2 Samuel 15 (BOLCB)

1 Bwe waayitawo ebbanga, Abusaalomu ne yeefunira amagaali, n’embalaasi, n’abasajja amakumi ataano okumukulemberangamu. 2 Yagolokokanga mu makya n’ayimirira ku mabbali g’ekkubo okwolekera wankaaki w’ekibuga. Omuntu yenna bwe yabanga n’ensonga gye yaleeteranga kabaka okulamula, Abusaalomu yamuyitanga n’amubuuza nti, “Oviira mu kibuga ki?” Bwe yaddangamu nti, “Omuddu wo aviira mu kimu ku bika bya Isirayiri,” 3 Abusaalomu n’alyoka amugamba nti, “Laba, ensonga ntuufu era etegeerekeka, naye tewali muntu anaagikulamulira.” 4 Ate era Abusaalomu yayongerangako ne kino nti, “Singa nnondebwa okuba omukulembeze mu nsi, olwo buli muntu alina ensonga anajjanga gye ndi, ne mukolera ku nsonga ye.” 5 Ate era omuntu yenna eyajjanga n’amuvuunamira ng’amuwa ekitiibwa, yagololanga omukono gwe, n’amukwatako n’amunywegera ng’amulamusa. 6 Bw’atyo Abusaalomu bwe yeeyisanga eri Abayisirayiri bonna abajjanga eri kabaka nga baagala okubalamulira ensonga zaabwe. Ekyavaamu n’abba emitima gy’abantu ba Isirayiri. 7 Oluvannyuma lw’emyaka ena, Abusaalomu n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde, nzikiriza ŋŋende e Kebbulooni, ntuukirize obweyamo bwange bwe nakola eri MUKAMA. 8 Omuweereza wo bwe yabeeranga e Gesuli mu Busuuli, nakola obweyamo nga ŋŋamba nti, ‘MUKAMA bw’alinzizaayo e Yerusaalemi, ndisinza MUKAMA.’ ” 9 Kabaka n’amuddamu nti, “Ggenda mirembe.” N’asitula n’alaga e Kebbulooni. 10 Abusaalomu n’atuma ababaka kyama mu bika byonna ebya Isirayiri, babagambe nti, “Amangwago nga muwulidde okuvuga kw’amakondeere, mwogere nti, ‘Abusaalomu ye kabaka e Kebbulooni.’ ” 11 Abasajja ebikumi bibiri be baawerekera Abusaalomu oluvannyuma olw’okuyitibwa ng’abagenyi, songa tebaalina kye baamanya ku nsonga eyo. 12 Mu kiseera ekyo, Abusaalomu bwe yali ng’awaayo ssaddaaka, n’atumya Akisoferi Omugiro, omuwi w’amagezi owa Dawudi, okuva mu kibuga ky’e Giro. Obujeemu ne bwongerwamu amaanyi n’abagoberezi ba Abusaalomu ne beeyongeranga obungi. 13 Omubaka n’ajja n’ategeeza Dawudi nti, “Emitima gy’abantu ba Isirayiri gigoberedde Abusaalomu.” 14 Awo Dawudi n’agamba abakungu be bonna abaali naye e Yerusaalemi nti, “Mugolokoke tudduke kubanga bwe tutaakole bwe tutyo tewaabeewo n’omu ku ffe anaawona Abusaalomu. Tuteekwa okuvaawo amangu nga bwe kisoboka, aleme okutusaangiriza wano okusaanyaawo ekibuga n’ekitala.” 15 Abakungu ba kabaka ne bamuddamu nti, “Abaddu bo beetegefu okukola kyonna, mukama waffe kabaka ky’anaaba asazeewo.” 16 Awo Kabaka n’asitula n’ennyumba ye yonna ne bamugoberera, naye n’alekawo abakyala be kkumi okulabirira olubiri. 17 Kabaka n’abantu bonna abaagenda naye, bwe baatambulako akabanga, ne batuuka mu kifo ekimu ewalako n’olubiri ne bayimirira awo. 18 Abasajja be bonna ne bamukulemberamu, n’Abakeresi bonna n’Abaperesi bonna, n’Abagitti olukaaga bonna abaali bamugoberedde okuva e Gaasi ne bakumba nga bamukulembeddemu. 19 Awo kabaka n’agamba Ittayi Omugitti nti, “Lwaki otugoberera? Ddayo obeere ne kabaka Abusaalomu. Oli munnaggwanga eyagobebwa ewaabwe. 20 Wajja jjuuzi. Lwaki leero nkutambuza eno n’eri, nga ssinamanya gye ndaga? Ddayo n’abantu bo. Ekisa n’emirembe bibeerenga naawe.” 21 Naye Ittayi n’addamu kabaka nti, “MUKAMA nga bw’ali omulamu, era mukama wange kabaka nga bw’ali omulamu, buli mukama wange kabaka gy’anaagendanga, oba bulamu oba kufa, omuddu wo anaabeeranga wamu naawe.” 22 Dawudi n’agamba Ittayi nti, “Kale yitawo ogende mu maaso.” Awo Ittayi Omugitti n’abasajja be bonna n’abantu baabwe abaali naye ne bayitawo. 23 Ab’omu byalo bonna ne bakaaba nnyo bwe baalaba abantu nga bayitawo. Kabaka naye n’asomoka akagga Kidulooni, abantu bonna ne bayitawo ne boolekera eddungu. 24 Zadooki awamu n’Abaleevi bonna abaali awamu naye, abaasitulanga essanduuko ey’endagaano ya MUKAMA, baagenda ne kabaka. Essanduuko ya Katonda ne bagissa wansi, Abiyasaali naye n’ayambuka okuwaayo ssaddaaka okutuusa abantu bonna bwe baggwa mu kibuga. 25 Awo kabaka n’agamba Zadooki nti, “Zzaayo essanduuko ya Katonda mu kibuga. Bwe ndiraba ekisa mu maaso ga MUKAMA, alinkomyawo, ne ngirabako n’ekifo MUKAMA ky’abeeramu. 26 Naye bw’alisalawo nti, ‘Ssiri musanyufu naawe,’ ndimweteefuteefu ankole nga bw’asiima.” 27 Ate era kabaka n’agamba Zadooki nti, “Toli mulabi? Ddayo mu kibuga mirembe, ne mutabani wo Akimaazi ne mutabani wa Abiyasaali, Yonasaani. Ggwe ne Abiyasaali muddeeyo ne batabani bammwe. 28 Ndirindirira ekigambo ekiriva gye muli, we tulisomokera okulaga mu ddungu.” 29 Awo Zadooki ne Abiyasaali ne bazzaayo essanduuko ya Katonda e Yerusaalemi ne basigala eyo. 30 Naye Dawudi n’alinnyalinnya n’alaga ku lusozi olw’Emizeeyituuni ng’akaaba, n’omutwe ng’agubisse era ng’ali mu bigere. Abantu bonna abaali awamu naye nabo baali beebisse emitwe era nga bakaaba. 31 Dawudi n’ategeezebwa nti, “Akisoferi ali omu ku abo abeekobaana ne Abusaalomu.” Dawudi n’asaba nti, “Ayi MUKAMA Katonda nkwegayiridde, fuula amagezi ga Akisoferi obusirusiru.” 32 Awo Dawudi bwe yatuuka ku ntikko y’olusozi, abantu gye baasinzizanga Katonda, Kusaayi Omwaluki yaliyo okumusisinkana, ekkooti ye ng’eyulise n’omutwe gwe nga gujjudde enfuufu. 33 Dawudi n’amugamba nti, “Bw’onoogenda nange ojja kunfuukira ekizibu. 34 Naye bw’onoddayo mu kibuga, n’ogamba Abusaalomu nti, ‘Ndibeera omuddu wo, ayi kabaka; nga bwe naweerezanga kitaawo mu biro eby’edda, bwe ntyo bwe nnaakuweerezanga,’ onooba ombedde mu nsonga ey’okulemesa Akisoferi, afuuse omuwi w’amagezi owa Abusaalomu. 35 Zadooki ne Abiyasaali tebaliiyo? Kale bategeeze ekigambo kyonna ky’onoowulira mu lubiri. 36 Batabani baabwe ababiri, Akimaazi mutabani wa Zadooki ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali nabo bali eyo, era abo boonoontumiranga bwe wanaabangawo ensonga yonna.” 37 Awo Kusaayi mukwano gwa Dawudi n’atuuka e Yerusaalemi, nga Abusaalomu ayingira ekibuga.

In Other Versions

2 Samuel 15 in the ANGEFD

2 Samuel 15 in the ANTPNG2D

2 Samuel 15 in the AS21

2 Samuel 15 in the BAGH

2 Samuel 15 in the BBPNG

2 Samuel 15 in the BBT1E

2 Samuel 15 in the BDS

2 Samuel 15 in the BEV

2 Samuel 15 in the BHAD

2 Samuel 15 in the BIB

2 Samuel 15 in the BLPT

2 Samuel 15 in the BNT

2 Samuel 15 in the BNTABOOT

2 Samuel 15 in the BNTLV

2 Samuel 15 in the BOATCB

2 Samuel 15 in the BOATCB2

2 Samuel 15 in the BOBCV

2 Samuel 15 in the BOCNT

2 Samuel 15 in the BOECS

2 Samuel 15 in the BOGWICC

2 Samuel 15 in the BOHCB

2 Samuel 15 in the BOHCV

2 Samuel 15 in the BOHLNT

2 Samuel 15 in the BOHNTLTAL

2 Samuel 15 in the BOICB

2 Samuel 15 in the BOILNTAP

2 Samuel 15 in the BOITCV

2 Samuel 15 in the BOKCV

2 Samuel 15 in the BOKCV2

2 Samuel 15 in the BOKHWOG

2 Samuel 15 in the BOKSSV

2 Samuel 15 in the BOLCB2

2 Samuel 15 in the BOMCV

2 Samuel 15 in the BONAV

2 Samuel 15 in the BONCB

2 Samuel 15 in the BONLT

2 Samuel 15 in the BONUT2

2 Samuel 15 in the BOPLNT

2 Samuel 15 in the BOSCB

2 Samuel 15 in the BOSNC

2 Samuel 15 in the BOTLNT

2 Samuel 15 in the BOVCB

2 Samuel 15 in the BOYCB

2 Samuel 15 in the BPBB

2 Samuel 15 in the BPH

2 Samuel 15 in the BSB

2 Samuel 15 in the CCB

2 Samuel 15 in the CUV

2 Samuel 15 in the CUVS

2 Samuel 15 in the DBT

2 Samuel 15 in the DGDNT

2 Samuel 15 in the DHNT

2 Samuel 15 in the DNT

2 Samuel 15 in the ELBE

2 Samuel 15 in the EMTV

2 Samuel 15 in the ESV

2 Samuel 15 in the FBV

2 Samuel 15 in the FEB

2 Samuel 15 in the GGMNT

2 Samuel 15 in the GNT

2 Samuel 15 in the HARY

2 Samuel 15 in the HNT

2 Samuel 15 in the IRVA

2 Samuel 15 in the IRVB

2 Samuel 15 in the IRVG

2 Samuel 15 in the IRVH

2 Samuel 15 in the IRVK

2 Samuel 15 in the IRVM

2 Samuel 15 in the IRVM2

2 Samuel 15 in the IRVO

2 Samuel 15 in the IRVP

2 Samuel 15 in the IRVT

2 Samuel 15 in the IRVT2

2 Samuel 15 in the IRVU

2 Samuel 15 in the ISVN

2 Samuel 15 in the JSNT

2 Samuel 15 in the KAPI

2 Samuel 15 in the KBT1ETNIK

2 Samuel 15 in the KBV

2 Samuel 15 in the KJV

2 Samuel 15 in the KNFD

2 Samuel 15 in the LBA

2 Samuel 15 in the LBLA

2 Samuel 15 in the LNT

2 Samuel 15 in the LSV

2 Samuel 15 in the MAAL

2 Samuel 15 in the MBV

2 Samuel 15 in the MBV2

2 Samuel 15 in the MHNT

2 Samuel 15 in the MKNFD

2 Samuel 15 in the MNG

2 Samuel 15 in the MNT

2 Samuel 15 in the MNT2

2 Samuel 15 in the MRS1T

2 Samuel 15 in the NAA

2 Samuel 15 in the NASB

2 Samuel 15 in the NBLA

2 Samuel 15 in the NBS

2 Samuel 15 in the NBVTP

2 Samuel 15 in the NET2

2 Samuel 15 in the NIV11

2 Samuel 15 in the NNT

2 Samuel 15 in the NNT2

2 Samuel 15 in the NNT3

2 Samuel 15 in the PDDPT

2 Samuel 15 in the PFNT

2 Samuel 15 in the RMNT

2 Samuel 15 in the SBIAS

2 Samuel 15 in the SBIBS

2 Samuel 15 in the SBIBS2

2 Samuel 15 in the SBICS

2 Samuel 15 in the SBIDS

2 Samuel 15 in the SBIGS

2 Samuel 15 in the SBIHS

2 Samuel 15 in the SBIIS

2 Samuel 15 in the SBIIS2

2 Samuel 15 in the SBIIS3

2 Samuel 15 in the SBIKS

2 Samuel 15 in the SBIKS2

2 Samuel 15 in the SBIMS

2 Samuel 15 in the SBIOS

2 Samuel 15 in the SBIPS

2 Samuel 15 in the SBISS

2 Samuel 15 in the SBITS

2 Samuel 15 in the SBITS2

2 Samuel 15 in the SBITS3

2 Samuel 15 in the SBITS4

2 Samuel 15 in the SBIUS

2 Samuel 15 in the SBIVS

2 Samuel 15 in the SBT

2 Samuel 15 in the SBT1E

2 Samuel 15 in the SCHL

2 Samuel 15 in the SNT

2 Samuel 15 in the SUSU

2 Samuel 15 in the SUSU2

2 Samuel 15 in the SYNO

2 Samuel 15 in the TBIAOTANT

2 Samuel 15 in the TBT1E

2 Samuel 15 in the TBT1E2

2 Samuel 15 in the TFTIP

2 Samuel 15 in the TFTU

2 Samuel 15 in the TGNTATF3T

2 Samuel 15 in the THAI

2 Samuel 15 in the TNFD

2 Samuel 15 in the TNT

2 Samuel 15 in the TNTIK

2 Samuel 15 in the TNTIL

2 Samuel 15 in the TNTIN

2 Samuel 15 in the TNTIP

2 Samuel 15 in the TNTIZ

2 Samuel 15 in the TOMA

2 Samuel 15 in the TTENT

2 Samuel 15 in the UBG

2 Samuel 15 in the UGV

2 Samuel 15 in the UGV2

2 Samuel 15 in the UGV3

2 Samuel 15 in the VBL

2 Samuel 15 in the VDCC

2 Samuel 15 in the YALU

2 Samuel 15 in the YAPE

2 Samuel 15 in the YBVTP

2 Samuel 15 in the ZBP