2 Kings 17 (BOLCB)

1 Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri ogw’obufuzi bwa Akazi kabaka wa Yuda, Koseya mutabani wa Era n’afuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya, n’afugira emyaka mwenda. 2 N’akola ebibi mu maaso ga MUKAMA, naye tebyenkana nga bassekabaka ba Isirayiri bye baakola. 3 Salumaneseri kabaka w’e Bwasuli n’amulumba, Koseya n’afuuka muddu we era n’amuwanga obusuulu. 4 Naye oluvannyuma kabaka w’e Bwasuli n’akizuula nga Koseya yali amuliddemu olukwe, kubanga yali atumye ababaka ewa So kabaka w’e Misiri, ate nga takyaweereza busuulu ewa kabaka w’e Bwasuli, nga bwe yakolanga buli mwaka. Salumaneseri kyeyava amukwata n’amuteeka mu kkomera. 5 Awo kabaka w’e Bwasuli n’alumba ensi yonna, n’atuuka e Samaliya, n’akizingiriza emyaka esatu. 6 Mu mwaka ogw’omwenda ogwa Koseya, kabaka w’e Bwasuli n’awamba Samaliya, n’atwala Abayisirayiri mu buwaŋŋanguse e Bwasuli, n’abateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga ogw’e Gozani, ne mu bibuga eby’Abameedi. 7 Bino byonna byabaawo kubanga Abayisirayiri bayonoona mu maaso ga MUKAMA Katonda waabwe, eyali abaggye mu Misiri okuva mu mukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Baasinzanga bakatonda abalala, 8 ne bagobereranga empisa za baamawanga MUKAMA ge yali agobye mu maaso gaabwe. Era bagobereranga n’emizizo bassekabaka ba Isirayiri gye baali bataddewo. 9 Abayisirayiri ne bakolanga mu nkizo ebyo ebitaali birungi mu maaso ga MUKAMA. Ne bazimba ebifo ebigulumivu mu bibuga byabwe byonna, okuviira ddala ku minaala omwabeeranga abakuumi okutuuka ku kibuga ekiriko bbugwe. 10 Ne beesimbira empagi ez’amayinja n’eza Baasera, ku buli kasozi akawanvu, ne wansi wa buli muti. 11 Ne bookera obubaane ku buli kifo ekigulumivu ng’amawanga gali MUKAMA ge yali agobye mu maaso gaabwe bwe gaakolanga. Ne bakola ebintu eby’ekivve ne basunguwaza MUKAMA. 12 Ne basinza ebifaananyi, ate nga MUKAMA yali abalagidde nti, “Temukolanga ekyo.” 13 MUKAMA n’alabula Isirayiri ne Yuda ng’akozesa bannabbi n’abalabi nti, “Mukyuke muve mu bibi byammwe, mukuume amateeka gange n’ebiragiro byange, ng’etteeka bwe liri lye nalagira bajjajjammwe, lye nabaweereza nga nkozesa abaddu bange bannabbi.” 14 Naye ne batawuliriza, ne baba bakakanyavu nga bajjajjaabwe bwe baali, abateesiga MUKAMA Katonda waabwe. 15 Ne banyooma ebiragiro n’endagaano gye yali akoze ne bajjajjaabwe, n’okulabula kwe yali abawadde. Ne bagoberera bakatonda abataliimu, ate nabo ne bafuuka ebitagasa. Ne bakola ng’amawanga agaali gabeetoolodde bwe gaakolanga, newaakubadde nga MUKAMA yali abalabudde nti, “Temukolanga ebyo bye bakola.” Ne bakola byonna MUKAMA bye yali abagaanye okukola. 16 Ne bava ku mateeka ga MUKAMA Katonda waabwe gonna, ne baweesa ebifaananyi by’ennyana bibiri, n’empagi ey’Asera, ne basinza n’eggye lyonna ery’omu ggulu era ne basinzanga ne Baali. 17 Ne bawaayo abaana baabwe aboobulenzi n’aboobuwala ng’ebiweebwayo mu muliro, ne bakola eby’obufumu n’eby’obulogo, ne beetunda okukola ebibi mu maaso ga MUKAMA, okumusunguwaza. 18 MUKAMA kyeyava asunguwalira ennyo Isirayiri, n’abagoba mu maaso ge, n’alekawo ekika kya Yuda kyokka. 19 Kyokka ne Yuda ne batakuuma mateeka ga MUKAMA Katonda waabwe, naye ne bagoberera empisa za Isirayiri. 20 MUKAMA kyeyava aleka ezzadde lyonna erya Isirayiri, n’ababonereza, n’abawaayo mu mikono gy’abanyazi, n’okubagoba n’abagobera ddala okuva mu maaso ge. 21 Bwe yayawula Isirayiri ku nnyumba ya Dawudi, ne bafuula Yerobowaamu mutabani wa Nebati kabaka waabwe. Yerobowaamu n’aleetera Isirayiri okuviira ddala ku mukama, n’abayonoonyesa n’okusingawo. 22 Abaana ba Isirayiri ne batambulira mu bibi byonna Yerobowaamu bye yakola, ne batabirekaayo, 23 okutuusa MUKAMA lwe yabaggyira ddala okuva mu maaso ge, nga bwe yali abalabudde ng’ayita mu baddu be bannabbi. Awo Abayisirayiri ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse mu nsi eya Bwasuli, gye bali ne kaakano. 24 Awo kabaka w’e Bwasuli n’akuŋŋaanya abantu okuva e Babulooni, Kusa, Ava, Kamasi ne Sefavayimu, n’abaleeta mu bibuga bya Samaliya, Abayisirayiri mwe baabeeranga, Samaliya ne bakitwalira ddala era ne babeera mu bibuga byakyo. 25 Ku ntandikwa bwe babeeramu ne batasinza MUKAMA, kyeyava abasindikira empologoma ne zitta abamu ku bo. 26 Kabaka w’e Bwasuli n’ategeezebwa nti, “Amawanga ge watwala n’obateeka mu bibuga bya Samaliya tebamanyi tteeka lya Katonda w’ensi eyo, kyeyavudde abasindikira empologoma okubatta, kubanga tebamanyi Katonda w’ensi kye yeetaaga.” 27 Amangwago kabaka w’e Bwasuli n’alagira nti, “Mutumeyo omu ku bakabona be mwawamba okuva mu Samaliya agende abeere eyo, ayigirize abantu amateeka ga Katonda w’ensi eyo.” 28 Awo omu ku bakabona eyali awaŋŋangusibbwa okuva mu Samaliya n’agenda n’abeera e Beseri, n’abayigiriza bwe kibagwanira okusinza MUKAMA. 29 Newaakubadde nga kabona yagendayo, buli ggwanga beekolera bakatonda baabwe, ne babateeka mu masabo Abasamaliya ge baali bazimbye ku bifo ebigulumivu mu bibuga byabwe. 30 Abasajja ab’e Babulooni ne bakola Sukkosubenosi, abasajja ab’e Kuusi ne bakola Nengali, abasajja ab’e Kamasi ne bakola Asima: 31 Abavi ne bakola Nibukazi ne Talutaki, Abasefavayimu ne bookera abaana baabwe mu muliro, nga babawaayo ng’ebiweebwayo eri Adulammereki ne Anammereki, bakatonda ba Sefavayimu. 32 Baasinzanga MUKAMA, naye ne balonda n’abantu ab’engeri zonna okuva mu bokka ne bokka okuba bakabona, ab’ebifo ebigulumivu, abaabaweerangayo ssaddaaka mu masabo ag’ebifo ebigulumivu. 33 Ne basinzanga MUKAMA, naye nga bwe baweereza ne bakatonda baabwe, ng’empisa ez’amawanga gye baali bavudde bwe zalinga. 34 Ne leero bakyeyisa mu ngeri y’emu. Tebasinza MUKAMA so tebagoberera biragiro n’amateeka MUKAMA bye yalagira bazzukulu ba Yakobo, gwe yatuuma Isirayiri. 35 MUKAMA bwe yakola endagaano n’Abayisirayiri, yabalagira nti, “Temusinzanga bakatonda balala, so temubavuunamiranga so temubaweerezanga, wadde okuwaayo ssaddaaka gye bali. 36 Mwekuumenga okugobereranga ebiragiro n’amateeka, n’etteeka, n’ekiragiro bye yabawandiikira. Temusinzanga bakatonda abalala. 37 Naye musinzanga MUKAMA eyabaggya mu Misiri n’amaanyi amangi n’omukono gwe, gwe yagolola. Oyo ggwe munavuunamiranga era ne muwaayo ssaddaaka eri ye. 38 Temwerabiranga endagaano gye nakola nammwe, era temusinzanga bakatonda abalala. 39 Wabula musinzanga MUKAMA Katonda wammwe, kubanga y’anaabalokolanga mu mukono gw’abalabe bammwe bonna.” 40 Naye ne batawuliriza, ne beeyongeranga mu mpisa zaabwe ez’edda. 41 Newaakubadde ng’amawanga ago baasinzanga MUKAMA, kyokka beeyongeranga okusinza bakatonda baabwe. Ne leero abaana baabwe ne bazzukulu baabwe bakola nga bajjajjaabwe bwe baakolanga.

In Other Versions

2 Kings 17 in the ANGEFD

2 Kings 17 in the ANTPNG2D

2 Kings 17 in the AS21

2 Kings 17 in the BAGH

2 Kings 17 in the BBPNG

2 Kings 17 in the BBT1E

2 Kings 17 in the BDS

2 Kings 17 in the BEV

2 Kings 17 in the BHAD

2 Kings 17 in the BIB

2 Kings 17 in the BLPT

2 Kings 17 in the BNT

2 Kings 17 in the BNTABOOT

2 Kings 17 in the BNTLV

2 Kings 17 in the BOATCB

2 Kings 17 in the BOATCB2

2 Kings 17 in the BOBCV

2 Kings 17 in the BOCNT

2 Kings 17 in the BOECS

2 Kings 17 in the BOGWICC

2 Kings 17 in the BOHCB

2 Kings 17 in the BOHCV

2 Kings 17 in the BOHLNT

2 Kings 17 in the BOHNTLTAL

2 Kings 17 in the BOICB

2 Kings 17 in the BOILNTAP

2 Kings 17 in the BOITCV

2 Kings 17 in the BOKCV

2 Kings 17 in the BOKCV2

2 Kings 17 in the BOKHWOG

2 Kings 17 in the BOKSSV

2 Kings 17 in the BOLCB2

2 Kings 17 in the BOMCV

2 Kings 17 in the BONAV

2 Kings 17 in the BONCB

2 Kings 17 in the BONLT

2 Kings 17 in the BONUT2

2 Kings 17 in the BOPLNT

2 Kings 17 in the BOSCB

2 Kings 17 in the BOSNC

2 Kings 17 in the BOTLNT

2 Kings 17 in the BOVCB

2 Kings 17 in the BOYCB

2 Kings 17 in the BPBB

2 Kings 17 in the BPH

2 Kings 17 in the BSB

2 Kings 17 in the CCB

2 Kings 17 in the CUV

2 Kings 17 in the CUVS

2 Kings 17 in the DBT

2 Kings 17 in the DGDNT

2 Kings 17 in the DHNT

2 Kings 17 in the DNT

2 Kings 17 in the ELBE

2 Kings 17 in the EMTV

2 Kings 17 in the ESV

2 Kings 17 in the FBV

2 Kings 17 in the FEB

2 Kings 17 in the GGMNT

2 Kings 17 in the GNT

2 Kings 17 in the HARY

2 Kings 17 in the HNT

2 Kings 17 in the IRVA

2 Kings 17 in the IRVB

2 Kings 17 in the IRVG

2 Kings 17 in the IRVH

2 Kings 17 in the IRVK

2 Kings 17 in the IRVM

2 Kings 17 in the IRVM2

2 Kings 17 in the IRVO

2 Kings 17 in the IRVP

2 Kings 17 in the IRVT

2 Kings 17 in the IRVT2

2 Kings 17 in the IRVU

2 Kings 17 in the ISVN

2 Kings 17 in the JSNT

2 Kings 17 in the KAPI

2 Kings 17 in the KBT1ETNIK

2 Kings 17 in the KBV

2 Kings 17 in the KJV

2 Kings 17 in the KNFD

2 Kings 17 in the LBA

2 Kings 17 in the LBLA

2 Kings 17 in the LNT

2 Kings 17 in the LSV

2 Kings 17 in the MAAL

2 Kings 17 in the MBV

2 Kings 17 in the MBV2

2 Kings 17 in the MHNT

2 Kings 17 in the MKNFD

2 Kings 17 in the MNG

2 Kings 17 in the MNT

2 Kings 17 in the MNT2

2 Kings 17 in the MRS1T

2 Kings 17 in the NAA

2 Kings 17 in the NASB

2 Kings 17 in the NBLA

2 Kings 17 in the NBS

2 Kings 17 in the NBVTP

2 Kings 17 in the NET2

2 Kings 17 in the NIV11

2 Kings 17 in the NNT

2 Kings 17 in the NNT2

2 Kings 17 in the NNT3

2 Kings 17 in the PDDPT

2 Kings 17 in the PFNT

2 Kings 17 in the RMNT

2 Kings 17 in the SBIAS

2 Kings 17 in the SBIBS

2 Kings 17 in the SBIBS2

2 Kings 17 in the SBICS

2 Kings 17 in the SBIDS

2 Kings 17 in the SBIGS

2 Kings 17 in the SBIHS

2 Kings 17 in the SBIIS

2 Kings 17 in the SBIIS2

2 Kings 17 in the SBIIS3

2 Kings 17 in the SBIKS

2 Kings 17 in the SBIKS2

2 Kings 17 in the SBIMS

2 Kings 17 in the SBIOS

2 Kings 17 in the SBIPS

2 Kings 17 in the SBISS

2 Kings 17 in the SBITS

2 Kings 17 in the SBITS2

2 Kings 17 in the SBITS3

2 Kings 17 in the SBITS4

2 Kings 17 in the SBIUS

2 Kings 17 in the SBIVS

2 Kings 17 in the SBT

2 Kings 17 in the SBT1E

2 Kings 17 in the SCHL

2 Kings 17 in the SNT

2 Kings 17 in the SUSU

2 Kings 17 in the SUSU2

2 Kings 17 in the SYNO

2 Kings 17 in the TBIAOTANT

2 Kings 17 in the TBT1E

2 Kings 17 in the TBT1E2

2 Kings 17 in the TFTIP

2 Kings 17 in the TFTU

2 Kings 17 in the TGNTATF3T

2 Kings 17 in the THAI

2 Kings 17 in the TNFD

2 Kings 17 in the TNT

2 Kings 17 in the TNTIK

2 Kings 17 in the TNTIL

2 Kings 17 in the TNTIN

2 Kings 17 in the TNTIP

2 Kings 17 in the TNTIZ

2 Kings 17 in the TOMA

2 Kings 17 in the TTENT

2 Kings 17 in the UBG

2 Kings 17 in the UGV

2 Kings 17 in the UGV2

2 Kings 17 in the UGV3

2 Kings 17 in the VBL

2 Kings 17 in the VDCC

2 Kings 17 in the YALU

2 Kings 17 in the YAPE

2 Kings 17 in the YBVTP

2 Kings 17 in the ZBP