1 Kings 20 (BOLCB)
1 Awo Benikadadi kabaka w’e Busuuli n’akuŋŋaanya eggye lye lyonna wamu ne bakabaka amakumi asatu mu babiri n’embalaasi n’amagaali gaabwe, bonna ne bambuka okuzingiza Samaliya n’okulwana nakyo. 2 N’atuma ababaka mu kibuga eri Akabu kabaka wa Isirayiri ng’agamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Benikadadi nti, 3 ‘Effeeza yo ne zaabu yo byange ate era ne bakyala bo abasinga obulungi n’abaana bo nabo bange.’ ” 4 Kabaka wa Isirayiri n’addamu nti, “Nga bw’ogambye, mukama wange kabaka, nze ne bye nnina byonna bibyo.” 5 Ababaka ne baddayo ewa Akabu nate ne bamugamba nti, “Kino Benikadadi ky’agamba nti, ‘Natuma nga njagala ffeeza yo ne zaabu yo, n’abakyala bo n’abaana bo. 6 Naye olunaku lw’enkya essaawa nga zino nzija kuweereza abakungu bange banoonyeemu mu lubiri lwo ne mu nnyumba z’abakungu bo, era bajja kutwala ebibyo byonna eby’omuwendo.’ ” 7 Awo kabaka wa Isirayiri n’ayita abakadde bonna ab’ensi, n’abagamba nti, “Mulabe omusajja ono bw’anoonya emitawaana! Bwe yatumya bakyala bange n’abaana bange wamu ne ffeeza yange ne zaabu yange, sabimumma.” 8 Abakadde n’abantu bonna ne bamuddamu nti, “Tomuwuliriza wadde okukkiriziganya naye.” 9 Awo kabaka n’addamu ababaka ba Benikadadi nti, “Mutegeeze mukama wange kabaka nti, ‘Omuddu wo nzija kukola byonna bye walagidde ku ntandikwa, naye kino eky’oluvannyuma siyinza kukikola.’ ” 10 Awo Benikadadi n’aweereza obubaka obulala eri Akabu nti, “Bakatonda bankole bwe batyo n’okukirawo, enfuufu ya Samaliya bwe teebune mu bibatu by’abasajja bonna abangoberera.” 11 Kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Mumugambe nti, ‘Eyeesiba ebyokulwanyisa aleme okwenyumiriza ng’oyo abyesumulula.’ ” 12 Benikadadi bwe yawulira obubaka obwo, ng’ali mu kutamiira ne bakabaka abalala mu weema zaabwe, n’alagira abasajja be nti, “Mweteeketeeke okulumba.” Ne beeteekateeka okulumba ekibuga. 13 Mu kiseera ekyo ne wabaawo nnabbi eyajja eri Akabu kabaka wa Isirayiri n’alangirira nti, “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, ‘Olaba eggye lino eddene? Nzija kulikuwa mu mukono gwo leero, otegeere nga nze MUKAMA.’ ” 14 Akabu n’abuuza nti, “Anakikola atya?” Nnabbi n’addamu nti, “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, ‘Abavubuka bo ab’abaduumizi b’amasaza, bajja kukubeera.’ ”Akabu ne yeeyongera okubuuza nti, “Ani anasooka okulumba?”Nnabbi n’addamu nti, “Ggwe.” 15 Awo Akabu n’ayita abavubuka ab’abaduumizi b’amasaza, ne bawera ebikumi bibiri mu asatu mu babiri (232). Era n’akuŋŋaanya ne Isirayiri yenna, bonna awamu ne baba kasanvu (7,000). 16 Ne batabaala mu ttuntu nga Benikadadi ne bakabaka amakumi asatu mu ababiri be yali alagaanye nabo bali mu kutamiira. 17 Abavubuka b’abaduumizi b’amasaza be baasooka okulumba.Naye Benikadadi yali atumye ababaka okuketta, ne bamutegeeza nti, “Waliwo abasajja abajja nga bava Samaliya.” 18 N’ayogera nti, “Bwe baba bazze na mirembe, mubawambe, ne bwe baba nga baze ku lutalo, era mubawambe.” 19 Abavubuka b’abaduumizi b’amasaza ne bafuluma ne balumba okuva mu kibuga, nga n’eggye libagoberera. 20 Buli omu ku bo n’atta gwe yayolekera. Abasuuli ne badduka, nga n’Abayisirayiri bwe babagoba, naye Benikadadi kabaka w’e Busuuli n’awonera ku mbalaasi n’abamu ku basajjabe abeebagala embalaasi. 21 Awo kabaka wa Isirayiri n’abagobera ddala era n’awamba embalaasi n’amagaali, era Abasuuli bangi ne bafa. 22 Awo ebyo nga biwedde, nnabbi n’agenda eri kabaka wa Isirayiri n’amugamba nti, “Weenyweze, olabe ekiteekwa okukolebwa, kubanga omwaka ogunaddirira kabaka w’e Busuuli ajja kukulumba nate.” 23 Mu kiseera ekyo, abakungu ba kabaka w’e Busuuli ne bamuwa amagezi nti, “Bakatonda b’Abayisirayiri bakatonda ba nsozi, era kyebavudde batusinza amaanyi. Naye bwe tunaabalwanyisizza mu lusenyi, mazima ddala tunaabasinza amaanyi. 24 Kola bw’oti, ggyawo bakabaka bonna mu bifo byabwe eby’okuduumira, osseewo abaduumizi abalala. 25 Oteekwa okufuna eggye ery’enkana liri lye wafiirwa, embalaasi edde mu kifo ky’embalaasi, n’eggaali mu kifo ky’eggaali, tulyoke tulwane nabo mu lusenyi, olwo tunaabasinzizza ddala amaanyi.” N’abawuliriza era n’akola bw’atyo. 26 Omwaka ogwaddirira Benikadadi n’akuŋŋaanya Abasuuli, n’ayambuka mu Afeki okulwana ne Isirayiri. 27 Awo abantu ba Isirayiri nabo ne bakuŋŋaana ne baweebwa entanda yaabwe, ne bagenda okubasisinkana. Abayisirayiri ne basiisira okuboolekera ne bafaanana ng’ebisibo bibiri ebitono eby’embuzi, naye Abasuuli ne babuna ensi yonna. 28 Awo omusajja wa Katonda n’asembera, n’agamba kabaka wa Isirayiri nti, “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, ‘Olw’okuba Abasuuli balowooza nga MUKAMA Katonda wa ku nsozi so si Katonda wa mu biwonvu, ndigabula eggye lino eddene mu mukono gwo, otegeere nga nze MUKAMA.’ ” 29 Ne basiisira nga boolekaganye okumala ennaku musanvu, ku lunaku olw’omusanvu ne balumbagana. Abayisirayiri ne batta abaserikale ab’ebigere Abasuuli emitwalo kkumi mu lunaku lumu. 30 Abalala ne baddukira mu kibuga Afeki, era eyo bbugwe w’ekibuga ekyo gye yagwira ku bantu emitwalo musanvu ku baali bawonyeewo.Benikadadi naye nadduka ne yeekweka mu kibuga mu kimu ku bisenge eby’omunda. 31 Abakungu be ne bamugamba nti, “Laba, tuwulidde nti bakabaka b’ennyumba ya Isirayiri, ba kisa, twesibe ebibukutu mu biwato byaffe, tuzingirire emige ku mitwe gyaffe tugende ewa kabaka wa Isirayiri, oboolyawo anaakusaasira.” 32 Ne beesiba ebibukutu mu biwato byabwe, ne bazingirira emige ku mitwe gyabwe, ne balaga ewa kabaka wa Isirayiri, ne bamugamba nti, “Omuddu wo Benikadadi agamba nti, ‘Nkwegayiridde tonzita.’ ” Kabaka n’ababuuza nti, “Akyali mulamu? Oyo muganda wange.” 33 Abasajja ne balowooza nti ako kabonero kalungi, era ne banguwa okwogera nti, “Weewaawo, muganda wo Benikadadi.” Kabaka n’ayogera nti, “Mugende mumuleete.” Benikadadi bwe yavaayo, Akabu n’amuleetera mu gaali lye. 34 Awo Benikadadi n’agamba nti, “Ndikuddiza ebibuga kitange bye yawamba ku kitaawo, era olyessizaawo obutale obubwo ggwe mu Ddamasiko, nga kitange bwe yakola mu Samaliya.” Akabu n’addamu nti, “Nzija kukuleka ogende nga tukoze endagaano.” Era ne bakola endagaano, n’amuleka n’agenda. 35 Omu ku batabani ba bannabbi n’agamba munne nti, “Katonda alagidde onfumite n’ekyokulwanyisa kyo,” naye munne oyo n’agaana. 36 Mutabani wa nnabbi n’ayogera nti, “Olw’obutagondera ddoboozi lya MUKAMA, bw’onooba wakava wano, empologoma eneekutta.” Awo bwe baali kyebajje baawukane, n’asanga empologoma era n’emutta. 37 Mutabani wa nnabbi n’asanga omusajja omulala, n’amugamba nti, “Nfumita, nkwegayiridde.” Omusajja n’amufumita n’amuleetako ekiwundu. 38 Awo n’agenda n’alindirira kabaka mu kkubo, ne yeebuzaabuza ng’abisse ekiremba kye ku maaso ge. 39 Kabaka bwe yali ng’ayitawo, mutabani wa nnabbi n’amukoowoola ng’agamba nti, “Omuddu wo yagenze wakati mu lutalo, ne wabaawo omuserikale eyandetedde omusibe n’aŋŋamba nti, ‘Kuuma omusajja ono. Bw’anaabula ggw’onottibwa mu kifo kye, oba si kyo oteekwa okusasula kilo amakumi asatu mu nnya eza ffeeza.’ 40 Omuddu wo bwe yali ng’atawaana erudda n’erudda, laba omusajja n’abula.”Kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Ogwo musango gwo, era ogwesalidde.” 41 Awo mutabani wa nnabbi n’ayanguwa, okuggya ekiremba ku maaso ge, kabaka wa Isirayiri n’amutegeera nga y’omu ku bannabbi. 42 N’agamba kabaka nti, “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, ‘Otadde omusajja gwe namaliridde okutta. Noolwekyo ggw’ojja okufa mu kifo kye, n’abantu bo bafe mu kifo ky’abantu be.’ ” 43 Kabaka wa Isirayiri n’alaga mu lubiri lwe e Samaliya ng’aswakidde era nga munyiivu.