Psalms 134 (BOLCB)
undefined Oluyimba nga balinnya amadaala. 1 Mulabe, mutendereze MUKAMA, mmwe mwenna abaddu ba MUKAMA,abaweereza ekiro mu nnyumba ya MUKAMA. 2 Mugolole emikono gyammwe mu kifo ekitukuvu,mutendereze MUKAMA. 3 MUKAMA eyakola eggulu n’ensiakuwe omukisa ng’asinziira mu Sayuuni.