Esther 9 (BOLCB)

1 Ku lunaku olw’ekkumi n’ebiri gwe mwezi Adali, ekiragiro kya Kabaka lwe kyali kigenda okutuukirizibwa. Ku lunaku olwo abalabe b’Abayudaaya kwe baasuubirira okubafuga, naye ate Abayudaaya ne bafuga abo abaabakyawa. 2 Abayudaaya ne bakuŋŋaana mu bibuga byabwe okubuna ebitundu byonna ebya Kabaka Akaswero, okukwata abo abaali baagala okubaleetako obulabe, so tewaali muntu eyayaŋŋanga okubayinza, kubanga entiisa yali egudde ku bantu bonna abamawanga gonna. 3 Awo abakungu bonna ab’ebitundu, n’abaamasaza, ne bagavana n’abasigire ba kabaka abaafuganga ne bayamba Abayudaaya, kubanga entiisa yali ebakutte olwa Moluddekaayi. 4 Moluddekaayi yali akulaakulanye mu lubiri, era n’ettutumu lye ne lyatiikirira okubuna ebitundu byonna, ate era ne yeeyongera amaanyi n’obuyinza. 5 Awo Abayudaaya ne batta era ne bazikiriza abalabe baabwe bonna n’ekitala, era ne bakola nga bwe baayagala abo abaabakyawa. 6 Mu lubiri olw’e Susani, Abayudaaya batta ne bazikiriza abasajja ebikumi bitaano. 7 Ate era batta Palusandasa, ne Dalufoni, ne Asupasa, 8 Polasa, ne Adaliya, ne Alidasa, 9 Palumasuta, ne Alisayi, ne Alidayi, ne Vaizasa 10 abatabani ekkumi aba Kamani mutabani wa Kammedasa omulabe w’Abayudaaya. Naye tebaakwata ku munyago. 11 Ku lunaku olwo, Kabaka n’ategeezebwa omuwendo gw’abo abattibwa mu lubiri e Susani. 12 Awo Kabaka n’agamba Nnabagereka Eseza nti, “Abayudaaya basse era bazikirizza abasajja ebikumi bitaano, ate era ne batabani ba Kamani ekkumi nabo battiddwa. Kale kyenkana wa kye bakoze mu bitundu bya Kabaka ebirala? Kiki ky’osaba kaakano? Onookiweebwa. Era kiki kye weegayirira? Kale n’akyo kinaakolebwa.” 13 Eseza n’addamu nti, “Kabaka bw’anaasiima, enkya Abayudaaya baweebwe olukusa okukola nga ekiragiro ekya leero bwe kibadde era emirambo gya batabani ba Kamani ekkumi giwanikibwe ku miti.” 14 Amangwago Kabaka n’alagira kikolebwe. Ekiragiro ne kirangirirwa mu Susani, era emirambo gya batabani ba Kamani ekkumi ne giwanikibwa. 15 Awo ku lunaku olw’ekkumi n’enya mu mwezi ogwa Adali, Abayudaaya mu Susani ne beekuŋŋaanya, era ne batta abasajja ebikumi bisatu mu Susani, naye ne batakwata ku munyago. 16 Mu kiseera kyekimu Abayudaaya abalala abaali mu bitundu bya Kabaka nabo ne bakuŋŋaana okwerwanirira, n’okufuna ne bafuna okuwummula eri abalabe baabwe. Ne batta emitwalo nsanvu mu etaano ku bo naye ne batakwata ku munyago. 17 Bino byabaawo ku lunaku olw’ekkumi n’essatu mu mwezi ogwa Adali, ku lunaku olw’ekkumi n’ennya ne bawummula era ne balufuula lunaku lwa kuliirangako mbaga n’olw’okusanyukirangako. 18 Abayudaaya ab’omu Susani ne bakuŋŋaananga ku lunaku olw’ekkumi n’essatu ne ku lunaku olw’ekkumi n’ennya, ate ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano ne bawummula, era ne balufuula olunaku olw’okuliirangako embaga n’okusanyukirangako. 19 Abayudaaya ab’omu byalo abaabeeranga mu bibuga ebitaaliiko bbugwe kyebaava bafuula olunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi Adali okuba olunaku okuliirangako embaga n’olw’okusanyukirangako, era olunaku olw’okuweerazaganirako ebirabo. 20 Awo Moluddekaayi n’awandiika ebyabaawo byonna, era n’aweereza Abayudaaya bonna abaali mu bitundu byonna ebya Kabaka Akaswero ebbaluwa, mu matwale ag’okumpi n’agewala, 21 ng’abalagira okukuumanga olunaku olw’ekkumi n’ennya n’olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogwa Adali nga lwa mbaga, 22 era nga kye kiseera Abayudaaya kye baafunirako eddembe eri abalabe baabwe, ate era nga gwe mwezi obuyinike bwabwe lwe bwafuulibwa essanyu, n’okunakuwala kwabwe ne kukoma. Moluddekaayi n’abiwandiika okujjukira ennaku ezo ng’ennaku ez’okuliirangako embaga n’okusanyukirangako, ate era n’okuweerezaganya ebyokulya ebirungi, era n’okugabiranga abaavu ebirabo. 23 Awo Abayudaaya ne basuubiza okukola nga bwe baatandika, nga Moluddekaayi bwe yabawandiikira. 24 Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w’Abayudaaya bonna, yali asalidde Abayudaaya olukwe okubazikiriza, era ng’akubye akalulu Puli, okubasaanyaawo n’okubazikiriza. 25 Naye Eseza bwe yakimanyisa Kabaka, Kabaka n’awa ekiragiro mu buwandiike nti olukwe olubi Kamani lwe yali asalidde Abayudaaya ludde ku mutwe gwe, era ye ne batabani be ne bawanikibwa ku kalabba. 26 Ennaku ezo kyebaava baziyita Pulimu ng’erinnya lya Puli bwe liri. Awo olw’ebigambo byonna ebyawandiikibwa mu bbaluwa, n’olw’ebyo bye baalaba, n’ebyabatuukako, 27 Abayudaaya kyebaava balagira ne basuubiza, era ne basuubiriza ezzadde lyabwe n’abo bonna abanaabeegattangako, nti awatali kwekwasa nsonga yonna, bateekwa okukwatanga ennaku ezo zombi buli mwaka ng’ekiwandiiko kyazo bwe kyali era ng’ebiro byazo bwe byali. 28 Ennaku ezo zijjukirwenga ku mirembe gyonna, na buli kika, na buli ssaza era na buli kibuga, era ennaku zino eza Pulimu, Abayudaaya tebalekangayo okuzijagulizaangako, wadde okuzeerabira. 29 Awo Nnabagereka Eseza muwala wa Abikayiri ne Moluddekaayi Omuyudaaya ne bawandiika n’obuyinza bwonna okunyweza ebbaluwa eyo eyookubiri eya Pulimu. 30 Ebbaluwa ne ziweerezebwa, mu bitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu (127) eby’obwakabaka bwa Akaswero, 31 n’okuwa ebiragiro nti ennaku ezo eza Pulimu zikuumibwenga mu biro byazo nga Omuyudaaya Moluddekaayi ne Nnabagereka Eseza bwe baabalagira, era nga bwe beeyama bo bennyini n’ezzadde lyabwe okusinziira ku biseera byabwe bye baayitamu eby’okusiiba n’okukungubaga. 32 Awo ekiragiro kya Eseza ne kinyweza ebigambo ebyo ebya Pulimu, era ne kiwandiikibwa mu byafaayo.

In Other Versions

Esther 9 in the ANGEFD

Esther 9 in the ANTPNG2D

Esther 9 in the AS21

Esther 9 in the BAGH

Esther 9 in the BBPNG

Esther 9 in the BBT1E

Esther 9 in the BDS

Esther 9 in the BEV

Esther 9 in the BHAD

Esther 9 in the BIB

Esther 9 in the BLPT

Esther 9 in the BNT

Esther 9 in the BNTABOOT

Esther 9 in the BNTLV

Esther 9 in the BOATCB

Esther 9 in the BOATCB2

Esther 9 in the BOBCV

Esther 9 in the BOCNT

Esther 9 in the BOECS

Esther 9 in the BOGWICC

Esther 9 in the BOHCB

Esther 9 in the BOHCV

Esther 9 in the BOHLNT

Esther 9 in the BOHNTLTAL

Esther 9 in the BOICB

Esther 9 in the BOILNTAP

Esther 9 in the BOITCV

Esther 9 in the BOKCV

Esther 9 in the BOKCV2

Esther 9 in the BOKHWOG

Esther 9 in the BOKSSV

Esther 9 in the BOLCB2

Esther 9 in the BOMCV

Esther 9 in the BONAV

Esther 9 in the BONCB

Esther 9 in the BONLT

Esther 9 in the BONUT2

Esther 9 in the BOPLNT

Esther 9 in the BOSCB

Esther 9 in the BOSNC

Esther 9 in the BOTLNT

Esther 9 in the BOVCB

Esther 9 in the BOYCB

Esther 9 in the BPBB

Esther 9 in the BPH

Esther 9 in the BSB

Esther 9 in the CCB

Esther 9 in the CUV

Esther 9 in the CUVS

Esther 9 in the DBT

Esther 9 in the DGDNT

Esther 9 in the DHNT

Esther 9 in the DNT

Esther 9 in the ELBE

Esther 9 in the EMTV

Esther 9 in the ESV

Esther 9 in the FBV

Esther 9 in the FEB

Esther 9 in the GGMNT

Esther 9 in the GNT

Esther 9 in the HARY

Esther 9 in the HNT

Esther 9 in the IRVA

Esther 9 in the IRVB

Esther 9 in the IRVG

Esther 9 in the IRVH

Esther 9 in the IRVK

Esther 9 in the IRVM

Esther 9 in the IRVM2

Esther 9 in the IRVO

Esther 9 in the IRVP

Esther 9 in the IRVT

Esther 9 in the IRVT2

Esther 9 in the IRVU

Esther 9 in the ISVN

Esther 9 in the JSNT

Esther 9 in the KAPI

Esther 9 in the KBT1ETNIK

Esther 9 in the KBV

Esther 9 in the KJV

Esther 9 in the KNFD

Esther 9 in the LBA

Esther 9 in the LBLA

Esther 9 in the LNT

Esther 9 in the LSV

Esther 9 in the MAAL

Esther 9 in the MBV

Esther 9 in the MBV2

Esther 9 in the MHNT

Esther 9 in the MKNFD

Esther 9 in the MNG

Esther 9 in the MNT

Esther 9 in the MNT2

Esther 9 in the MRS1T

Esther 9 in the NAA

Esther 9 in the NASB

Esther 9 in the NBLA

Esther 9 in the NBS

Esther 9 in the NBVTP

Esther 9 in the NET2

Esther 9 in the NIV11

Esther 9 in the NNT

Esther 9 in the NNT2

Esther 9 in the NNT3

Esther 9 in the PDDPT

Esther 9 in the PFNT

Esther 9 in the RMNT

Esther 9 in the SBIAS

Esther 9 in the SBIBS

Esther 9 in the SBIBS2

Esther 9 in the SBICS

Esther 9 in the SBIDS

Esther 9 in the SBIGS

Esther 9 in the SBIHS

Esther 9 in the SBIIS

Esther 9 in the SBIIS2

Esther 9 in the SBIIS3

Esther 9 in the SBIKS

Esther 9 in the SBIKS2

Esther 9 in the SBIMS

Esther 9 in the SBIOS

Esther 9 in the SBIPS

Esther 9 in the SBISS

Esther 9 in the SBITS

Esther 9 in the SBITS2

Esther 9 in the SBITS3

Esther 9 in the SBITS4

Esther 9 in the SBIUS

Esther 9 in the SBIVS

Esther 9 in the SBT

Esther 9 in the SBT1E

Esther 9 in the SCHL

Esther 9 in the SNT

Esther 9 in the SUSU

Esther 9 in the SUSU2

Esther 9 in the SYNO

Esther 9 in the TBIAOTANT

Esther 9 in the TBT1E

Esther 9 in the TBT1E2

Esther 9 in the TFTIP

Esther 9 in the TFTU

Esther 9 in the TGNTATF3T

Esther 9 in the THAI

Esther 9 in the TNFD

Esther 9 in the TNT

Esther 9 in the TNTIK

Esther 9 in the TNTIL

Esther 9 in the TNTIN

Esther 9 in the TNTIP

Esther 9 in the TNTIZ

Esther 9 in the TOMA

Esther 9 in the TTENT

Esther 9 in the UBG

Esther 9 in the UGV

Esther 9 in the UGV2

Esther 9 in the UGV3

Esther 9 in the VBL

Esther 9 in the VDCC

Esther 9 in the YALU

Esther 9 in the YAPE

Esther 9 in the YBVTP

Esther 9 in the ZBP