Judges 16 (BOLCB)

1 Samusooni n’alaga e Gaza n’alabayo omukazi malaaya, n’ayingira gy’ali. 2 Awo abantu ab’e Gaza ne bategeezebwa nga Samusooni bw’ali mu kifo ekyo. Ne bamuzingiza ne bamuteegera ku wankaaki w’ekibuga ekiro kyonna. Ne basiriikirira ekiro kyonna nga bagamba nti, “Obudde bwe bunaaba nga bunaatera okukya tunaamutta.” 3 Naye Samusooni ne yeebaka okutuusa ettumbi, n’agolokoka mu ttumbi, n’akwata enzigi ebbiri eza wankaaki w’ekibuga, n’emifuubeeto gyombi, n’abisimbula okuva mu bifo byabyo, n’agyawo n’ekisiba, n’abiteeka ku bibegaabega bye n’abitwala ku ntikko y’olusozi olutunuulidde Kebbulooni. 4 Awo oluvannyuma lw’ebyo n’aganza omukazi mu kiwonvu ky’e Soleki, erinnya lye Derira. 5 Abakulembeze b’Abafirisuuti ne bagenda gy’ali ne bamugamba nti, “Musendesende olabe amaanyi ge amangi mwe gasibuka, tulyoke tusinziire okwo okumusobola, tumusibe tumujeeze. Naffe tulikuwa buli omu ku ffe, ebitundu bya ffeeza lukumi mu kikumi.” 6 Awo Derira n’agamba Samusooni nti, “Kaakano mbuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka, era n’ekiyinza okukusiba okukujeeza.” 7 Samusooni n’amugamba nti, “Bwe bansiba enkolokolo embisi musanvu, ezitakaze, olwo nnaanafuwa ne mbeera ng’omuntu omulala yenna.” 8 Abakulembeze b’Abafirisuuti ne baleetera omukazi enkolokolo musanvu embisi ezitakaze, n’azimusibya. 9 Waaliwo abasajja abaali beekwese mu kisenge omwo omukazi mwe yali. Awo omukazi n’akoowoola Samusooni ng’agamba nti, “Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko.” N’akutula enkolokolo, ng’omuntu bwe yandikutudde omuguwa oguyise mu muliro. Bwe kityo ensibuko y’amaanyi ge n’etazuulibwa. 10 Awo Derira n’agamba Samusooni nti, “Laba, onduulidde, era onnimbye. Kaakano mbuulira ekiyinza okukusiba.” 11 N’amugamba nti, “Bwe bansibya emiguwa emiggya egitakozesebwangako, nnaanafuwa, ne mbeera ng’omuntu omulala yenna.” 12 Awo Derira n’addira emiguwa emiggya, n’amusiba, nga mu kisenge mulimu abasajja abeekwese. N’alyoka amukoowoola ng’agamba nti, “Samusooni, Abafirisuuti bakuguddeko.” N’agyekutulako ku mikono ng’ewuzi. 13 Awo Derira n’agamba Samusooni nti, “Okutuusa kaakano onduulidde era onnimbye. Mbuulira ekiyinza okukusiba.” N’amugamba nti, “Bw’onooluka emivumbo musanvu egiri ku mutwe gwange, n’engoye, n’obinyweza nzija kunafuwa, mbeere ng’omuntu omulala yenna.”N’aluka emivumbo omusanvu egy’ali ku mutwe gwe, n’engoye, 14 n’abinyweza n’olubambo. N’amukoowoola ng’agamba nti, “Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko.” N’agolokoka okuva mu tulo, ne yeetakkuluza ku lubambo lw’omuti ogulukirwako n’engoye ezirukiddwa. 15 Awo Derira n’amugamba nti, “Oyinza otya okugamba nti onjagala, ate ng’omutima gwo teguli nange? Gino emirundi esatu onduulidde, n’otontegeeza amaanyi go amangi mwe gasibuka.” 16 Bw’atyo omukazi n’amusendasendanga n’ebigambo bye ennaku zonna ng’amubuuza okutuusa lwe yamwetamwa. 17 Awo Samusooni n’amubuulira ebyali ku mutima gwe byonna. N’amugamba nti, “Simwebwangako nviiri, kubanga ndi muwonge eri Katonda okuva mu lubuto lwa mmange. Bwe mwebwako enviiri, olwo amaanyi gange gananvaako, ne nnafuwa, ne mbeera ng’omuntu omulala yenna.” 18 Awo Derira bwe yalaba ng’amutegeezezza byonna ebyali ku mutima gwe, n’atumira abakulembeze b’Abafirisuuti ng’agamba nti, “Mukomeewo omulundi guno gwokka, kubanga yantegeezezza ebiri mu mutima gwe byonna.” Awo Abafirisuuti ne bakomawo nga baleese ezaabu. 19 N’amwebasa ku maviivi ge, n’ayita omusajja n’amumwa emivumbo omusanvu egyali ku mutwe gwe, n’atandika okujeeza, amaanyi ge ne gamuvaako. 20 N’amukoowoola ng’agamba nti, “Samusooni, Abafirisuuti bakuguddeko.” N’agolokoka okuva mu tulo ng’agamba nti, “Nzija kwetakkuluza ŋŋende nga bulijjo.” Naye teyamanya nga MUKAMA Katonda amulese. 21 Awo Abafirisuuti ne bakwata Samusooni, ne bamuggyamu amaaso, ne bamuserengesa e Gaza nga musibe mu njegere ez’ekikomo, ne bamuteeka mu kkomera mu nnyumba omuseerebwa obuwunga. 22 Kyokka bwe yamala okumwebwa, enviiri ze ne zitandika okumera. 23 Awo abakulembeze b’Abafirisuuti ne bakuŋŋaana okuwaayo ssaddaaka eri lubaale waabwe Dagoni, nga bwe basanyuka. Ne boogera nti, “Lubaale waffe agabudde Samusooni omulabe waffe mu mukono gwaffe.” 24 Abantu bwe baalaba Samusooni, ne batendereza lubaale waabwe nga bwe boogera nti,“Lubaale waffe agabudde omulabe waffemu mukono gwaffe,oyo eyazikiriza ensi yaffe,n’atta bangi ku ffe.” 25 Awo bwe baasanyuka ennyo, ne bawowoggana nga bwe bagamba nti, “Mutuyitire Samusooni atusanyuseemu.”Ne baleeta Samusooni abasanyuseemu, nga bamuggya mu kkomera. Ne bamuyimiriza wakati w’empagi. 26 Awo Samusooni n’agamba omuweereza eyali amukutte ku mukono nti, “Leka nkwate ku mpagi eziwaniridde essabo, nsobole okuzeesigama.” 27 Mu ssabo mwalimu ekibiina kinene eky’abasajja n’abakazi nga mulimu n’abakulembeze bonna ab’Abafirisuuti. Ne waggulu ku kasolya kwaliko abantu ng’enkumi ssatu abaali batunuulira Samusooni ng’abasanyusaamu. 28 Awo Samusooni n’asaba eri MUKAMA ng’agamba nti, “MUKAMA Katonda onzijukire kaakano, ompe amaanyi. Omulundi guno gwokka, ayi Katonda mpalane eggwanga ku Bafirisuuti olw’amaaso gange abiri.” 29 Samusooni n’akwata empagi zombi ezaali wakati mu ssabo we yali ayimiridde, n’azeesigamako, omukono gwe ogwa ddyo nga guli ku mpagi emu, n’omukono ogwa kkono nga guli ku ndala. 30 Samusooni n’ayogera nti, “Leka nfiire wamu n’Abafirisuuti.” N’asindika n’amaanyi ge gonna, essabo ne ligwa ku bakulembeze, n’abantu bonna abaalimu naye, era n’atta bangi mu kufa kwe okusinga ne be yatta nga mulamu. 31 Awo baganda be n’ennyumba yonna eya kitaawe ne bagenda ne baggyayo omulambo gwe, ne bagutwala ewaabwe, ne bamuziika mu ntaana ya kitaawe Manowa eyali wakati w’e Zola ne Esutaoli. Yali akulembedde Isirayiri okumala emyaka amakumi abiri.

In Other Versions

Judges 16 in the ANGEFD

Judges 16 in the ANTPNG2D

Judges 16 in the AS21

Judges 16 in the BAGH

Judges 16 in the BBPNG

Judges 16 in the BBT1E

Judges 16 in the BDS

Judges 16 in the BEV

Judges 16 in the BHAD

Judges 16 in the BIB

Judges 16 in the BLPT

Judges 16 in the BNT

Judges 16 in the BNTABOOT

Judges 16 in the BNTLV

Judges 16 in the BOATCB

Judges 16 in the BOATCB2

Judges 16 in the BOBCV

Judges 16 in the BOCNT

Judges 16 in the BOECS

Judges 16 in the BOGWICC

Judges 16 in the BOHCB

Judges 16 in the BOHCV

Judges 16 in the BOHLNT

Judges 16 in the BOHNTLTAL

Judges 16 in the BOICB

Judges 16 in the BOILNTAP

Judges 16 in the BOITCV

Judges 16 in the BOKCV

Judges 16 in the BOKCV2

Judges 16 in the BOKHWOG

Judges 16 in the BOKSSV

Judges 16 in the BOLCB2

Judges 16 in the BOMCV

Judges 16 in the BONAV

Judges 16 in the BONCB

Judges 16 in the BONLT

Judges 16 in the BONUT2

Judges 16 in the BOPLNT

Judges 16 in the BOSCB

Judges 16 in the BOSNC

Judges 16 in the BOTLNT

Judges 16 in the BOVCB

Judges 16 in the BOYCB

Judges 16 in the BPBB

Judges 16 in the BPH

Judges 16 in the BSB

Judges 16 in the CCB

Judges 16 in the CUV

Judges 16 in the CUVS

Judges 16 in the DBT

Judges 16 in the DGDNT

Judges 16 in the DHNT

Judges 16 in the DNT

Judges 16 in the ELBE

Judges 16 in the EMTV

Judges 16 in the ESV

Judges 16 in the FBV

Judges 16 in the FEB

Judges 16 in the GGMNT

Judges 16 in the GNT

Judges 16 in the HARY

Judges 16 in the HNT

Judges 16 in the IRVA

Judges 16 in the IRVB

Judges 16 in the IRVG

Judges 16 in the IRVH

Judges 16 in the IRVK

Judges 16 in the IRVM

Judges 16 in the IRVM2

Judges 16 in the IRVO

Judges 16 in the IRVP

Judges 16 in the IRVT

Judges 16 in the IRVT2

Judges 16 in the IRVU

Judges 16 in the ISVN

Judges 16 in the JSNT

Judges 16 in the KAPI

Judges 16 in the KBT1ETNIK

Judges 16 in the KBV

Judges 16 in the KJV

Judges 16 in the KNFD

Judges 16 in the LBA

Judges 16 in the LBLA

Judges 16 in the LNT

Judges 16 in the LSV

Judges 16 in the MAAL

Judges 16 in the MBV

Judges 16 in the MBV2

Judges 16 in the MHNT

Judges 16 in the MKNFD

Judges 16 in the MNG

Judges 16 in the MNT

Judges 16 in the MNT2

Judges 16 in the MRS1T

Judges 16 in the NAA

Judges 16 in the NASB

Judges 16 in the NBLA

Judges 16 in the NBS

Judges 16 in the NBVTP

Judges 16 in the NET2

Judges 16 in the NIV11

Judges 16 in the NNT

Judges 16 in the NNT2

Judges 16 in the NNT3

Judges 16 in the PDDPT

Judges 16 in the PFNT

Judges 16 in the RMNT

Judges 16 in the SBIAS

Judges 16 in the SBIBS

Judges 16 in the SBIBS2

Judges 16 in the SBICS

Judges 16 in the SBIDS

Judges 16 in the SBIGS

Judges 16 in the SBIHS

Judges 16 in the SBIIS

Judges 16 in the SBIIS2

Judges 16 in the SBIIS3

Judges 16 in the SBIKS

Judges 16 in the SBIKS2

Judges 16 in the SBIMS

Judges 16 in the SBIOS

Judges 16 in the SBIPS

Judges 16 in the SBISS

Judges 16 in the SBITS

Judges 16 in the SBITS2

Judges 16 in the SBITS3

Judges 16 in the SBITS4

Judges 16 in the SBIUS

Judges 16 in the SBIVS

Judges 16 in the SBT

Judges 16 in the SBT1E

Judges 16 in the SCHL

Judges 16 in the SNT

Judges 16 in the SUSU

Judges 16 in the SUSU2

Judges 16 in the SYNO

Judges 16 in the TBIAOTANT

Judges 16 in the TBT1E

Judges 16 in the TBT1E2

Judges 16 in the TFTIP

Judges 16 in the TFTU

Judges 16 in the TGNTATF3T

Judges 16 in the THAI

Judges 16 in the TNFD

Judges 16 in the TNT

Judges 16 in the TNTIK

Judges 16 in the TNTIL

Judges 16 in the TNTIN

Judges 16 in the TNTIP

Judges 16 in the TNTIZ

Judges 16 in the TOMA

Judges 16 in the TTENT

Judges 16 in the UBG

Judges 16 in the UGV

Judges 16 in the UGV2

Judges 16 in the UGV3

Judges 16 in the VBL

Judges 16 in the VDCC

Judges 16 in the YALU

Judges 16 in the YAPE

Judges 16 in the YBVTP

Judges 16 in the ZBP