Daniel 7 (BOLCB)

1 Mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Berusazza kabaka w’e Babulooni, Danyeri n’aloota era n’ayolesebwa ng’agalamidde ku kitanda kye. N’awandiika byonna bye yaloota. 2 Danyeri n’ayogera nti, “Mu kwolesebwa kwange ekiro, nalaba empewo ez’omu ggulu nnya nga zisiikuula ennyanja ennene, 3 n’ensolo enkambwe nnya ez’ebika eby’enjawulo ne ziva mu nnyanja. 4 “Eyasooka yali mpologoma ng’erina ebiwaawaatiro eby’empungu. Awo bwe nnali nga nkyagitunuulira, ebiwaawaatiro byayo ne bigikuunyuukako, n’esitulibwa, n’eyimirira ku magulu abiri ng’omuntu, n’eweebwa omutima ogw’omuntu. 5 “Ate ne ndaba ensolo enkambwe eyookubiri, eyali ng’eddubu. N’esitulibwa ku luuyi olumu era yalina embiriizi ssatu mu kamwa kaayo, n’eragirwa nti, ‘Situka olye ennyama nnyingi.’ 6 “Oluvannyuma ne ndaba ensolo enkambwe endala eyali ng’engo, ng’erina ebiwaawaatiro bina eby’ennyonyi, ng’erina n’emitwe ena, n’eweebwa n’obuyinza okufuga. 7 “N’oluvannyuma mu kwolesebwa kwange ekiro, ne ndaba ensolo enkambwe eyokuna, nga ya ntiisa, nga ya buyinza era nga ya maanyi mangi nnyo. Yalina amannyo amanene ag’ekyuma, n’erya n’ebetenta, n’erinnyirira ebyasigalawo. Yali yanjawulo ku nsolo enkambwe endala, ng’erina n’amayembe kkumi. 8 “Awo bwe nnali nga nkyalowooza ku mayembe, ne walabika mu maaso gange ejjembe eddala, ettono, eryava mu ago; n’amayembe asatu ku ago ag’olubereberye ne gasimbulirwa ddala. Ejjembe eryo lyalina amaaso ng’ag’omuntu, n’akamwa akaayogeranga eby’okwegulumiza. 9 “Era nga nkyali awo ne ndaba,“entebe ez’obwakabaka nga ziteekeddwawo,n’Owedda n’Edda n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka.Ebyambalo bye byali byeru ng’omuzira,n’enviiri ez’oku mutwe gwe nga njeru ng’ebyoya by’endiga.Entebe ye ey’obwakabaka yali eyakaayakana ng’ennimi z’omuliro,ne namuziga zaayo nga zaaka omuliro. 10 Omugga gw’omuliro nga gukulukuta,nga gukulukutira awo mu maaso ge.Abantu nkumi na nkumi baamuweerezanga,n’emitwalo n’emitwalo baayimiriranga mu maaso ge.Okuwozesa emisango ne kutandika,ebitabo ne bibikkulwa. 11 “Awo ne neyongera okwetegereza ebigambo eby’okwegulumiza, ejjembe lye byayogeranga. Ne ntunula okutuusa ensolo enkambwe bwe yafumitibwa n’ettibwa, n’esuulibwa mu muliro, n’ezikirizibwa. 12 Ensolo enkambwe endala zo zaggibwako obuyinza bwazo, kyokka ennaku zaazo ne zongerwako. 13 “Mu kwolesebwa okwo ekiro ne ndaba, laba, omuntu eyafaanana ng’omwana w’omuntu, ng’ajja n’ebire eby’omu ggulu. N’ajja okumpi n’Owedda n’Edda, n’asembezebwa mu maaso ge. 14 N’aweebwa obuyinza, n’ekitiibwa, n’obwakabaka n’amaanyi agava waggulu; abantu bonna, n’amawanga gonna, n’abantu ab’ennimi zonna ne bamusinzanga. Okufuga kwe kwa mirembe na mirembe, tekuliggwaawo, n’obwakabaka bwe tebulizikirizibwa. 15 “Nze Danyeri ne ntawaanyizibwa mu mutima, n’okwolesebwa kwe nafuna ne kunneeraliikiriza. 16 Ne nsemberera omu ku baali bayimiridde awo ne mubuuza amakulu g’ebyo byonna.“N’antegeeza amakulu g’ebintu ebyo, n’aŋŋamba nti, 17 ‘Ensolo enkambwe ezo ennya, be bakabaka abana abalisibuka mu nsi. 18 Naye abatukuvu ab’Oyo Ali Waggulu Ennyo baliweebwa obwakabaka, era buliba bwabwe emirembe n’emirembe, weewaawo okutuusa emirembe gyonna.’ 19 “Awo ne njagala okumanya ensolo enkambwe eyokuna ky’etegeeza, etaafaanana ng’endala zonna, eyali ey’entiisa ennyo, amannyo gaayo nga ga kyuma, n’enjala zaayo nga za kikomo, eyabetenta, n’emenyaamenya era n’erinnyirira ezaasigalawo. 20 Ate ne njagala n’okumanya ku by’amayembe ekkumi agaali ku mutwe gwayo, ne ku by’ejjembe liri eddala eryasibuka wakati mu go, asatu ne galivuunamira, ejjembe eryo lye lyalina amaaso n’akamwa akayogeranga eby’okwegulumiza, era mu buyinza nga lirabika okusinga ganne gaalyo. 21 Awo bwe nnali nkyatunula, ejjembe eryo ne lirwana n’abatukuvu ne lyagala okubawangula, 22 okutuusa ow’Edda n’Edda bwe yajja n’asala omusango, abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu Ennyo ne bagusinga, era n’ekiseera ne kituuka ne baweebwa obwakabaka. 23 “N’annyinnyonnyola nti, ‘Ensolo enkambwe eyokuna bwe bwakabaka obwokuna obulirabika ku nsi, era tebulifaanana ng’obwakabaka obulala; era bulirya ensi yonna, ne bugirinnyirira ne bugibetentabetenta. 24 Amayembe ekkumi, be bakabaka ekkumi abaliva mu bwakabaka obwo, era walirabikawo n’omulala oluvannyuma lw’abo, atalifaanana ng’aboolubereberye. Aliwangula bakabaka basatu. 25 Alyogera ebigambo ebibi ku Oyo Ali Waggulu Ennyo, era aligezaako okukyusakyusa ebiseera ebyateekebwawo n’amateeka agassibwawo. Era abatukuvu baliweebwayo mu mukono gwe okufugibwa okumala emyaka esatu n’ekitundu. 26 “ ‘Kyokka oluvannyuma omusango gulisalibwa, n’obuyinza bwe ne bumuggyibwako, ne buzikiririzibwa ddala. 27 N’oluvannyuma ekitiibwa, n’obuyinza n’obukulu obw’obwakabaka obuli wansi w’eggulu, buliweebwa abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu Ennyo. Obwakabaka bwe bulibeerawo emirembe gyonna, n’amatwale amalala gonna galimugondera ne gamuweereza.’ 28 “Ebigambo ebyo wano we bikoma. Naye nze Danyeri natawaanyizibwa nnyo mu mutima, n’amaaso gange ne gammyuka, naye ensonga ezo ne nzeekuuma.”

In Other Versions

Daniel 7 in the ANGEFD

Daniel 7 in the ANTPNG2D

Daniel 7 in the AS21

Daniel 7 in the BAGH

Daniel 7 in the BBPNG

Daniel 7 in the BBT1E

Daniel 7 in the BDS

Daniel 7 in the BEV

Daniel 7 in the BHAD

Daniel 7 in the BIB

Daniel 7 in the BLPT

Daniel 7 in the BNT

Daniel 7 in the BNTABOOT

Daniel 7 in the BNTLV

Daniel 7 in the BOATCB

Daniel 7 in the BOATCB2

Daniel 7 in the BOBCV

Daniel 7 in the BOCNT

Daniel 7 in the BOECS

Daniel 7 in the BOGWICC

Daniel 7 in the BOHCB

Daniel 7 in the BOHCV

Daniel 7 in the BOHLNT

Daniel 7 in the BOHNTLTAL

Daniel 7 in the BOICB

Daniel 7 in the BOILNTAP

Daniel 7 in the BOITCV

Daniel 7 in the BOKCV

Daniel 7 in the BOKCV2

Daniel 7 in the BOKHWOG

Daniel 7 in the BOKSSV

Daniel 7 in the BOLCB2

Daniel 7 in the BOMCV

Daniel 7 in the BONAV

Daniel 7 in the BONCB

Daniel 7 in the BONLT

Daniel 7 in the BONUT2

Daniel 7 in the BOPLNT

Daniel 7 in the BOSCB

Daniel 7 in the BOSNC

Daniel 7 in the BOTLNT

Daniel 7 in the BOVCB

Daniel 7 in the BOYCB

Daniel 7 in the BPBB

Daniel 7 in the BPH

Daniel 7 in the BSB

Daniel 7 in the CCB

Daniel 7 in the CUV

Daniel 7 in the CUVS

Daniel 7 in the DBT

Daniel 7 in the DGDNT

Daniel 7 in the DHNT

Daniel 7 in the DNT

Daniel 7 in the ELBE

Daniel 7 in the EMTV

Daniel 7 in the ESV

Daniel 7 in the FBV

Daniel 7 in the FEB

Daniel 7 in the GGMNT

Daniel 7 in the GNT

Daniel 7 in the HARY

Daniel 7 in the HNT

Daniel 7 in the IRVA

Daniel 7 in the IRVB

Daniel 7 in the IRVG

Daniel 7 in the IRVH

Daniel 7 in the IRVK

Daniel 7 in the IRVM

Daniel 7 in the IRVM2

Daniel 7 in the IRVO

Daniel 7 in the IRVP

Daniel 7 in the IRVT

Daniel 7 in the IRVT2

Daniel 7 in the IRVU

Daniel 7 in the ISVN

Daniel 7 in the JSNT

Daniel 7 in the KAPI

Daniel 7 in the KBT1ETNIK

Daniel 7 in the KBV

Daniel 7 in the KJV

Daniel 7 in the KNFD

Daniel 7 in the LBA

Daniel 7 in the LBLA

Daniel 7 in the LNT

Daniel 7 in the LSV

Daniel 7 in the MAAL

Daniel 7 in the MBV

Daniel 7 in the MBV2

Daniel 7 in the MHNT

Daniel 7 in the MKNFD

Daniel 7 in the MNG

Daniel 7 in the MNT

Daniel 7 in the MNT2

Daniel 7 in the MRS1T

Daniel 7 in the NAA

Daniel 7 in the NASB

Daniel 7 in the NBLA

Daniel 7 in the NBS

Daniel 7 in the NBVTP

Daniel 7 in the NET2

Daniel 7 in the NIV11

Daniel 7 in the NNT

Daniel 7 in the NNT2

Daniel 7 in the NNT3

Daniel 7 in the PDDPT

Daniel 7 in the PFNT

Daniel 7 in the RMNT

Daniel 7 in the SBIAS

Daniel 7 in the SBIBS

Daniel 7 in the SBIBS2

Daniel 7 in the SBICS

Daniel 7 in the SBIDS

Daniel 7 in the SBIGS

Daniel 7 in the SBIHS

Daniel 7 in the SBIIS

Daniel 7 in the SBIIS2

Daniel 7 in the SBIIS3

Daniel 7 in the SBIKS

Daniel 7 in the SBIKS2

Daniel 7 in the SBIMS

Daniel 7 in the SBIOS

Daniel 7 in the SBIPS

Daniel 7 in the SBISS

Daniel 7 in the SBITS

Daniel 7 in the SBITS2

Daniel 7 in the SBITS3

Daniel 7 in the SBITS4

Daniel 7 in the SBIUS

Daniel 7 in the SBIVS

Daniel 7 in the SBT

Daniel 7 in the SBT1E

Daniel 7 in the SCHL

Daniel 7 in the SNT

Daniel 7 in the SUSU

Daniel 7 in the SUSU2

Daniel 7 in the SYNO

Daniel 7 in the TBIAOTANT

Daniel 7 in the TBT1E

Daniel 7 in the TBT1E2

Daniel 7 in the TFTIP

Daniel 7 in the TFTU

Daniel 7 in the TGNTATF3T

Daniel 7 in the THAI

Daniel 7 in the TNFD

Daniel 7 in the TNT

Daniel 7 in the TNTIK

Daniel 7 in the TNTIL

Daniel 7 in the TNTIN

Daniel 7 in the TNTIP

Daniel 7 in the TNTIZ

Daniel 7 in the TOMA

Daniel 7 in the TTENT

Daniel 7 in the UBG

Daniel 7 in the UGV

Daniel 7 in the UGV2

Daniel 7 in the UGV3

Daniel 7 in the VBL

Daniel 7 in the VDCC

Daniel 7 in the YALU

Daniel 7 in the YAPE

Daniel 7 in the YBVTP

Daniel 7 in the ZBP