Psalms 122 (BOLCB)
undefined Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. 1 Nasanyuka bwe baŋŋamba nti,“Tugende mu nnyumba ya MUKAMA!” 2 Ebigere byaffe biyimiriddemu miryango gyo, Ayi Yerusaalemi. 3 Yerusaalemi yazimbibwa okubaekibuga ekinywevu ekiyimiridde awamu. 4 Eyo ebika byonna gye biraga,ebika bya MUKAMA,okutendereza erinnya lya MUKAMAng’ebiragiro ebyaweebwa Isirayiri bwe biri. 5 Eyo entebe ez’okusalirako emisango gye zaateekebwa;z’entebe ez’obwakabaka ez’ennyumba ya Dawudi. 6 Musabirenga Yerusaalemi emirembe:“Abo abakwagala bafune ebirungi. 7 Emirembe gibeerenga munda w’ebisenge byo;n’amayumba go amanene gabeerenga n’omukisa era nga manywevu.” 8 Olwa baganda bange ne mikwano gyangennaayogeranga nti, “Emirembe gibeerenga mu ggwe.” 9 Olw’obulungi bw’ennyumba ya MUKAMA Katonda waffe, nnaanoonyanga okukulaakulana kwa Yerusaalemi.