Deuteronomy 20 (BOLCB)
1 Bw’onoobanga ogenze okutabaala abalabe bo, n’olaba embalaasi n’amagaali n’eggye eddene okukira eriryo, tobatyanga; kubanga MUKAMA Katonda wo, eyakuggya mu nsi y’e Misiri, anaabanga naawe. 2 Bwe munaabanga muli kumpi okutandika okulwana, kabona anajjanga n’ayogera eri eggye ly’abaserikale, 3 n’abagamba nti, “Wulira, Ayi Isirayiri! Olwa leero mugenda okutandika okulwana n’abalabe bammwe. Temuggwaamu mutima, so temutiitiira wadde okubatya. 4 Kubanga MUKAMA Katonda wammwe y’anaagendanga nammwe okubalwanirira ng’alwanyisanga abalabe bammwe, n’okubawanga mmwe obuwanguzi.” 5 Abaami banaayogeranga eri eggye nga bagamba nti, “Waliwo mu mmwe alina ennyumba empya gye yeezimbira naye nga tennatukuzibwa? Kimusanidde addeyo mu nnyumba ye, si kulwa ng’afiira mu lutalo, omulala n’agitukuza. 6 Waliwo mu mmwe eyalima ennimiro y’emizabbibu naye nga tannatandika kulya ku bibala byamu? Kimusaanidde addeyo mu maka ge, si kulwa ng’afiira mu lutalo, omuntu omulala n’alya ebibala byamu. 7 Waliwo mu mmwe eyali ayogereza omukazi, naye nga tannamuwasa? Kimugwanidde addeyo mu maka ge, si kulwa ng’afiira mu lutalo, omuntu omulala n’awasa omukazi oyo.” 8 Abaami banaayongeranga okwogera eri eggye nga bagamba nti, “Waliwo mu mmwe omutiitiizi, oba aweddemu amaanyi mu mutima? Kimusaanidde addeyo mu maka ge, si kulwa ng’aleetera banne omutima omutiitiizi.” 9 Abaami bwe banaamalanga okwogera eri eggye, banaalondanga abakulu mu balwanyi abanaakulemberanga eggye eryo. 10 Bw’onoosembereranga ekibuga ng’ogenda okukirwanyisa, osookanga kulangirira mirembe eri abantu baamu. 11 Bwe banakkirizanga emirembe, ne bakuggulirawo emiryango gy’ekibuga kyabwe, kale abantu baamu bonna banaafuukanga baweereza bo, okukukoleranga byonna nga bw’onooyagalanga. 12 Naye ekibuga ekyo bwe kinaagaananga okukkiriza emirembe, ne kisalawo okukulwanyisa, onookyebungululanga n’okizingiza. 13 MUKAMA Katonda wo bw’anaakigabulanga mu mukono gwo, onottanga n’ekitala buli musajja yenna. 14 Kyokka abakazi n’abaana abato, n’ebisibo by’ensolo, n’ebintu byonna ebinaabanga mu kibuga omwo, onoobyetwaliranga ng’omunyago gwo. Era onookozesanga nga bw’onooyagalanga omunyago gwonna ogunaavanga mu balabe bo MUKAMA Katonda wo gw’anaabanga akuwadde. 15 Bw’otyo bw’onookolanga ebibuga byonna ebinaakubeeranga ewala ennyo, ebitaabenga bibuga bya mawanga gano. 16 Naye mu bibuga bino MUKAMA Katonda wo by’akuwa okuba obusika bwo obw’enkalakkalira, tewaabeerengawo kintu n’ekimu ky’onoolekangamu nga kissa omukka, byonna onoobizikiririzanga ddala. 17 Abakiiti, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi, onoobamalirangawo ddala, nga MUKAMA Katonda wo bw’akulagidde, 18 balemenga kubayigiriza bikolobero bye bakola nga basinza bakatonda baabwe, bwe mutyo nammwe ne mwonoonanga eri MUKAMA Katonda wammwe. 19 Bw’onoozingizanga ekibuga, ng’olwana nakyo, okumala ebbanga eddene olyoke okiwangule, toddiranga mbazzi n’ozikiriza emiti gyakyo gyonna, kubanga ojjanga kwetaaga okulyanga ku bibala byagyo. Togitemanga. Emiti egy’omu nnimiro nagyo bantu olyoke ogizingize? 20 Naye emiti gy’omanyi nga si gya bibala, egyo onoogitemanga olyoke ogikozesenga okuzimba ekisenge kw’onoosinziiranga okulwananga n’ekibuga ky’onoobanga ozingizza, okutuusa lwe kinaagwanga.
In Other Versions
Deuteronomy 20 in the ANGEFD
Deuteronomy 20 in the ANTPNG2D
Deuteronomy 20 in the AS21
Deuteronomy 20 in the BAGH
Deuteronomy 20 in the BBPNG
Deuteronomy 20 in the BBT1E
Deuteronomy 20 in the BDS
Deuteronomy 20 in the BEV
Deuteronomy 20 in the BHAD
Deuteronomy 20 in the BIB
Deuteronomy 20 in the BLPT
Deuteronomy 20 in the BNT
Deuteronomy 20 in the BNTABOOT
Deuteronomy 20 in the BNTLV
Deuteronomy 20 in the BOATCB
Deuteronomy 20 in the BOATCB2
Deuteronomy 20 in the BOBCV
Deuteronomy 20 in the BOCNT
Deuteronomy 20 in the BOECS
Deuteronomy 20 in the BOGWICC
Deuteronomy 20 in the BOHCB
Deuteronomy 20 in the BOHCV
Deuteronomy 20 in the BOHLNT
Deuteronomy 20 in the BOHNTLTAL
Deuteronomy 20 in the BOICB
Deuteronomy 20 in the BOILNTAP
Deuteronomy 20 in the BOITCV
Deuteronomy 20 in the BOKCV
Deuteronomy 20 in the BOKCV2
Deuteronomy 20 in the BOKHWOG
Deuteronomy 20 in the BOKSSV
Deuteronomy 20 in the BOLCB2
Deuteronomy 20 in the BOMCV
Deuteronomy 20 in the BONAV
Deuteronomy 20 in the BONCB
Deuteronomy 20 in the BONLT
Deuteronomy 20 in the BONUT2
Deuteronomy 20 in the BOPLNT
Deuteronomy 20 in the BOSCB
Deuteronomy 20 in the BOSNC
Deuteronomy 20 in the BOTLNT
Deuteronomy 20 in the BOVCB
Deuteronomy 20 in the BOYCB
Deuteronomy 20 in the BPBB
Deuteronomy 20 in the BPH
Deuteronomy 20 in the BSB
Deuteronomy 20 in the CCB
Deuteronomy 20 in the CUV
Deuteronomy 20 in the CUVS
Deuteronomy 20 in the DBT
Deuteronomy 20 in the DGDNT
Deuteronomy 20 in the DHNT
Deuteronomy 20 in the DNT
Deuteronomy 20 in the ELBE
Deuteronomy 20 in the EMTV
Deuteronomy 20 in the ESV
Deuteronomy 20 in the FBV
Deuteronomy 20 in the FEB
Deuteronomy 20 in the GGMNT
Deuteronomy 20 in the GNT
Deuteronomy 20 in the HARY
Deuteronomy 20 in the HNT
Deuteronomy 20 in the IRVA
Deuteronomy 20 in the IRVB
Deuteronomy 20 in the IRVG
Deuteronomy 20 in the IRVH
Deuteronomy 20 in the IRVK
Deuteronomy 20 in the IRVM
Deuteronomy 20 in the IRVM2
Deuteronomy 20 in the IRVO
Deuteronomy 20 in the IRVP
Deuteronomy 20 in the IRVT
Deuteronomy 20 in the IRVT2
Deuteronomy 20 in the IRVU
Deuteronomy 20 in the ISVN
Deuteronomy 20 in the JSNT
Deuteronomy 20 in the KAPI
Deuteronomy 20 in the KBT1ETNIK
Deuteronomy 20 in the KBV
Deuteronomy 20 in the KJV
Deuteronomy 20 in the KNFD
Deuteronomy 20 in the LBA
Deuteronomy 20 in the LBLA
Deuteronomy 20 in the LNT
Deuteronomy 20 in the LSV
Deuteronomy 20 in the MAAL
Deuteronomy 20 in the MBV
Deuteronomy 20 in the MBV2
Deuteronomy 20 in the MHNT
Deuteronomy 20 in the MKNFD
Deuteronomy 20 in the MNG
Deuteronomy 20 in the MNT
Deuteronomy 20 in the MNT2
Deuteronomy 20 in the MRS1T
Deuteronomy 20 in the NAA
Deuteronomy 20 in the NASB
Deuteronomy 20 in the NBLA
Deuteronomy 20 in the NBS
Deuteronomy 20 in the NBVTP
Deuteronomy 20 in the NET2
Deuteronomy 20 in the NIV11
Deuteronomy 20 in the NNT
Deuteronomy 20 in the NNT2
Deuteronomy 20 in the NNT3
Deuteronomy 20 in the PDDPT
Deuteronomy 20 in the PFNT
Deuteronomy 20 in the RMNT
Deuteronomy 20 in the SBIAS
Deuteronomy 20 in the SBIBS
Deuteronomy 20 in the SBIBS2
Deuteronomy 20 in the SBICS
Deuteronomy 20 in the SBIDS
Deuteronomy 20 in the SBIGS
Deuteronomy 20 in the SBIHS
Deuteronomy 20 in the SBIIS
Deuteronomy 20 in the SBIIS2
Deuteronomy 20 in the SBIIS3
Deuteronomy 20 in the SBIKS
Deuteronomy 20 in the SBIKS2
Deuteronomy 20 in the SBIMS
Deuteronomy 20 in the SBIOS
Deuteronomy 20 in the SBIPS
Deuteronomy 20 in the SBISS
Deuteronomy 20 in the SBITS
Deuteronomy 20 in the SBITS2
Deuteronomy 20 in the SBITS3
Deuteronomy 20 in the SBITS4
Deuteronomy 20 in the SBIUS
Deuteronomy 20 in the SBIVS
Deuteronomy 20 in the SBT
Deuteronomy 20 in the SBT1E
Deuteronomy 20 in the SCHL
Deuteronomy 20 in the SNT
Deuteronomy 20 in the SUSU
Deuteronomy 20 in the SUSU2
Deuteronomy 20 in the SYNO
Deuteronomy 20 in the TBIAOTANT
Deuteronomy 20 in the TBT1E
Deuteronomy 20 in the TBT1E2
Deuteronomy 20 in the TFTIP
Deuteronomy 20 in the TFTU
Deuteronomy 20 in the TGNTATF3T
Deuteronomy 20 in the THAI
Deuteronomy 20 in the TNFD
Deuteronomy 20 in the TNT
Deuteronomy 20 in the TNTIK
Deuteronomy 20 in the TNTIL
Deuteronomy 20 in the TNTIN
Deuteronomy 20 in the TNTIP
Deuteronomy 20 in the TNTIZ
Deuteronomy 20 in the TOMA
Deuteronomy 20 in the TTENT
Deuteronomy 20 in the UBG
Deuteronomy 20 in the UGV
Deuteronomy 20 in the UGV2
Deuteronomy 20 in the UGV3
Deuteronomy 20 in the VBL
Deuteronomy 20 in the VDCC
Deuteronomy 20 in the YALU
Deuteronomy 20 in the YAPE
Deuteronomy 20 in the YBVTP
Deuteronomy 20 in the ZBP