Nehemiah 7 (BOLCB)

1 Bbugwe bwe yaggwa okuzimba nga n’enzigi ziwangiddwamu, abakuumi ba wankaaki, n’abayimbi, n’Abaleevi nga bamaze okulondebwa, 2 ne ndyoka nonda muganda wange Kanani awamu ne Kananiya omuduumizi w’ekigo okuvunaanyizibwanga Yerusaalemi, kubanga Kananiya yali yeesigika, ate ng’atya Katonda okusinga abantu abalala bangi. 3 Ne mbagamba nti, “Emiryango gya Yerusaalemi tegiteekwa kuggulwawo okutuusa ng’omusana tegunnakaalama nnyo. Abakuumi nga bakyali ku miryango, muggaleewo muginywereze ddala. Mu batuuze ba Yerusaalemi, mulondemu abanaakuumanga, abamu ku bo bakuumenga mu mpalo n’abalala bakuumenga ebifo ebiriraanye ennyumba zaabwe.” 4 Ekibuga kyali kinene era nga kigazi naye abantu abaakibeerangamu nga batono, nga n’ennyumba tezinnaddaabirizibwa. 5 Awo Katonda wange nannumiriza, okuyita abakungu n’abakulembeze, n’abantu abaabulijjo okujja okwewandiisa ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali. Ne ndaba ekitabo ekyalimu ennyiriri zaabo abaasooka okudda, ne nsangamu amannya gano: 6 Bano be bantu ab’omu ssaza abaava mu buwaŋŋanguse abaali banyagiddwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni; ne baddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe. 7 Bajja ne Zerubbaberi, ne Yesuwa, ne Nekkemiya, ne Azaliya, ne Laamiya, ne Nakamani, ne Moluddekaayi, ne Birusani, ne Misuperesi, ne Biguvaayi, ne Nekumu ne Baana. Gano ge mannya g’Abasajja ba Isirayiri: 8 bazzukulu ba Palosi baali enkumi bbiri mu kikumi mu nsavu mu babiri (2,172), 9 bazzukulu ba Sefatiya baali bisatu mu nsavu mu babiri (372), 10 bazzukulu ba Ala baali lukaaga mu ataano mu babiri (652), 11 bazzukulu ba Pakasumowaabu abaali ab’olunnyiriri lwa Yesuwa ne Yowaabu baali enkumi bbiri mu lunaana mu kumi na munaana (2,818), 12 bazzukulu ba Eramu baali lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254), 13 bazzukulu ba Zattu baali lunaana mu ana mu bataano (845), 14 bazzukulu ba Zakkayi baali lusanvu mu nkaaga (760), 15 bazzukulu ba Binnuyi baali lukaaga mu ana mu munaana (648), 16 bazzukulu ba Bebayi baali lukaaga mu abiri mu munaana (628), 17 bazzukulu ba Azugaadi baali enkumi bbiri mu bisatu mu abiri mu babiri (2,322), 18 bazzukulu ba Adonikamu baali lukaaga mu nkaaga mu musanvu (667), 19 bazzukulu ba Biguvaayi baali enkumi bbiri mu nkaaga mu musanvu (2,067), 20 bazzukulu ba Adini baali lukaaga mu ataano mu bataano (655), 21 bazzukulu ba Ateri ow’olunnyiriri lwa Keezeekiya baali kyenda mu munaana (98), 22 bazzukulu ba Kasumu baali bisatu mu abiri mu munaana (328), 23 bazzukulu ba Bezayi baali bisatu mu abiri mu bana (324), 24 bazzukulu ba Kalifu baali kikumi mu kumi na babiri (112), 25 bazzukulu ba Gibyoni baali kyenda mu bataano (95). 26 Abaava e Besirekemu n’e Netofa baali kikumi mu kinaana mu munaana (188), 27 ab’e Anasosi baali kikumi mu abiri mu munaana (128), 28 ab’e Besuwazumavesi baali amakumi ana mu babiri (42), 29 ab’e Kiriyasuyalimu, n’e Kefira n’e Beerosi baali lusanvu mu ana mu basatu (743), 30 ab’e Laama n’e Geba lukaaga mu abiri mu omu (621), 31 ab’e Mikumasi kikumi mu abiri mu babiri (122), 32 ab’e Beseri n’e Ayi baali kikumi mu abiri mu basatu (123), 33 ab’e Nebo ekyokubiri baali amakumi ataano mu babiri (52), 34 ab’e Eramu ekyokubiri baali lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254), 35 ab’e Kalimu baali bisatu mu abiri (320), 36 ab’e Yeriko baali bisatu mu ana mu bataano (345), 37 ab’e Loodi, n’e Kadidi ne Ono baali lusanvu mu abiri mu omu (721), 38 n’ab’e Sena baali enkumi ssatu mu lwenda mu asatu (3,930). 39 Bano be bakabona:bazzukulu ba Yedaya ow’olunnyiriri lwa Yesuwa baali lwenda mu nsavu mu basatu (973), 40 bazzukulu ba Immeri baali lukumi mu amakumi ataano mu babiri (1,052), 41 bazzukulu ba Pasukuli baali lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu (1,247), 42 ne bazzukulu ba Kalimu baali lukumi mu kumi na musanvu (1,017). 43 Ne bano be Baleevi:bazzukulu ba Yesuwa ow’olunnyiriri lwa Kadumyeri mu nda ya Kodeva baali nsavu mu bana (74). 44 Abayimbi:bazzukulu ba Asafu baali kikumi mu amakumi ana mu munaana (148). 45 Abaakuumanga wankaaki baali:bazzukulu ba Sallumu, bazzukulu ba Ateri, bazzukulu ba Talumoni, bazzukulu ba Akkubu, bazzukulu ba Katita, ne bazzukulu ba Sobayi nga bali kikumi mu amakumi asatu mu munaana (138). 46 Abaaweerezanga mu yeekaalu be bano:bazzukulu ba Zika, bazzukulu ba Kasufa, bazzukulu ba Tabbawoosi, 47 bazzukulu ba Keriso, bazzukulu ba Siya, bazzukulu ba Padoni, 48 bazzukulu ba Lebana, bazzukulu ba Kagaba, bazzukulu ba Samulaayi, 49 bazzukulu ba Kanani, bazzukulu ba Gidderi, bazzukulu ba Gakali, 50 bazzukulu ba Leyaya, bazzukulu ba Lezini, bazzukulu ba Nekoda, 51 bazzukulu ba Gazzamu, bazzukulu ba Uzza, bazzukulu ba Paseya, 52 bazzukulu ba Besayi, bazzukulu ba Meyunimu, bazzukulu ba Nefisimu, 53 bazzukulu ba Bakubuki, bazzukulu ba Kakufa, bazzukulu ba Kalukuli, 54 bazzukulu ba Bazulusi, bazzukulu ba Mekida, bazzukulu ba Kalusa, 55 bazzukulu ba Balukosi, bazzukulu ba Sisera, bazzukulu ba Tema, 56 bazzukulu ba Neziya, ne bazzukulu ba Katifa. 57 Bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani be bano:bazzukulu ba Sotayi, bazzukulu ba Soferesi, bazzukulu ba Perida, 58 bazzukulu ba Yaala, bazzukulu ba Dalukoni, bazzukulu ba Gidderi, 59 bazzukulu ba Sefatiya, bazzukulu ba Kattiri,bazzukulu ba Pokeresukazzebayimu, ne bazzukulu ba Amoni. 60 Omuwendo ogw’abaaweerezanga mu yeekaalu ne bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani bonna awamu, gwali bisatu mu kyenda mu babiri (392). 61 Bano wammanga be baava mu bibuga eby’e Temmeera, n’e Terukalusa, n’e Kerubu, n’e Yaddoni, n’e Immeri, naye tebaalina bukakafu bulaga lulyo lwabwe newaakubadde ensibuko gye baava, nti Bayisirayiri: 62 bazzukulu ba Deraya, bazzukulu ba Tobiya, ne bazzukulu ba Nekoda baali lukaaga mu amakumi ana mu babiri (642). 63 Ne ku bakabona kwaliko bazzukulu ba Kobaya,bazzukulu ba Kakkozi, ne bazzukulu ba Baluzirayi, eyawasa muwala wa Baluzirayi Omugireyaadi, era n’atuumibwa erinnya eryo. 64 Abo waggulu ne banoonya amannya gaabwe mu biwandiiko naye nga tegaliimu, kyebaava baziyizibwa okubeera bakabona nga bayitibwa abatali balongoofu. 65 Era owessaza n’abagaana okulya ku bintu ebitukuvu, okutuusa nga kabona alina Ulimu ne Sumimu azze. 66 Ekibiina kyonna awamu kyali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaaga (42,360), 67 obutassaako baweereza baabwe abasajja n’abaweereza baabwe abakazi abaali akasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu (7,337); ate nga baalina n’abayimbi abasajja n’abakazi bibiri mu ana mu bataano (245). 68 Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), ennyumbu ebikumi bibiri mu ana mu ttaano (245), 69 n’eŋŋamira ebikumi bina mu asatu mu ttaano (435), n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720). 70 Abamu ku bakulu b’obusolya baawaayo ensimbi okukola omulimu. Gavana n’awaayo, kilo munaana n’ekitundu eza zaabu, n’ebbensani amakumi ataano (50), n’ebyambalo bya bakabona ebikumi bitaano mu asatu (530) mu ggwanika. 71 Abamu ku bakulu b’obusolya ne baawaayo kilo kikumi mu nsanvu eza zaabu, ne ttani emu n’obutundu bubiri obwa ffeeza mu ggwanika, olw’omulimu ogwali gukolebwa. 72 Omuwendo gwonna awamu ogwawebwayo abantu abalala gwali kilo kikumi mu nsanvu eza zaabu, ne ttani emu n’akatundu kamu aka ffeeza, n’ebyambalo bya bakabona nkaaga mu musanvu. 73 Awo bakabona, n’Abaleevi, n’abaakuumanga wankaaki, n’abayimbi, n’abamu ku bantu, abaaweerezanga mu yeekaalu, ne Isirayiri yenna, ne batereera mu bibuga byabwe.Awo mu mwezi ogw’omusanvu,

In Other Versions

Nehemiah 7 in the ANGEFD

Nehemiah 7 in the ANTPNG2D

Nehemiah 7 in the AS21

Nehemiah 7 in the BAGH

Nehemiah 7 in the BBPNG

Nehemiah 7 in the BBT1E

Nehemiah 7 in the BDS

Nehemiah 7 in the BEV

Nehemiah 7 in the BHAD

Nehemiah 7 in the BIB

Nehemiah 7 in the BLPT

Nehemiah 7 in the BNT

Nehemiah 7 in the BNTABOOT

Nehemiah 7 in the BNTLV

Nehemiah 7 in the BOATCB

Nehemiah 7 in the BOATCB2

Nehemiah 7 in the BOBCV

Nehemiah 7 in the BOCNT

Nehemiah 7 in the BOECS

Nehemiah 7 in the BOGWICC

Nehemiah 7 in the BOHCB

Nehemiah 7 in the BOHCV

Nehemiah 7 in the BOHLNT

Nehemiah 7 in the BOHNTLTAL

Nehemiah 7 in the BOICB

Nehemiah 7 in the BOILNTAP

Nehemiah 7 in the BOITCV

Nehemiah 7 in the BOKCV

Nehemiah 7 in the BOKCV2

Nehemiah 7 in the BOKHWOG

Nehemiah 7 in the BOKSSV

Nehemiah 7 in the BOLCB2

Nehemiah 7 in the BOMCV

Nehemiah 7 in the BONAV

Nehemiah 7 in the BONCB

Nehemiah 7 in the BONLT

Nehemiah 7 in the BONUT2

Nehemiah 7 in the BOPLNT

Nehemiah 7 in the BOSCB

Nehemiah 7 in the BOSNC

Nehemiah 7 in the BOTLNT

Nehemiah 7 in the BOVCB

Nehemiah 7 in the BOYCB

Nehemiah 7 in the BPBB

Nehemiah 7 in the BPH

Nehemiah 7 in the BSB

Nehemiah 7 in the CCB

Nehemiah 7 in the CUV

Nehemiah 7 in the CUVS

Nehemiah 7 in the DBT

Nehemiah 7 in the DGDNT

Nehemiah 7 in the DHNT

Nehemiah 7 in the DNT

Nehemiah 7 in the ELBE

Nehemiah 7 in the EMTV

Nehemiah 7 in the ESV

Nehemiah 7 in the FBV

Nehemiah 7 in the FEB

Nehemiah 7 in the GGMNT

Nehemiah 7 in the GNT

Nehemiah 7 in the HARY

Nehemiah 7 in the HNT

Nehemiah 7 in the IRVA

Nehemiah 7 in the IRVB

Nehemiah 7 in the IRVG

Nehemiah 7 in the IRVH

Nehemiah 7 in the IRVK

Nehemiah 7 in the IRVM

Nehemiah 7 in the IRVM2

Nehemiah 7 in the IRVO

Nehemiah 7 in the IRVP

Nehemiah 7 in the IRVT

Nehemiah 7 in the IRVT2

Nehemiah 7 in the IRVU

Nehemiah 7 in the ISVN

Nehemiah 7 in the JSNT

Nehemiah 7 in the KAPI

Nehemiah 7 in the KBT1ETNIK

Nehemiah 7 in the KBV

Nehemiah 7 in the KJV

Nehemiah 7 in the KNFD

Nehemiah 7 in the LBA

Nehemiah 7 in the LBLA

Nehemiah 7 in the LNT

Nehemiah 7 in the LSV

Nehemiah 7 in the MAAL

Nehemiah 7 in the MBV

Nehemiah 7 in the MBV2

Nehemiah 7 in the MHNT

Nehemiah 7 in the MKNFD

Nehemiah 7 in the MNG

Nehemiah 7 in the MNT

Nehemiah 7 in the MNT2

Nehemiah 7 in the MRS1T

Nehemiah 7 in the NAA

Nehemiah 7 in the NASB

Nehemiah 7 in the NBLA

Nehemiah 7 in the NBS

Nehemiah 7 in the NBVTP

Nehemiah 7 in the NET2

Nehemiah 7 in the NIV11

Nehemiah 7 in the NNT

Nehemiah 7 in the NNT2

Nehemiah 7 in the NNT3

Nehemiah 7 in the PDDPT

Nehemiah 7 in the PFNT

Nehemiah 7 in the RMNT

Nehemiah 7 in the SBIAS

Nehemiah 7 in the SBIBS

Nehemiah 7 in the SBIBS2

Nehemiah 7 in the SBICS

Nehemiah 7 in the SBIDS

Nehemiah 7 in the SBIGS

Nehemiah 7 in the SBIHS

Nehemiah 7 in the SBIIS

Nehemiah 7 in the SBIIS2

Nehemiah 7 in the SBIIS3

Nehemiah 7 in the SBIKS

Nehemiah 7 in the SBIKS2

Nehemiah 7 in the SBIMS

Nehemiah 7 in the SBIOS

Nehemiah 7 in the SBIPS

Nehemiah 7 in the SBISS

Nehemiah 7 in the SBITS

Nehemiah 7 in the SBITS2

Nehemiah 7 in the SBITS3

Nehemiah 7 in the SBITS4

Nehemiah 7 in the SBIUS

Nehemiah 7 in the SBIVS

Nehemiah 7 in the SBT

Nehemiah 7 in the SBT1E

Nehemiah 7 in the SCHL

Nehemiah 7 in the SNT

Nehemiah 7 in the SUSU

Nehemiah 7 in the SUSU2

Nehemiah 7 in the SYNO

Nehemiah 7 in the TBIAOTANT

Nehemiah 7 in the TBT1E

Nehemiah 7 in the TBT1E2

Nehemiah 7 in the TFTIP

Nehemiah 7 in the TFTU

Nehemiah 7 in the TGNTATF3T

Nehemiah 7 in the THAI

Nehemiah 7 in the TNFD

Nehemiah 7 in the TNT

Nehemiah 7 in the TNTIK

Nehemiah 7 in the TNTIL

Nehemiah 7 in the TNTIN

Nehemiah 7 in the TNTIP

Nehemiah 7 in the TNTIZ

Nehemiah 7 in the TOMA

Nehemiah 7 in the TTENT

Nehemiah 7 in the UBG

Nehemiah 7 in the UGV

Nehemiah 7 in the UGV2

Nehemiah 7 in the UGV3

Nehemiah 7 in the VBL

Nehemiah 7 in the VDCC

Nehemiah 7 in the YALU

Nehemiah 7 in the YAPE

Nehemiah 7 in the YBVTP

Nehemiah 7 in the ZBP