Psalms 149 (BOLCB)
1 Mutendereze MUKAMA! Muyimbire MUKAMA oluyimba oluggya,mumutenderereze wamu n’ekibiina ky’abatukuvu. 2 Isirayiri asanyukirenga eyamutonda;n’abantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe! 3 Batenderezenga erinnya lye nga bwe bazina,bamutenderezenga nga bwe bakuba ennanga n’ebitaasa. 4 Kubanga MUKAMA asanyukira abantu be,n’abawombeefu abawa engule ey’obulokozi. 5 Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino;bayimbire ku bitanda byabwe olw’essanyu. 6 Batenderezenga Katonda waabwe,bakwate ekitala eky’obwogi obubiri, 7 bawoolere eggwanga,babonereze n’amawanga, 8 bateeke bakabaka baago mu njegere,n’abakungu baago babasibe amagulu n’ebyuma, 9 babasalire omusango ogwabawandiikirwa.Kino kye kitiibwa ky’abatukuvu be bonna. Mutendereze MUKAMA.