Esther 1 (BOLCB)

1 Kino kye kyabaawo ku mirembe gya Akaswero, eyafuga amasaza kikumi mu abiri mu musanvu (127) okuva e Buyindi okutuuka e Buwesiyopya. 2 Mu kiseera ekyo Kabaka Akaswero we yafugira mu lubiri e Susani, 3 mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwe, yagabula abakungu n’abaami be abakulu embaga. Abaduumizi ba magye aga Buperusi ne Bumeedi, n’abalangira n’abakungu b’amasaza bonna baagiriko. 4 Yayolesa obugagga n’ekitiibwa n’ettendo eby’obwakabaka bwe okumala emyezi mukaaga. 5 Ennaku ezo bwe zaggwaako, Kabaka n’agabula abantu bonna okuva ku asemberayo ddala okutuuka ku asingirayo ddala ekitiibwa embaga endala eyali mu luggya, mu lubiri e Susani okumala ennaku musanvu. 6 Oluggya lwalimu entimbe ez’engoye enjeru n’eza bbululu, nga zisibiddwa n’emiguwa egya linena omulungi n’olugoye olwa kakobe nga lusibiddwa n’empeta eza ffeeza ku mpagi ez’amayinja aganyirira. Waaliwo n’ebitanda ebya zaabu n’effeeza ku lubalaza olwaliire n’amayinja aganyirira, amamyufu, n’ameeru, n’aga kyenvu n’amaddugavu. 7 Mu kugabula kwa kabaka, wayini yaweerezebwa mu bikopo bya zaabu, nga buli kimu tekifanagana na kinnaakyo, ne wayini wa Kabaka yali mungi ddala. 8 Buli mugenyi yanywanga nga bwe yayagala kubanga kabaka yalagira nti, “Buli mugenyi anywe nga bw’ayagala.” 9 Ne Nnabagereka Vasuti naye n’agabula abakyala embaga mu lubiri lwa Kabaka Akaswero. 10 Awo ku lunaku olwomusanvu, Kabaka Akaswero mu ssanyu lingi olwa wayini gwe yali anywedde, n’alagira abalaawe musanvu, abaamuweerezanga: Mekumani, ne Bizusa, ne Kalubona, ne Bigusa, ne Abagusa, ne Zesali ne Kalukasi, 11 okugenda okuyita Nnabagereka Vasuti ajje mu maaso ge ng’atikkiddwa engule eya Nnabagereka, asobole okulaga obubalagavu bwe eri abantu n’abakungu, kubanga yali mulungi, mubalagavu okukamala. 12 Naye abaweereza bwe baatuusa ekiragiro kya kabaka, Nnabagareka Vasuti n’agaana okugenda. Era ekyavaamu kabaka n’asunguwala, era obusungu bwe ne bubuubuuka. 13 Naye Kabaka yalina empisa ey’okwebuuzanga ku bakugu mu by’amateeka, era n’ateesa n’abasajja abagezigezi abategeera ebifa ku nsonga eyo. 14 Amannya ga bakungu abo abakulu omusanvu mu bwakabaka bwe Buperusi ne Bumeedi ge gano: Kalusena, ne Sesali, ne Adumasa, ne Talusiisi, ne Meresi, ne Malusema ne Memukani. Bano be baamubeeranga ku lusegere. 15 Awo Kabaka n’ababuuza nti, “Okusinziira ku mateeka, Nnabagereka Vasuti agwanidde kibonerezo ki olw’obutagondera kiragiro kya Kabaka Akaswero ekimutuusibbwako abalaawe?” 16 Memukani n’addamu Kabaka n’abakungu nti, “Nnabagereka Vasuti asobezza nnyo, ate si eri Kabaka yekka, naye n’eri abakungu n’abantu bonna ab’omu bitundu byonna Kabaka Akaswero by’afuga. 17 Era olw’enneeyisa Nnabagereka gye yeeyisizaamu, bwe kinaamanyibwa abakyala, nabo bajja kunyoomanga ba bbaabwe nga bagamba nti, ‘Nga Kabaka Akaswero yalagira Nnabagereka Vasuti okuleetebwa gy’ali, n’ajeema.’ 18 Era olunaku lwa leero abakyala bonna mu Buperusi ne Bumeedi aba bakungu abawulidde ku nneeyisa ya Nnabagereka bajjanga kweyisa mu ngeri y’emu eri abakungu ba Kabaka. Era obunyoomi wamu n’obutabanguko tebuggwengawo mu maka. 19 Noolwekyo Kabaka bw’anaasiima, awe ekiragiro, era kiwandiikibwe mu mateeka ga Buperusi ne Bumeedi agatakyuka, nti Vasuti aleme okujja nate mu maaso ga Kabaka Akaswero. Ate n’ekifo kye eky’Obwannabagereka, kiweebwe omukazi omulala amusinga. 20 Awo ekiragiro kya kabaka bwe kinaabuna mu bwakabaka bwonna, abakyala bonna banassangamu ba bbaabwe ekitiibwa okuva ku wawagulu okutuukira ddala ku wawansi asembayo.” 21 Ekigambo ekyo kyasanyusa nnyo Kabaka n’abakungu be, era Kabaka n’akola ng’ekiteeso kya Memukani bwe kyali. 22 N’aweereza obubaka eri ebitundu byonna eby’obwakabaka buli ssaza ebbaluwa yaayo, era buli bantu mu lulimi lwabwe nga bugamba nti buli musajja afugenga mu nnyumba ye.

In Other Versions

Esther 1 in the ANGEFD

Esther 1 in the ANTPNG2D

Esther 1 in the AS21

Esther 1 in the BAGH

Esther 1 in the BBPNG

Esther 1 in the BBT1E

Esther 1 in the BDS

Esther 1 in the BEV

Esther 1 in the BHAD

Esther 1 in the BIB

Esther 1 in the BLPT

Esther 1 in the BNT

Esther 1 in the BNTABOOT

Esther 1 in the BNTLV

Esther 1 in the BOATCB

Esther 1 in the BOATCB2

Esther 1 in the BOBCV

Esther 1 in the BOCNT

Esther 1 in the BOECS

Esther 1 in the BOGWICC

Esther 1 in the BOHCB

Esther 1 in the BOHCV

Esther 1 in the BOHLNT

Esther 1 in the BOHNTLTAL

Esther 1 in the BOICB

Esther 1 in the BOILNTAP

Esther 1 in the BOITCV

Esther 1 in the BOKCV

Esther 1 in the BOKCV2

Esther 1 in the BOKHWOG

Esther 1 in the BOKSSV

Esther 1 in the BOLCB2

Esther 1 in the BOMCV

Esther 1 in the BONAV

Esther 1 in the BONCB

Esther 1 in the BONLT

Esther 1 in the BONUT2

Esther 1 in the BOPLNT

Esther 1 in the BOSCB

Esther 1 in the BOSNC

Esther 1 in the BOTLNT

Esther 1 in the BOVCB

Esther 1 in the BOYCB

Esther 1 in the BPBB

Esther 1 in the BPH

Esther 1 in the BSB

Esther 1 in the CCB

Esther 1 in the CUV

Esther 1 in the CUVS

Esther 1 in the DBT

Esther 1 in the DGDNT

Esther 1 in the DHNT

Esther 1 in the DNT

Esther 1 in the ELBE

Esther 1 in the EMTV

Esther 1 in the ESV

Esther 1 in the FBV

Esther 1 in the FEB

Esther 1 in the GGMNT

Esther 1 in the GNT

Esther 1 in the HARY

Esther 1 in the HNT

Esther 1 in the IRVA

Esther 1 in the IRVB

Esther 1 in the IRVG

Esther 1 in the IRVH

Esther 1 in the IRVK

Esther 1 in the IRVM

Esther 1 in the IRVM2

Esther 1 in the IRVO

Esther 1 in the IRVP

Esther 1 in the IRVT

Esther 1 in the IRVT2

Esther 1 in the IRVU

Esther 1 in the ISVN

Esther 1 in the JSNT

Esther 1 in the KAPI

Esther 1 in the KBT1ETNIK

Esther 1 in the KBV

Esther 1 in the KJV

Esther 1 in the KNFD

Esther 1 in the LBA

Esther 1 in the LBLA

Esther 1 in the LNT

Esther 1 in the LSV

Esther 1 in the MAAL

Esther 1 in the MBV

Esther 1 in the MBV2

Esther 1 in the MHNT

Esther 1 in the MKNFD

Esther 1 in the MNG

Esther 1 in the MNT

Esther 1 in the MNT2

Esther 1 in the MRS1T

Esther 1 in the NAA

Esther 1 in the NASB

Esther 1 in the NBLA

Esther 1 in the NBS

Esther 1 in the NBVTP

Esther 1 in the NET2

Esther 1 in the NIV11

Esther 1 in the NNT

Esther 1 in the NNT2

Esther 1 in the NNT3

Esther 1 in the PDDPT

Esther 1 in the PFNT

Esther 1 in the RMNT

Esther 1 in the SBIAS

Esther 1 in the SBIBS

Esther 1 in the SBIBS2

Esther 1 in the SBICS

Esther 1 in the SBIDS

Esther 1 in the SBIGS

Esther 1 in the SBIHS

Esther 1 in the SBIIS

Esther 1 in the SBIIS2

Esther 1 in the SBIIS3

Esther 1 in the SBIKS

Esther 1 in the SBIKS2

Esther 1 in the SBIMS

Esther 1 in the SBIOS

Esther 1 in the SBIPS

Esther 1 in the SBISS

Esther 1 in the SBITS

Esther 1 in the SBITS2

Esther 1 in the SBITS3

Esther 1 in the SBITS4

Esther 1 in the SBIUS

Esther 1 in the SBIVS

Esther 1 in the SBT

Esther 1 in the SBT1E

Esther 1 in the SCHL

Esther 1 in the SNT

Esther 1 in the SUSU

Esther 1 in the SUSU2

Esther 1 in the SYNO

Esther 1 in the TBIAOTANT

Esther 1 in the TBT1E

Esther 1 in the TBT1E2

Esther 1 in the TFTIP

Esther 1 in the TFTU

Esther 1 in the TGNTATF3T

Esther 1 in the THAI

Esther 1 in the TNFD

Esther 1 in the TNT

Esther 1 in the TNTIK

Esther 1 in the TNTIL

Esther 1 in the TNTIN

Esther 1 in the TNTIP

Esther 1 in the TNTIZ

Esther 1 in the TOMA

Esther 1 in the TTENT

Esther 1 in the UBG

Esther 1 in the UGV

Esther 1 in the UGV2

Esther 1 in the UGV3

Esther 1 in the VBL

Esther 1 in the VDCC

Esther 1 in the YALU

Esther 1 in the YAPE

Esther 1 in the YBVTP

Esther 1 in the ZBP