2 Kings 14 (BOLCB)

1 Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa Yowaasi mutabani wa Yowakazi kabaka wa Isirayiri, Amaziya mutabani wa Yowaasi ssekabaka wa Yuda n’alya obwakabaka. 2 Yali aweza emyaka amakumi abiri mu etaano weyatandikira okufuga, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina erinnya lye ye yali Yekoyadiini ow’e Yerusaalemi. 3 N’akola ebirungi mu maaso ga MUKAMA, newaakubadde nga tebyenkana bya jjajjaawe Dawudi bye yakola. Mu buli nsonga yonna yagobereranga ekyokulabirako kya Yowaasi kitaawe. 4 Kyokka beeyongeranga okuweerayo ssaddaaka n’okwoterezanga obubaane ku bifo ebigulumivu kubanga byali tebiggyiddwawo. 5 Bwe yalaba ng’obwakabaka bunywezeddwa mu buyinza bwe, n’atta abakungu abaatemula kabaka kitaawe. 6 Wabula teyatta batabani baabwe kubanga mu byawandiikibwa mu Kitabo eky’Amateeka ga Musa, MUKAMA yalagira nti, “Abazadde tebattibwenga ku lw’abaana, so n’abaana tebattibwenga ku lw’abazadde baabwe; buli muntu anaafanga olw’ebibi bye ye.” 7 Yawangula ab’e Edomu mu Kiwonvu eky’Omunnyo, era n’atta omutwalo gumu ku bo, n’okuwamba n’awamba Seera mu lutalo, n’akituuma Yokuseeri, era kye kikyayitibwa ne ku lunaku lwa leero. 8 Awo mu biro ebyo Amaziya n’atumira Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi, muzzukulu wa Yeeku, kabaka wa Isirayiri, obubaka ng’amusosonkereza nti, “Jjangu tulabagane amaaso n’amaaso.” 9 Naye Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’addamu Amaziya kabaka wa Yuda nti, “Omwennyango mu Lebanooni gw’aweereza obubaka eri omuvule mu Lebanooni nga gugamba nti, ‘Waayo muwala wo afumbirwe mutabani wange.’ Naye ensolo enkambwe eya Lebanooni bwe yali ng’eyitawo n’erinnyirira omwennyango. 10 Kaakano wegulumizza kubanga owangudde Edomu. Wenyumirize mu buwanguzi bwo ewuwo. Lwaki oyagala okweleetera emitawaana, n’okugwa kwo era n’okwa Yuda?” 11 Naye Amaziya teyawuliriza, era ekyavaamu Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’amulumba. Ne balabagana amaaso n’amaaso mu lutalo e Besusemesi ekya Yuda. 12 Yuda n’awangulibwa Isirayiri, buli musajja n’addukira ewuwe. 13 Awo Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yekoyaasi muzzukulu wa Akaziya e Besusemesi; Yekoyaasi ne yeeyongerayo e Yerusaalemi, n’amenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi, obuwanvu mita kikumi mu kinaana, okuva ku wankaaki wa Efulayimu okutuuka ku wankaaki ow’oku Nsonda. 14 N’atwala ezaabu n’effeeza yonna, n’ebikozesebwa byonna ebyali mu yeekaalu ya MUKAMA, n’eby’obugagga ebyali mu lubiri lwa kabaka, era n’abantu n’abatwala nga basibe, n’addayo e Samaliya. 15 Ebyafaayo ebirala byonna ebyaliwo mu mirembe gya Yekoyaasi, ne bye yakola n’ebyamagero bye, ne bwe yatabaala Amaziya kabaka wa Yuda, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 16 Yekoyaasi n’afa n’aziikibwa mu Samaliya mu masiro ga bakabaka ba Isirayiri. Mutabani we Yerobowaamu n’amusikira okuba kabaka. 17 Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi n’awangaala emyaka kkumi n’ettaano emirala oluvannyuma lw’okufa kwa Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi kabaka wa Isirayiri. 18 Ebyafaayo ebirala eby’omulembe gwa Amaziya, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 19 Ne bamusalira olukwe olw’okumuttira mu Yerusaalemi, n’addukira e Lakisi, naye ne bamuwerekereza abasajja era ne bamuttira e Lakisi. 20 Ne bakomyawo omulambo gwe ku mbalaasi, era n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu Yerusaalemi, mu kibuga kya Dawudi. 21 Awo eggwanga lyonna erya Yuda, ne bafuula Azaliya ow’emyaka ekkumi n’omukaaga kabaka, ng’asikira kitaawe Amaziya. 22 Ye yaddaabiriza Erasi era n’azza Yuda obuggya, nga Amaziya amaze okufa. 23 Mu mwaka ogw’ekkumi n’ettaano ogw’obufuzi bwa Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda, Yerobowaamu II mutabani wa Yowaasi ssekabaka wa Isirayiri n’afuuka kabaka mu Samaliya, era n’afugira emyaka amakumi ana mu gumu. 24 N’akola ebibi mu maaso ga MUKAMA, n’atakyuka okuva mu bibi ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri. 25 Yatuukiriza ekigambo kya MUKAMA, Katonda wa Isirayiri kye yayogerera mu muddu we Yona mutabani wa Amitayi nnabbi ow’e Gasukeferi, n’azzaawo ensalo ya Isirayiri okuva ku mulyango gwa Kamasi okutuuka ku Nnyanja ey’Omunnyo. 26 MUKAMA yalaba okubonaabona kwa buli omu mu Isirayiri, omuddu n’atali muddu, nga tewali ayinza ku babeera. 27 Olw’okubanga MUKAMA yali tagambye nti alisaanyaawo erinnya lya Isirayiri wansi w’eggulu, n’atuma Yerobowaamu II mutabani wa Yowaasi okubalokola. 28 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yerobowaamu II, ne byonna bye yakola, ne bwe yalwana entalo n’obuzira, n’engeri gye yakomezaawo Isirayiri Ddamasiko ne Kamasi ebyali ebya Yuda, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 29 Yerobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, bassekabaka ba Isirayiri, Zekkaliya mutabani we n’amusikira okuba kabaka.

In Other Versions

2 Kings 14 in the ANGEFD

2 Kings 14 in the ANTPNG2D

2 Kings 14 in the AS21

2 Kings 14 in the BAGH

2 Kings 14 in the BBPNG

2 Kings 14 in the BBT1E

2 Kings 14 in the BDS

2 Kings 14 in the BEV

2 Kings 14 in the BHAD

2 Kings 14 in the BIB

2 Kings 14 in the BLPT

2 Kings 14 in the BNT

2 Kings 14 in the BNTABOOT

2 Kings 14 in the BNTLV

2 Kings 14 in the BOATCB

2 Kings 14 in the BOATCB2

2 Kings 14 in the BOBCV

2 Kings 14 in the BOCNT

2 Kings 14 in the BOECS

2 Kings 14 in the BOGWICC

2 Kings 14 in the BOHCB

2 Kings 14 in the BOHCV

2 Kings 14 in the BOHLNT

2 Kings 14 in the BOHNTLTAL

2 Kings 14 in the BOICB

2 Kings 14 in the BOILNTAP

2 Kings 14 in the BOITCV

2 Kings 14 in the BOKCV

2 Kings 14 in the BOKCV2

2 Kings 14 in the BOKHWOG

2 Kings 14 in the BOKSSV

2 Kings 14 in the BOLCB2

2 Kings 14 in the BOMCV

2 Kings 14 in the BONAV

2 Kings 14 in the BONCB

2 Kings 14 in the BONLT

2 Kings 14 in the BONUT2

2 Kings 14 in the BOPLNT

2 Kings 14 in the BOSCB

2 Kings 14 in the BOSNC

2 Kings 14 in the BOTLNT

2 Kings 14 in the BOVCB

2 Kings 14 in the BOYCB

2 Kings 14 in the BPBB

2 Kings 14 in the BPH

2 Kings 14 in the BSB

2 Kings 14 in the CCB

2 Kings 14 in the CUV

2 Kings 14 in the CUVS

2 Kings 14 in the DBT

2 Kings 14 in the DGDNT

2 Kings 14 in the DHNT

2 Kings 14 in the DNT

2 Kings 14 in the ELBE

2 Kings 14 in the EMTV

2 Kings 14 in the ESV

2 Kings 14 in the FBV

2 Kings 14 in the FEB

2 Kings 14 in the GGMNT

2 Kings 14 in the GNT

2 Kings 14 in the HARY

2 Kings 14 in the HNT

2 Kings 14 in the IRVA

2 Kings 14 in the IRVB

2 Kings 14 in the IRVG

2 Kings 14 in the IRVH

2 Kings 14 in the IRVK

2 Kings 14 in the IRVM

2 Kings 14 in the IRVM2

2 Kings 14 in the IRVO

2 Kings 14 in the IRVP

2 Kings 14 in the IRVT

2 Kings 14 in the IRVT2

2 Kings 14 in the IRVU

2 Kings 14 in the ISVN

2 Kings 14 in the JSNT

2 Kings 14 in the KAPI

2 Kings 14 in the KBT1ETNIK

2 Kings 14 in the KBV

2 Kings 14 in the KJV

2 Kings 14 in the KNFD

2 Kings 14 in the LBA

2 Kings 14 in the LBLA

2 Kings 14 in the LNT

2 Kings 14 in the LSV

2 Kings 14 in the MAAL

2 Kings 14 in the MBV

2 Kings 14 in the MBV2

2 Kings 14 in the MHNT

2 Kings 14 in the MKNFD

2 Kings 14 in the MNG

2 Kings 14 in the MNT

2 Kings 14 in the MNT2

2 Kings 14 in the MRS1T

2 Kings 14 in the NAA

2 Kings 14 in the NASB

2 Kings 14 in the NBLA

2 Kings 14 in the NBS

2 Kings 14 in the NBVTP

2 Kings 14 in the NET2

2 Kings 14 in the NIV11

2 Kings 14 in the NNT

2 Kings 14 in the NNT2

2 Kings 14 in the NNT3

2 Kings 14 in the PDDPT

2 Kings 14 in the PFNT

2 Kings 14 in the RMNT

2 Kings 14 in the SBIAS

2 Kings 14 in the SBIBS

2 Kings 14 in the SBIBS2

2 Kings 14 in the SBICS

2 Kings 14 in the SBIDS

2 Kings 14 in the SBIGS

2 Kings 14 in the SBIHS

2 Kings 14 in the SBIIS

2 Kings 14 in the SBIIS2

2 Kings 14 in the SBIIS3

2 Kings 14 in the SBIKS

2 Kings 14 in the SBIKS2

2 Kings 14 in the SBIMS

2 Kings 14 in the SBIOS

2 Kings 14 in the SBIPS

2 Kings 14 in the SBISS

2 Kings 14 in the SBITS

2 Kings 14 in the SBITS2

2 Kings 14 in the SBITS3

2 Kings 14 in the SBITS4

2 Kings 14 in the SBIUS

2 Kings 14 in the SBIVS

2 Kings 14 in the SBT

2 Kings 14 in the SBT1E

2 Kings 14 in the SCHL

2 Kings 14 in the SNT

2 Kings 14 in the SUSU

2 Kings 14 in the SUSU2

2 Kings 14 in the SYNO

2 Kings 14 in the TBIAOTANT

2 Kings 14 in the TBT1E

2 Kings 14 in the TBT1E2

2 Kings 14 in the TFTIP

2 Kings 14 in the TFTU

2 Kings 14 in the TGNTATF3T

2 Kings 14 in the THAI

2 Kings 14 in the TNFD

2 Kings 14 in the TNT

2 Kings 14 in the TNTIK

2 Kings 14 in the TNTIL

2 Kings 14 in the TNTIN

2 Kings 14 in the TNTIP

2 Kings 14 in the TNTIZ

2 Kings 14 in the TOMA

2 Kings 14 in the TTENT

2 Kings 14 in the UBG

2 Kings 14 in the UGV

2 Kings 14 in the UGV2

2 Kings 14 in the UGV3

2 Kings 14 in the VBL

2 Kings 14 in the VDCC

2 Kings 14 in the YALU

2 Kings 14 in the YAPE

2 Kings 14 in the YBVTP

2 Kings 14 in the ZBP