Numbers 29 (BOLCB)

1 “Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mulimu gwonna ogwa bulijjo ogw’okukakaalukana. Olwo lwe lunaabanga olunaku lwammwe kwe munaafuuyiranga amakondeere. 2 Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’akawoowo akasanyusa MUKAMA Katonda. Munaateekateekanga ente ento eza sseddume bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu; ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 3 Ku buli nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ey’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obupima lita mukaaga n’ekitundu; ne ku ndiga ennume ento obupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu, 4 ne ku buli emu ku baana b’endiga omusanvu, obupima kilo emu n’ekitundu. 5 Mugattangako n’embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, okwetangiririza. 6 Okwo kwe munaagattanga ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli mwezi, n’ebiweebwayo byabyo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa, nga bwe kyalagirwa. Binaabanga ebiweebwayo ebyokebwa nga biweereddwayo eri MUKAMA Katonda ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa. 7 “Ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogwo ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu. Muneerekerezanga ne mutalukolerako mulimu gwonna. 8 Naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ento eya sseddume emu, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume ab’omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu, byonna nga tebiriiko kamogo ng’ebyo kye kiweebwayo ekyokebwa omuva akawoowo akasanyusa MUKAMA Katonda. 9 Ku nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ey’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni nga bupima kilo ttaano, ne ku ndiga ennume ento obupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu, 10 ne ku buli emu ku baana b’endiga abalume omusanvu obupima kilo emu n’ekitundu. 11 Mugattangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, nga kyongerwa ku kiweebwayo olw’ekibi olw’okwetangiririza, n’ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo nga kuliko n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke, n’ebiweebwayo ebyokunywa ebigenderako. 12 “Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu era temulukolerangako mirimu egya bulijjo. Munaakolanga embaga eri MUKAMA Katonda okumala ennaku musanvu. 13 Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ekyokebbwa ku muliro ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa MUKAMA Katonda, nga kya nte eza sseddume ento kkumi na ssatu, endiga ennume ento bbiri, abaana b’endiga abalume abaweza omwaka gumu ogw’obukulu kkumi na bana; nga byonna tebiriiko kamogo. 14 Era munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eky’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni, nga bupima kilo ttaano ku buli emu ku nte ekkumi n’essatu, nga bupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu ku buli emu ku ndiga ento ebbiri ennume; 15 ne ku baana b’endiga abalume ekkumi na bana, nga bupima kilo emu n’ekitundu ku buli emu. 16 Era munaawangayo n’embuzi emu ennume olw’ekiweebwayo olw’ekibi, ng’okwo mugasseeko n’ebiweebwayo ebyokebwa ebya bulijjo n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako. 17 “Ku lunaku olwokubiri munaateekateekanga ente eza sseddume ento kkumi na bbiri, n’endiga ennume ento bbiri n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abaweza omwaka gumu ogw’obukulu, nga byonna tebiriiko kamogo. 18 Ku nte eza sseddume, n’endiga ento ennume, n’abaana b’endiga abalume, munaateekateekanga ebiweebwayo byabyo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako eby’ebyokunywa, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 19 Munaagattangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’emmere yaako ey’empeke, n’ebiweebwayo byako ebyokunywa. 20 “Ku lunaku olwokusatu munaateekateekanga ente eza sseddume kkumi n’emu, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu; nga byonna tebiriiko kamogo. 21 Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo eby’emmere yaako ey’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ebigenderako, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 22 Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere ey’empeke n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa. 23 “Ku lunaku olwokuna munaategekanga ente eza sseddume kkumi, n’endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abawezezza omwaka gumu ogw’obukulu; ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 24 Ku nte ne ku ndiga ento ennume, n’abaana b’endiga, munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 25 Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa. 26 “Ku lunaku olwokutaano munaateekateekanga ente eza sseddume mwenda, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abawezezza omwaka ogumu nga byonna tebiriiko kamogo. 27 Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 28 Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi nga mwongereza ku kiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa. 29 “Ku lunaku olw’omukaaga munaateekateekanga ente eza sseddume munaana, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 30 Ku nte ne ku ndiga ento ennume, n’abaana b’endiga munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 31 Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke, n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa. 32 “Ku lunaku olw’omusanvu munaateekateekanga ente za sseddume musanvu, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 33 Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako ebyokunywa, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 34 Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa. 35 “Ku lunaku olw’omunaana munaakubanga olukuŋŋaana, era temuukolenga mirimu gya bulijjo egy’okukakaalukana. 36 Munaawangayo ekiweebwayo ekyokye omuva akaloosa akalungi akasanyusa MUKAMA Katonda, nga kye kiweebwayo ekyokye eky’ente eya sseddume emu, n’endiga ennume ento emu, n’abaana b’endiga abalume musanvu ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 37 Ku nte ne ku ndiga ento ennume ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako ebyokunywa ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 38 Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa. 39 “Ebiweebwayo ebyo munaabiwangayo eri MUKAMA Katonda ku mbaga entongole ezaategekebwa era ezaalagirwa; nga mubyongera ku biweebwayo bye mweyama, n’ebya kyeyagalire, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke, n’ebiweebwayo ebyokunywa n’ebiweebwayo olw’emirembe.” 40 Awo Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri buli kimu kyonna nga MUKAMA Katonda bwe yamulagira Musa.

In Other Versions

Numbers 29 in the ANGEFD

Numbers 29 in the ANTPNG2D

Numbers 29 in the AS21

Numbers 29 in the BAGH

Numbers 29 in the BBPNG

Numbers 29 in the BBT1E

Numbers 29 in the BDS

Numbers 29 in the BEV

Numbers 29 in the BHAD

Numbers 29 in the BIB

Numbers 29 in the BLPT

Numbers 29 in the BNT

Numbers 29 in the BNTABOOT

Numbers 29 in the BNTLV

Numbers 29 in the BOATCB

Numbers 29 in the BOATCB2

Numbers 29 in the BOBCV

Numbers 29 in the BOCNT

Numbers 29 in the BOECS

Numbers 29 in the BOGWICC

Numbers 29 in the BOHCB

Numbers 29 in the BOHCV

Numbers 29 in the BOHLNT

Numbers 29 in the BOHNTLTAL

Numbers 29 in the BOICB

Numbers 29 in the BOILNTAP

Numbers 29 in the BOITCV

Numbers 29 in the BOKCV

Numbers 29 in the BOKCV2

Numbers 29 in the BOKHWOG

Numbers 29 in the BOKSSV

Numbers 29 in the BOLCB2

Numbers 29 in the BOMCV

Numbers 29 in the BONAV

Numbers 29 in the BONCB

Numbers 29 in the BONLT

Numbers 29 in the BONUT2

Numbers 29 in the BOPLNT

Numbers 29 in the BOSCB

Numbers 29 in the BOSNC

Numbers 29 in the BOTLNT

Numbers 29 in the BOVCB

Numbers 29 in the BOYCB

Numbers 29 in the BPBB

Numbers 29 in the BPH

Numbers 29 in the BSB

Numbers 29 in the CCB

Numbers 29 in the CUV

Numbers 29 in the CUVS

Numbers 29 in the DBT

Numbers 29 in the DGDNT

Numbers 29 in the DHNT

Numbers 29 in the DNT

Numbers 29 in the ELBE

Numbers 29 in the EMTV

Numbers 29 in the ESV

Numbers 29 in the FBV

Numbers 29 in the FEB

Numbers 29 in the GGMNT

Numbers 29 in the GNT

Numbers 29 in the HARY

Numbers 29 in the HNT

Numbers 29 in the IRVA

Numbers 29 in the IRVB

Numbers 29 in the IRVG

Numbers 29 in the IRVH

Numbers 29 in the IRVK

Numbers 29 in the IRVM

Numbers 29 in the IRVM2

Numbers 29 in the IRVO

Numbers 29 in the IRVP

Numbers 29 in the IRVT

Numbers 29 in the IRVT2

Numbers 29 in the IRVU

Numbers 29 in the ISVN

Numbers 29 in the JSNT

Numbers 29 in the KAPI

Numbers 29 in the KBT1ETNIK

Numbers 29 in the KBV

Numbers 29 in the KJV

Numbers 29 in the KNFD

Numbers 29 in the LBA

Numbers 29 in the LBLA

Numbers 29 in the LNT

Numbers 29 in the LSV

Numbers 29 in the MAAL

Numbers 29 in the MBV

Numbers 29 in the MBV2

Numbers 29 in the MHNT

Numbers 29 in the MKNFD

Numbers 29 in the MNG

Numbers 29 in the MNT

Numbers 29 in the MNT2

Numbers 29 in the MRS1T

Numbers 29 in the NAA

Numbers 29 in the NASB

Numbers 29 in the NBLA

Numbers 29 in the NBS

Numbers 29 in the NBVTP

Numbers 29 in the NET2

Numbers 29 in the NIV11

Numbers 29 in the NNT

Numbers 29 in the NNT2

Numbers 29 in the NNT3

Numbers 29 in the PDDPT

Numbers 29 in the PFNT

Numbers 29 in the RMNT

Numbers 29 in the SBIAS

Numbers 29 in the SBIBS

Numbers 29 in the SBIBS2

Numbers 29 in the SBICS

Numbers 29 in the SBIDS

Numbers 29 in the SBIGS

Numbers 29 in the SBIHS

Numbers 29 in the SBIIS

Numbers 29 in the SBIIS2

Numbers 29 in the SBIIS3

Numbers 29 in the SBIKS

Numbers 29 in the SBIKS2

Numbers 29 in the SBIMS

Numbers 29 in the SBIOS

Numbers 29 in the SBIPS

Numbers 29 in the SBISS

Numbers 29 in the SBITS

Numbers 29 in the SBITS2

Numbers 29 in the SBITS3

Numbers 29 in the SBITS4

Numbers 29 in the SBIUS

Numbers 29 in the SBIVS

Numbers 29 in the SBT

Numbers 29 in the SBT1E

Numbers 29 in the SCHL

Numbers 29 in the SNT

Numbers 29 in the SUSU

Numbers 29 in the SUSU2

Numbers 29 in the SYNO

Numbers 29 in the TBIAOTANT

Numbers 29 in the TBT1E

Numbers 29 in the TBT1E2

Numbers 29 in the TFTIP

Numbers 29 in the TFTU

Numbers 29 in the TGNTATF3T

Numbers 29 in the THAI

Numbers 29 in the TNFD

Numbers 29 in the TNT

Numbers 29 in the TNTIK

Numbers 29 in the TNTIL

Numbers 29 in the TNTIN

Numbers 29 in the TNTIP

Numbers 29 in the TNTIZ

Numbers 29 in the TOMA

Numbers 29 in the TTENT

Numbers 29 in the UBG

Numbers 29 in the UGV

Numbers 29 in the UGV2

Numbers 29 in the UGV3

Numbers 29 in the VBL

Numbers 29 in the VDCC

Numbers 29 in the YALU

Numbers 29 in the YAPE

Numbers 29 in the YBVTP

Numbers 29 in the ZBP