1 Samuel 1 (BOLCB)

1 Waaliwo omusajja Omwefulayimu eyabeeranga e Lamasayimuzofimu, mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, ng’ayitibwa Erukaana, nga mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Eriku, muzzukulu wa Toku, muzzukulu wa Zufu. 2 Yalina abakyala babiri, omu nga ye Kaana; n’omulala nga ye Penina. Penina yalina abaana, naye Kaana nga mugumba. 3 Buli mwaka omusajja oyo yayambukanga okuva mu kibuga ky’ewaabwe okugenda okusinza n’okuwaayo ssaddaaka eri MUKAMA ow’Eggye e Siiro. Eyo Kofuni ne Finekaasi batabani ba Eri gye baawererezanga nga bakabona ba MUKAMA Katonda. 4 Awo olunaku olw’okuwaayo ssaddaaka bwe lwatuuka, Erukaana, n’awa Penina ne batabani be, ne bawala be emigabo egy’ennyama. 5 Naye Kaana n’amuwa emigabo ebiri kubanga yamwagala nnyo, newaakubadde nga MUKAMA Katonda yali tamuwadde mwana. 6 Era kubanga MUKAMA Katonda yali tamuwadde mwana, muggya we n’amucoccanga. 7 Ebyo byabangawo buli mwaka, era bwe baayambukanga okugenda mu yeekaalu ya MUKAMA, muggya we n’amujoogerezanga okutuusa lwe yakaabanga, n’okulya n’atalya. 8 Bba Erukaana n’amubuuza nti, “Kaana, okaabiranga ki? Lwaki tolya? Kiki ekikweraliikiriza? Nze sikusingira abaana ekkumi?” 9 Lwali lumu bwe baali bamaze okulya n’okunywa e Siiro, Eri yali atudde ku ntebe okumpi n’omulyango gwa yeekaalu, Kaana n’asituka n’agenda mu maaso ga MUKAMA Katonda. 10 Mu kulumwa olw’ennaku ennyingi ennyo, n’akaaba nnyo amaziga ng’asaba MUKAMA Katonda. 11 Ne yeeyama ng’agamba nti, “Ayi MUKAMA Ayinzabyonna, bw’olitunuulira ennaku ey’omuweereza wo, n’onzijukira, n’ompa omwana owoobulenzi, ndimuwaayo eri MUKAMA Katonda ennaku zonna ez’obulamu bwe nga muwonge, era enviiri ze teziimwebwengako.” 12 Awo Kaana bwe yeeyongera okusaba ennyo eri MUKAMA Katonda, Eri ne yeekaliriza akamwa ke. 13 Kaana yali asaba mu kasirise, ng’emimwa gye ginyeenya, naye nga eddoboozi lye teriwulikika. Eri n’alowooza nti atamidde. 14 Eri kyeyava amugamba nti, “Olikomya ddi okujjanga wano ng’otamidde? Ggyawo ettamiiro lyo.” 15 Naye Kaana n’amuddamu nti, “Si bwe kiri mukama wange; nze ndi mukazi ajjudde ennaku. Sinnanywa ku wayini newaakubadde ekitamiiza ekirala; mbadde nkaabira MUKAMA Katonda mu mmeeme yange. 16 Omuweereza wo tomulowooza okuba omukazi ow’ekyejjo, kubanga mbadde nsindira MUKAMA ennaku n’obuyinike bwange.” 17 Awo Eri n’amuddamu nti, “Genda mirembe. Katonda wa Isirayiri akuwe ekyo ky’omusabye.” 18 N’ayogera nti, “Omuweereza wo alabe ekisa mu maaso go.” Oluvannyuma ne yeetambulira, n’alya ku mmere, n’atandika okutunula n’essanyu. 19 Awo Erukaana n’ab’ewuwe ne bagolokoka enkeera mu makya ne basinza MUKAMA, n’oluvannyuma ne baddayo ewaabwe e Laama. Ne yeetaba ne mukazi we Kaana, MUKAMA Katonda n’amujjukira. 20 Kaana n’aba olubuto n’azaala omwana wabulenzi. N’amutuuma erinnya Samwiri, amakulu gaalyo, “Kubanga namusaba MUKAMA Katonda.” 21 Awo Erukaana n’ayambuka n’ab’ennyumba ye okugenda okuwaayo ssaddaaka eri MUKAMA Katonda n’okutuukiriza obweyamo bwe. 22 Naye Kaana teyagenda nabo. N’agamba bba nti, “Omwana bw’aliva ku mabeere, ndimutwala ne mulagayo eri MUKAMA Katonda, era alibeera eyo ennaku ze zonna.” 23 Erukaana n’amuddamu nti, “Kola nga bw’osiima. Linda okutuusa lw’olimala okumuggya ku mabeere; MUKAMA Katonda atuukirize ekigambo kye.” Awo omukyala n’asigala eka, n’alabirira omwana okutuusa lwe yava ku mabeere. 24 Bwe yava ku mabeere, n’amutwala mu yeekaalu ya MUKAMA Katonda e Siiro ng’akyali muto; ne batwala ente ssatu ennume, n’endebe ey’obutta, n’eccupa y’envinnyo. 25 Bwe baamala okusala emu ku nte, ne batwala omwana eri Eri. 26 Kaana n’ayogera nti, “Nga bw’oli omulamu mukama wange, nze mukyala oli eyayimirira okumpi naawe, ne nsaba MUKAMA Katonda. 27 Namusaba omwana ono, era MUKAMA Katonda ampadde kye namusaba. 28 Kaakano mmuwaayo eri MUKAMA, era obulamu bwe bwonna aweereddwayo eri MUKAMA Katonda.” Omwana n’asinzizanga MUKAMA Katonda eyo.

In Other Versions

1 Samuel 1 in the ANGEFD

1 Samuel 1 in the ANTPNG2D

1 Samuel 1 in the AS21

1 Samuel 1 in the BAGH

1 Samuel 1 in the BBPNG

1 Samuel 1 in the BBT1E

1 Samuel 1 in the BDS

1 Samuel 1 in the BEV

1 Samuel 1 in the BHAD

1 Samuel 1 in the BIB

1 Samuel 1 in the BLPT

1 Samuel 1 in the BNT

1 Samuel 1 in the BNTABOOT

1 Samuel 1 in the BNTLV

1 Samuel 1 in the BOATCB

1 Samuel 1 in the BOATCB2

1 Samuel 1 in the BOBCV

1 Samuel 1 in the BOCNT

1 Samuel 1 in the BOECS

1 Samuel 1 in the BOGWICC

1 Samuel 1 in the BOHCB

1 Samuel 1 in the BOHCV

1 Samuel 1 in the BOHLNT

1 Samuel 1 in the BOHNTLTAL

1 Samuel 1 in the BOICB

1 Samuel 1 in the BOILNTAP

1 Samuel 1 in the BOITCV

1 Samuel 1 in the BOKCV

1 Samuel 1 in the BOKCV2

1 Samuel 1 in the BOKHWOG

1 Samuel 1 in the BOKSSV

1 Samuel 1 in the BOLCB2

1 Samuel 1 in the BOMCV

1 Samuel 1 in the BONAV

1 Samuel 1 in the BONCB

1 Samuel 1 in the BONLT

1 Samuel 1 in the BONUT2

1 Samuel 1 in the BOPLNT

1 Samuel 1 in the BOSCB

1 Samuel 1 in the BOSNC

1 Samuel 1 in the BOTLNT

1 Samuel 1 in the BOVCB

1 Samuel 1 in the BOYCB

1 Samuel 1 in the BPBB

1 Samuel 1 in the BPH

1 Samuel 1 in the BSB

1 Samuel 1 in the CCB

1 Samuel 1 in the CUV

1 Samuel 1 in the CUVS

1 Samuel 1 in the DBT

1 Samuel 1 in the DGDNT

1 Samuel 1 in the DHNT

1 Samuel 1 in the DNT

1 Samuel 1 in the ELBE

1 Samuel 1 in the EMTV

1 Samuel 1 in the ESV

1 Samuel 1 in the FBV

1 Samuel 1 in the FEB

1 Samuel 1 in the GGMNT

1 Samuel 1 in the GNT

1 Samuel 1 in the HARY

1 Samuel 1 in the HNT

1 Samuel 1 in the IRVA

1 Samuel 1 in the IRVB

1 Samuel 1 in the IRVG

1 Samuel 1 in the IRVH

1 Samuel 1 in the IRVK

1 Samuel 1 in the IRVM

1 Samuel 1 in the IRVM2

1 Samuel 1 in the IRVO

1 Samuel 1 in the IRVP

1 Samuel 1 in the IRVT

1 Samuel 1 in the IRVT2

1 Samuel 1 in the IRVU

1 Samuel 1 in the ISVN

1 Samuel 1 in the JSNT

1 Samuel 1 in the KAPI

1 Samuel 1 in the KBT1ETNIK

1 Samuel 1 in the KBV

1 Samuel 1 in the KJV

1 Samuel 1 in the KNFD

1 Samuel 1 in the LBA

1 Samuel 1 in the LBLA

1 Samuel 1 in the LNT

1 Samuel 1 in the LSV

1 Samuel 1 in the MAAL

1 Samuel 1 in the MBV

1 Samuel 1 in the MBV2

1 Samuel 1 in the MHNT

1 Samuel 1 in the MKNFD

1 Samuel 1 in the MNG

1 Samuel 1 in the MNT

1 Samuel 1 in the MNT2

1 Samuel 1 in the MRS1T

1 Samuel 1 in the NAA

1 Samuel 1 in the NASB

1 Samuel 1 in the NBLA

1 Samuel 1 in the NBS

1 Samuel 1 in the NBVTP

1 Samuel 1 in the NET2

1 Samuel 1 in the NIV11

1 Samuel 1 in the NNT

1 Samuel 1 in the NNT2

1 Samuel 1 in the NNT3

1 Samuel 1 in the PDDPT

1 Samuel 1 in the PFNT

1 Samuel 1 in the RMNT

1 Samuel 1 in the SBIAS

1 Samuel 1 in the SBIBS

1 Samuel 1 in the SBIBS2

1 Samuel 1 in the SBICS

1 Samuel 1 in the SBIDS

1 Samuel 1 in the SBIGS

1 Samuel 1 in the SBIHS

1 Samuel 1 in the SBIIS

1 Samuel 1 in the SBIIS2

1 Samuel 1 in the SBIIS3

1 Samuel 1 in the SBIKS

1 Samuel 1 in the SBIKS2

1 Samuel 1 in the SBIMS

1 Samuel 1 in the SBIOS

1 Samuel 1 in the SBIPS

1 Samuel 1 in the SBISS

1 Samuel 1 in the SBITS

1 Samuel 1 in the SBITS2

1 Samuel 1 in the SBITS3

1 Samuel 1 in the SBITS4

1 Samuel 1 in the SBIUS

1 Samuel 1 in the SBIVS

1 Samuel 1 in the SBT

1 Samuel 1 in the SBT1E

1 Samuel 1 in the SCHL

1 Samuel 1 in the SNT

1 Samuel 1 in the SUSU

1 Samuel 1 in the SUSU2

1 Samuel 1 in the SYNO

1 Samuel 1 in the TBIAOTANT

1 Samuel 1 in the TBT1E

1 Samuel 1 in the TBT1E2

1 Samuel 1 in the TFTIP

1 Samuel 1 in the TFTU

1 Samuel 1 in the TGNTATF3T

1 Samuel 1 in the THAI

1 Samuel 1 in the TNFD

1 Samuel 1 in the TNT

1 Samuel 1 in the TNTIK

1 Samuel 1 in the TNTIL

1 Samuel 1 in the TNTIN

1 Samuel 1 in the TNTIP

1 Samuel 1 in the TNTIZ

1 Samuel 1 in the TOMA

1 Samuel 1 in the TTENT

1 Samuel 1 in the UBG

1 Samuel 1 in the UGV

1 Samuel 1 in the UGV2

1 Samuel 1 in the UGV3

1 Samuel 1 in the VBL

1 Samuel 1 in the VDCC

1 Samuel 1 in the YALU

1 Samuel 1 in the YAPE

1 Samuel 1 in the YBVTP

1 Samuel 1 in the ZBP