1 Kings 3 (BOLCB)

1 Awo Sulemaani n’akola endagaano ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri era n’awasa muwala we. N’amuleeta mu kibuga kya Dawudi okutuusa lwe yamala okuzimba ennyumba ye n’ennyumba ya MUKAMA, era ne bbugwe okwetooloola Yerusaalemi. 2 Kyokka ennyumba ya MUKAMA yali tenazimbibwa, abantu nga baweerayo ssaddaaka mu bifo eby’enjawulo. 3 Sulemaani n’ayagala MUKAMA, ng’atambulira mu mateeka ga Dawudi kitaawe, newaakubadde nga yaweerangayo ssaddaaka era ng’ayotereza n’obubaane ku bifo ebigulumivu. 4 Awo kabaka n’agenda e Gibyoni okuweerayo ssaddaaka, kubanga ekyo kye kyali ekifo ekikulu mu byonna, era Sulemaani n’aweerayo ku kyoto ekyo ssaddaaka ezookebwa lukumi. 5 MUKAMA n’alabikira Sulemaani ekiro mu kirooto e Gibyoni, Katonda n’amugamba nti, “Saba ky’oyagala kyonna kye mba nkuwa.” 6 Sulemaani n’addamu nti, “Olaze ekisa kingi eri omuddu wo, Dawudi kitange, kubanga yali mwesigwa gy’oli, era mutuukirivu ate nga mwesimbu gy’oli. Era oyongedde okulaga ekisa kino ekingi gy’ali n’omuwa omwana okutuula ku ntebe ye ey’obwakabaka leero. 7 Kaakano, Ayi MUKAMA Katonda wange, ofudde omuddu wo okuba kabaka mu kifo kya Dawudi kitange. Naye ndi mwana muto era simanyi ngeri ya kuddukanyaamu mirimu gyange. 8 Omuddu wo ali wakati mu bantu bo be walonda, eggwanga ekkulu, eritabalika. 9 Kale omuddu wo muwe amagezi okufuganga abantu bo, njawulenga ekirungi n’ekibi: kubanga ani ayinza okufuga eggwanga lyo lino ekkulu?” 10 Mukama n’asanyuka kubanga Sulemaani yasaba ekyo. 11 Katonda n’amugamba nti, “Kubanga osabye kino, so teweesabidde kuwangaala wadde bugagga, oba okufa kw’abalabe bo, naye weesabidde amagezi okwawulanga emisango, 12 n’akola ky’osabye. Nzija kukuwa omutima omugezi era omutegeevu, so tewalibeerawo eyali akwenkanye oba alikwenkana. 13 Era ndikuwa, ne by’otosabye: obugagga n’ekitiibwa waleme kubeerawo kabaka akwenkana mu kiseera kyo. 14 Era bw’onootambuliranga mu makubo gange, n’okukwatanga amateeka gange n’ebiragiro byange, nga kitaawo Dawudi bwe yakola, ndyongera ku nnaku zo.” 15 Awo Sulemaani n’azuukuka n’amanya nga kibadde kirooto.N’akomawo e Yerusaalemi, n’ayimirira mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Mukama n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, era n’agabula abaweereza be ekijjulo. 16 Awo abakazi bamalaaya babiri ne bajja eri kabaka, ne bayimirira mu maaso ge. 17 Omu ku bo n’amugamba nti, “Mukama wange, omukazi ono nange tubeera mu nnyumba emu, era nazaala omwana nga naye waali. 18 Bwe waayitawo ennaku ssatu, naye n’azaala omwana we. Twali ffekka, so tewaali muntu n’omu eyali naffe mu nnyumba. 19 “Awo mu kiro omukazi ono, ne yeebakira omwana we n’amutta. 20 N’agolokoka ekiro mu ttumbi n’aggya omwana wange mu mbiriizi zange, nze omuweereza wo nga neebase, n’amuteeka mu kifuba kye, ate n’addira owuwe afudde n’amussa mu kifuba kyange. 21 Awo bwe nagolokoka enkya okuyoonsa omwana wange, nga mufu. Naye bwe n’amwekaliriza amaaso, ne ndaba nga si ye mwana gwe nazaala.” 22 Omukazi oli omulala n’agamba nti, “Nedda! Omulamu ye mwana wange, omufu ye wuwo.”Naye ow’olubereberye n’aggumiza nti, “Nedda! Omufu ye wuwo, omulamu ye wange.” Ne bawakanira mu maaso ga kabaka. 23 Kabaka n’agamba nti, “Omu agamba nti, ‘Omwana wange ye mulamu, owuwo ye mufu,’ n’omulala agamba nti, ‘Omwana wange ye mulamu, owuwo ye mufu.’ ” 24 Awo kabaka n’agamba nti, “Mundeetere ekitala.” Ne baleetera kabaka ekitala. 25 N’alyoka alagira nti, “Musaleemu omwana omulamu, muwe omu ekitundu n’omulala ekitundu ekirala.” 26 Nnyina w’omwana omulamu n’ajjula ennaku olw’omwana we, n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde mukama wange, omwana omulamu mumuwe! Tomutta!” Naye omukazi oli n’agamba nti, “Tajja kuba wange oba wuwo. Mumusalemu!” 27 Awo kabaka n’asalawo ng’agamba nti, “Omwana omulamu mumuwe omukazi ow’olubereberye, so temumutta, kubanga oyo ye nnyina.” 28 Isirayiri yonna bwe yawulira okusalawo kwa kabaka, ne beewuunya kabaka, kubanga baalaba ng’alina amagezi okuva eri Katonda okulamula ensonga.

In Other Versions

1 Kings 3 in the ANGEFD

1 Kings 3 in the ANTPNG2D

1 Kings 3 in the AS21

1 Kings 3 in the BAGH

1 Kings 3 in the BBPNG

1 Kings 3 in the BBT1E

1 Kings 3 in the BDS

1 Kings 3 in the BEV

1 Kings 3 in the BHAD

1 Kings 3 in the BIB

1 Kings 3 in the BLPT

1 Kings 3 in the BNT

1 Kings 3 in the BNTABOOT

1 Kings 3 in the BNTLV

1 Kings 3 in the BOATCB

1 Kings 3 in the BOATCB2

1 Kings 3 in the BOBCV

1 Kings 3 in the BOCNT

1 Kings 3 in the BOECS

1 Kings 3 in the BOGWICC

1 Kings 3 in the BOHCB

1 Kings 3 in the BOHCV

1 Kings 3 in the BOHLNT

1 Kings 3 in the BOHNTLTAL

1 Kings 3 in the BOICB

1 Kings 3 in the BOILNTAP

1 Kings 3 in the BOITCV

1 Kings 3 in the BOKCV

1 Kings 3 in the BOKCV2

1 Kings 3 in the BOKHWOG

1 Kings 3 in the BOKSSV

1 Kings 3 in the BOLCB2

1 Kings 3 in the BOMCV

1 Kings 3 in the BONAV

1 Kings 3 in the BONCB

1 Kings 3 in the BONLT

1 Kings 3 in the BONUT2

1 Kings 3 in the BOPLNT

1 Kings 3 in the BOSCB

1 Kings 3 in the BOSNC

1 Kings 3 in the BOTLNT

1 Kings 3 in the BOVCB

1 Kings 3 in the BOYCB

1 Kings 3 in the BPBB

1 Kings 3 in the BPH

1 Kings 3 in the BSB

1 Kings 3 in the CCB

1 Kings 3 in the CUV

1 Kings 3 in the CUVS

1 Kings 3 in the DBT

1 Kings 3 in the DGDNT

1 Kings 3 in the DHNT

1 Kings 3 in the DNT

1 Kings 3 in the ELBE

1 Kings 3 in the EMTV

1 Kings 3 in the ESV

1 Kings 3 in the FBV

1 Kings 3 in the FEB

1 Kings 3 in the GGMNT

1 Kings 3 in the GNT

1 Kings 3 in the HARY

1 Kings 3 in the HNT

1 Kings 3 in the IRVA

1 Kings 3 in the IRVB

1 Kings 3 in the IRVG

1 Kings 3 in the IRVH

1 Kings 3 in the IRVK

1 Kings 3 in the IRVM

1 Kings 3 in the IRVM2

1 Kings 3 in the IRVO

1 Kings 3 in the IRVP

1 Kings 3 in the IRVT

1 Kings 3 in the IRVT2

1 Kings 3 in the IRVU

1 Kings 3 in the ISVN

1 Kings 3 in the JSNT

1 Kings 3 in the KAPI

1 Kings 3 in the KBT1ETNIK

1 Kings 3 in the KBV

1 Kings 3 in the KJV

1 Kings 3 in the KNFD

1 Kings 3 in the LBA

1 Kings 3 in the LBLA

1 Kings 3 in the LNT

1 Kings 3 in the LSV

1 Kings 3 in the MAAL

1 Kings 3 in the MBV

1 Kings 3 in the MBV2

1 Kings 3 in the MHNT

1 Kings 3 in the MKNFD

1 Kings 3 in the MNG

1 Kings 3 in the MNT

1 Kings 3 in the MNT2

1 Kings 3 in the MRS1T

1 Kings 3 in the NAA

1 Kings 3 in the NASB

1 Kings 3 in the NBLA

1 Kings 3 in the NBS

1 Kings 3 in the NBVTP

1 Kings 3 in the NET2

1 Kings 3 in the NIV11

1 Kings 3 in the NNT

1 Kings 3 in the NNT2

1 Kings 3 in the NNT3

1 Kings 3 in the PDDPT

1 Kings 3 in the PFNT

1 Kings 3 in the RMNT

1 Kings 3 in the SBIAS

1 Kings 3 in the SBIBS

1 Kings 3 in the SBIBS2

1 Kings 3 in the SBICS

1 Kings 3 in the SBIDS

1 Kings 3 in the SBIGS

1 Kings 3 in the SBIHS

1 Kings 3 in the SBIIS

1 Kings 3 in the SBIIS2

1 Kings 3 in the SBIIS3

1 Kings 3 in the SBIKS

1 Kings 3 in the SBIKS2

1 Kings 3 in the SBIMS

1 Kings 3 in the SBIOS

1 Kings 3 in the SBIPS

1 Kings 3 in the SBISS

1 Kings 3 in the SBITS

1 Kings 3 in the SBITS2

1 Kings 3 in the SBITS3

1 Kings 3 in the SBITS4

1 Kings 3 in the SBIUS

1 Kings 3 in the SBIVS

1 Kings 3 in the SBT

1 Kings 3 in the SBT1E

1 Kings 3 in the SCHL

1 Kings 3 in the SNT

1 Kings 3 in the SUSU

1 Kings 3 in the SUSU2

1 Kings 3 in the SYNO

1 Kings 3 in the TBIAOTANT

1 Kings 3 in the TBT1E

1 Kings 3 in the TBT1E2

1 Kings 3 in the TFTIP

1 Kings 3 in the TFTU

1 Kings 3 in the TGNTATF3T

1 Kings 3 in the THAI

1 Kings 3 in the TNFD

1 Kings 3 in the TNT

1 Kings 3 in the TNTIK

1 Kings 3 in the TNTIL

1 Kings 3 in the TNTIN

1 Kings 3 in the TNTIP

1 Kings 3 in the TNTIZ

1 Kings 3 in the TOMA

1 Kings 3 in the TTENT

1 Kings 3 in the UBG

1 Kings 3 in the UGV

1 Kings 3 in the UGV2

1 Kings 3 in the UGV3

1 Kings 3 in the VBL

1 Kings 3 in the VDCC

1 Kings 3 in the YALU

1 Kings 3 in the YAPE

1 Kings 3 in the YBVTP

1 Kings 3 in the ZBP