Exodus 34 (BOLCB)

1 Awo MUKAMA n’agamba Musa nti, “Teekateeka ebipande bibiri eby’amayinja nga biri ebyasooka, nange nnaabiwandiikako ebigambo ebyali ku bipande ebyasooka bye wamenya. 2 Weetegeke mu makya, ojje mu makya ago olinnye waggulu ku lusozi Sinaayi, olyoke onneeyanjulire eyo ku ntikko y’olusozi. 3 Tewasaana kubaawo muntu ajja naawe, era ku lusozi wonna wonna tewasaana kulabikawo muntu n’omu; era n’amagana n’ebisibo by’endiga tebisaana kuliira mu maaso ga lusozi.” 4 Bw’atyo Musa n’atema mu mayinja ebipande bibiri nga bifaanana nga biri ebyasooka; n’akeera mu makya n’alinnya ku lusozi Sinaayi, nga MUKAMA bwe yamulagira, ng’asitudde n’ebipande eby’amayinja byombi mu mikono gye. 5 Awo MUKAMA n’akkira mu kire, n’ayimirira awo ne Musa, n’alangirira erinnya lye, MUKAMA. 6 MUKAMA n’ayita mu maaso ga Musa n’agamba nti, “Nze MUKAMA, MUKAMA Katonda alina ekisa n’okusaasira okungi, atasunguwala mangu, ajjudde obwesigwa n’okwagala okutaggwaawo. 7 Akuuma okwagala eri enkumi n’enkumi asonyiwa ebisobyo byabwe, n’obujeemu bwabwe, n’ebibi byabwe. Talema kubonereza oyo asingiddwa omusango. Abonereza abaana n’abazzukulu olw’ebisobyo bya bakadde baabwe n’ebya bajjajjaabwe, okutuukira ddala ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna.” 8 Amangwago Musa n’avuunama wansi, n’asinza. 9 N’agamba nti, “Obanga kaakano nkusanyusizza, Ayi Mukama, jjangu, Mukama, ogende naffe. Newaakubadde ng’abantu bano balina ensingo nkakanyavu, naye tusonyiwe ebyonoono byaffe n’ebibi byaffe, otukkirize tubeere abantu bo ab’obusika bwo.” 10 Awo MUKAMA n’addamu nti, “Laba, nkola naawe endagaano. Nzija kukolera mu bantu bo ebyamagero ebitakolwangako mu nsi yonna, wadde mu ggwanga lyonna. Abantu bonna b’oli nabo banaalaba eby’ekitalo MUKAMA by’anaakolera mu ggwe. 11 “Gondera bye nkulagira leero. Nange, gye mulaga, nzija kugobayo Abamoli, n’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi. 12 Kirungi weekuume oleme kukola ndagaano n’abatuuze ab’omu nsi gy’olagamu, kubanga bayinza okubafuukira omutego. 13 Olimenyaamenya ebyoto byabwe, obetente empagi zaabwe, n’otemaatema ebifaananyi byabwe ebibajje bye basinza. 14 Tosinzanga katonda mulala yenna, kubanga Nze MUKAMA, ayitibwa Waabuggya, ndi Katonda wa buggya. 15 “Temukolanga ndagaano ey’okukolagana n’abatuuze b’omu nsi omwo. Kubanga bwe baliba bagoberera bakatonda baabwe, nga bawaayo ssaddaaka, gamba omu ku bo n’abayita, mulirya ku biweebwayo byabwe ebyo. 16 Era bwe muliwasiza batabani bammwe abamu ku bawala baabwe, abawala abo ne bagoberera bakatonda baabwe, balireetera batabani bammwe nabo okukola bwe batyo. 17 “Temwekoleranga bakatonda mu byuma ebisaanuuse. 18 “Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse ogikwatanga. Munaamalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egitali mizimbulukuse, mu kiseera ekyategekebwa mu mwezi gwa Abibu nga bwe nabalagira; kubanga mu mwezi gwa Abibu mwe mwaviira mu Misiri. 19 “Ebiggulanda byonna byange, n’ennume zonna mu magana go embereberye, oba nte oba ndiga. 20 Endogoyi embereberye onoozinunulanga n’endiga, naye nga toginunudde ogimenyanga ensingo n’ogitta. Abaana bo abaggulanda bonna obanunulanga. Era tewabanga ajja gye ndi engalo ensa. 21 “Onookolanga okumala ennaku mukaaga, naye ku lunaku olw’omusanvu n’owummula; ne mu biseera eby’okukabala n’ebyokukungula onoowummulanga. 22 “Onookwatanga Embaga eya Wiiki, n’Embaga ey’Amakungula g’Ebibala Ebibereberye eby’Eŋŋaano, n’Embaga ey’Okuyingiza Amakungula ku nkomerero y’omwaka. 23 Abasajja bonna mu mmwe banaalabikanga awali MUKAMA Katonda, Katonda wa Isirayiri, emirundi esatu mu buli mwaka. 24 Amawanga ŋŋenda kugagobawo wonna we muli, era ndigaziya n’ensalo zammwe. So tewalibaawo ayagala kutwala nsi yammwe nga mwambuse okulabika awali MUKAMA Katonda wammwe emirundi egyo esatu mu mwaka. 25 “Temuwangayo kintu kyonna gye ndi ekirimu ekizimbulukusa nga mundeetedde ssaddaaka erimu omusaayi; era ennyama ya ssaddaaka ey’Embaga y’Okuyitako tesigalangawo kutuusa nkeera. 26 “Ebibala ebisinga obulungi mu ebyo ebisoose okuva mu ttaka lyo obitwalanga mu nnyumba ya MUKAMA Katonda wo.“Omwana gw’embuzi togufumbiranga mu mata ga nnyina waagwo.” 27 Awo MUKAMA n’agamba Musa nti, “Wandiika ebigambo ebyo; kubanga nkoze endagaano naawe era ne Isirayiri ng’ebigambo ebyo bwe bigamba.” 28 Musa n’abeera eyo ne MUKAMA, n’amalayo emisana amakumi ana n’ebiro amakumi ana, nga talya mmere wadde okunywa amazzi. N’awandiika ku bipande ebigambo eby’Endagaano, ge Mateeka Ekkumi. 29 Musa bwe yaserengeta okuva ku lusozi Sinaayi ng’akutte mu ngalo ze ebipande byombi eby’Endagaano, teyakimanya ng’obwenyi bwe bwali bumasamasa kubanga yali ayogedde ne MUKAMA. 30 Era Alooni n’abaana ba Isirayiri bonna bwe baatunula ku Musa, ne balaba ng’obwenyi bwe bumasamasa; ne batya okumusemberera. 31 Naye Musa n’abayita; bw’atyo Alooni n’abakulembeze b’abantu ne bajja gy’ali, Musa n’ayogera nabo. 32 Oluvannyuma abaana ba Isirayiri bonna ne basembera, n’abategeeza amateeka gonna MUKAMA ge yamulagira ku lusozi Sinaayi. 33 Awo Musa bwe yamala okwogera nabo, n’abikka obwenyi bwe olugoye. 34 Naye Musa bwe yabanga agenda awali MUKAMA okwogera naye, ng’olugoye olubikka obwenyi bwe alwebikkula okutuusa lwe yavangayo. Bwe yakomangawo okutegeeza abaana ba Isirayiri MUKAMA by’amulagidde, 35 baalabanga obwenyi bwe nga bumasamasa. Bw’atyo Musa ne yezzaako olugoye olubikka obwenyi bwe, okutuusa lwe yaddangayo eri MUKAMA okwogera naye.

In Other Versions

Exodus 34 in the ANGEFD

Exodus 34 in the ANTPNG2D

Exodus 34 in the AS21

Exodus 34 in the BAGH

Exodus 34 in the BBPNG

Exodus 34 in the BBT1E

Exodus 34 in the BDS

Exodus 34 in the BEV

Exodus 34 in the BHAD

Exodus 34 in the BIB

Exodus 34 in the BLPT

Exodus 34 in the BNT

Exodus 34 in the BNTABOOT

Exodus 34 in the BNTLV

Exodus 34 in the BOATCB

Exodus 34 in the BOATCB2

Exodus 34 in the BOBCV

Exodus 34 in the BOCNT

Exodus 34 in the BOECS

Exodus 34 in the BOGWICC

Exodus 34 in the BOHCB

Exodus 34 in the BOHCV

Exodus 34 in the BOHLNT

Exodus 34 in the BOHNTLTAL

Exodus 34 in the BOICB

Exodus 34 in the BOILNTAP

Exodus 34 in the BOITCV

Exodus 34 in the BOKCV

Exodus 34 in the BOKCV2

Exodus 34 in the BOKHWOG

Exodus 34 in the BOKSSV

Exodus 34 in the BOLCB2

Exodus 34 in the BOMCV

Exodus 34 in the BONAV

Exodus 34 in the BONCB

Exodus 34 in the BONLT

Exodus 34 in the BONUT2

Exodus 34 in the BOPLNT

Exodus 34 in the BOSCB

Exodus 34 in the BOSNC

Exodus 34 in the BOTLNT

Exodus 34 in the BOVCB

Exodus 34 in the BOYCB

Exodus 34 in the BPBB

Exodus 34 in the BPH

Exodus 34 in the BSB

Exodus 34 in the CCB

Exodus 34 in the CUV

Exodus 34 in the CUVS

Exodus 34 in the DBT

Exodus 34 in the DGDNT

Exodus 34 in the DHNT

Exodus 34 in the DNT

Exodus 34 in the ELBE

Exodus 34 in the EMTV

Exodus 34 in the ESV

Exodus 34 in the FBV

Exodus 34 in the FEB

Exodus 34 in the GGMNT

Exodus 34 in the GNT

Exodus 34 in the HARY

Exodus 34 in the HNT

Exodus 34 in the IRVA

Exodus 34 in the IRVB

Exodus 34 in the IRVG

Exodus 34 in the IRVH

Exodus 34 in the IRVK

Exodus 34 in the IRVM

Exodus 34 in the IRVM2

Exodus 34 in the IRVO

Exodus 34 in the IRVP

Exodus 34 in the IRVT

Exodus 34 in the IRVT2

Exodus 34 in the IRVU

Exodus 34 in the ISVN

Exodus 34 in the JSNT

Exodus 34 in the KAPI

Exodus 34 in the KBT1ETNIK

Exodus 34 in the KBV

Exodus 34 in the KJV

Exodus 34 in the KNFD

Exodus 34 in the LBA

Exodus 34 in the LBLA

Exodus 34 in the LNT

Exodus 34 in the LSV

Exodus 34 in the MAAL

Exodus 34 in the MBV

Exodus 34 in the MBV2

Exodus 34 in the MHNT

Exodus 34 in the MKNFD

Exodus 34 in the MNG

Exodus 34 in the MNT

Exodus 34 in the MNT2

Exodus 34 in the MRS1T

Exodus 34 in the NAA

Exodus 34 in the NASB

Exodus 34 in the NBLA

Exodus 34 in the NBS

Exodus 34 in the NBVTP

Exodus 34 in the NET2

Exodus 34 in the NIV11

Exodus 34 in the NNT

Exodus 34 in the NNT2

Exodus 34 in the NNT3

Exodus 34 in the PDDPT

Exodus 34 in the PFNT

Exodus 34 in the RMNT

Exodus 34 in the SBIAS

Exodus 34 in the SBIBS

Exodus 34 in the SBIBS2

Exodus 34 in the SBICS

Exodus 34 in the SBIDS

Exodus 34 in the SBIGS

Exodus 34 in the SBIHS

Exodus 34 in the SBIIS

Exodus 34 in the SBIIS2

Exodus 34 in the SBIIS3

Exodus 34 in the SBIKS

Exodus 34 in the SBIKS2

Exodus 34 in the SBIMS

Exodus 34 in the SBIOS

Exodus 34 in the SBIPS

Exodus 34 in the SBISS

Exodus 34 in the SBITS

Exodus 34 in the SBITS2

Exodus 34 in the SBITS3

Exodus 34 in the SBITS4

Exodus 34 in the SBIUS

Exodus 34 in the SBIVS

Exodus 34 in the SBT

Exodus 34 in the SBT1E

Exodus 34 in the SCHL

Exodus 34 in the SNT

Exodus 34 in the SUSU

Exodus 34 in the SUSU2

Exodus 34 in the SYNO

Exodus 34 in the TBIAOTANT

Exodus 34 in the TBT1E

Exodus 34 in the TBT1E2

Exodus 34 in the TFTIP

Exodus 34 in the TFTU

Exodus 34 in the TGNTATF3T

Exodus 34 in the THAI

Exodus 34 in the TNFD

Exodus 34 in the TNT

Exodus 34 in the TNTIK

Exodus 34 in the TNTIL

Exodus 34 in the TNTIN

Exodus 34 in the TNTIP

Exodus 34 in the TNTIZ

Exodus 34 in the TOMA

Exodus 34 in the TTENT

Exodus 34 in the UBG

Exodus 34 in the UGV

Exodus 34 in the UGV2

Exodus 34 in the UGV3

Exodus 34 in the VBL

Exodus 34 in the VDCC

Exodus 34 in the YALU

Exodus 34 in the YAPE

Exodus 34 in the YBVTP

Exodus 34 in the ZBP