Jeremiah 25 (BOLCB)

1 Ekigambo ekikwata ku bantu bonna aba Yuda ne kijjira Yeremiya mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ogwali omwaka ogusooka ogw’obufuzi bwa kabaka Nebukadduneeza mu bwakabaka bwa Babulooni. 2 Awo Yeremiya nnabbi n’agamba abantu bonna aba Yuda n’abantu bonna abaali mu Yerusaalemi nti, 3 Okuva mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ogw’obufuzi bwa Yosiya mutabani wa Amoni kabaka wa Yuda, gy’emyaka amakumi abiri mu esatu okutuusa leero, ekigambo kya MUKAMA kizze gye ndi era njogedde gye muli emirundi mingi, naye temufuddeeyo. 4 Newaakubadde nga MUKAMA abaweerezza bannabbi be emirundi mingi, temuwulirizza wadde okufaayo. 5 Babagamba nti, “Mukyuke kaakano, buli omu ku mmwe okuva mu bikolwa bye ebibi, mulyoke musigale mu nsi MUKAMA gye yabawa mmwe ne bakitammwe emirembe gyonna. 6 Temugoberera bakatonda balala, temubaweereza wadde okubasinza; temunsunguwaza olw’ekyo emikono gyammwe kye gyakola, nneme okubakolako obulabe.” 7 “Naye temwampuliriza, mwansunguwaza n’ekyo kye mwakola n’emikono gyammwe, era ne mwereetera akabi,” bw’ayogera MUKAMA Katonda. 8 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda ow’Eggye nti, “Kubanga temuwulirizza bigambo byange, 9 nzija kukoowoola abantu bonna ab’omu bukiikakkono n’omuddu wange Nebukadduneeza, balumbe ensi eno n’abantu baamu era n’ensi zonna ezibeetoolodde. Nzija kuzizikiririza ddala nzifuule ekintu eky’entiisa era eky’okusekererwa, era zoonoonekere ddala. 10 Ndibagobako eddoboozi ery’essanyu era n’okujaguza, eddoboozi ery’awasa omugole n’ery’omugole, eddoboozi ly’olubengo n’okwaka kw’ettaala. 11 Ensi eno yonna ejja kufuuka matongo, n’amawanga gano gajja kuweereza kabaka w’e Babulooni emyaka nsanvu. 12 “Naye emyaka ensanvu bwe giriggwako, ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’eggwanga lye, ensi ya Babulooni olw’ekibi kyabwe, ngifuule matongo emirembe gyonna,” bw’ayogera MUKAMA. 13 “Ndireeta ku nsi eno ebintu byonna bye njogeddeko, ebyo byonna ebiwandiikiddwa ku muzingo guno era ne Yeremiya byategeezezza amawanga gano gonna. 14 Bo bennyini balifuulibwa baddu ba mawanga mangi era baddu ba bakabaka ab’ekitiibwa; ndibasasula ng’ebikolwa byabwe bwe biri n’emirimu gy’emikono gyabwe bwe giri.” 15 Bw’ati MUKAMA, Katonda wa Isirayiri bwe yaŋŋamba nti, “Twala ekikopo kino, okuva mu mukono gwange, ekijjudde wayini ow’obusungu bwange, okinywese amawanga gonna gye nnaakutuma okukibanywesa. 16 Bwe banaakinywa, bajja kugwa eddalu batagale olw’ekitala kye nnaabasindikamu.” 17 Awo ne ntwala ekikopo okuva mu Mukono gwa MUKAMA ne nkitwala eri amawanga gonna gye yantuma okukibanywesa; 18 Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda, ne bakabaka baabyo n’abakungu basaanewo era bafuuke ekintu eky’entiisa n’okuzikirira, n’okusekererwa n’ekikolimo nga bwe bali kaakano. 19 Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, ne bakalabaalaba be, n’abakungu be n’abantu be bonna, 20 n’abagwira bonna abaaliyo;bakabaka ba Uzi bonna,ne bakabaka b’Abafirisuuti bonna, abo ab’e Asukulooni, n’e Gaza, n’e Ekuloni, n’abantu abaalekebwa e Asudodi, 21 n’e Edomu, n’e Mowaabu n’e Ammoni, 22 bakabaka bonna ab’e Tuulo ne Sidoni, bakabaka ab’oku lubalama ng’osomose ennyanja; 23 Dedani, n’e Teema, n’e Buuzi n’abo bonna abali mu bifo eby’ewala, 24 ne bakabaka bonna ab’e Buwalabu, ne bakabaka b’abannamawanga ababeera mu ddungu; 25 ne bakabaka bonna ab’e Zimuli, n’e Eramu n’e Meedi; 26 n’abo bonna bakabaka ab’omu bukiikakkono, abeewala, n’ab’okumpi, omu ku omu, obwakabaka bwonna obuli ku nsi.Oluvannyuma lwabo kabaka w’e Sesaki naye balikinywa. 27 “Era onoobagamba nti, ‘Bw’atyo bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Munywe mutamiire, museseme, mugwe muleme kuddayo kusituka olw’ekitala ekyo kye ŋŋenda okusindika mu mmwe.’ 28 Naye bwe bagaana okuggya ekikopo mu mukono gwo okukinywa, bagambe nti, ‘Kino MUKAMA Katonda ow’Eggye ky’agamba nti, Muteekwa okukinywa! 29 Laba, ntandika okuzikiriza ekibuga ekiyitibwa Erinnya lyange, ddala munaagenda nga temubonerezeddwa? Mujja kubonerezebwa kubanga nkoowoola ekitala kikke ku abo bonna abali ku nsi, bw’ayogera MUKAMA Katonda ow’Eggye.’ 30 “Kaakano bategeeze ebigambo bino byonna obagambe nti,“ ‘MUKAMA Katonda anaayogerera waggulu,era anaayimusa eddoboozi lye okuva mu kifo kye ekitukuvuawulugume n’amaanyi mangi nnyo ng’awakanya bonna abali mu nsi.Ajja kuleekaana ng’abasogozi abasamba emizabbibu,ng’aleekaanira abo abali ku nsi. 31 Eddoboozi lye liriwulirwa n’ensi gy’ekoma.Kubanga MUKAMA alisalira amawanga emisango gy’abavunaana,alisalira abantu bonna omusango, atte ababi n’ekitala,’ ”bw’ayogera MUKAMA. 32 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda ow’Eggye nti,“Laba okuzikirira kugenda kusaasaana kuva nsi ku nsi;enkuba ey’amaanyi ejja kuva ku nkomerero y’ensi.” 33 Mu kiseera ekyo abo abattiddwa MUKAMA bajja kubeera buli wamu okuva ku nsonda emu ey’ensi okutuuka ku ndala. Tebajja kukungubagirwa wadde okukuŋŋaanyizibwa oba okuziikibwa, naye banaaba ng’obusa obulekeddwa ku ttaka. 34 Mukaabe mulaajane mmwe abasumba,mwevulunge mu ttaka, mmwe abakulu b’ebisibo.Kubanga obudde bwammwe obw’okuttibwa butuusemujja kugwa mubetentebwe ng’ebibya eby’ebbumba. 35 Abasumba tebaabeeko na buddukiro,n’abakulu b’ebisibo tebaabeeko na wa kwekweka. 36 Muwulire okukaaba kw’abasumba,okwaziirana kw’abanannyini b’ebisibo,kubanga MUKAMA alizikiriza amalundiro gaabwe. 37 Amalundiro amalungi galifuuka matongoolw’obusungu bwa MUKAMA obubuubuuka. 38 Ajja kuleka ekisulo kyeng’empologoma bw’eva w’esula,n’ensi yaabwe ejja kusigala njereere olw’ekitala ky’omulumbaganyiera n’olw’obusungu bwa MUKAMA obw’entiisa.

In Other Versions

Jeremiah 25 in the ANGEFD

Jeremiah 25 in the ANTPNG2D

Jeremiah 25 in the AS21

Jeremiah 25 in the BAGH

Jeremiah 25 in the BBPNG

Jeremiah 25 in the BBT1E

Jeremiah 25 in the BDS

Jeremiah 25 in the BEV

Jeremiah 25 in the BHAD

Jeremiah 25 in the BIB

Jeremiah 25 in the BLPT

Jeremiah 25 in the BNT

Jeremiah 25 in the BNTABOOT

Jeremiah 25 in the BNTLV

Jeremiah 25 in the BOATCB

Jeremiah 25 in the BOATCB2

Jeremiah 25 in the BOBCV

Jeremiah 25 in the BOCNT

Jeremiah 25 in the BOECS

Jeremiah 25 in the BOGWICC

Jeremiah 25 in the BOHCB

Jeremiah 25 in the BOHCV

Jeremiah 25 in the BOHLNT

Jeremiah 25 in the BOHNTLTAL

Jeremiah 25 in the BOICB

Jeremiah 25 in the BOILNTAP

Jeremiah 25 in the BOITCV

Jeremiah 25 in the BOKCV

Jeremiah 25 in the BOKCV2

Jeremiah 25 in the BOKHWOG

Jeremiah 25 in the BOKSSV

Jeremiah 25 in the BOLCB2

Jeremiah 25 in the BOMCV

Jeremiah 25 in the BONAV

Jeremiah 25 in the BONCB

Jeremiah 25 in the BONLT

Jeremiah 25 in the BONUT2

Jeremiah 25 in the BOPLNT

Jeremiah 25 in the BOSCB

Jeremiah 25 in the BOSNC

Jeremiah 25 in the BOTLNT

Jeremiah 25 in the BOVCB

Jeremiah 25 in the BOYCB

Jeremiah 25 in the BPBB

Jeremiah 25 in the BPH

Jeremiah 25 in the BSB

Jeremiah 25 in the CCB

Jeremiah 25 in the CUV

Jeremiah 25 in the CUVS

Jeremiah 25 in the DBT

Jeremiah 25 in the DGDNT

Jeremiah 25 in the DHNT

Jeremiah 25 in the DNT

Jeremiah 25 in the ELBE

Jeremiah 25 in the EMTV

Jeremiah 25 in the ESV

Jeremiah 25 in the FBV

Jeremiah 25 in the FEB

Jeremiah 25 in the GGMNT

Jeremiah 25 in the GNT

Jeremiah 25 in the HARY

Jeremiah 25 in the HNT

Jeremiah 25 in the IRVA

Jeremiah 25 in the IRVB

Jeremiah 25 in the IRVG

Jeremiah 25 in the IRVH

Jeremiah 25 in the IRVK

Jeremiah 25 in the IRVM

Jeremiah 25 in the IRVM2

Jeremiah 25 in the IRVO

Jeremiah 25 in the IRVP

Jeremiah 25 in the IRVT

Jeremiah 25 in the IRVT2

Jeremiah 25 in the IRVU

Jeremiah 25 in the ISVN

Jeremiah 25 in the JSNT

Jeremiah 25 in the KAPI

Jeremiah 25 in the KBT1ETNIK

Jeremiah 25 in the KBV

Jeremiah 25 in the KJV

Jeremiah 25 in the KNFD

Jeremiah 25 in the LBA

Jeremiah 25 in the LBLA

Jeremiah 25 in the LNT

Jeremiah 25 in the LSV

Jeremiah 25 in the MAAL

Jeremiah 25 in the MBV

Jeremiah 25 in the MBV2

Jeremiah 25 in the MHNT

Jeremiah 25 in the MKNFD

Jeremiah 25 in the MNG

Jeremiah 25 in the MNT

Jeremiah 25 in the MNT2

Jeremiah 25 in the MRS1T

Jeremiah 25 in the NAA

Jeremiah 25 in the NASB

Jeremiah 25 in the NBLA

Jeremiah 25 in the NBS

Jeremiah 25 in the NBVTP

Jeremiah 25 in the NET2

Jeremiah 25 in the NIV11

Jeremiah 25 in the NNT

Jeremiah 25 in the NNT2

Jeremiah 25 in the NNT3

Jeremiah 25 in the PDDPT

Jeremiah 25 in the PFNT

Jeremiah 25 in the RMNT

Jeremiah 25 in the SBIAS

Jeremiah 25 in the SBIBS

Jeremiah 25 in the SBIBS2

Jeremiah 25 in the SBICS

Jeremiah 25 in the SBIDS

Jeremiah 25 in the SBIGS

Jeremiah 25 in the SBIHS

Jeremiah 25 in the SBIIS

Jeremiah 25 in the SBIIS2

Jeremiah 25 in the SBIIS3

Jeremiah 25 in the SBIKS

Jeremiah 25 in the SBIKS2

Jeremiah 25 in the SBIMS

Jeremiah 25 in the SBIOS

Jeremiah 25 in the SBIPS

Jeremiah 25 in the SBISS

Jeremiah 25 in the SBITS

Jeremiah 25 in the SBITS2

Jeremiah 25 in the SBITS3

Jeremiah 25 in the SBITS4

Jeremiah 25 in the SBIUS

Jeremiah 25 in the SBIVS

Jeremiah 25 in the SBT

Jeremiah 25 in the SBT1E

Jeremiah 25 in the SCHL

Jeremiah 25 in the SNT

Jeremiah 25 in the SUSU

Jeremiah 25 in the SUSU2

Jeremiah 25 in the SYNO

Jeremiah 25 in the TBIAOTANT

Jeremiah 25 in the TBT1E

Jeremiah 25 in the TBT1E2

Jeremiah 25 in the TFTIP

Jeremiah 25 in the TFTU

Jeremiah 25 in the TGNTATF3T

Jeremiah 25 in the THAI

Jeremiah 25 in the TNFD

Jeremiah 25 in the TNT

Jeremiah 25 in the TNTIK

Jeremiah 25 in the TNTIL

Jeremiah 25 in the TNTIN

Jeremiah 25 in the TNTIP

Jeremiah 25 in the TNTIZ

Jeremiah 25 in the TOMA

Jeremiah 25 in the TTENT

Jeremiah 25 in the UBG

Jeremiah 25 in the UGV

Jeremiah 25 in the UGV2

Jeremiah 25 in the UGV3

Jeremiah 25 in the VBL

Jeremiah 25 in the VDCC

Jeremiah 25 in the YALU

Jeremiah 25 in the YAPE

Jeremiah 25 in the YBVTP

Jeremiah 25 in the ZBP