2 Samuel 14 (BOLCB)

1 Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’ategeera nga omutima gwa kabaka gulumirwa Abusaalomu. 2 Yowaabu n’atumya omukazi omugezigezi okuva e Tekowa, n’amugamba nti, “Weefuule akungubaga, oyambale engoye ez’okukungubaga, teweesiiga mafuta, obeere ng’omukyala amaze ennaku ennyingi ng’akungubagira omufu. 3 Genda eri kabaka, omugambe ebigambo bino.” Yowaabu n’amuwa ebigambo eby’okwogera. 4 Awo omukazi ow’e Tekowa n’agenda eri kabaka, n’avuunama amaaso ge ku ttaka, ne yeeyanza, n’ayogera nti, “Mbeera, ayi kabaka.” 5 Kabaka n’amubuuza nti, “Nkubeere mu ki?” N’addamu nti, “Ndi nnamwandu baze yafa. 6 Nalina batabani bange babiri. Bombi baalwanira ku ttale ne wataba n’omu abataasa, omu n’atta munne. 7 Kaakano ekika kyonna kiyimukidde omuweereza wo, nga boogera nti, ‘Tuwe omusajja oyo asse muganda we, tumutte olw’obulamu bwa muganda we gwe yatta, tutte n’omusika.’ Mu ngeri eyo banaaba bazikizza etabaaza yokka gye nsigazza, obutalekaawo linnya lya baze wange newaakubadde obusika bwe ku nsi yonna.” 8 Awo kabaka n’agamba omukazi nti, “Ddayo eka, nzija kukola ku nsonga yo.” 9 Naye omukazi ow’e Tekowa n’agamba kabaka nti, “Mukama wange kabaka, omusango ka gubeere ku nze, n’ennyumba ya kitange; kabaka n’obwakabaka bwe buleme kubeerako musango.” 10 Kabaka n’addamu nti, “Bwe wanaabeerawo omuntu yenna abaako kya kugamba, mundeetere, taddeyo nate kukutawanya.” 11 Omukazi n’ayogera nti, “Nkwegayiridde, kabaka, ondayirire eri MUKAMA Katonda wo, awalana eggwanga olw’omusaayi era aziyiza obubi okweyongera ku bubi, mutabani wange aleme okuzikirizibwa.” N’amuddamu nti, “MUKAMA nga bw’ali omulamu, tewaliba luviiri olwa mutabani wo olulimuva ku mutwe.” 12 Awo omukazi n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde, ka mbeeko ekigambo kye ŋŋamba mukama wange kabaka.” N’amuddamu nti, “Yogera.” 13 Omukazi n’ayogera nti, “Kiki ekikukoza ekigambo bwe kityo abantu ba Katonda? Kabaka aba teyeesalira yekka omusango kubanga takomezaawo omwana we eyagobebwa? 14 Ffenna tuli baakufa, ng’amazzi bwe gayiibwa ku ttaka, ne gatayinzika kuyooleka nate. Naye Katonda taggyawo bulamu, anoonya engeri gy’anaayinza okukomyawo omuntu abuze. 15 “Kale nno ekyo kye kyandeese eri kabaka, kubanga abantu bantiisizza, ne baleetera omuweereza wo okulowooza nti, ‘Bwe nnaayogera ne kabaka, mpozzi aliddamu omuweereza we ky’amusaba. 16 Oboolyawo kabaka anaawulira ensonga yange, n’alokola omuzaana we mu mukono gw’omusajja agezaako okunzikiriza nze n’omwana wange okutuggyako obusika Katonda bwe yatuwa.’ 17 “Era omuweereza wo yayogedde mu mutima gwe nti, ‘Ekigambo kya mukama wange kabaka kye kirimpummuza, kubanga mukama wange kabaka ali nga malayika wa Katonda mu kwawulamu ebirungi n’ebibi. MUKAMA Katonda wo abeere naawe.’ ” 18 Awo kabaka n’agamba omukazi nti, “Tobaako n’ekimu ky’onkisa ku bye nnaakubuuza.” Omukazi n’addamu nti, “Mukama wange kabaka ambuuze.” 19 Kabaka n’amubuuza nti, “Omukono gwa Yowaabu guli wamu naawe mu bigambo ebyo byonna?”Omukazi n’amuddamu nti, “Nga bw’oli omulamu mukama wange kabaka, tewali ayinza okukubuzaabuza ng’adda ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono okukuggya ku ky’oyogera mukama wange kabaka. Weewaawo, omuddu wo Yowaabu yeyandagidde, n’ampa n’ebigambo ebyo byonna. 20 Omuddu wo Yowaabu, ekyo y’akikoze okukyusa embeera eriwo kaakano. Naye mukama wange mugezigezi nga malayika wa Katonda amanyi byonna ebifa ku nsi.” 21 Awo kabaka n’agamba Yowaabu nti, “Kale, nzija kukikola. Genda okime omuvubuka Abusaalomu.” 22 Awo Yowaabu n’agwa bugazi ku ttaka ne yeeyanza, n’asabira kabaka omukisa, n’ayogera nti, “Leero, omuddu wo ategedde ng’alabye ekisa mu maaso go, mukama wange kabaka, kubanga kabaka azeemu okwegayirira okw’omuddu we.” 23 Yowaabu n’agenda e Gesuli n’akima Abusaalomu n’amukomyawo e Yerusaalemi. 24 Naye kabaka n’awa ekiragiro nti, “Ateekwa kugenda mu nnyumba eyiye ku bubwe, tateekwa kulaba maaso gange.” Awo Abusaalomu n’abeera mu nnyumba eyiye ku bubwe, n’atalaba maaso ga kabaka. 25 Mu Isirayiri yonna temwali n’omu eyatenderezebwa nga Abusaalomu olw’endabika ye ennungi, kubanga okuviira ddala ku mutwe okutuuka ku bigere teyaliiko kamogo. 26 Buli lwe yasalanga enviiri ze, lwe zali ng’ennyingi ku mutwe gwe, obuzito bw’azo bw’ali nga kilo bbiri ne desimoolo ssatu ng’ebipimo bya kabaka bwe byali. 27 Abusaalomu n’azaalirwa abaana basatu aboobulenzi n’owoobuwala omu. Omuwala ye yali Tamali nga mukyala mulungi nnyo ku maaso. 28 Abusaalomu n’abeera mu Yerusaalemi okumala emyaka ebiri nga talaba maaso ga kabaka. 29 Awo Abusaalomu n’atumya Yowaabu amutume eri kabaka, naye Yowaabu n’atagendayo. N’amutumya omulundi ogwokubiri, naye era n’agaana okugenda yo. 30 Abusaalomu n’agamba abaddu be nti, “Ennimiro ya Yowaabu eriraanye eyange, era alinamu sayiri. Mugende mugikumeko omuliro.” Awo abaddu ba Abusaalomu ne bagikumako omuliro ne bagyokya. 31 Yowaabu n’agolokoka n’agenda eri Abusaalomu mu nnyumba ye n’amubuuza nti, “Lwaki abaddu bo bookezza ennimiro yange?” 32 Abusaalomu n’agamba Yowaabu nti, “Laba, nakutumya, nga ŋŋamba ojje wano nkutume eri kabaka okumubuuza nti, ‘Lwaki nava e Gesuli? Kyandisinze singa nasigala eyo.’ Kaakano njagala kugenda mu maaso ga kabaka, obanga nnina omusango, anzite.” 33 Awo Yowaabu n’agenda eri kabaka, n’amutegeeza ebigambo ebyo. Kabaka n’atumya Abusaalomu, n’ajja, n’avuunama amaaso ge wansi mu maaso ga kabaka. Kabaka n’amunywegera.

In Other Versions

2 Samuel 14 in the ANGEFD

2 Samuel 14 in the ANTPNG2D

2 Samuel 14 in the AS21

2 Samuel 14 in the BAGH

2 Samuel 14 in the BBPNG

2 Samuel 14 in the BBT1E

2 Samuel 14 in the BDS

2 Samuel 14 in the BEV

2 Samuel 14 in the BHAD

2 Samuel 14 in the BIB

2 Samuel 14 in the BLPT

2 Samuel 14 in the BNT

2 Samuel 14 in the BNTABOOT

2 Samuel 14 in the BNTLV

2 Samuel 14 in the BOATCB

2 Samuel 14 in the BOATCB2

2 Samuel 14 in the BOBCV

2 Samuel 14 in the BOCNT

2 Samuel 14 in the BOECS

2 Samuel 14 in the BOGWICC

2 Samuel 14 in the BOHCB

2 Samuel 14 in the BOHCV

2 Samuel 14 in the BOHLNT

2 Samuel 14 in the BOHNTLTAL

2 Samuel 14 in the BOICB

2 Samuel 14 in the BOILNTAP

2 Samuel 14 in the BOITCV

2 Samuel 14 in the BOKCV

2 Samuel 14 in the BOKCV2

2 Samuel 14 in the BOKHWOG

2 Samuel 14 in the BOKSSV

2 Samuel 14 in the BOLCB2

2 Samuel 14 in the BOMCV

2 Samuel 14 in the BONAV

2 Samuel 14 in the BONCB

2 Samuel 14 in the BONLT

2 Samuel 14 in the BONUT2

2 Samuel 14 in the BOPLNT

2 Samuel 14 in the BOSCB

2 Samuel 14 in the BOSNC

2 Samuel 14 in the BOTLNT

2 Samuel 14 in the BOVCB

2 Samuel 14 in the BOYCB

2 Samuel 14 in the BPBB

2 Samuel 14 in the BPH

2 Samuel 14 in the BSB

2 Samuel 14 in the CCB

2 Samuel 14 in the CUV

2 Samuel 14 in the CUVS

2 Samuel 14 in the DBT

2 Samuel 14 in the DGDNT

2 Samuel 14 in the DHNT

2 Samuel 14 in the DNT

2 Samuel 14 in the ELBE

2 Samuel 14 in the EMTV

2 Samuel 14 in the ESV

2 Samuel 14 in the FBV

2 Samuel 14 in the FEB

2 Samuel 14 in the GGMNT

2 Samuel 14 in the GNT

2 Samuel 14 in the HARY

2 Samuel 14 in the HNT

2 Samuel 14 in the IRVA

2 Samuel 14 in the IRVB

2 Samuel 14 in the IRVG

2 Samuel 14 in the IRVH

2 Samuel 14 in the IRVK

2 Samuel 14 in the IRVM

2 Samuel 14 in the IRVM2

2 Samuel 14 in the IRVO

2 Samuel 14 in the IRVP

2 Samuel 14 in the IRVT

2 Samuel 14 in the IRVT2

2 Samuel 14 in the IRVU

2 Samuel 14 in the ISVN

2 Samuel 14 in the JSNT

2 Samuel 14 in the KAPI

2 Samuel 14 in the KBT1ETNIK

2 Samuel 14 in the KBV

2 Samuel 14 in the KJV

2 Samuel 14 in the KNFD

2 Samuel 14 in the LBA

2 Samuel 14 in the LBLA

2 Samuel 14 in the LNT

2 Samuel 14 in the LSV

2 Samuel 14 in the MAAL

2 Samuel 14 in the MBV

2 Samuel 14 in the MBV2

2 Samuel 14 in the MHNT

2 Samuel 14 in the MKNFD

2 Samuel 14 in the MNG

2 Samuel 14 in the MNT

2 Samuel 14 in the MNT2

2 Samuel 14 in the MRS1T

2 Samuel 14 in the NAA

2 Samuel 14 in the NASB

2 Samuel 14 in the NBLA

2 Samuel 14 in the NBS

2 Samuel 14 in the NBVTP

2 Samuel 14 in the NET2

2 Samuel 14 in the NIV11

2 Samuel 14 in the NNT

2 Samuel 14 in the NNT2

2 Samuel 14 in the NNT3

2 Samuel 14 in the PDDPT

2 Samuel 14 in the PFNT

2 Samuel 14 in the RMNT

2 Samuel 14 in the SBIAS

2 Samuel 14 in the SBIBS

2 Samuel 14 in the SBIBS2

2 Samuel 14 in the SBICS

2 Samuel 14 in the SBIDS

2 Samuel 14 in the SBIGS

2 Samuel 14 in the SBIHS

2 Samuel 14 in the SBIIS

2 Samuel 14 in the SBIIS2

2 Samuel 14 in the SBIIS3

2 Samuel 14 in the SBIKS

2 Samuel 14 in the SBIKS2

2 Samuel 14 in the SBIMS

2 Samuel 14 in the SBIOS

2 Samuel 14 in the SBIPS

2 Samuel 14 in the SBISS

2 Samuel 14 in the SBITS

2 Samuel 14 in the SBITS2

2 Samuel 14 in the SBITS3

2 Samuel 14 in the SBITS4

2 Samuel 14 in the SBIUS

2 Samuel 14 in the SBIVS

2 Samuel 14 in the SBT

2 Samuel 14 in the SBT1E

2 Samuel 14 in the SCHL

2 Samuel 14 in the SNT

2 Samuel 14 in the SUSU

2 Samuel 14 in the SUSU2

2 Samuel 14 in the SYNO

2 Samuel 14 in the TBIAOTANT

2 Samuel 14 in the TBT1E

2 Samuel 14 in the TBT1E2

2 Samuel 14 in the TFTIP

2 Samuel 14 in the TFTU

2 Samuel 14 in the TGNTATF3T

2 Samuel 14 in the THAI

2 Samuel 14 in the TNFD

2 Samuel 14 in the TNT

2 Samuel 14 in the TNTIK

2 Samuel 14 in the TNTIL

2 Samuel 14 in the TNTIN

2 Samuel 14 in the TNTIP

2 Samuel 14 in the TNTIZ

2 Samuel 14 in the TOMA

2 Samuel 14 in the TTENT

2 Samuel 14 in the UBG

2 Samuel 14 in the UGV

2 Samuel 14 in the UGV2

2 Samuel 14 in the UGV3

2 Samuel 14 in the VBL

2 Samuel 14 in the VDCC

2 Samuel 14 in the YALU

2 Samuel 14 in the YAPE

2 Samuel 14 in the YBVTP

2 Samuel 14 in the ZBP