Deuteronomy 12 (BOLCB)

1 Gano ge mateeka n’ebiragiro bye musaana okukwatanga n’obwegendereza, nga muli mu nsi MUKAMA Katonda wa bajjajjaabo gy’akuwadde okubeera obutaka bwo ebbanga lyonna lye mulimala ku nsi. 2 Muzikiririzanga ddala ebifo byonna ebiri ku gasozi ne ku nsozi, ne wansi w’agati aganene, 3 bannaggwanga be mugenda okutwalako ensi yaabwe gye basinziza; n’amayinja gaabwe mugaasaayasanga, n’empagi zaabwe eza Asera mulizimenyaamenya ne muzookya mu muliro; n’ebibajje ebya bakatonda baabwe mubitemaatemanga n’amannya gaabwe mu bifo ebyo ne mugasanguliramu ddala. 4 MUKAMA Katonda wammwe, ye temumusinzanga mu ngeri eyo nga bali bwe bakola. 5 Mmwe munoonyanga mu bika byammwe byonna, ekifo MUKAMA Katonda wammwe ky’alibalondera we munaateekanga Erinnya lye ne mumuzimbira awo ennyumba ye ey’okubeerangamu. Mu kifo ekyo gye munaagendanga okumusinza; 6 awo we munaaleetanga ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ne biweebwayo ebirala, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n’ebirabo eby’enjawulo, n’obweyamo bwammwe, n’ebiweebwayo ebya kyeyagalire, n’ebibereberye eby’omu bisibo byammwe n’eby’omu biraalo byammwe. 7 Mmwe n’ab’omu nnyumba zammwe munaaliiranga mu maaso ga MUKAMA Katonda wammwe, munaasanyukanga ne mwenyumirizanga mu buli kintu kyonna kye munaabanga mukoze n’emikono gyammwe, kubanga MUKAMA Katonda wo anaabanga akuwadde omukisa. 8 Temukolanga nga bwe tukola wano leero, nga buli omu akola nga bw’alaba ekisaanidde, 9 kubanga temunnatuuka mu kiwummulo ne mu busika MUKAMA Katonda wammwe bw’abawa. 10 Naye bwe mulimala okusomoka omugga Yoludaani, ne mubeera mu nsi MUKAMA Katonda wammwe gy’abawa nga bwe busika bwammwe, ng’abawadde n’okuwummula, nga temukyataataaganyizibwa balabe bammwe abanaabanga babeetoolodde n’okutuula ne mutuulanga mu mirembe; 11 kale nno, mu kifo ekyo MUKAMA Katonda wammwe kyanaabanga yeerondedde okutuuzanga omwo Erinnya lye, omwo mwe munaaleetanga buli kintu kyonna kye mbalagira: ebiweebwayo byammwe ebyokebwa, n’ebiweebwayo ebirala, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n’ebirabo eby’enjawulo, n’ebirabo ebisinga obulungi mu bintu byammwe bye munaabanga mweyamye okuwaayo eri MUKAMA. 12 Munaasanyukiranga awo mu maaso ga MUKAMA Katonda wammwe, mmwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, n’abaweereza bammwe abasajja, n’abaweereza bammwe abakazi, n’Abaleevi ab’omu bibuga byammwe, kubanga bo ku bwabwe tebalifuna mugabo oba obusika okufaanana nga mmwe. 13 Weekuumanga n’otaweerayo biweebwayo by’omu buli kifo kyonna ky’onoolabanga. 14 Obiweerengayo mu kifo ekyo ekimu kyokka MUKAMA ky’anaakulonderanga okuva mu kimu ku bika byo; era omwo mw’onookoleranga ebyo byonna bye nkulagira. 15 Naye onettiranga ku bisolo ebinaabanga mu bibuga byo, oba mpeewo oba njaza, n’olya ennyama nnyingi nga bw’onooyagalanga, ng’omukisa bwe guli MUKAMA Katonda wo gw’anaakuwanga. Abalongoofu mu by’emikolo n’abatali balongoofu, bonna banaalyanga. 16 Wabula omusaayi temugulyanga; munaaguyiwanga wansi ku ttaka ng’amazzi. 17 Mu bibuga byo toliirangamu kitundu ekimu eky’ekkumi eky’emmere yo ey’empeke, oba ekya wayini wo, oba eky’amafuta go; oba ebibereberye eby’omu bisibo byo n’eby’omu biraalo byo, oba n’obweyamo bwo oba n’ebiweebwayo ebya kyeyagalire; wadde n’ebirabo ebitali bya bulijjo. 18 Onoobiriiranga mu maaso ga MUKAMA Katonda wo, mu kifo ekyo MUKAMA Katonda wo ky’anaabanga akulondedde; ggwe, ne mutabani wo, ne muwala wo, n’omuweereza wo omusajja n’omuweereza wo omukazi, n’Omuleevi anaabanga mu bibuga byo, era onoosanyukiranga mu maaso ga MUKAMA Katonda wo mu buli kintu kyonna ky’onoobanga okoze n’emikono gyo. 19 Weekuumanga nnyo obutalagajjaliranga Muleevi ebbanga lyonna ly’olimala ng’oli mulamu ku nsi. 20 MUKAMA Katonda wo bw’aligaziya amatwale go, nga bwe yakusuubiza, n’oyoyanga okulya ku nnyama ng’ogamba nti, “Nandiyagadde okulya ku nnyama.” Kale, onoolyanga ennyama ennyingi nga bw’onooyagalanga. 21 Ekifo, MUKAMA Katonda wo ky’anaabanga akulondedde okuteekamu Erinnya lye, bwe kinaabanga kiri wala n’ewuwo kale onooyinzanga okutta ku zimu ku nsolo ez’omu bisibo byo ne mu biraalo byo MUKAMA by’anaabanga akuwadde, nga bwe nkulagidde; era mu bibuga byo onooyinzanga okulya ennyama ennyingi nga bw’onooyagalanga. 22 Onoogiryanga nga bw’onoolyanga empeewo n’enjaza. Abalongoofu n’abatali balongoofu bonna banaalyanga. 23 Naye weekuumenga obutalyanga musaayi; kubanga omusaayi bwe bulamu, ate nga tekikugwaniranga kulyanga bulamu ng’olya ennyama. 24 Togulyanga; oguyiwanga wansi ku ttaka ng’amazzi. 25 Togulyanga, olyoke obeerenga mu ddembe, ggwe, n’abaana bo, ng’okoze ebituufu mu maaso ga MUKAMA. 26 Naye ebintu byo ebitukuvu ne byonna by’oneeyamanga okuwaayo, onoobiddiranga n’obitwalanga mu kifo MUKAMA ky’anaabanga akulondedde. 27 Onooleetanga ebiweebwayo byo ebyokebwa, ennyama n’omusaayi, ku Kyoto kya MUKAMA Katonda wo. Omusaayi gw’ebiweebwayo byo ebirala gunaafukibwanga ku Kyoto kya MUKAMA Katonda wo, naye ennyama onooyinzanga okugirya. 28 Weegenderezenga okugoberera ebiragiro bino byonna bye nkuwa, olyoke obeenga bulungi, ggwe, n’abaana bo, oluvannyuma lwo, emirembe gyonna, kubanga onoobanga okoze ekituufu mu maaso ga MUKAMA Katonda wo. 29 Amawanga ago g’ogenda okulumba ogatwaleko ensi yaabwe, MUKAMA agenda kugazikiriza nga naawe olaba. Naye bw’obanga omaze okubagoba mu nsi yaabwe, n’okugibeeramu n’ogibeeramu, 30 era ng’amawanga ago gamaze okuzikirizibwa nga naawe olaba, weekuumanga n’otabuuliriza ku bya bakatonda baabwe ng’ogamba nti, “Ab’omu mawanga ago baasinzanga batya bakatonda baabwe, nange njagala nkole bwe ntyo?” 31 MUKAMA Katonda wo tomusinzanga mu ngeri efaanana ng’eya bali, kubanga mu kusinza bakatonda baabwe bakoleramu ebikolobero bingi MUKAMA by’atayagala, by’akyawa. Bayokya ne batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro nga ssaddaaka eri bakatonda baabwe. 32 Kibagwanidde okunyiikiranga okukolanga buli kintu kye mbalagira, tokyongerangako wadde okukikendeezangako.

In Other Versions

Deuteronomy 12 in the ANGEFD

Deuteronomy 12 in the ANTPNG2D

Deuteronomy 12 in the AS21

Deuteronomy 12 in the BAGH

Deuteronomy 12 in the BBPNG

Deuteronomy 12 in the BBT1E

Deuteronomy 12 in the BDS

Deuteronomy 12 in the BEV

Deuteronomy 12 in the BHAD

Deuteronomy 12 in the BIB

Deuteronomy 12 in the BLPT

Deuteronomy 12 in the BNT

Deuteronomy 12 in the BNTABOOT

Deuteronomy 12 in the BNTLV

Deuteronomy 12 in the BOATCB

Deuteronomy 12 in the BOATCB2

Deuteronomy 12 in the BOBCV

Deuteronomy 12 in the BOCNT

Deuteronomy 12 in the BOECS

Deuteronomy 12 in the BOGWICC

Deuteronomy 12 in the BOHCB

Deuteronomy 12 in the BOHCV

Deuteronomy 12 in the BOHLNT

Deuteronomy 12 in the BOHNTLTAL

Deuteronomy 12 in the BOICB

Deuteronomy 12 in the BOILNTAP

Deuteronomy 12 in the BOITCV

Deuteronomy 12 in the BOKCV

Deuteronomy 12 in the BOKCV2

Deuteronomy 12 in the BOKHWOG

Deuteronomy 12 in the BOKSSV

Deuteronomy 12 in the BOLCB2

Deuteronomy 12 in the BOMCV

Deuteronomy 12 in the BONAV

Deuteronomy 12 in the BONCB

Deuteronomy 12 in the BONLT

Deuteronomy 12 in the BONUT2

Deuteronomy 12 in the BOPLNT

Deuteronomy 12 in the BOSCB

Deuteronomy 12 in the BOSNC

Deuteronomy 12 in the BOTLNT

Deuteronomy 12 in the BOVCB

Deuteronomy 12 in the BOYCB

Deuteronomy 12 in the BPBB

Deuteronomy 12 in the BPH

Deuteronomy 12 in the BSB

Deuteronomy 12 in the CCB

Deuteronomy 12 in the CUV

Deuteronomy 12 in the CUVS

Deuteronomy 12 in the DBT

Deuteronomy 12 in the DGDNT

Deuteronomy 12 in the DHNT

Deuteronomy 12 in the DNT

Deuteronomy 12 in the ELBE

Deuteronomy 12 in the EMTV

Deuteronomy 12 in the ESV

Deuteronomy 12 in the FBV

Deuteronomy 12 in the FEB

Deuteronomy 12 in the GGMNT

Deuteronomy 12 in the GNT

Deuteronomy 12 in the HARY

Deuteronomy 12 in the HNT

Deuteronomy 12 in the IRVA

Deuteronomy 12 in the IRVB

Deuteronomy 12 in the IRVG

Deuteronomy 12 in the IRVH

Deuteronomy 12 in the IRVK

Deuteronomy 12 in the IRVM

Deuteronomy 12 in the IRVM2

Deuteronomy 12 in the IRVO

Deuteronomy 12 in the IRVP

Deuteronomy 12 in the IRVT

Deuteronomy 12 in the IRVT2

Deuteronomy 12 in the IRVU

Deuteronomy 12 in the ISVN

Deuteronomy 12 in the JSNT

Deuteronomy 12 in the KAPI

Deuteronomy 12 in the KBT1ETNIK

Deuteronomy 12 in the KBV

Deuteronomy 12 in the KJV

Deuteronomy 12 in the KNFD

Deuteronomy 12 in the LBA

Deuteronomy 12 in the LBLA

Deuteronomy 12 in the LNT

Deuteronomy 12 in the LSV

Deuteronomy 12 in the MAAL

Deuteronomy 12 in the MBV

Deuteronomy 12 in the MBV2

Deuteronomy 12 in the MHNT

Deuteronomy 12 in the MKNFD

Deuteronomy 12 in the MNG

Deuteronomy 12 in the MNT

Deuteronomy 12 in the MNT2

Deuteronomy 12 in the MRS1T

Deuteronomy 12 in the NAA

Deuteronomy 12 in the NASB

Deuteronomy 12 in the NBLA

Deuteronomy 12 in the NBS

Deuteronomy 12 in the NBVTP

Deuteronomy 12 in the NET2

Deuteronomy 12 in the NIV11

Deuteronomy 12 in the NNT

Deuteronomy 12 in the NNT2

Deuteronomy 12 in the NNT3

Deuteronomy 12 in the PDDPT

Deuteronomy 12 in the PFNT

Deuteronomy 12 in the RMNT

Deuteronomy 12 in the SBIAS

Deuteronomy 12 in the SBIBS

Deuteronomy 12 in the SBIBS2

Deuteronomy 12 in the SBICS

Deuteronomy 12 in the SBIDS

Deuteronomy 12 in the SBIGS

Deuteronomy 12 in the SBIHS

Deuteronomy 12 in the SBIIS

Deuteronomy 12 in the SBIIS2

Deuteronomy 12 in the SBIIS3

Deuteronomy 12 in the SBIKS

Deuteronomy 12 in the SBIKS2

Deuteronomy 12 in the SBIMS

Deuteronomy 12 in the SBIOS

Deuteronomy 12 in the SBIPS

Deuteronomy 12 in the SBISS

Deuteronomy 12 in the SBITS

Deuteronomy 12 in the SBITS2

Deuteronomy 12 in the SBITS3

Deuteronomy 12 in the SBITS4

Deuteronomy 12 in the SBIUS

Deuteronomy 12 in the SBIVS

Deuteronomy 12 in the SBT

Deuteronomy 12 in the SBT1E

Deuteronomy 12 in the SCHL

Deuteronomy 12 in the SNT

Deuteronomy 12 in the SUSU

Deuteronomy 12 in the SUSU2

Deuteronomy 12 in the SYNO

Deuteronomy 12 in the TBIAOTANT

Deuteronomy 12 in the TBT1E

Deuteronomy 12 in the TBT1E2

Deuteronomy 12 in the TFTIP

Deuteronomy 12 in the TFTU

Deuteronomy 12 in the TGNTATF3T

Deuteronomy 12 in the THAI

Deuteronomy 12 in the TNFD

Deuteronomy 12 in the TNT

Deuteronomy 12 in the TNTIK

Deuteronomy 12 in the TNTIL

Deuteronomy 12 in the TNTIN

Deuteronomy 12 in the TNTIP

Deuteronomy 12 in the TNTIZ

Deuteronomy 12 in the TOMA

Deuteronomy 12 in the TTENT

Deuteronomy 12 in the UBG

Deuteronomy 12 in the UGV

Deuteronomy 12 in the UGV2

Deuteronomy 12 in the UGV3

Deuteronomy 12 in the VBL

Deuteronomy 12 in the VDCC

Deuteronomy 12 in the YALU

Deuteronomy 12 in the YAPE

Deuteronomy 12 in the YBVTP

Deuteronomy 12 in the ZBP