Genesis 13 (BOLCB)
1 Bw’atyo Ibulaamu n’ayambuka okuva mu Misiri ye ne mukazi we, ne byonna bye yalina, ne Lutti ne bayingira mu Negevu. 2 Mu kiseera ekyo Ibulaamu yalina ente nnyingi, ne ffeeza ne zaabu nnyingi nnyo. 3 N’atambula okuva e Negevu n’atuuka e Beseri, mu kifo eweema ye we yali olubereberye, wakati wa Beseri ne Ayi, 4 mu kifo we yasooka okuzimbira MUKAMA ekyoto, Ibulaamu n’akoowoolera eyo erinnya lya MUKAMA. 5 Ne Lutti eyagenda ne Ibulaamu naye yalina ebisibo by’endiga n’amagana g’ente n’ab’enju ye nga bangi, 6 ekitundu mwe baali nga tekibamala bombi. Obugagga bwabwe bwali bungi nnyo, 7 ate nga n’abasumba baabwe bayombagana. Mu kiseera ekyo Abakanani n’Abaperezi nabo baabanga mu nsi omwo. 8 Awo Ibulaamu n’agamba Lutti nti, “Tewasaana kubaawo kuyombagana wakati wange naawe, wadde wakati w’abalunzi bo n’abange, kubanga tuli baaluganda. 9 Ensi yonna teri mu maaso go? Leka twawukane. Bwonoolonda oluuyi olwa kkono, nze n’alaga ku luuyi olwa ddyo, bw’onoolaga ku luuyi olwa ddyo nze n’alaga ku luuyi olwa kkono.” 10 Lutti n’ayimusa amaaso ge, n’alaba ekiwonvu kya Yoludaani nga kirungi, nga kirimu amazzi buli wantu nga kifaanana ng’ennimiro ya MUKAMA; nga kiri ng’ensi ya Misiri ku luuyi olwa Zowaali. Kino kyaliwo nga MUKAMA tannazikkiriza Sodomu ne Ggomola. 11 Bw’atyo Lutti ne yeeronderawo olusenyi lwa Yoludaani n’agenda ku luuyi olw’ebuvanjuba; bwe batyo ne baawukana. 12 Ibulaamu n’abeera mu nsi ya Kanani, ye Lutti n’abeera mu bibuga eby’omu lusenyi n’atwala eweema ye n’agisimba okumpi ne Sodomu. 13 Abasajja aba Sodomu baali babi era nga boonoonyi nnyo eri MUKAMA. 14 MUKAMA n’agamba Ibulaamu ng’amaze okwawukana ne Lutti nti, “Yimusa amaaso go ng’osinziira mu kifo mw’oli, otunule ku bukiikakkono, ne ku bukiikaddyo, n’ebuvanjuba n’ebugwanjuba; 15 kubanga ensi gy’olaba ndigikuwa ggwe n’ezzadde lyo emirembe gyonna. 16 Ndyaza ezzadde lyo ng’enfuufu ey’oku nsi; omuntu bw’alisobola okubala enfuufu ey’oku nsi, n’ezzadde lyo aliribala. 17 Situka, tambula obuwanvu n’obukiika obw’ensi kubanga ngikuwadde.” 18 Awo Ibulaamu n’asimbula eweema ye n’agenda n’abeera okumpi n’emivule gya Mamule, ekiri e Kebbulooni, n’azimbira eyo MUKAMA ekyoto.
In Other Versions
Genesis 13 in the ANGEFD
Genesis 13 in the ANTPNG2D
Genesis 13 in the AS21
Genesis 13 in the BAGH
Genesis 13 in the BBPNG
Genesis 13 in the BBT1E
Genesis 13 in the BDS
Genesis 13 in the BEV
Genesis 13 in the BHAD
Genesis 13 in the BIB
Genesis 13 in the BLPT
Genesis 13 in the BNT
Genesis 13 in the BNTABOOT
Genesis 13 in the BNTLV
Genesis 13 in the BOATCB
Genesis 13 in the BOATCB2
Genesis 13 in the BOBCV
Genesis 13 in the BOCNT
Genesis 13 in the BOECS
Genesis 13 in the BOGWICC
Genesis 13 in the BOHCB
Genesis 13 in the BOHCV
Genesis 13 in the BOHLNT
Genesis 13 in the BOHNTLTAL
Genesis 13 in the BOICB
Genesis 13 in the BOILNTAP
Genesis 13 in the BOITCV
Genesis 13 in the BOKCV
Genesis 13 in the BOKCV2
Genesis 13 in the BOKHWOG
Genesis 13 in the BOKSSV
Genesis 13 in the BOLCB2
Genesis 13 in the BOMCV
Genesis 13 in the BONAV
Genesis 13 in the BONCB
Genesis 13 in the BONLT
Genesis 13 in the BONUT2
Genesis 13 in the BOPLNT
Genesis 13 in the BOSCB
Genesis 13 in the BOSNC
Genesis 13 in the BOTLNT
Genesis 13 in the BOVCB
Genesis 13 in the BOYCB
Genesis 13 in the BPBB
Genesis 13 in the BPH
Genesis 13 in the BSB
Genesis 13 in the CCB
Genesis 13 in the CUV
Genesis 13 in the CUVS
Genesis 13 in the DBT
Genesis 13 in the DGDNT
Genesis 13 in the DHNT
Genesis 13 in the DNT
Genesis 13 in the ELBE
Genesis 13 in the EMTV
Genesis 13 in the ESV
Genesis 13 in the FBV
Genesis 13 in the FEB
Genesis 13 in the GGMNT
Genesis 13 in the GNT
Genesis 13 in the HARY
Genesis 13 in the HNT
Genesis 13 in the IRVA
Genesis 13 in the IRVB
Genesis 13 in the IRVG
Genesis 13 in the IRVH
Genesis 13 in the IRVK
Genesis 13 in the IRVM
Genesis 13 in the IRVM2
Genesis 13 in the IRVO
Genesis 13 in the IRVP
Genesis 13 in the IRVT
Genesis 13 in the IRVT2
Genesis 13 in the IRVU
Genesis 13 in the ISVN
Genesis 13 in the JSNT
Genesis 13 in the KAPI
Genesis 13 in the KBT1ETNIK
Genesis 13 in the KBV
Genesis 13 in the KJV
Genesis 13 in the KNFD
Genesis 13 in the LBA
Genesis 13 in the LBLA
Genesis 13 in the LNT
Genesis 13 in the LSV
Genesis 13 in the MAAL
Genesis 13 in the MBV
Genesis 13 in the MBV2
Genesis 13 in the MHNT
Genesis 13 in the MKNFD
Genesis 13 in the MNG
Genesis 13 in the MNT
Genesis 13 in the MNT2
Genesis 13 in the MRS1T
Genesis 13 in the NAA
Genesis 13 in the NASB
Genesis 13 in the NBLA
Genesis 13 in the NBS
Genesis 13 in the NBVTP
Genesis 13 in the NET2
Genesis 13 in the NIV11
Genesis 13 in the NNT
Genesis 13 in the NNT2
Genesis 13 in the NNT3
Genesis 13 in the PDDPT
Genesis 13 in the PFNT
Genesis 13 in the RMNT
Genesis 13 in the SBIAS
Genesis 13 in the SBIBS
Genesis 13 in the SBIBS2
Genesis 13 in the SBICS
Genesis 13 in the SBIDS
Genesis 13 in the SBIGS
Genesis 13 in the SBIHS
Genesis 13 in the SBIIS
Genesis 13 in the SBIIS2
Genesis 13 in the SBIIS3
Genesis 13 in the SBIKS
Genesis 13 in the SBIKS2
Genesis 13 in the SBIMS
Genesis 13 in the SBIOS
Genesis 13 in the SBIPS
Genesis 13 in the SBISS
Genesis 13 in the SBITS
Genesis 13 in the SBITS2
Genesis 13 in the SBITS3
Genesis 13 in the SBITS4
Genesis 13 in the SBIUS
Genesis 13 in the SBIVS
Genesis 13 in the SBT
Genesis 13 in the SBT1E
Genesis 13 in the SCHL
Genesis 13 in the SNT
Genesis 13 in the SUSU
Genesis 13 in the SUSU2
Genesis 13 in the SYNO
Genesis 13 in the TBIAOTANT
Genesis 13 in the TBT1E
Genesis 13 in the TBT1E2
Genesis 13 in the TFTIP
Genesis 13 in the TFTU
Genesis 13 in the TGNTATF3T
Genesis 13 in the THAI
Genesis 13 in the TNFD
Genesis 13 in the TNT
Genesis 13 in the TNTIK
Genesis 13 in the TNTIL
Genesis 13 in the TNTIN
Genesis 13 in the TNTIP
Genesis 13 in the TNTIZ
Genesis 13 in the TOMA
Genesis 13 in the TTENT
Genesis 13 in the UBG
Genesis 13 in the UGV
Genesis 13 in the UGV2
Genesis 13 in the UGV3
Genesis 13 in the VBL
Genesis 13 in the VDCC
Genesis 13 in the YALU
Genesis 13 in the YAPE
Genesis 13 in the YBVTP
Genesis 13 in the ZBP