2 Chronicles 34 (BOLCB)

1 Yosiya yali wa myaka munaana bwe yalya obwakabaka, era n’afugira emyaka amakumi asatu mu gumu mu Yerusaalemi. 2 N’akola ebirungi mu maaso ga MUKAMA, n’atambulira mu makubo ga Dawudi jjajjaawe, n’akwata ekkubo lya MUKAMA eggolokofu. 3 Mu mwaka ogw’omunaana ogw’okufuga kwe, ng’akyali muto, n’atandika okunoonya Katonda wa Dawudi jjajjaawe, era mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri n’atandika okuggya ebifo ebigulumivu, ne Baasera, n’ebifaananyi ebyole, n’ebifaananyi ebisaanuuse mu Yuda ne mu Yerusaalemi. 4 N’alagira bamenyeemenye ebyoto bya Baali, n’atemaatema ebyoto kwe baayoterezanga obubaane ebyali waggulu waabyo, n’amenyaamenya ne Baasera, n’ebifaananyi ebyole, n’ebifaananyi ebisaanuuse; n’abisesebbula, enfuufu yaabyo n’agimansula ku malaalo g’abo abaaweerangayo ssaddaaka. 5 N’ayokera amagumba ga bakabona abaakolanga eby’ebivve ebyo ku byoto ebyo, n’atukuza Yuda ne Yerusaalemi. 6 Ne mu bibuga bya Manase, ne Efulayimu, ne Simyoni, okutuukira ddala mu Nafutaali, ne mu matongo gaabyo okubyetooloola, 7 n’amenyaamenya ebyoto ne Baasera, n’asesebbula n’ebifaananyi ebyole, n’atemaatema ebyoto byonna kwe baayokeranga obubaane mu Isirayiri yonna, n’oluvannyuma n’addayo e Yerusaalemi. 8 Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’okufuga kwe ng’amaze okulongoosa ensi ne yeekaalu, n’alonda Safani mutabani wa Azaliya, ne Maaseya omwami w’ekibuga, ne Yowa mutabani wa Yowakazi omujjukiza, okuddaabiriza yeekaalu ya MUKAMA Katonda we. 9 Ne bagenda eri Kirukiya kabona asinga obukulu ne bawaayo ensimbi ezaaleetebwa mu yeekaalu ya Katonda, Abaleevi abaggazi ze baali basoloozezza mu bantu b’e Manase, ne Efulayimu, n’ekitundu kyonna ekyasigalawo, ne Yuda yonna, ne Benyamini, n’okuva eri abantu b’e Yerusaalemi. 10 Ne bazikwasa abakozi abaalondebwa okulabirira omulimu gwa yeekaalu ya MUKAMA. Abo be basajja abaasasulanga abakozi abaddaabirizanga n’okulongoosa yeekaalu. 11 Ababazzi n’abazimbi nabo ne baweebwa ensimbi okugula amayinja amawoole, n’embaawo ez’ebizimbe bakabaka ba Yuda bye baalagajjalira okuddaabiriza. 12 Abasajja ne bakola omulimu n’obwesigwa. Abaabalabiriranga baali: Yakasi ne Obadiya Abaleevi ab’omu kika kya Merali, ne Zekkaliya ne Mesullamu ab’omu kika ky’Abakokasi. Abaleevi bonna abaakubanga ebivuga 13 be baavunaanyizibwanga abapakasi, n’okulabirira abakozi bonna mu kuweereza okw’engeri zonna. Abamu ku Baleevi baali bawandiisi, n’abalala ng’abaami, n’abalala nga baggazi. 14 Awo bwe baali bakuŋŋaanya ensimbi ze baggya mu yeekaalu ya MUKAMA, Kirukiya kabona, n’azuula ekitabo eky’amateeka ga MUKAMA agaaweebwa Musa. 15 Awo Kirukiya kabona n’agamba Safani omuwandiisi nti, “Nzudde ekitabo eky’amateeka mu yeekaalu ya MUKAMA.” N’akiwa Safani. 16 Safani n’akitwalira kabaka, n’amutegeeza ne ku by’omulimu ng’agamba nti, “Byonna abaddu bo bye baalagirwa babikola. 17 Ensimbi ezaali mu yeekaalu ya MUKAMA ziweereddwa abalabirira n’abakozi.” 18 Safani omuwandiisi n’ategeeza kabaka nti, “Kirukiya kabona ampadde ekitabo.” Awo Safani n’akisomera kabaka. 19 Kabaka bwe yawulira ebigambo by’amateeka, n’ayuza ebyambalo bye. 20 N’alagira Kirukiya ne Akikamu mutabani wa Safani, ne Abudoni mutabani wa Mikka, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuddu wa kabaka, ng’ayogera nti, 21 “Mugende mumbulize ku MUKAMA, nze n’abasigadde mu Isirayiri ne mu Yuda, ku bikwata ku bigambo eby’omu kitabo ekizuuliddwa, kubanga obusungu bwa MUKAMA bungi nnyo nnyini era butubuubuukirako olwa bajjajjaffe abataagoberera kigambo kya MUKAMA okukikola nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kino.” 22 Awo Kirukiya n’abo kabaka be yali atumye ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukazi, muka Sallumu mutabani wa Tokasi muzzukulu wa Kasula omuwanika w’ebyambalo. Yabeeranga mu Yerusaalemi mu kitundu ekyokubiri. 23 N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Mutegeeze omusajja abatumye nti, 24 bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, “Laba ndireeta ku kifo kino ne ku bantu baamu akabi, n’ebikolimo byonna ebyawandiikibwa mu kitabo, ekyasomeddwa mu maaso ga kabaka wa Yuda. 25 Kubanga banvuddeko ne bookera bakatonda abalala obubaane, era bansunguwazizza n’emirimu gyonna egy’emikono gyabwe. Kyennaava mbasunguwalira ne wataba n’omu akkakkanya busungu bwange.” ’ 26 Naye mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okujja okwebuuza ku MUKAMA nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda wa Isirayiri nti, 27 “Kubanga omutima gwo gubadde mumenyefu ne weetoowaza mu maaso ga Katonda, bwe wawulidde ebigambo bye, ebikwata ku kifo kino n’abo abakibeeramu, ne weetoowaza mu maaso gange, n’oyuza ebyambalo byo, n’okaabira mu maaso gange, nkuwulidde. 28 Laba, ndikukuŋŋaanyiza eri bajjajjaabo, n’ofa mirembe, era amaaso go tegalirega ku kabi ke ndireeta ku kifo kino ne ku bantu baamu.” ’ ”Ne bazaayo obubaka eri kabaka. 29 Awo kabaka n’akuŋŋaanya abakadde bonna aba Yuda n’ab’omu Yerusaalemi. 30 N’ayambuka mu yeekaalu ya MUKAMA, n’abantu bonna aba Yuda, n’abantu b’e Yerusaalemi, ne bakabona, n’abaleevi, n’abantu bonna ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa. N’asoma ebigambo byonna eby’omu kitabo eky’endagaano, ekyazuulibwa mu yeekaalu ya MUKAMA. 31 Kabaka n’ayimirira mu kifo kye, ne yeeyama mu maaso ga MUKAMA, okutambuliranga mu mpya za MUKAMA n’okukwatanga amateeka ge, n’ebyo bye yategeeza, n’ebiragiro bye, n’omutima gwe gwonna n’omwoyo gwe gwonna, okutuukirizanga ebigambo ebyawandiikibwa mu kitabo. 32 Oluvannyuma n’alagira bonna abaali mu Yerusaalemi ne mu Benyamini okweyama. Abatuuze b’omu Yerusaalemi ne bakola ng’endagaano ya Katonda, Katonda wa bajjajjaabwe bw’egamba. 33 Yosiya n’aggya eby’emizizo byonna ku butaka bwonna obw’Abayisirayiri, n’alagira bonna abaali mu Isirayiri okuweerezanga MUKAMA Katonda waabwe. Mu kufuga kwe kwonna, tebaava ku MUKAMA Katonda wa bajjajjaabwe.

In Other Versions

2 Chronicles 34 in the ANGEFD

2 Chronicles 34 in the ANTPNG2D

2 Chronicles 34 in the AS21

2 Chronicles 34 in the BAGH

2 Chronicles 34 in the BBPNG

2 Chronicles 34 in the BBT1E

2 Chronicles 34 in the BDS

2 Chronicles 34 in the BEV

2 Chronicles 34 in the BHAD

2 Chronicles 34 in the BIB

2 Chronicles 34 in the BLPT

2 Chronicles 34 in the BNT

2 Chronicles 34 in the BNTABOOT

2 Chronicles 34 in the BNTLV

2 Chronicles 34 in the BOATCB

2 Chronicles 34 in the BOATCB2

2 Chronicles 34 in the BOBCV

2 Chronicles 34 in the BOCNT

2 Chronicles 34 in the BOECS

2 Chronicles 34 in the BOGWICC

2 Chronicles 34 in the BOHCB

2 Chronicles 34 in the BOHCV

2 Chronicles 34 in the BOHLNT

2 Chronicles 34 in the BOHNTLTAL

2 Chronicles 34 in the BOICB

2 Chronicles 34 in the BOILNTAP

2 Chronicles 34 in the BOITCV

2 Chronicles 34 in the BOKCV

2 Chronicles 34 in the BOKCV2

2 Chronicles 34 in the BOKHWOG

2 Chronicles 34 in the BOKSSV

2 Chronicles 34 in the BOLCB2

2 Chronicles 34 in the BOMCV

2 Chronicles 34 in the BONAV

2 Chronicles 34 in the BONCB

2 Chronicles 34 in the BONLT

2 Chronicles 34 in the BONUT2

2 Chronicles 34 in the BOPLNT

2 Chronicles 34 in the BOSCB

2 Chronicles 34 in the BOSNC

2 Chronicles 34 in the BOTLNT

2 Chronicles 34 in the BOVCB

2 Chronicles 34 in the BOYCB

2 Chronicles 34 in the BPBB

2 Chronicles 34 in the BPH

2 Chronicles 34 in the BSB

2 Chronicles 34 in the CCB

2 Chronicles 34 in the CUV

2 Chronicles 34 in the CUVS

2 Chronicles 34 in the DBT

2 Chronicles 34 in the DGDNT

2 Chronicles 34 in the DHNT

2 Chronicles 34 in the DNT

2 Chronicles 34 in the ELBE

2 Chronicles 34 in the EMTV

2 Chronicles 34 in the ESV

2 Chronicles 34 in the FBV

2 Chronicles 34 in the FEB

2 Chronicles 34 in the GGMNT

2 Chronicles 34 in the GNT

2 Chronicles 34 in the HARY

2 Chronicles 34 in the HNT

2 Chronicles 34 in the IRVA

2 Chronicles 34 in the IRVB

2 Chronicles 34 in the IRVG

2 Chronicles 34 in the IRVH

2 Chronicles 34 in the IRVK

2 Chronicles 34 in the IRVM

2 Chronicles 34 in the IRVM2

2 Chronicles 34 in the IRVO

2 Chronicles 34 in the IRVP

2 Chronicles 34 in the IRVT

2 Chronicles 34 in the IRVT2

2 Chronicles 34 in the IRVU

2 Chronicles 34 in the ISVN

2 Chronicles 34 in the JSNT

2 Chronicles 34 in the KAPI

2 Chronicles 34 in the KBT1ETNIK

2 Chronicles 34 in the KBV

2 Chronicles 34 in the KJV

2 Chronicles 34 in the KNFD

2 Chronicles 34 in the LBA

2 Chronicles 34 in the LBLA

2 Chronicles 34 in the LNT

2 Chronicles 34 in the LSV

2 Chronicles 34 in the MAAL

2 Chronicles 34 in the MBV

2 Chronicles 34 in the MBV2

2 Chronicles 34 in the MHNT

2 Chronicles 34 in the MKNFD

2 Chronicles 34 in the MNG

2 Chronicles 34 in the MNT

2 Chronicles 34 in the MNT2

2 Chronicles 34 in the MRS1T

2 Chronicles 34 in the NAA

2 Chronicles 34 in the NASB

2 Chronicles 34 in the NBLA

2 Chronicles 34 in the NBS

2 Chronicles 34 in the NBVTP

2 Chronicles 34 in the NET2

2 Chronicles 34 in the NIV11

2 Chronicles 34 in the NNT

2 Chronicles 34 in the NNT2

2 Chronicles 34 in the NNT3

2 Chronicles 34 in the PDDPT

2 Chronicles 34 in the PFNT

2 Chronicles 34 in the RMNT

2 Chronicles 34 in the SBIAS

2 Chronicles 34 in the SBIBS

2 Chronicles 34 in the SBIBS2

2 Chronicles 34 in the SBICS

2 Chronicles 34 in the SBIDS

2 Chronicles 34 in the SBIGS

2 Chronicles 34 in the SBIHS

2 Chronicles 34 in the SBIIS

2 Chronicles 34 in the SBIIS2

2 Chronicles 34 in the SBIIS3

2 Chronicles 34 in the SBIKS

2 Chronicles 34 in the SBIKS2

2 Chronicles 34 in the SBIMS

2 Chronicles 34 in the SBIOS

2 Chronicles 34 in the SBIPS

2 Chronicles 34 in the SBISS

2 Chronicles 34 in the SBITS

2 Chronicles 34 in the SBITS2

2 Chronicles 34 in the SBITS3

2 Chronicles 34 in the SBITS4

2 Chronicles 34 in the SBIUS

2 Chronicles 34 in the SBIVS

2 Chronicles 34 in the SBT

2 Chronicles 34 in the SBT1E

2 Chronicles 34 in the SCHL

2 Chronicles 34 in the SNT

2 Chronicles 34 in the SUSU

2 Chronicles 34 in the SUSU2

2 Chronicles 34 in the SYNO

2 Chronicles 34 in the TBIAOTANT

2 Chronicles 34 in the TBT1E

2 Chronicles 34 in the TBT1E2

2 Chronicles 34 in the TFTIP

2 Chronicles 34 in the TFTU

2 Chronicles 34 in the TGNTATF3T

2 Chronicles 34 in the THAI

2 Chronicles 34 in the TNFD

2 Chronicles 34 in the TNT

2 Chronicles 34 in the TNTIK

2 Chronicles 34 in the TNTIL

2 Chronicles 34 in the TNTIN

2 Chronicles 34 in the TNTIP

2 Chronicles 34 in the TNTIZ

2 Chronicles 34 in the TOMA

2 Chronicles 34 in the TTENT

2 Chronicles 34 in the UBG

2 Chronicles 34 in the UGV

2 Chronicles 34 in the UGV2

2 Chronicles 34 in the UGV3

2 Chronicles 34 in the VBL

2 Chronicles 34 in the VDCC

2 Chronicles 34 in the YALU

2 Chronicles 34 in the YAPE

2 Chronicles 34 in the YBVTP

2 Chronicles 34 in the ZBP