1 Samuel 23 (BOLCB)
1 Awo Dawudi bwe yategeezebwa nti, “Laba, Abafirisuuti balwana ne Keyira, era banyagulula amawuuliro,” 2 ne yeebuuza ku MUKAMA nti, “Ŋŋende nnumbe Abafirisuuti abo?” MUKAMA n’amuddamu nti, “Genda olumbe Abafirisuuti owonye Keyira.” 3 Naye abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti, “Wano mu Yuda tuli mu ntiisa. Naye ate bwe tuligenda e Keyira okulwanyisa Abafirisuuti, kiriba kitya?” 4 Dawudi n’addayo nate okwebuuza ku MUKAMA. MUKAMA n’amuddamu nti, “Golokoka oserengete e Keyira, kubanga ŋŋenda kuwaayo Abafirisuuti mu mukono gwo.” 5 Awo Dawudi n’abasajja be ne balaga e Keyira, ne balwana n’Abafirisuuti, ne batwala ente zaabwe, era ne batta bangi ku bo. Dawudi n’awonya abatuuze b’e Keyira. 6 Mu biro ebyo Abiyasaali mutabani wa Akimereki bwe yaddukira eri Dawudi e Keyira, yagenda ne kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. 7 Sawulo n’ategeezebwa nti Dawudi agenze e Keyira, n’ayogera nti, “Katonda awaddeyo Dawudi mu mukono gwange, kubanga Dawudi yesibiddeyo, bw’ayingidde mu kibuga ekiriko wankaaki ow’emitayimbwa.” 8 Awo Sawulo n’akuŋŋaanya amaggye ge gonna okweteekerateekera olutalo, n’aserengeta e Keyira okuzingiza Dawudi ne basajja be. 9 Dawudi n’ategeera nga Sawulo ateekateeka okumukola akabi, n’agamba Abiyasaali kabona nti, “Leeta ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi wano.” 10 Awo Dawudi n’ayogera nti, “Ayi MUKAMA Katonda wa Isirayiri, omuweereza wo awuliridde ddala Sawulo bw’ateekateeka okujja okusaanyaawo ekibuga Keyira ku lwange. 11 Abatuuze b’e Keyira balimpaayo gy’ali? Era Sawulo anaaserengeta n’ajja, ng’omuweereza wo bw’awulidde? Ayi MUKAMA, Katonda wa Isirayiri, nkwegayiridde, tegeeza omuweereza wo.” MUKAMA n’amugamba nti, “Aliserengeta.” 12 Dawudi n’addamu n’abuuza nti, “Abasajja b’e Keyira balimpaayo nze n’abasajja bange eri Sawulo?” MUKAMA n’amuddamu nti, “Balibawaayo gy’ali.” 13 Awo Dawudi n’abasajja be, abawera nga lukaaga ne bava e Keyira, ne batambulatambulanga wano ne wali nga tebalina kifo kyankalakkalira. Sawulo bwe yategeezebwa nga Dawudi adduse okuva mu Keyira, n’atagendayo. 14 Dawudi n’abeera mu bifo eby’eddungu, mu nsi ey’ensozi mu ddungu ery’e Zifu. Sawulo n’anoonyanga Dawudi buli lunaku, naye Katonda n’atamuwaayo mu mukono gwe. 15 Dawudi ng’ali mu ddungu ery’e Zifu mu kibira ky’e Kolesi, n’ategeera nga Sawulo amunoonya okumutta. 16 Awo Yonasaani mutabani wa Sawulo n’agenda eri Dawudi mu kibira, Kolesi, okumugumya mu MUKAMA. 17 N’amugamba nti, “Totya, kubanga kitange Sawulo talikukola kabi n’akamu. Gwe oliba kabaka wa Isirayiri, nze ne mbeera omumyuka wo, era n’ekyo kitange akimanyi.” 18 Awo bombi ne bakola endagaano mu maaso ga MUKAMA, n’oluvannyuma Yonasaani n’addayo ewuwe, Dawudi n’asigala mu kibira. 19 Awo ab’e Zifu ne bambuka eri Sawulo e Gibea ne bamutegeeza nti, “Okimanyi nga Dawudi yeekwese mu ffe mu kibira ky’e Kolesi, ku lusozi Kakira oluli ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa Yesimoni? 20 Kaakano, ayi kabaka, serengeta mu bbanga lyonna ly’onoosiima, tujja kumuwaayo gy’oli.” 21 Sawulo n’abaddamu nti, “MUKAMA abawe omukisa, olw’okunkwatirwa ekisa. 22 Mugende mweyongere okwetegereza, mumanye, mulabe n’ebifo gy’atera okutambulira, n’abamulabayo, kubanga bantegeeza nti mujagujagu nnyo. 23 Noolwekyo munoonye mu bifo mwe yeekweka munkomezeewo amawulire amakakafu. Bw’anaabeera mu kitundu ekyo eky’ensi nnaagenda nammwe munoonye mu bika byonna ebya Yuda.” 24 Awo ne bagolokoka ne bakulemberamu Sawulo ne bagenda e Zifu. Mu biro ebyo Dawudi n’abasajja be baali mu ddungu ery’e Mawoni mu Alaba ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa Yesimoni. 25 Awo Sawulo n’abasajja be ne bagenda okumunoonya. Dawudi n’akiwulira, kyeyava aserengeta awali olwazi mu ddungu ery’e Mawoni n’abeera eyo. Sawulo bwe yakiwulira n’agenda mu ddungu ery’e Mawoni okumunoonya. 26 Sawulo n’ayambukira ku luuyi olumu olw’olusozi, Dawudi ne basajja be ne bambukira ku luuyi olulala, nga banguwa okudduka Sawulo. Naye Sawulo ne basajja be bwe baali nga banaatera okuzingiza Dawudi n’abasajja be, 27 ne wajja omubaka eri Sawulo ng’agamba nti, “Yanguwako! Abafirisuuti balumbye ensi.” 28 Awo Sawulo n’alekayo okunoonya Dawudi, n’agenda okulwanyisa Abafirisuuti. Ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Serakammalekosi. 29 Awo Dawudi n’avaayo n’agenda n’abeera mu bifo ebya Engedi.