Deuteronomy 1 (BOLCB)

1 Bino bye bigambo Musa bye yategeeza Abayisirayiri bonna nga bali ku ludda olw’ebuvanjuba w’omugga Yoludaani mu ddungu, mu Alaba okwolekera Sufu, wakati wa Palani ne Toferi, ne Labani, ne Kazerosi ne Dizakabu. 2 Waliwo olugendo lwa nnaku kkumi na lumu okuva e Kolebu okutuuka e Kadesubanea, ng’okutte ekkubo eriyitira ku Lusozi Seyiri. 3 Awo ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwaka ogw’amakumi ana, Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri ebyo byonna MUKAMA bye yamulagira okubabuulira. 4 Mu kiseera ekyo Musa yali amaze okuwangula Sikoni kabaka w’Abamoli eyabeeranga mu Kesuboni, ne Ogi kabaka w’e Basani eyabeeranga mu Asutaloosi ne mu Ederei. 5 Ku ludda lw’eyo olw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani, mu nsi ya Mowaabu, Musa n’atandika okulangirira amateeka gano ng’ayogera nti: 6 “MUKAMA Katonda waffe yatugamba nga tuli ku Kolebu nti, ‘Ebbanga lye mumaze ku lusozi luno limala; 7 kale musitule mukyuke, mutambule nga mwolekera ensi ey’ensozi ey’Abamoli, ne mu baliraanwa baabwe yonna mu Alaba, mu nsozi, ne mu bisenyi, ne mu Negebu, ne ku lubalama lw’ennyanja, ne mu nsi ya Bakanani n’ey’Abalebanooni, okutuukira ddala ku mugga omunene, Omugga Fulaati. 8 Mulabe, ensi eyo ngibawadde. Muyingire mwetwalire ensi eyo MUKAMA Katonda gye yeerayirira okugiwa bajjajjammwe: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo; okugibawa bo n’ezzadde lyabwe eririddawo.’  9 “Mu biro ebyo nabagamba nti, ‘Sisobola kubalabirira nzekka bw’omu. 10 MUKAMA Katonda wammwe abongedde nnyo obungi, ne muwera nnyo; era, laba, kaakano muli ng’emmunyeenye ez’oku ggulu mu bungi bwammwe. 11 Nsaba MUKAMA Katonda wa bajjajjammwe abongereko obungi emirundi lukumi okusinga nga bwe muli leero, era abawenga omukisa nga bwe yabasuubiza. 12 Kale, nze obw’omu nzekka nnaasobola ntya okwetikka omugugu gwammwe ogwo oguzitowa bwe gutyo, n’okubamalirawo ennyombo zammwe? 13 Kale nno, mwerondemu, mu buli kika kyammwe, ab’amagezi, abategeevu era abalina obumanyirivu nga bassibwamu ekitiibwa, nange nnaabakuza ne mbafuula abakulembeze bammwe.’ 14 Nammwe mwanziramu nti, ‘Ekintu ky’otuteeserezza ffe okukola kirungi tukisiima.’ 15 “Bwe ntyo ne nzirira abakulu b’ebika byammwe, nga basajja ba magezi, abalina obumanyirivu, era abassibwamu ekitiibwa, ne mbalonda okubeeranga abakulembeze bammwe; okubanga abafuzi b’enkumi, n’abalala ab’ebikumi, n’abalala ab’amakumi ataano, n’abalala ab’ekkumi, mu bika byammwe byonna. 16 Mu biro ebyo ne nkuutira abaabalamulanga nti, ‘Muwulirizenga ensonga ezinaabaleeterwanga abooluganda, era musalengawo mu bwenkanya wakati w’owooluganda ne munne, era ne wakati we ne munnaggwanga gw’abeera naye. 17 Musalenga emisango awatali kyekubiira; abagagga n’abaavu nga mubawuliriza kyenkanyi. Endabika y’omuntu tebatiisanga, kubanga Katonda y’asala emisango gyonna. Bwe wabangawo omusango gwonna omukakanyavu muguleetanga gye ndi, nze nnaaguwuliranga.’ 18 Mu biro ebyo ne mbakuutira ebintu byonna bye musaanira okukolanga.” 19 Awo ne tusitula okuva e Kolebu, ne tuyita mu ddungu eddene ery’entiisa mwenna lye mwalaba, ne tukwata ekkubo eryatutwala mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, nga MUKAMA Katonda waffe bwe yatulagira; ne tulyoka tutuuka e Kadesubanea. 20 Ne mbagamba nti, “Mutuuse mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, MUKAMA Katonda waffe gy’atuwadde. 21 Laba, MUKAMA Katonda wo akuwadde ensi. Kale, yambuka ogyetwalire nga MUKAMA Katonda wa bajjajjaabo bwe yakugamba. Totya, so toggwaamu maanyi.” 22 Awo mwenna ne mujja gye ndi, ne muŋŋamba nti, “Kirungi tutume abantu basooke okutuukako eyo gye tulaga, bakebere ensi bagyetegereze nga bw’eri; balyoke bakomewo batutegeeze ekkubo lye tusaanira okukwata, n’ebibuga bye tunaggukako.” 23 Ekirowoozo ekyo kyandabikira nga kirungi, ne nkisiima; ne nnonda mu mmwe abasajja kkumi na babiri; nga mu buli kika muvaamu omusajja omu omu. 24 Baasitula ne bambuka mu nsi eyo ey’ensozi, ne batuuka mu kiwonvu Esukoli, ne bakiketta. 25 Ne banoga ku bibala eby’omu nsi omwo ne babituleetera; ne batutegeeza bwe bati nti, “Ensi MUKAMA Katonda waffe gy’atuwadde nnungi nnyo. 26 “Naye ate ne mutayambuka, ne mujeemera ekiragiro kya MUKAMA Katonda wammwe. 27 Ne mwemulugunyiriza mu weema zammwe nga mugamba nti, ‘Olwokubanga MUKAMA tatwagala, yatukyawa, kyeyava atuggya mu nsi y’e Misiri alyoke atuweeyo mu mukono gw’Abamoli batuzikirize. 28 Wa eyo gye tunaayambuka? Ebigambo bya baganda baffe abaagenda okuketta biyongobezza emitima gyaffe, bwe bagambye nti, Abantu abali eri banene, era bawanvu okutusinga ffe; ebibuga byayo binene nnyo, n’ebigo byabyo biwanvu bituukira ddala waggulu mu bire. Ate ne batabani ba Anaki nabo twabalabayo.’ ” 29 Naye ne mbaddamu nti, “Temutekemuka mitima, so temubatya. 30 MUKAMA Katonda wammwe bulijjo abakulembera, ye yennyini agenda kubalwaniriranga, nga bwe yabalwanirira mu Misiri nga mulabira ddala n’amaaso gammwe. 31 Era ne mu ddungu walabira ddala nga MUKAMA Katonda wo bwe yakusitula, nga kitaawe w’omwana bw’asitula mutabani we, n’akuyisa mu lugendo lwonna n’okukutuusa n’akutuusa mu kifo kino.” 32 Newaakubadde ng’ebyo byonna byali bwe bityo, MUKAMA Katonda wammwe temwamwesiga, 33 songa ye, yabakulemberanga mu lugendo lwammwe lwonna, n’empagi ey’omuliro ekiro, n’ekire mu budde obw’emisana, n’okubalaganga ekifo we munaasiisiranga. 34 MUKAMA bwe yawulira ebigambo byammwe n’asunguwala nnyo, n’alayira nti, 35 “Tewalibaawo n’omu ku bantu bano, ab’omulembe guno omubi, aliraba ku nsi eyo ennungi gye nalayirira okuwa bajjajjammwe, 36 okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune. Ye agenda kugiraba, era ndimugabira, awamu n’ezzadde lye, ensi gye yalinnyako ekigere kye; kubanga yagondera MUKAMA n’omutima gwe gwonna.” 37 Nange MUKAMA yansunguwalira ku lwammwe, n’aŋŋamba nti, “Naawe toliyingira mu nsi omwo. 38 Wabula omuweereza wo Yoswa mutabani wa Nuuni ye aligiyingiramu. Mumuwagire, kubanga ye alikulembera abaana ba Isirayiri ne basikira ensi eyo. 39 Abaana bammwe abato be mwatiisanga nti bagenda kuwambibwa batwalibwe mu busibe, abaana bammwe abo, abaali batannayawulamu kirungi na kibi, be baliyingira mu nsi eyo. Ndigibawa, ne bagyetwalira ne bagyefunira. 40 Naye mmwe, musitule mukyuke, mukwate olugendo olw’omu ddungu nga mwolekera Ennyanja Emyufu.” 41 Ne mulyoka munziramu nti, “Twonoonye eri MUKAMA. Tujja kwambuka tulwane nga MUKAMA Katonda waffe bwe yatulagira.” Awo buli musajja ne yeesiba ebyokulwanyisa bye eby’olutalo, nga mulowooza nti kyangu okwambuka mu nsi ey’ensozi. 42 MUKAMA n’aŋŋamba nti, “Bategeeze nti, ‘Temwambuka kulwana, kubanga sijja kubeera nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula.’ ” 43 Bwe ntyo ne mbagamba, naye ne mutawuliriza, ne mujeemera ekiragiro kya MUKAMA, ne mujjula amalala ne mwambuka mu nsi ey’ensozi. 44 Awo Abamoli abaabeeranga mu nsi eyo ey’ensozi, ne bavaayo ne babalumba, ne babagoba ng’enjuki bwe zikola, ne babakubira mu Seyiri n’okubatuusiza ddala e Koluma. 45 Ne mukomawo, ne mukaabira mu maaso ga MUKAMA, naye MUKAMA n’atabawuliriza era ne bye mwamukaabirira n’atabibawa. 46 Bwe mutyo ne musigala e Kadesi, okumala ebbanga eryo lyonna lye mwabeera eyo.

In Other Versions

Deuteronomy 1 in the ANGEFD

Deuteronomy 1 in the ANTPNG2D

Deuteronomy 1 in the AS21

Deuteronomy 1 in the BAGH

Deuteronomy 1 in the BBPNG

Deuteronomy 1 in the BBT1E

Deuteronomy 1 in the BDS

Deuteronomy 1 in the BEV

Deuteronomy 1 in the BHAD

Deuteronomy 1 in the BIB

Deuteronomy 1 in the BLPT

Deuteronomy 1 in the BNT

Deuteronomy 1 in the BNTABOOT

Deuteronomy 1 in the BNTLV

Deuteronomy 1 in the BOATCB

Deuteronomy 1 in the BOATCB2

Deuteronomy 1 in the BOBCV

Deuteronomy 1 in the BOCNT

Deuteronomy 1 in the BOECS

Deuteronomy 1 in the BOGWICC

Deuteronomy 1 in the BOHCB

Deuteronomy 1 in the BOHCV

Deuteronomy 1 in the BOHLNT

Deuteronomy 1 in the BOHNTLTAL

Deuteronomy 1 in the BOICB

Deuteronomy 1 in the BOILNTAP

Deuteronomy 1 in the BOITCV

Deuteronomy 1 in the BOKCV

Deuteronomy 1 in the BOKCV2

Deuteronomy 1 in the BOKHWOG

Deuteronomy 1 in the BOKSSV

Deuteronomy 1 in the BOLCB2

Deuteronomy 1 in the BOMCV

Deuteronomy 1 in the BONAV

Deuteronomy 1 in the BONCB

Deuteronomy 1 in the BONLT

Deuteronomy 1 in the BONUT2

Deuteronomy 1 in the BOPLNT

Deuteronomy 1 in the BOSCB

Deuteronomy 1 in the BOSNC

Deuteronomy 1 in the BOTLNT

Deuteronomy 1 in the BOVCB

Deuteronomy 1 in the BOYCB

Deuteronomy 1 in the BPBB

Deuteronomy 1 in the BPH

Deuteronomy 1 in the BSB

Deuteronomy 1 in the CCB

Deuteronomy 1 in the CUV

Deuteronomy 1 in the CUVS

Deuteronomy 1 in the DBT

Deuteronomy 1 in the DGDNT

Deuteronomy 1 in the DHNT

Deuteronomy 1 in the DNT

Deuteronomy 1 in the ELBE

Deuteronomy 1 in the EMTV

Deuteronomy 1 in the ESV

Deuteronomy 1 in the FBV

Deuteronomy 1 in the FEB

Deuteronomy 1 in the GGMNT

Deuteronomy 1 in the GNT

Deuteronomy 1 in the HARY

Deuteronomy 1 in the HNT

Deuteronomy 1 in the IRVA

Deuteronomy 1 in the IRVB

Deuteronomy 1 in the IRVG

Deuteronomy 1 in the IRVH

Deuteronomy 1 in the IRVK

Deuteronomy 1 in the IRVM

Deuteronomy 1 in the IRVM2

Deuteronomy 1 in the IRVO

Deuteronomy 1 in the IRVP

Deuteronomy 1 in the IRVT

Deuteronomy 1 in the IRVT2

Deuteronomy 1 in the IRVU

Deuteronomy 1 in the ISVN

Deuteronomy 1 in the JSNT

Deuteronomy 1 in the KAPI

Deuteronomy 1 in the KBT1ETNIK

Deuteronomy 1 in the KBV

Deuteronomy 1 in the KJV

Deuteronomy 1 in the KNFD

Deuteronomy 1 in the LBA

Deuteronomy 1 in the LBLA

Deuteronomy 1 in the LNT

Deuteronomy 1 in the LSV

Deuteronomy 1 in the MAAL

Deuteronomy 1 in the MBV

Deuteronomy 1 in the MBV2

Deuteronomy 1 in the MHNT

Deuteronomy 1 in the MKNFD

Deuteronomy 1 in the MNG

Deuteronomy 1 in the MNT

Deuteronomy 1 in the MNT2

Deuteronomy 1 in the MRS1T

Deuteronomy 1 in the NAA

Deuteronomy 1 in the NASB

Deuteronomy 1 in the NBLA

Deuteronomy 1 in the NBS

Deuteronomy 1 in the NBVTP

Deuteronomy 1 in the NET2

Deuteronomy 1 in the NIV11

Deuteronomy 1 in the NNT

Deuteronomy 1 in the NNT2

Deuteronomy 1 in the NNT3

Deuteronomy 1 in the PDDPT

Deuteronomy 1 in the PFNT

Deuteronomy 1 in the RMNT

Deuteronomy 1 in the SBIAS

Deuteronomy 1 in the SBIBS

Deuteronomy 1 in the SBIBS2

Deuteronomy 1 in the SBICS

Deuteronomy 1 in the SBIDS

Deuteronomy 1 in the SBIGS

Deuteronomy 1 in the SBIHS

Deuteronomy 1 in the SBIIS

Deuteronomy 1 in the SBIIS2

Deuteronomy 1 in the SBIIS3

Deuteronomy 1 in the SBIKS

Deuteronomy 1 in the SBIKS2

Deuteronomy 1 in the SBIMS

Deuteronomy 1 in the SBIOS

Deuteronomy 1 in the SBIPS

Deuteronomy 1 in the SBISS

Deuteronomy 1 in the SBITS

Deuteronomy 1 in the SBITS2

Deuteronomy 1 in the SBITS3

Deuteronomy 1 in the SBITS4

Deuteronomy 1 in the SBIUS

Deuteronomy 1 in the SBIVS

Deuteronomy 1 in the SBT

Deuteronomy 1 in the SBT1E

Deuteronomy 1 in the SCHL

Deuteronomy 1 in the SNT

Deuteronomy 1 in the SUSU

Deuteronomy 1 in the SUSU2

Deuteronomy 1 in the SYNO

Deuteronomy 1 in the TBIAOTANT

Deuteronomy 1 in the TBT1E

Deuteronomy 1 in the TBT1E2

Deuteronomy 1 in the TFTIP

Deuteronomy 1 in the TFTU

Deuteronomy 1 in the TGNTATF3T

Deuteronomy 1 in the THAI

Deuteronomy 1 in the TNFD

Deuteronomy 1 in the TNT

Deuteronomy 1 in the TNTIK

Deuteronomy 1 in the TNTIL

Deuteronomy 1 in the TNTIN

Deuteronomy 1 in the TNTIP

Deuteronomy 1 in the TNTIZ

Deuteronomy 1 in the TOMA

Deuteronomy 1 in the TTENT

Deuteronomy 1 in the UBG

Deuteronomy 1 in the UGV

Deuteronomy 1 in the UGV2

Deuteronomy 1 in the UGV3

Deuteronomy 1 in the VBL

Deuteronomy 1 in the VDCC

Deuteronomy 1 in the YALU

Deuteronomy 1 in the YAPE

Deuteronomy 1 in the YBVTP

Deuteronomy 1 in the ZBP