BOATCB2

1 Samuel 4 in the BOBCV

1 Samuel 4 in the BOCNT

1 Samuel 4 in the BOECS

1 Samuel 4 in the BOGWICC

1 Samuel 4 in the BOHCB

1 Samuel 4 in the BOHCV

1 Samuel 4 in the BOHLNT

1 Samuel 4 in the BOHNTLTAL

1 Samuel 4 in the BOICB

1 Samuel 4 in the BOILNTAP

1 Samuel 4 in the BOITCV

1 Samuel 4 in the BOKCV

1 Samuel 4 in the BOKCV2

1 Samuel 4 in the BOKHWOG

1 Samuel 4 in the BOKSSV

1 Samuel 4 in the BOLCB2

1 Samuel 4 in the BOMCV

1 Samuel 4 in the BONAV

1 Samuel 4 in the BONCB

1 Samuel 4 in the BONLT

1 Samuel 4 in the BONUT2

1 Samuel 4 in the BOPLNT

1 Samuel 4 in the BOSCB

1 Samuel 4 in the BOSNC

1 Samuel 4 in the BOTLNT

1 Samuel 4 in the BOVCB

1 Samuel 4 in the BOYCB

1 Samuel 4 in the BPBB

1 Samuel 4 in the BPH

1 Samuel 4 in the BSB

1 Samuel 4 in the CCB

1 Samuel 4 in the CUV

1 Samuel 4 in the CUVS

1 Samuel 4 in the DBT

1 Samuel 4 in the DGDNT

1 Samuel 4 in the DHNT

1 Samuel 4 in the DNT

1 Samuel 4 in the ELBE

1 Samuel 4 in the EMTV

1 Samuel 4 in the ESV

1 Samuel 4 in the FBV

1 Samuel 4 in the FEB

1 Samuel 4 in the GGMNT

1 Samuel 4 in the GNT

1 Samuel 4 in the HARY

1 Samuel 4 in the HNT

1 Samuel 4 in the IRVA

1 Samuel 4 in the IRVB

1 Samuel 4 in the IRVG

1 Samuel 4 in the IRVH

1 Samuel 4 in the IRVK

1 Samuel 4 in the IRVM

1 Samuel 4 in the IRVM2

1 Samuel 4 in the IRVO

1 Samuel 4 in the IRVP

1 Samuel 4 in the IRVT

1 Samuel 4 in the IRVT2

1 Samuel 4 in the IRVU

1 Samuel 4 in the ISVN

1 Samuel 4 in the JSNT

1 Samuel 4 in the KAPI

1 Samuel 4 in the KBT1ETNIK

1 Samuel 4 in the KBV

1 Samuel 4 in the KJV

1 Samuel 4 in the KNFD

1 Samuel 4 in the LBA

1 Samuel 4 in the LBLA

1 Samuel 4 in the LNT

1 Samuel 4 in the LSV

1 Samuel 4 in the MAAL

1 Samuel 4 in the MBV

1 Samuel 4 in the MBV2

1 Samuel 4 in the MHNT

1 Samuel 4 in the MKNFD

1 Samuel 4 in the MNG

1 Samuel 4 in the MNT

1 Samuel 4 in the MNT2

1 Samuel 4 in the MRS1T

1 Samuel 4 in the NAA

1 Samuel 4 in the NASB

1 Samuel 4 in the NBLA

1 Samuel 4 in the NBS

1 Samuel 4 in the NBVTP

1 Samuel 4 in the NET2

1 Samuel 4 in the NIV11

1 Samuel 4 in the NNT

1 Samuel 4 in the NNT2

1 Samuel 4 in the NNT3

1 Samuel 4 in the PDDPT

1 Samuel 4 in the PFNT

1 Samuel 4 in the RMNT

1 Samuel 4 in the SBIAS

1 Samuel 4 in the SBIBS

1 Samuel 4 in the SBIBS2

1 Samuel 4 in the SBICS

1 Samuel 4 in the SBIDS

1 Samuel 4 in the SBIGS

1 Samuel 4 in the SBIHS

1 Samuel 4 in the SBIIS

1 Samuel 4 in the SBIIS2

1 Samuel 4 in the SBIIS3

1 Samuel 4 in the SBIKS

1 Samuel 4 in the SBIKS2

1 Samuel 4 in the SBIMS

1 Samuel 4 in the SBIOS

1 Samuel 4 in the SBIPS

1 Samuel 4 in the SBISS

1 Samuel 4 in the SBITS

1 Samuel 4 in the SBITS2

1 Samuel 4 in the SBITS3

1 Samuel 4 in the SBITS4

1 Samuel 4 in the SBIUS

1 Samuel 4 in the SBIVS

1 Samuel 4 in the SBT

1 Samuel 4 in the SBT1E

1 Samuel 4 in the SCHL

1 Samuel 4 in the SNT

1 Samuel 4 in the SUSU

1 Samuel 4 in the SUSU2

1 Samuel 4 in the SYNO

1 Samuel 4 in the TBIAOTANT

1 Samuel 4 in the TBT1E

1 Samuel 4 in the TBT1E2

1 Samuel 4 in the TFTIP

1 Samuel 4 in the TFTU

1 Samuel 4 in the TGNTATF3T

1 Samuel 4 in the THAI

1 Samuel 4 in the TNFD

1 Samuel 4 in the TNT

1 Samuel 4 in the TNTIK

1 Samuel 4 in the TNTIL

1 Samuel 4 in the TNTIN

1 Samuel 4 in the TNTIP

1 Samuel 4 in the TNTIZ

1 Samuel 4 in the TOMA

1 Samuel 4 in the TTENT

1 Samuel 4 in the UBG

1 Samuel 4 in the UGV

1 Samuel 4 in the UGV2

1 Samuel 4 in the UGV3

1 Samuel 4 in the VBL

1 Samuel 4 in the VDCC

1 Samuel 4 in the YALU

1 Samuel 4 in the YAPE

1 Samuel 4 in the YBVTP

1 Samuel 4 in the ZBP