2 Chronicles 4 (BOLCB)
1 Yazimba ekyoto eky’ekikomo, obuwanvu bwakyo mita mwenda, n’obugazi bwakyo mita mwenda, ng’obugulumivu bwakyo mita nnya n’ekitundu. 2 N’akola Ennyanja ensaanuuse, nga neekulungirivu, nga ya mita nnya n’ekitundu okuva ku mugo okutuuka ku mugo, ng’obugulumivu eri mita bbiri ne desimoolo ssatu, ate ng’obwetooloovu eri mita kkumi na ssatu n’ekitundu. 3 Wansi waakyo waaliyo ebifaananyi by’ente ennume nga mumbe, nga buli emu eri kitundu kya mita obuwanvu, era nga zikyetoolodde. Ebifaananyi byasaanuusibwanga mu nnyiriri bbiri bbiri, ekidiba bwe kyasaanuusibwanga. 4 Ennyanja yatuulanga ku bifaananyi by’ente ennume kkumi na bbiri, essatu nga zitunuulira obukiikakkono, n’essatu endala nga zitunuulira ebugwanjuba, n’essatu endala nga zitunuulira obukiikaddyo, n’essatu endala nga zitunuulira ebuvanjuba. Ennyanja yatuulanga ku zo waggulu, n’amagulu gaazo ag’emabega nga gatunudde munda, wakati waayo. 5 Obukwafu bwayo bwali nga luta, n’omugo gwayo ng’omugo gw’ekikopo, n’okufaanana ng’efaanana ng’ekimuli ky’amalanga. Yatekebwangamu lita emitwalo mukaaga. 6 N’akolayo ne bensani kkumi ez’okwolezangamu, etaano n’azissa ku luuyi olw’obukiikaddyo, n’ettaano endala n’azissa ku luuyi olw’obukiikakkono. Omwo mwe mwanyumungulizibwanga ebintu ebyakozesebwanga mu kiseera eky’okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, naye ng’Ennyanja ya bakabona okuginaabirangamu. 7 N’akola ebikondo eby’ettaala ez’omukono kkumi nga bya zaabu, ng’ekiragiro kyabyo bwe kyali, n’abiteeka mu yeekaalu, ebitaano ku luuyi olw’obukiikaddyo, n’ebitaano ebirala ku luuyi olw’obukiikakkono. 8 N’akola n’emmeeza kkumi, n’aziteeka mu yeekaalu, etaano ku luuyi olw’obukiikaddyo, n’etaano endala ku luuyi olw’obukiikakkono. N’akola ne bbakuli ezikozesebwa okumansira kkumi nga za zaabu. 9 N’akola oluggya lwa bakabona, n’oluggya olunene ddala, n’enzigi ez’oluggya, n’enzigi n’azisaaba n’ekikomo. 10 Ennyanja n’agiteeka ku luuyi olw’obukiikaddyo obw’ebuvanjuba mu yeekaalu. 11 N’akola n’ensuwa, n’ebisena, ne bbakuli.Awo Kulamu n’amaliriza omulimu ogwali gumuwereddwa kabaka Sulemaani ku yeekaalu ya Katonda: 12 empagi bbiri,n’emitwe egifaanana ng’ebakuli ku mitwe gy’empagi,n’ebitimba bya mirundi ebiri nga bibeera ku mitwe egyali ku mpagi, 13 n’amakomamawanga ebikumi bina obw’ebitimba biri ebibiri, buli kitimba nga kirina ennyiriri bbiri ez’amakomamawanga, nga zitimbye emitwe gy’empagi. 14 N’akola n’ebiyimirirwako, n’amabensani gaakwo, 15 n’Ennyanja n’ebifaananyi by’ente ennume emumbe, 16 n’ensuwa, n’ebisena, n’ewuuma ez’ennyama, n’ebintu byonna ebigenderako. Ebintu byonna Kulamu bye yakolera Kabaka Sulemaani ku lwa yeekaalu ya MUKAMA yabizigula n’ekikomo. 17 Kabaka yalagira babisaanuusize mu lusenyi lwa Yoludaani, awali ettaka ery’ebbumba wakati w’e Sukkosi n’e Zereda. 18 Sulemaani n’akola ebintu ebyo byonna nga bingi nnyo nnyini, n’obuzito bw’ekikomo mwe byakolebwa ne butamanyibwa. 19 Sulemaani n’akola ebintu byonna ebyole mu yeekaalu ya Katonda: ekyoto ekya zaabu,n’emmeeza okwabanga emigaati egy’okulaga, 20 n’ebikondo eby’ettaala ez’omukono nga bya zaabu, wamu ne ttaala zaabyo, okwakiranga mu maaso g’awaayimirirwanga okwogera, ng’ekiragiro bwe kyali, 21 n’ebimuli, ne ttaala, ne wuuma nga byonna zaabu ntuukirivu, 22 n’ebisalako ebisirinza, ne bensani, ne bbakuli ez’okumansira akaloosa, ne fulampeni nga bya zaabu ennongoose, n’enzigi za yeekaalu, n’enzigi ez’omunda mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, n’enzigi ez’ekisenge ekinene, nga byonna bya zaabu.
In Other Versions
2 Chronicles 4 in the ANGEFD
2 Chronicles 4 in the ANTPNG2D
2 Chronicles 4 in the AS21
2 Chronicles 4 in the BAGH
2 Chronicles 4 in the BBPNG
2 Chronicles 4 in the BBT1E
2 Chronicles 4 in the BDS
2 Chronicles 4 in the BEV
2 Chronicles 4 in the BHAD
2 Chronicles 4 in the BIB
2 Chronicles 4 in the BLPT
2 Chronicles 4 in the BNT
2 Chronicles 4 in the BNTABOOT
2 Chronicles 4 in the BNTLV
2 Chronicles 4 in the BOATCB
2 Chronicles 4 in the BOATCB2
2 Chronicles 4 in the BOBCV
2 Chronicles 4 in the BOCNT
2 Chronicles 4 in the BOECS
2 Chronicles 4 in the BOGWICC
2 Chronicles 4 in the BOHCB
2 Chronicles 4 in the BOHCV
2 Chronicles 4 in the BOHLNT
2 Chronicles 4 in the BOHNTLTAL
2 Chronicles 4 in the BOICB
2 Chronicles 4 in the BOILNTAP
2 Chronicles 4 in the BOITCV
2 Chronicles 4 in the BOKCV
2 Chronicles 4 in the BOKCV2
2 Chronicles 4 in the BOKHWOG
2 Chronicles 4 in the BOKSSV
2 Chronicles 4 in the BOLCB2
2 Chronicles 4 in the BOMCV
2 Chronicles 4 in the BONAV
2 Chronicles 4 in the BONCB
2 Chronicles 4 in the BONLT
2 Chronicles 4 in the BONUT2
2 Chronicles 4 in the BOPLNT
2 Chronicles 4 in the BOSCB
2 Chronicles 4 in the BOSNC
2 Chronicles 4 in the BOTLNT
2 Chronicles 4 in the BOVCB
2 Chronicles 4 in the BOYCB
2 Chronicles 4 in the BPBB
2 Chronicles 4 in the BPH
2 Chronicles 4 in the BSB
2 Chronicles 4 in the CCB
2 Chronicles 4 in the CUV
2 Chronicles 4 in the CUVS
2 Chronicles 4 in the DBT
2 Chronicles 4 in the DGDNT
2 Chronicles 4 in the DHNT
2 Chronicles 4 in the DNT
2 Chronicles 4 in the ELBE
2 Chronicles 4 in the EMTV
2 Chronicles 4 in the ESV
2 Chronicles 4 in the FBV
2 Chronicles 4 in the FEB
2 Chronicles 4 in the GGMNT
2 Chronicles 4 in the GNT
2 Chronicles 4 in the HARY
2 Chronicles 4 in the HNT
2 Chronicles 4 in the IRVA
2 Chronicles 4 in the IRVB
2 Chronicles 4 in the IRVG
2 Chronicles 4 in the IRVH
2 Chronicles 4 in the IRVK
2 Chronicles 4 in the IRVM
2 Chronicles 4 in the IRVM2
2 Chronicles 4 in the IRVO
2 Chronicles 4 in the IRVP
2 Chronicles 4 in the IRVT
2 Chronicles 4 in the IRVT2
2 Chronicles 4 in the IRVU
2 Chronicles 4 in the ISVN
2 Chronicles 4 in the JSNT
2 Chronicles 4 in the KAPI
2 Chronicles 4 in the KBT1ETNIK
2 Chronicles 4 in the KBV
2 Chronicles 4 in the KJV
2 Chronicles 4 in the KNFD
2 Chronicles 4 in the LBA
2 Chronicles 4 in the LBLA
2 Chronicles 4 in the LNT
2 Chronicles 4 in the LSV
2 Chronicles 4 in the MAAL
2 Chronicles 4 in the MBV
2 Chronicles 4 in the MBV2
2 Chronicles 4 in the MHNT
2 Chronicles 4 in the MKNFD
2 Chronicles 4 in the MNG
2 Chronicles 4 in the MNT
2 Chronicles 4 in the MNT2
2 Chronicles 4 in the MRS1T
2 Chronicles 4 in the NAA
2 Chronicles 4 in the NASB
2 Chronicles 4 in the NBLA
2 Chronicles 4 in the NBS
2 Chronicles 4 in the NBVTP
2 Chronicles 4 in the NET2
2 Chronicles 4 in the NIV11
2 Chronicles 4 in the NNT
2 Chronicles 4 in the NNT2
2 Chronicles 4 in the NNT3
2 Chronicles 4 in the PDDPT
2 Chronicles 4 in the PFNT
2 Chronicles 4 in the RMNT
2 Chronicles 4 in the SBIAS
2 Chronicles 4 in the SBIBS
2 Chronicles 4 in the SBIBS2
2 Chronicles 4 in the SBICS
2 Chronicles 4 in the SBIDS
2 Chronicles 4 in the SBIGS
2 Chronicles 4 in the SBIHS
2 Chronicles 4 in the SBIIS
2 Chronicles 4 in the SBIIS2
2 Chronicles 4 in the SBIIS3
2 Chronicles 4 in the SBIKS
2 Chronicles 4 in the SBIKS2
2 Chronicles 4 in the SBIMS
2 Chronicles 4 in the SBIOS
2 Chronicles 4 in the SBIPS
2 Chronicles 4 in the SBISS
2 Chronicles 4 in the SBITS
2 Chronicles 4 in the SBITS2
2 Chronicles 4 in the SBITS3
2 Chronicles 4 in the SBITS4
2 Chronicles 4 in the SBIUS
2 Chronicles 4 in the SBIVS
2 Chronicles 4 in the SBT
2 Chronicles 4 in the SBT1E
2 Chronicles 4 in the SCHL
2 Chronicles 4 in the SNT
2 Chronicles 4 in the SUSU
2 Chronicles 4 in the SUSU2
2 Chronicles 4 in the SYNO
2 Chronicles 4 in the TBIAOTANT
2 Chronicles 4 in the TBT1E
2 Chronicles 4 in the TBT1E2
2 Chronicles 4 in the TFTIP
2 Chronicles 4 in the TFTU
2 Chronicles 4 in the TGNTATF3T
2 Chronicles 4 in the THAI
2 Chronicles 4 in the TNFD
2 Chronicles 4 in the TNT
2 Chronicles 4 in the TNTIK
2 Chronicles 4 in the TNTIL
2 Chronicles 4 in the TNTIN
2 Chronicles 4 in the TNTIP
2 Chronicles 4 in the TNTIZ
2 Chronicles 4 in the TOMA
2 Chronicles 4 in the TTENT
2 Chronicles 4 in the UBG
2 Chronicles 4 in the UGV
2 Chronicles 4 in the UGV2
2 Chronicles 4 in the UGV3
2 Chronicles 4 in the VBL
2 Chronicles 4 in the VDCC
2 Chronicles 4 in the YALU
2 Chronicles 4 in the YAPE
2 Chronicles 4 in the YBVTP
2 Chronicles 4 in the ZBP