1 Chronicles 27 (BOLCB)

1 Luno lwe lukalala lw’Abayisirayiri emitwe gy’ennyumba, abaduumizi b’olukumi, n’abaduumizi b’ekikumi abaaweerezanga kabaka nga bamutegeeza buli nsonga eyakwatanga ku bibinja eby’eggye, ebyabeeranga ku mpalo buli mwezi mu mwaka. Buli kibinja kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. 2 Yasobeyamu mutabani wa Zabudyeri ye yavunaanyizibwanga ekibinja ekisooka, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. 3 Yali muzzukulu wa Perezi, ate nga mukulu w’abaami b’eggye mu mwezi ogwasooka 4 Dodayi Omwakowa ye yavunaanyizibwanga ekibinja eky’omwezi ogwokubiri nga Mikuloosi ye mukulu ow’ekibinja ekyo. Mwalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya mu kibinja ekyo. 5 Benaya mutabani wa Yekoyaada kabona ye yali omuduumizi ow’eggye owookusatu mu mwezi gwokusatu, era yali mwami. Kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. 6 Oyo ye Benaya eyali omusajja ow’amaanyi mu bali amakumi asatu, era nga ye mukulu mu bo. Mutabani we Ammizabaadi yavunaanyizibwanga ekibinja ekyo. 7 Asakeri muganda wa Yowaabu ye yavunaanyizibwanga ekibinja ekyokuna mu mwezi ogwokuna, era mutabani we Zebadiya ye yamusikira. Ekibinja ekyo kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. 8 Samukusi Omuyizula ye yali omuduumizi ow’ekibinja ekyokutaano mu mwezi ogwokutaano, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. 9 Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omukaaga mu mwezi ogw’omukaaga, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. 10 Kerezi Omuperoni, ate nga muzzukulu wa Efulayimu ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omusanvu mu mwezi ogw’omusanvu, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. 11 Seibbekayi Omukusasi, ate nga wa ku Bazera ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omunaana mu mwezi ogw’omunaana, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. 12 Abiyezeeri Omwanasosi, ate nga wa ku Babenyamini ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omwenda mu mwezi ogw’omwenda, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. 13 Makalayi Omunetofa, ate nga wa ku Bazera ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. 14 Benaya Omupirasoni, ate nga muzzukulu wa Efulayimu ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi n’omu mu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. 15 Kerudayi Omwetofa, ow’omu nnyumba ya Osuniyeri, ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi n’ababiri mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. 16 Abataka ab’ebika bya Isirayiri baali: eyafuganga Abalewubeeni yali Eryeza mutabani wa Zikuli;eyafuganga Abasimyoni yali Sefatiya mutabani wa Maaka; 17 eyafuganga Leevi yali Kasabiya mutabani wa Kemweri;eyafuganga Alooni yali Zadooki; 18 eyafuganga Yuda yali Eriku, omu ku baganda ba Dawudi;eyafuganga Isakaali yali Omuli mutabani wa Mikayiri; 19 eyafuganga Zebbulooni yali Isumaaya mutabani wa Obadiya;eyafuganga Nafutaali yali Yeremozi mutabani wa Azulyeri; 20 eyafuganga Abefulayimu yali Koseya mutabani wa Azaziya;eyafuganga ekitundu ky’ekika kya Manase yali Yoweeri mutabani wa Pedaya; 21 eyafuganga ekitundu ky’ekika kya Manase ekirala ekyabeeranga mu Gireyaadi yali Iddo mutabani wa Zekkaliya;eyafuganga Benyamini yali Yaasiyeri mutabani wa abuneeri; 22 n’eyafuganga Ddaani yali Azaleri mutabani wa Yerokamu. Abo be baali abataka abaakuliranga ebika bya Isirayiri. 23 Dawudi teyabala muwendo ogw’abasajja abaali abaakamaze emyaka abiri n’abaali tebanaba kugituusa, kubanga MUKAMA yali asuubiza okufuula Abayisirayiri abangi ng’emmunyeenye ez’omu ggulu. 24 Naye Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’atandika okubala abasajja, n’atamaliriza. Obusungu bwa MUKAMA ne bubuubuukira ku Isirayiri olw’okubala okwo, so n’omuwendo ogwo tegwawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya kabaka Dawudi. 25 Azumavesi mutabani wa Adyeri yavunaanyizibwanga amawanika ga kabaka,ne Yonasaani mutabani wa Uzziya n’avunaanyizibwanga amawanika ag’amasaza n’ag’ebibuga, ag’ebyalo, n’ag’ebigo. 26 Ezuli mutabani wa Kerubu ye yavunaanyizibwanga abalimi ab’omu nnimiro. 27 Simeeyi Omulaama ye yavunaanyizibwanga ennimiro z’emizabbibu,ne Zabudi Omusifumu ye n’avunaanyizibwanga ebibala eby’ennimiro olw’amasenero ag’omwenge. 28 Baalukanani Omugedera ye yavunaanyizibwanga emizeeyituuni n’emisukomooli egyali mu nsenyi ez’ebugwanjuba;ne Yowaasi ye n’avunaanyizibwanga amawanika g’amafuta. 29 Situlayi Omusaloni ye yavunaanyizibwanga ebisibo mu Saloni,ne Safati mutabani wa Adulayi n’avunaanyizibwanga ebisibo ebyali mu biwonvu. 30 Obiri Omuyisimayiri ye yavunaanyizibwanga eŋŋamira,ne Yedeya Omumeronoosi ye n’avunaanyizibwanga endogoyi. 31 Yazizi Omukaguli ye yavunaanyizibwanga ebisibo eby’endiga.Abo bonna be baali abakungu ba kabaka Dawudi abaavunaanyizibwanga ebintu bye. 32 Yonasaani, kitaawe wa Dawudi omuto yali muteesa wa bigambo, era nga musajja mutegeevu omuwandiisi,ne Yekyeri mutabani wa Kakumoni ye yali mukuza w’abalangira. 33 Akisoferi naye yali muteesa wa kabaka,ate nga Kusaayi Omwaluki ye mukwano gwa kabaka nnyo. 34 Yekoyaada mutabani wa Benaya ne Abiyasaali be badda mu bigere bya Akisoferi.Yowaabu ye yali muduumizi w’eggye lya kabaka.

In Other Versions

1 Chronicles 27 in the ANGEFD

1 Chronicles 27 in the ANTPNG2D

1 Chronicles 27 in the AS21

1 Chronicles 27 in the BAGH

1 Chronicles 27 in the BBPNG

1 Chronicles 27 in the BBT1E

1 Chronicles 27 in the BDS

1 Chronicles 27 in the BEV

1 Chronicles 27 in the BHAD

1 Chronicles 27 in the BIB

1 Chronicles 27 in the BLPT

1 Chronicles 27 in the BNT

1 Chronicles 27 in the BNTABOOT

1 Chronicles 27 in the BNTLV

1 Chronicles 27 in the BOATCB

1 Chronicles 27 in the BOATCB2

1 Chronicles 27 in the BOBCV

1 Chronicles 27 in the BOCNT

1 Chronicles 27 in the BOECS

1 Chronicles 27 in the BOGWICC

1 Chronicles 27 in the BOHCB

1 Chronicles 27 in the BOHCV

1 Chronicles 27 in the BOHLNT

1 Chronicles 27 in the BOHNTLTAL

1 Chronicles 27 in the BOICB

1 Chronicles 27 in the BOILNTAP

1 Chronicles 27 in the BOITCV

1 Chronicles 27 in the BOKCV

1 Chronicles 27 in the BOKCV2

1 Chronicles 27 in the BOKHWOG

1 Chronicles 27 in the BOKSSV

1 Chronicles 27 in the BOLCB2

1 Chronicles 27 in the BOMCV

1 Chronicles 27 in the BONAV

1 Chronicles 27 in the BONCB

1 Chronicles 27 in the BONLT

1 Chronicles 27 in the BONUT2

1 Chronicles 27 in the BOPLNT

1 Chronicles 27 in the BOSCB

1 Chronicles 27 in the BOSNC

1 Chronicles 27 in the BOTLNT

1 Chronicles 27 in the BOVCB

1 Chronicles 27 in the BOYCB

1 Chronicles 27 in the BPBB

1 Chronicles 27 in the BPH

1 Chronicles 27 in the BSB

1 Chronicles 27 in the CCB

1 Chronicles 27 in the CUV

1 Chronicles 27 in the CUVS

1 Chronicles 27 in the DBT

1 Chronicles 27 in the DGDNT

1 Chronicles 27 in the DHNT

1 Chronicles 27 in the DNT

1 Chronicles 27 in the ELBE

1 Chronicles 27 in the EMTV

1 Chronicles 27 in the ESV

1 Chronicles 27 in the FBV

1 Chronicles 27 in the FEB

1 Chronicles 27 in the GGMNT

1 Chronicles 27 in the GNT

1 Chronicles 27 in the HARY

1 Chronicles 27 in the HNT

1 Chronicles 27 in the IRVA

1 Chronicles 27 in the IRVB

1 Chronicles 27 in the IRVG

1 Chronicles 27 in the IRVH

1 Chronicles 27 in the IRVK

1 Chronicles 27 in the IRVM

1 Chronicles 27 in the IRVM2

1 Chronicles 27 in the IRVO

1 Chronicles 27 in the IRVP

1 Chronicles 27 in the IRVT

1 Chronicles 27 in the IRVT2

1 Chronicles 27 in the IRVU

1 Chronicles 27 in the ISVN

1 Chronicles 27 in the JSNT

1 Chronicles 27 in the KAPI

1 Chronicles 27 in the KBT1ETNIK

1 Chronicles 27 in the KBV

1 Chronicles 27 in the KJV

1 Chronicles 27 in the KNFD

1 Chronicles 27 in the LBA

1 Chronicles 27 in the LBLA

1 Chronicles 27 in the LNT

1 Chronicles 27 in the LSV

1 Chronicles 27 in the MAAL

1 Chronicles 27 in the MBV

1 Chronicles 27 in the MBV2

1 Chronicles 27 in the MHNT

1 Chronicles 27 in the MKNFD

1 Chronicles 27 in the MNG

1 Chronicles 27 in the MNT

1 Chronicles 27 in the MNT2

1 Chronicles 27 in the MRS1T

1 Chronicles 27 in the NAA

1 Chronicles 27 in the NASB

1 Chronicles 27 in the NBLA

1 Chronicles 27 in the NBS

1 Chronicles 27 in the NBVTP

1 Chronicles 27 in the NET2

1 Chronicles 27 in the NIV11

1 Chronicles 27 in the NNT

1 Chronicles 27 in the NNT2

1 Chronicles 27 in the NNT3

1 Chronicles 27 in the PDDPT

1 Chronicles 27 in the PFNT

1 Chronicles 27 in the RMNT

1 Chronicles 27 in the SBIAS

1 Chronicles 27 in the SBIBS

1 Chronicles 27 in the SBIBS2

1 Chronicles 27 in the SBICS

1 Chronicles 27 in the SBIDS

1 Chronicles 27 in the SBIGS

1 Chronicles 27 in the SBIHS

1 Chronicles 27 in the SBIIS

1 Chronicles 27 in the SBIIS2

1 Chronicles 27 in the SBIIS3

1 Chronicles 27 in the SBIKS

1 Chronicles 27 in the SBIKS2

1 Chronicles 27 in the SBIMS

1 Chronicles 27 in the SBIOS

1 Chronicles 27 in the SBIPS

1 Chronicles 27 in the SBISS

1 Chronicles 27 in the SBITS

1 Chronicles 27 in the SBITS2

1 Chronicles 27 in the SBITS3

1 Chronicles 27 in the SBITS4

1 Chronicles 27 in the SBIUS

1 Chronicles 27 in the SBIVS

1 Chronicles 27 in the SBT

1 Chronicles 27 in the SBT1E

1 Chronicles 27 in the SCHL

1 Chronicles 27 in the SNT

1 Chronicles 27 in the SUSU

1 Chronicles 27 in the SUSU2

1 Chronicles 27 in the SYNO

1 Chronicles 27 in the TBIAOTANT

1 Chronicles 27 in the TBT1E

1 Chronicles 27 in the TBT1E2

1 Chronicles 27 in the TFTIP

1 Chronicles 27 in the TFTU

1 Chronicles 27 in the TGNTATF3T

1 Chronicles 27 in the THAI

1 Chronicles 27 in the TNFD

1 Chronicles 27 in the TNT

1 Chronicles 27 in the TNTIK

1 Chronicles 27 in the TNTIL

1 Chronicles 27 in the TNTIN

1 Chronicles 27 in the TNTIP

1 Chronicles 27 in the TNTIZ

1 Chronicles 27 in the TOMA

1 Chronicles 27 in the TTENT

1 Chronicles 27 in the UBG

1 Chronicles 27 in the UGV

1 Chronicles 27 in the UGV2

1 Chronicles 27 in the UGV3

1 Chronicles 27 in the VBL

1 Chronicles 27 in the VDCC

1 Chronicles 27 in the YALU

1 Chronicles 27 in the YAPE

1 Chronicles 27 in the YBVTP

1 Chronicles 27 in the ZBP