Isaiah 12 (BOLCB)
1 Ku lunaku olwo oligamba nti,“Nnaakwebazanga ayi MUKAMA Katonda;newaakubadde nga wansunguwalira,obusungu bwo bwaggwaawo era onzizizzaamu amaanyi. 2 Laba Katonda bwe bulokozi bwange;nzija kumwesiga era siritya;kubanga MUKAMA Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,era afuuse obulokozi bwange.” 3 Munaasenanga n’essanyu amazziokuva mu nzizi ez’obulokozi. 4 Era ku lunaku olwo mulyogera nti,“Mwebaze MUKAMA Katonda, mukoowoole erinnya lye,mubuulire ebikolwa bye mu mawanga,mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe. 5 Mumuyimbire MUKAMA Katonda ettendo kubanga akoze eby’ettendo;muleke kino kimanyibwe mu mawanga gonna. 6 Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu ggwe omuntu w’omu Sayuuni,kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”