Deuteronomy 4 (BOLCB)

1 Kale nno kaakano, muwulire, Ayi Isirayiri, mutege amatu eri amateeka n’ebiragiro bye ŋŋenda okubayigiriza. Mubigonderenga era mubigobererenga, muliba balamu, mulyoke muyingire mu nsi MUKAMA Katonda wa bajjajjammwe gy’abawa mugyetwalire ebeere obutaka bwammwe obw’enkalakkalira. 2 Temwongerangako ku mateeka ge mbalagira, so temugatoolangako, naye mukwatenga ebiragiro bya MUKAMA Katonda wammwe, bye mbategeeza. 3 Mwerabirako n’amaaso gammwe gennyini ebyo byonna MUKAMA bye yakola e Baali Peoli. Abo bonna mu mmwe abaagoberera, era ne basinza Baali e Peoli, MUKAMA Katonda wo yabazikiriza; 4 naye mmwe abaanywerera ku MUKAMA Katonda wammwe, mukyali balamu leero. 5 Kale, mulabe nno, mbayigirizza amateeka n’ebiragiro nga MUKAMA Katonda wange bwe yandagira, mulyoke mubigobererenga nga mutuuse mu nsi gye mugenda okuyingiramu, n’okugyefunira ng’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira. 6 Mugagobererenga n’obwegendereza, kubanga ekyo kiriraga ensi endala obugezi bwammwe n’obutegeevu bwammwe. Ensi ezo bwe ziriwulira ku mateeka gano gonna zirigamba nti, “Ddala abantu b’eggwanga lino ekkulu bategeevu era ba magezi.” 7 Kubanga ggwanga ki eddala ekkulu erimanyiddwa eririna bakatonda b’abantu baalyo okumpi n’abantu abo, nga ffe bwe tulina MUKAMA Katonda waffe, abeera okumpi naffe buli lwe tumukoowoola? 8 Era ggwanga ki eddala ekkulu erimanyiddwa eririna amateeka n’ebiragiro eby’obwenkanya nga bino bye nteeka mu maaso gammwe leero? 9 “Ekikulu, weekuume nnyo nga weerabirira mu ngeri gye weeyisaamu, olemenga kwerabira ebyo byonna amaaso go bye gazze galaba oleme okubiganya okuva mu mutima gwo ennaku zonna ez’obulamu bwo. Biyigirizenga abaana bo, nabo babiyigirizenga abaana baabwe. 10 Kirungi mujjukire nga bwe mwayimirira awali MUKAMA Katonda wammwe, ku lusozi Kolebu, bwe yaŋŋamba nti, ‘Kuŋŋaanya abantu bonna obandeetere wano we ndi, bawulire ebigambo byange, balyoke bayige okumpulira nga bantya; banzisengamu ekitiibwa ennaku zonna ze balimala ku nsi, era ebigambo ebyo babiyigirizenga abaana baabwe. 11 Mwasembera ne muyimirira wansi w’olusozi, ne mulaba nga lwaka omuliro ogwatuukira ddala waggulu ku ggulu, nga gwetooloddwa ebire n’ekizikiza ekikutte.’ 12 Bw’atyo MUKAMA Katonda n’ayogera nammwe ng’asinziira wakati mu muliro. Mwawulira envuga y’ebigambo bye, naye ekikula kye temwakiraba; mwakoma ku ddoboozi lyokka. 13 Yabategeeza endagaano ye eyali mu Mateeka Ekkumi, ge yawandiika ku bipande by’amayinja ebibiri, n’abalagira okugagobereranga. 14 Era mu kaseera ako MUKAMA Katonda n’andagira mbayigirize amateeka n’ebiragiro bye musaana okugonderanga, nga muli mu nsi gye mugenda okwefunira ng’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira, nga mumaze okusomoka Yoludaani. 15 “Ku lunaku olwo MUKAMA Katonda bwe yayogera gye muli ng’asinziira wakati mu muliro ku lusozi Kolebu, temwalaba kikula kye kya ngeri yonna. Noolwekyo mwekuumenga nnyo, 16 mulemenga okweyonoona nga mwekolera bakatonda abalala, aba buli ngeri, abali mu bifaananyi ebiri ng’omusajja oba ng’omukazi, 17 oba ebifaanana ng’ensolo ez’oku nsi, oba ng’ennyonyi ezibuuka mu bbanga, 18 oba ebifaanana ng’ebiramu byonna ebitambulira wansi oba ebyekulula ku ttaka; oba ebifaanana ng’ebyennyanja ebiri mu mazzi agali wansi w’ettaka. 19 Era weekuumenga nnyo bw’onooyimusanga amaaso go okutunula waggulu ku ggulu, n’olaba enjuba, n’omwezi n’emmunyeenye, n’ebitiibwa byabyo, n’osendebwasendebwa n’obiweereza, era n’obivuunamira n’obisinza; songa ebyo byonna bye bintu MUKAMA Katonda wo bye yawa amawanga gonna agali wansi w’eggulu. 20 Naye mmwe, MUKAMA yabaggya mu Misiri, mu mbiga esaanuusa ebyuma, mubeerenga bantu be ab’obusika bwe, nga bwe muli leero. 21 “Ate n’ekirala, MUKAMA yansunguwalira ku lwammwe, ne yeerayirira nti nze sigenda kusomoka mugga ogwo Yoludaani nnyingire mu nsi eyo ennungi MUKAMA Katonda wammwe gy’abawa okubeera obusika bwammwe. 22 Naye nze kinsaanira okufiira wano mu nsi eno kaakano mwe tuli, sigenda kusomoka mugga Yoludaani; naye mmwe muligusomoka ne mwefunira ensi eyo ennungi okubeera obutaka bwammwe obw’enkalakkalira. 23 Mwegenderezanga nnyo ne muteerabira ndagaano ya MUKAMA Katonda wammwe gye yakola nammwe. Temwekoleranga bitali Katonda mu kufaanaanyiriza okw’ekintu kyonna MUKAMA Katonda wo kye yakugaana okukola. 24 Kubanga MUKAMA Katonda wo muliro ogwokya ne gusaanyaawo, ye Katonda ow’obuggya. 25 “Bw’olimala okuzaala abaana ng’ofunye n’abazzukulu, era nga mu nsi omwo mumazeemu emyaka mingi nga mukaddiye; ne mugenda mweyonoonanga nga mwekolera bakatonda abalala ab’engeri zonna, ne mukolanga ebibi mu maaso ga MUKAMA Katonda wo ne mumusunguwazanga, 26 nkoowoola eggulu n’ensi okubeera abajulirwa bange ku lunaku lwa leero nga mbakuutira mmwe nti, Bwe muneeyonoonanga bwe mutyo, muliggweerawo ddala mu nsi eyo gye mugenda okwefunira okuba obutaka bwammwe, nga mumaze okusomoka Yoludaani. Muligibeeramu akabanga katono ne muzikirizibwa mwenna. 27 MUKAMA anaabasaasaanyanga mu mawanga amalala, era erisigalayo batono mu mmwe abalibeera mu nsi ezo MUKAMA Katonda gy’anaabanga abasindiikirizza. 28 Nga muli eyo munaasinzanga bakatonda abakolebwa n’emikono gy’abantu, mu miti ne mu mayinja, abatayinza kulaba, oba okuwulira oba okulya, wadde okuwunyiriza. 29 Naye ng’oli eyo, bw’onoonoonyanga MUKAMA Katonda wo, onoomulabanga, singa onoomunoonyanga n’omutima gwo gwonna awamu n’omwoyo gwo gwonna. 30 Ebintu ebyo byonna bwe binaakutuukangako n’olaba ennaku nnyingi, olwo onookomangawo eri MUKAMA Katonda wo mu biseera eby’oluvannyuma, n’omugonderanga. 31 Kubanga MUKAMA Katonda wo ajjudde okusaasira, taakusuulirirenga wadde okukuzikiriza, oba okwerabira endagaano ye gye yakola ne bajjajjaabo gye yabalayiririra. 32 “Kale, weebuuze leero ku byafaayo eby’ebiro eby’edda, nga naawe tonnabeerawo, okuva ku lunaku Katonda lwe yatonderako omuntu n’amuteeka ku nsi; weebuuze okuva ku luuyi olumu olw’eggulu okutuuka ku luuyi olulala. Waali wabaddewo ekintu ekikulu nga kino, oba waali wabaddewo akiwulirako? 33 Abantu abamawanga amalala baali bawuliddeko ku ddoboozi lya Katonda ng’ayogerera mu muliro, ne basigala nga bakyali balamu, nga mmwe bwe mwaliwulira ne muba balamu? 34 Nantiki, waali wabaddewo katonda eyali agezezzaako okwetwalira eggwanga erimu ng’aliggya wakati mu ggwanga eddala, ng’ataddewo ebigezo, n’okukola ebyamagero, n’obubonero, n’ebyewuunyo, n’entalo, ng’alaga omukono gwe ogw’amaanyi, n’omukono gwe omuwanvu; oba n’ebikolwa ebinene ebitiisa, okufaanana ng’ebintu MUKAMA Katonda wammwe bye yabakolera nga muli mu Misiri, nga mwenna mutunula? 35 “Walagibwa ebintu ebyo byonna olyoke otegeere nga MUKAMA ye Katonda; era nga awatali ye tewali mulala. 36 Yakuleka n’owulira eddoboozi lye nga liva mu ggulu alyoke akuyigirize. Yakulaga omuliro gwe omungi ennyo ku nsi, n’owulira ebigambo bye nga biva mu muliro ogwo. 37 Olw’okubanga yayagala nnyo bajjajjaabo naawe muzzukulu waabwe eyabaddirira, yakuggya mu nsi y’e Misiri ng’akozesa obuyinza bwe obungi. 38 Yakuwangulira amawanga amakulu era agakusinga ggwe amaanyi, alyoke akuyingize mu nsi yaabwe, era agikuwe ggwe okubeeranga obusika bwo nga bwe kiri leero. 39 “Noolwekyo osaana okitegeerere ddala okuva ku lunaku lwa leero, era okinywereze ddala mu mutima gwo nti MUKAMA ye Katonda yekka ali waggulu mu ggulu ne wansi ku nsi; so tewali mulala. 40 Kale, mugonderenga amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero; olwo nno eby’obulamu bwo n’embeera yo biryoke bikugenderenga bulungi, ggwe n’ezzadde lyo eririddawo; bw’otyo olyoke owangaalenga ng’oli mu nsi MUKAMA Katonda wo gy’akuwa okubeeranga obutaka bwo obw’enkalakkalira.” 41 Awo Musa n’ayawula ebibuga bisatu ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani, 42 nga mu bibuga ebyo, omuntu yenna anaabanga asse muntu munne nga tagenderedde, mw’anaddukiranga, kubanga munne anaabanga amusse mu butanwa nga tamuliiko kiruyi kubanga tabangako mulabe we; anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo yeewonye naye okuttibwa. 43 Bino bye byali ebibuga ebyo: Bezeri, nga kiri mu ddungu mu nsi engulumivu kyokka nga waggulu mbyabyatavu, nga kye ky’Abalewubeeni; ne Lamusi mu Gireyaadi, nga kye ky’Abagaadi; ne Golani mu Basani, nga ky’ekitundu ky’Abamanase abaagabana oluuyi olwo. 44 Gano ge mateeka Musa ge yateeka mu maaso g’abaana ba Isirayiri, 45 era ono ye kalonda w’obujulirwa, n’amateeka, n’ebiragiro, Musa bye yategeeza abaana ba Isirayiri nga bavudde mu Misiri, 46 nga bali mu kiwonvu ekiriraanye Besu Peoli ku buvanjuba bw’omugga Yoludaani, mu nsi eya Sikoni kabaka w’Abamoli, eyafugiranga mu Kesuboni, Musa n’abaana ba Isirayiri gwe baali bamaze okuwangula nga bavudde mu nsi ey’e Misiri. 47 Ensi eyo baali bagitutte awamu n’ensi ya Ogi kabaka wa Basani, abo nga be bakabaka ababiri abaabanga ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani. 48 Ensi eyo yali eva ku Aluweri ekiri ku njegoyego y’Ekiwonvu Alunoni n’okutuuka ku lusozi olunene Siriyoni era olwo ye Kerumooni, 49 n’ezingiramu ne Alaba ekiri ku luuyi olw’ebuvanjuba obwa Yoludaani, okutuukira ddala ku Nnyanja ya Alaba, ye Nnyanja ey’Omunnyo, wansi w’olugulungujjo lw’olusozi Pisuga.

In Other Versions

Deuteronomy 4 in the ANGEFD

Deuteronomy 4 in the ANTPNG2D

Deuteronomy 4 in the AS21

Deuteronomy 4 in the BAGH

Deuteronomy 4 in the BBPNG

Deuteronomy 4 in the BBT1E

Deuteronomy 4 in the BDS

Deuteronomy 4 in the BEV

Deuteronomy 4 in the BHAD

Deuteronomy 4 in the BIB

Deuteronomy 4 in the BLPT

Deuteronomy 4 in the BNT

Deuteronomy 4 in the BNTABOOT

Deuteronomy 4 in the BNTLV

Deuteronomy 4 in the BOATCB

Deuteronomy 4 in the BOATCB2

Deuteronomy 4 in the BOBCV

Deuteronomy 4 in the BOCNT

Deuteronomy 4 in the BOECS

Deuteronomy 4 in the BOGWICC

Deuteronomy 4 in the BOHCB

Deuteronomy 4 in the BOHCV

Deuteronomy 4 in the BOHLNT

Deuteronomy 4 in the BOHNTLTAL

Deuteronomy 4 in the BOICB

Deuteronomy 4 in the BOILNTAP

Deuteronomy 4 in the BOITCV

Deuteronomy 4 in the BOKCV

Deuteronomy 4 in the BOKCV2

Deuteronomy 4 in the BOKHWOG

Deuteronomy 4 in the BOKSSV

Deuteronomy 4 in the BOLCB2

Deuteronomy 4 in the BOMCV

Deuteronomy 4 in the BONAV

Deuteronomy 4 in the BONCB

Deuteronomy 4 in the BONLT

Deuteronomy 4 in the BONUT2

Deuteronomy 4 in the BOPLNT

Deuteronomy 4 in the BOSCB

Deuteronomy 4 in the BOSNC

Deuteronomy 4 in the BOTLNT

Deuteronomy 4 in the BOVCB

Deuteronomy 4 in the BOYCB

Deuteronomy 4 in the BPBB

Deuteronomy 4 in the BPH

Deuteronomy 4 in the BSB

Deuteronomy 4 in the CCB

Deuteronomy 4 in the CUV

Deuteronomy 4 in the CUVS

Deuteronomy 4 in the DBT

Deuteronomy 4 in the DGDNT

Deuteronomy 4 in the DHNT

Deuteronomy 4 in the DNT

Deuteronomy 4 in the ELBE

Deuteronomy 4 in the EMTV

Deuteronomy 4 in the ESV

Deuteronomy 4 in the FBV

Deuteronomy 4 in the FEB

Deuteronomy 4 in the GGMNT

Deuteronomy 4 in the GNT

Deuteronomy 4 in the HARY

Deuteronomy 4 in the HNT

Deuteronomy 4 in the IRVA

Deuteronomy 4 in the IRVB

Deuteronomy 4 in the IRVG

Deuteronomy 4 in the IRVH

Deuteronomy 4 in the IRVK

Deuteronomy 4 in the IRVM

Deuteronomy 4 in the IRVM2

Deuteronomy 4 in the IRVO

Deuteronomy 4 in the IRVP

Deuteronomy 4 in the IRVT

Deuteronomy 4 in the IRVT2

Deuteronomy 4 in the IRVU

Deuteronomy 4 in the ISVN

Deuteronomy 4 in the JSNT

Deuteronomy 4 in the KAPI

Deuteronomy 4 in the KBT1ETNIK

Deuteronomy 4 in the KBV

Deuteronomy 4 in the KJV

Deuteronomy 4 in the KNFD

Deuteronomy 4 in the LBA

Deuteronomy 4 in the LBLA

Deuteronomy 4 in the LNT

Deuteronomy 4 in the LSV

Deuteronomy 4 in the MAAL

Deuteronomy 4 in the MBV

Deuteronomy 4 in the MBV2

Deuteronomy 4 in the MHNT

Deuteronomy 4 in the MKNFD

Deuteronomy 4 in the MNG

Deuteronomy 4 in the MNT

Deuteronomy 4 in the MNT2

Deuteronomy 4 in the MRS1T

Deuteronomy 4 in the NAA

Deuteronomy 4 in the NASB

Deuteronomy 4 in the NBLA

Deuteronomy 4 in the NBS

Deuteronomy 4 in the NBVTP

Deuteronomy 4 in the NET2

Deuteronomy 4 in the NIV11

Deuteronomy 4 in the NNT

Deuteronomy 4 in the NNT2

Deuteronomy 4 in the NNT3

Deuteronomy 4 in the PDDPT

Deuteronomy 4 in the PFNT

Deuteronomy 4 in the RMNT

Deuteronomy 4 in the SBIAS

Deuteronomy 4 in the SBIBS

Deuteronomy 4 in the SBIBS2

Deuteronomy 4 in the SBICS

Deuteronomy 4 in the SBIDS

Deuteronomy 4 in the SBIGS

Deuteronomy 4 in the SBIHS

Deuteronomy 4 in the SBIIS

Deuteronomy 4 in the SBIIS2

Deuteronomy 4 in the SBIIS3

Deuteronomy 4 in the SBIKS

Deuteronomy 4 in the SBIKS2

Deuteronomy 4 in the SBIMS

Deuteronomy 4 in the SBIOS

Deuteronomy 4 in the SBIPS

Deuteronomy 4 in the SBISS

Deuteronomy 4 in the SBITS

Deuteronomy 4 in the SBITS2

Deuteronomy 4 in the SBITS3

Deuteronomy 4 in the SBITS4

Deuteronomy 4 in the SBIUS

Deuteronomy 4 in the SBIVS

Deuteronomy 4 in the SBT

Deuteronomy 4 in the SBT1E

Deuteronomy 4 in the SCHL

Deuteronomy 4 in the SNT

Deuteronomy 4 in the SUSU

Deuteronomy 4 in the SUSU2

Deuteronomy 4 in the SYNO

Deuteronomy 4 in the TBIAOTANT

Deuteronomy 4 in the TBT1E

Deuteronomy 4 in the TBT1E2

Deuteronomy 4 in the TFTIP

Deuteronomy 4 in the TFTU

Deuteronomy 4 in the TGNTATF3T

Deuteronomy 4 in the THAI

Deuteronomy 4 in the TNFD

Deuteronomy 4 in the TNT

Deuteronomy 4 in the TNTIK

Deuteronomy 4 in the TNTIL

Deuteronomy 4 in the TNTIN

Deuteronomy 4 in the TNTIP

Deuteronomy 4 in the TNTIZ

Deuteronomy 4 in the TOMA

Deuteronomy 4 in the TTENT

Deuteronomy 4 in the UBG

Deuteronomy 4 in the UGV

Deuteronomy 4 in the UGV2

Deuteronomy 4 in the UGV3

Deuteronomy 4 in the VBL

Deuteronomy 4 in the VDCC

Deuteronomy 4 in the YALU

Deuteronomy 4 in the YAPE

Deuteronomy 4 in the YBVTP

Deuteronomy 4 in the ZBP